Engero za Baganda eza – O – Luganda Proverbs prefix – O
1. Oba tonnagwa : tolaba kikusudde
2. Obeera ndegeya : wakunzimbye ku mumwa
3. Obikka ku maddu : nti malako ennyama, om eggumba
4. Obireka n’otobyegomba
5. Obisse bibiri : toobojjerere
6. Obonaabona n’otafa
7. Obonyeebonye : anti alaba alonda
8. Obubaka tibufa nga butunzi
9. Obubbi ntadde : omukazi ali mbuga
10. Obubuiwa : bukuliisa (ettooke) eriri mu maaso ga mumw
11. Obubulwa ggye : busembeza emmandwa ku lubu
12. Obudde butuukira mu muti ne bukya
13. Obudde bwe buziba : ennyonyi yeeyuna omuti
14. Obudde okuziba : buliisa enkoko omuddo
15. Obufuzi bw’emmese : bulabika ng’omaze okuzimba enju
16. Obugagga ntuuyo : zittulukuka ng’ogenda, bw’owummula nga zikuggwako
17. Obuganzi bukayanirwa
18. Obugayaavu : buzaala obunafu
19. Obugezageza bwatta ssessolye
20. The tcher goes so often to the well, that it is broken at last
21. Obuggya dda : bukaza omuvule
22. Obugulu obutono : sibumegga nnyinibwo singa nnamunye atambula agwa
23. Obugwagwa nnyumba mbi : ogiyingira ogiraba
24. Obukaba bukulya amaaso : nti Wamala yansiiwa
25. Obukadde buwoomya ki? : wazira ttooke
26. Obukadde magezi
27. Obukadde obusinda amaluma : bwetisse mukene all ku mutwe
28. Obuuka ebikoomi ng’atalya bbugga
29. Obukaajumbe : anaabusereka akeera
30. Obukojja bwa munno si bukojja bwo
31. Obukopi bugezza effuba : ng’omutono ye mwami
32. Obukulu buwoomya ttooke
33. Obukulu ndege : tezivugira mu mazzi
34. Obukya buziba : omwana alwa ddaaki n’ayisa amuzaala
35. Obukyala gwe bunaalema : abuwa musebeyi
36. Obukyawe bukira eddogo
37. Obulamu kye kiwango : akiina Baabutiko
38. Obulamu ttooke : bugenda n’abulabirira
39. Obulema tebujja dda
40. Obulimba bussa nnannyinibwo
41. Obuuliridde nfuuzi : kwennyamira
42. Obulonda mke : tebugaana njala kugwa
43. Obulo sibubadde bwange : bubadde bwa Ggulu-ddene
44. Obulungi : bukira obugagga
45. Obulungi bw’enswa : atalya mutima gwa mbuzi, aguliira mu nswa
46. Obulungi obwemanye : ) bukuvumya akusinga ) bukuyisa ku balya
47. Obulungi obw’ensozi : obulaba oziri wala
48. Obulungi si ddya : (wabula emsa)
49. Obulwa bukula musaayi : nga si ggwe bafumise oba nga tebafumise wuwo
50. Obulwa dda : ) blikaza ekkubo ku lwazi ) bukutula empalaata
51. Obusajja bukirana
52. Obuuse nga wajjiibwa
53. Obusenze bukala mmuli
54. Obusenze butta munaanya
55. Obusenze butunda
56. Obusenze bwe bubula : enswa entunda ezimba ku mpawu
57. Obusenze muguma
58. Obusigire bwassa Kisolo
59. Obusigire tibugenda na kabukuto
60. Obusiro tebutuukirwako : ajja okulya, atuukira ku ndagala
61. Obusiru obwakukutte bwa nkoko : bugizaalisa mu kyalo
62. Obusolo bwa kuno tebufa : atega gumu
63. Obusolo gye babutta, gye bweyuna (= bweyunira) : ) ettooke eddene mu ggwaatiro ) omumonde omunene gukula mu lusalosalo
