Engero za Baganda eza – Z – Luganda Proverbs prefix – Z
1. Za bakyala : afuluma asinda zize
2. Z’abaana : ng’ekuliyo owuwo
3. Zaali embikke : kati nsagazi
4. Zansanze : enswa eruma mumwa
5. Zansanze : y’afiira mu ddya nga Siibisobole yeekuunidde
6. Zaatusanga babiri : bw’agaggawala takuwa
7. Zenkanankana n’ekisiki : tezaaka
8. Ziba nnyingi – – ( Endege ziba nnyingi: ) Munno
9. Zikeeta : azisigula
10. Zikulabira w’otoove
11. Zikulaga emirirnu : abajja miyini (or: atunda omugavu)
12. Zikulemye : ezaalema Ntambi e Lubya
13. Zikusanze (= nga tutabye) : tatta wa ggwanga
14. Zikusooka : ne zitakuva nnymna
15. Zimba ennene : tagikubeera (= takubeerako, = takuyamba)
16. Zimba obukeedo : tagikubeera
17. Zinaabala : teziranda kugenda wala (= teziranda ggobe)
18. Zinaakalira mu kkubo : teyekkaanya agafumbye bw’afaanana
19. Ziraba-muzaale
20. Ziribbukira mu mabidde : yeerabira enkenku
21. Ziriddira ku mabidde : yeerabira enkenku
22. Zirindaba olwange : tawa musibe mmere
23. Zitemwa kumu : ne zaawukanya emibala
24. Z’olaga omulungi : tezirwa kukya
25. Z’olaga ow’ebbanja : tezirwa
Leave a Reply