Engero za Baganda eza – T – Luganda Proverbs prefix – T
1. Taabalamule : nti bawe emiggo bafa
2. Taaba w’omuyombi : akalako luuyi lumu
3. Tabyetisse : tamanya buzito bwabyo
4. Taguyiisizza : y’anenya munne
5. Takirambula – ( Atakirambudde: ) Munno
6. Takububuuza : abukuzimbiriza
7. Taakulugendere : akusibira ya menvu
8. Takyawulizikako mluwujju : ng’akabajjo k’ekiwuubiiro
9. Taalugende : akusibira ya menvu
10. Talutambudde : nti baziriko bazirya
11. Talutambudde : y’aluyita olwangu
12. Tamukedde : y’amutenda endya mbi
13. Tamukutte : y’agamba nti situla okube eri! (= Atamukutte
14. Tamusuza : y’amutenda – – ( Atamusuza: )
15. Tamuzadde : amutikka jjinja
16. Tannaguza y’aseka – – ( Atannaguza: )
17. Tazzanga musango : ayokya luyiira
18. Tazzibwawo : afudde
19. Tebakiddangamu : ng’ow’ennungu anyaze engatto
20. Tebakikola nze ne ntuula : akuttira bufumbo
21. Tebakula bumu
22. Tebambalira : y’amiza omukulu
23. Tebeebaaga : batta batte
24. Tebifaanana abifuna
25. Tebinfa : aluma ku y’omukyawe
26. Tebukumanyisa akwagala
27. Tebwaza
28. Tebyasa mutwe : nga tebabyogera ku ggwe
29. Teefe etuusa omugenyi
30. Tegakwasa : teyekaana kulambula
31. Tegambug-uma : alya gawoze
32. Tegassa mwe bagaliira
33. Tegukira : akusengezza omuto
34. – Tegumanya nnyumba mbi
35. Teguzzibwa omu : n’Omuzungu aguzza
36. Tekayira kavunaana muwendo
37. Tekiibe kyalo : nga bakulangidde nnyoko
38. Tekibula musombi : Kimbagaya yakisombera Balama
39. Tekiri mwange : akuttira obufumbo
40. Tekiwoomera matama abiri
41. Tekoobedde : egudde mu kyayo
42. Tekyali kya kumanya : ng’eyakwagala akuyita embwa
43. Terenfune : alyazaamaanya munywanyi we
44. Tereere : ng’ennyindo y’ente
45. Tereere : omututuuli ku mna
46. Teruggwa nneebaza : ng’enkoko y’omwavu
47. Terulaga nnaku
48. Teruloboza : lutta engeri z’ebintu zonna
49. Terulongoosa : lukuttako gw’oyagala ne lulekawo gw’otoyagaa
50. Terumanyi awonga
51. Terwanninda
52. Tewali ayagaliza ya munne kuzaala nduusi
53. Tewali w’e Nnamataba (Mulindwa)
54. Teweetenda bulima : ng’ensambu kwe balaba
55. Tezibula mukwate
56. Tezifudde : ajja na lusoggo (or: adda na kasoggo)
57. Tezikuba misinde
58. Tibalirira muko : balirira omuwala
59. Tibaalirira muko : baalirira omuwala
60. Tibatya ngabo : batya nnyiniyo
61. Tibiggwaamu : nga bya munyago
62. Tibiriika nnyinibyo : omulezi takubirwa nduulu
63. Tigabala wamu : atya omulimu
64. Tigambuguma : alya gawoze
65. Tigulagwa wa bbanja
66. Tigukirangawo : akusengezza omuto
67. Tigumanya nnyumba mbi
68. Tikabula musombi : Kimbagaya yakasombera Balama
69. Tikaggya buliika
70. Timunenya bakyala : nga gy’ava taliddeyo
71. Tirukuba misinde
72. Tizibula mukwate – – ( Tezibula: )
73. Tizifudde – – ( Tezifudde: )
74. Tizikuba misinde
75. Tizikya bbiri
