Oluyimba 119: TWATEEKEBWAKO OMUSAALABA Lyrics
OLUYIMBA 205: AYI YESU NKWEGAYIRIDDE
1
AYI Yesu nkwegayyiridde,
Okunjigiriza wekka;
Kaakano mbuulire-abantu
Abali mu kizikiza.
2
Bwe nnali nkyali mu bibi,
Wampita okujja gy’oli
N’osasula-ebbanja lyange
N’ompa-obulamu bwa buwa.
3
Ku lw’ekisa kyo ekingi
Ombeere leero-omuddu wo;
Nkole by’oyagala byonna,
Mgende gy’ondagira yonna.
4
Ayi Yesu,nkwegayiridde,
Okunnongoosa-eby’omunda,
Mbeere-ekibya-ekisaanira
Mukama-okumuweereza.
5
Onjijuze Omwoyo wo,
N’essanyu eriva gy’oli
Abantu bakuwulire,
Ne balyoka bakwesiga.
6
Onnyweze ,nneme-okwekuba
Ku nkonge-ennyingi-eziriwo;
Bannange ndyoke mboolese
-Obuyinza bwo nga bwe buli.
7
Ompummuzenga bulijjo,
Nneme-okweraliikirira;
Bannange mbategeezenga
Bw’owummuza abakooye.
8
Bwe ntyo ka nkugulumize
Mu maaso g’abantu bonna;
Bo balyoke bajje gy’oli,
Nga bafuuse abaana bo
Leave a Reply