76. Tizirawa nnumba : nga basse w’emitala
77. Toba ggwe : we wawonerwa (= w’owonedde w’owonerwa)
78. Tobeeba kibe : nga tikinnakenena
79. Tobukuta kibe : nga tikinnakenena ndusu
80. Togaanira magere mu kisenge!
81. Togaya bitono : enkoko emala abagenyi
82. Togaya bitono : enkukunyi togissa luyi
83. Togaya kigalamidde : emmanvu etta embaala (or: emmanvu eva wansi n’etta enswa)
84. Togaya (or togaana) kyama kya muto
85. Togayira ggyirikiti mu ntooma : bwe likula osanga litikkidde ya mujunga
86. Togayira Magala mu ddiba
87. Togayira mpengere mu kisenge
88. Togayirira bitono : enkukunyi emegga embwa
89. Togolokosa mbwa yeebase! Let sleeping dogs lie! Munno
90. Tokaabye : ozuukusizza Kaweekwa Ggangu
91. Tokemereza agudde : bw’agolokoka akubuulira
92. Tokliya nnonge nto : bw’ekula ogyambalako eddiba (= enkoba) (or: ob’oli awo n’ogyambalako engatto)
93. Tokkuta oseka : ebijanjaalo bidda kiro
94. Tokyawa mulongo : ng’oyagala olukoba
95. Tolifa? Ggw’olifuuka jjinja?
96. Tolumba mulalu : nga tolina jjinja
97. Tomala gakola : kola bulungi by’okola
98. Tomanyi bwe nzaala! : akuguza omututuuli
99. Tosala (= towuliriza) gwa kawala : nga tonnawulira gwa kalenzi
100. Tota mabi : omutwe gw’ente nga si mukube
101. Totta nkya : n’olindiza ggulo
102. Tova mbwa w’eyotera : n’ogenda gonja w’akalira
103. Tovumirira egwa wala : enjala bw’ekuluma osakirawo (or: bw’ezza emmere osakirawo)
104. Towakanira ebaagwa : nti munda mulimu ento
105. Towuliriza gwa kawala – – ( Tosala gwa kawala: ) p
106. Toyima mu nkondo za mbuzi : n’owakana n’ababaka
107. Toyiteko kalambiko : ekibbo kiyita ku mugenyi
108. Ttaka lirya : ageya mufu
109. Tubadde basa na basa : obutasingwa mpaka
110. Tubisike : awerekeza Kiwanuka
111. Tubuuze abakulu : ennyindo kibegabega
112. Tudde eka, tukube abakazi : akuba muziziko (= bisenge)
113. Tudde ku butaka : azzaayo kiwanga (= si bulamu)
114. Tuddeyo tukube – – ( Tudde eka: )
115. Tufaanane : si kyalo
116. Tufudde tuweddewo : akiina abaafa
117. Tugende mangu : mitanda gye gimusiibula
118. Tuggyeemu ow’e Luwunga (= Kagenda)
119. Tukkuse : taba wa babiri
120. Tukube ababaka : tagenda ku kibuga
121. Tukube abakazi – – ( Tudde eka: )
122. Tukulunnanira : amafumu adda n’abiri
123. Tukutuse bwa mpiso obutakyadda mu ssasa
124. Tukwanye emikka : ng’abakondeere
125. Tuula lubuti : omubi bw’atuula mu balungi
126. Tuula twogere : ) bw’ovaawo akwetissa enju (= nti abadde agyetisse) ) oluvaawo ng’ageya
127. Tuli banaku babiri : akussa emirimu
128. Tuli bangi : tanuuna mu lirye
129. Tuli bataka n’abataka : embazzi tetema mbwa (kubanga bonna basula mu kyoto)
130. Tulibatta beefunye : ggongolo abuukira mu mulyango
131. Tuli bukwata : amalusu n’eddookooli
132. Tuli byuma na byuma : akambe tekasala mpiso
133. Tulifa babiri : engalo ku mutwe
134. Tuligalya amadda : bagalya mu kibanja (= basanga Idbanja)
135. Tuli kakomo : tugendera ku mukono
136. Tuli ppoma : tuvugire amatuine (or: tuvuga amatume)
137. Tuliraba : ye kojja (or ssenga) w’abammi
138. Tulirabira ku ndwadde : bwe buliika bw’omusawo
139. Tulo : titumanyi alirir
140. Tulo tuzira : tumegga n’ab’amaanyi
141. Tulye agawooma : akuliisa n’omugenyi
142. Tulye ku by’amagulu : w’alinnya mu busa, asanguliza ku ssubi nti lya busa bw’olinnyamu
143. Tulye ku bya ssavu : ekkovu aleka mu lusuku nti wandiridde ekkovu, anti lye lisinga amasavu
144. Tulye ku maanyi : asaayira kibaala
145. Tulye tumalewo : akuyombya n’ow’omuliraano (nga tomuwadde)
146. Tunaabiwulira : tadduukirira nduulu
147. Tunaagabanira mitala (= ku kikande) : y’akuseera
148. Tunaagenda naawe akalannamo : ettooke ekkulu na mumizi
149. Tunaalaba : ye kojja w’abakodo
150. Tunaalyamu eyidde (= agayidde) : ng’erumye omukazi (= ng’esoose kuluma mukazi)
151. Tunaayita mbuga : ng’ayambadde bulungi
152. Tunaayitanga babiri : ng’akulabyeko ebibisi
153. Tunaayitanga babiri
154. Tunaayogera birungi byereere : ng’abazze ku buko
155. Tusiimye : y’akuba ennyama ekigwo
156. Tusisinkanye : omumizi n’omuwuwuttanyi
157. Tussa kimu : nga nkuyege
158. Tutemya bukofu : magi (= enkwale) eraga obudde
159. Tutuuse mu lyaffe eddemeezi : abulwa ne w’alya ekyemis’ ana
160. Tuva mbuga okulya masavu : bw’alinnya ekkovu, ng’agasangula olya! nti ge masavu
161. Tuzze buteesagga : nga kikere
162. Tuzze emboozi egwa amakerenda
163. Tuzze twetunula ku nnyindo : ng’abagole, We have come looking down our noses : like brides
164. Twabuna musaasaano : nga eyabazaala yafa
165. Twafudde : enswa eruma mumwa
166. Twagala okuyomba oluleekereeke : omukazi omunafu aluyomba mu lusuku, nti bansalidde ku mpangi yange! nti omuddo gw’oleka eka toguyomberanga!
167. Twagalana : bw’amira amalusu takubuulira
168. Twagawujjane : ng’omukazi akoza ne bba
169. Twagenda Buganda kulya nnyama : ge maddu agassa enunandwa e Masajja
170. Twakulunnanyira amafumu : adda n’omuganda
171. Twakwana masogola: omusambi w’ekikanja akoma ku ndeku (or: omusogozi akoma ku bikanja)
172. Twalabagana dda : bw’atakuzinga muggo, akuzinga bugenyi
173. Twalabagana dda : empale akuwa enkadde
174. Twaliraanya amayu : tetwaliraanya myoyo
175. Twalyanga mbidde : nga nnamukago all ku Buganda
176. Twamukutte : mutenge twegendere! ( Atamukutte: )
177. Twasse akaffe : mukazi we y’amulumika
178. Twazze mugga : kuggwa kko
179. Twekisize : akira tunamma
180. Twenkana : abeera mu kamwa
181. Twerimire : bw’ayeza kasooli we takuwa
182. Tweriire (= tweriire byaffe) : akukyawanya n’ow’omuliraano (= ng’akuggya-ko ow’omuliraano)
183. Twerwanire : tewabula mulungi agwa
184. Twesindise mamaanya
Leave a Reply