64. Obusungu mugenyi : ) akyala n’addayo ) amala kuboonoonyesanga yeege-nderera
65. Obusungu obungi : bukulagiriza emmese olusuubo
66. Obusungu obungi tebukkutibwa (= tibukkutwa) : Nnamunkanga eyabukkuta ekifuba kabanika
67. Obutaagalana bukusabisa mukazi wo gonja
68. Obutaagaane : bwambaza embwa olukoba
69. Obutajja kundaba nnasiba embwa ku lumbugu n’egaana okululya?
70. Obutalya ku kimu bwassa wajjiibwa
71. Obutamanya bya mwaka : ng’emmese esula omw’omulima
72. Obutamanya nnaku : bukuzza gye baakutunda
73. Obutamanyirira : bukussa n’omuyombi omukago
74. Obutamanyirira butabaaza anaafa
75. Obutamera kirevu njuba ya kikome, ekuliisa lwa ggulo
76. Obutannaziba : tobusindikirako maluma
77. Obutasaba baabulekera (= bwalekerwa) mbwa
78. Obutaseeranye : tibugulibwa
79. Obutateesa buliisa abasatu amaluma
80. Obutazimbye : bumanyibwa nnyinibwo
81. Obutekkaanya : bukutindiza balugu (ng’enva ze balya zirandira wansi)
82. Obuteeraba : bukuvumya akusinga
83. Obuteeraba : bukuyumya akusinga
84. Obuteerowooza : ng’omuwuulu asaba eggobe
85. Obutetenkereza : bukonya obuto
86. Obuteewuliriza bunyooza ennanga amatu
87. Obuteeyinza : bukuyisa mwannyoko omugenyi
88. Obuteezhnbira bwassa wangiri
89. Obutise amatama : nga nnyinimu abba
90. Obutooke obuto : bugwana nva
91. Obutono buwanira mu ssanja
92. Obutta bumenya omulawo : oleeta kibaya
93. Obuwa si bugabane
94. Obuwulize : bwe buganzi
95. Obuyingirwa : bwambaza embwa olukoba
96. Obuyisi bw’omu : nsega y’ebika (= bulangwa nsega)
97. Obuzadde bulima : obusuutira we babwagala (= okwenyumiikiriza we bakwaga-la)
98. Obuzadde buwonya embooge
99. Obuzaaliro si bwe bukuliro
100. Obuuza nga Munyolo : akulaba n’ensuwa, nti ogenda iziba?
101. Obuziina gye babwagala : gye babwaliirira
102. Obwami ddiba lya mbogo : terizingwa omu
103. Obwami kyambalo kyazike : nnannyinikyo bw’akikuggyako togaana
104. Obwami obutono : bukubuuzisa gwe watumye
105. Obwangu bw’okuwa : bukuweesa atalikuwa
106. Obwato bufa magoba
107. Obwavu bukuliisa ebikonde
108. Obwavu bukuliisa nnyoko
109. Obwavu si bbanja
110. Obwavu : tebukozza
111. Obwavu tebukumanyisa gw’oyagala (or: akwagala)
112. Obwayiise : tebuyooleka
113. Obw’effumu : si bwa ddogo
114. Obw’ekiro : buzimbya enkadde
115. Obwemage bwe balanga : enjobe mu lusa
116. Obw’enkya : si bwe buziba
117. Obwerabize obungi : bukusabya gwe wamma
118. Obwesige bull nnyanja
119. Obwewussa bussa (= bulitta) emmandwa
120. Obwezizingirire empogola erwana mu ntamu
121. Obw’olubuto : butwala obw’omutwe
122. Obw’omu buwola(ko) oluuyi
123. Obw’omulimba : tibukeerera
124. Obw’omutambuze tibuziba : enjuba egudde ng’agamba: npenda emisana
125. Obwosi : buluma gwe bwaddako
126. Odaagana (= otaagana) : ng’olwatta Mpoobe e Kibiri
127. Oduula nga musibe : nti tunaalaba okusula nga tutunula
128. Ofanga n’otodda : ng’omuntu anyaze omukazi
129. Ofubye ng’akagobera embuga : nti bwe kanaalya omwana wa beene
130. Ofudde lwa nnabamba : kawumpuli lwatta omuwazi
131. Ofuna by’okuwola : nga n’eby’okuwoza olina
132. Ofunda n’ekkubi : n’otobeera na ddiirawamu
133. Ofunda ne ndikutunda : n’otobeera ne ndikutta
134. Ofunda n’omuko omwavu : n’akulambula
135. Ofunda n’omuliika : n’anunula (= n’akukuliza) abaana
136. Ofuuse gw’e Kanyanya : mugenzi tazze
137. Ogandadde nga mubbi ow’omunnyu : bakuba omwana
138. Ogawadde ekyanya : ow’amalibu ky’awa ennoga
139. Ogenda Mbaale mu Baganda banno
140. Ogenze mugga : okuggwa kko? ( Twazze mugga: )
141. Oggye ku mutwe : otadde ku kibegabega
142. Ogira ekiniga : ng’omusezi alya menvu
143. Ogitte : eva mu nnyiniyo
144. Ogobedde munya mu ssubi
145. Ogubula eyeeguya : tegukala
146. Ogudde ddalu : kuwona mabanja
147. Oguddinnanwa : gwe guwunya ensiwo
148. Ogufa : tegumanya yasooka
149. Oguggwa : tiguba muka
150. Ogugutana : ng’ow’ejjanga aloga muliro
151. Oguliko engalabi : tegunywebwa atudde wamu
152. Oguliko omuseesa : teguzikira
153. Oguli ewa munno : tegugoba ngo
154. Ogummuka gwe gukuwa nsogola
155. Ogunaanyula : tegubuulirwa muwemba, ne bw’ossaako omungi
156. Ogusula gwe gukuwa emza : nga mulungi
157. Ogutaggwa : guboolanga abataka
158. Ogutaliiko mpeera : gugenda n’okwebaza
159. Ogutali mutume : tegukalaza (= tigukaluba)
160. Ogutannammuka : tigukukubisa mwana
161. Ogutateganya : siguzza nvuma
162. Oguzziddwa omuganzi : omukyawe y’agumala
163. Ogwa gonja (= olwa gonja) teguggwe? : nga y’alidde eky’engabo
164. Ogwa kasajja gundeebuukanya : nga ggwe wamwezaalira
165. Ogwayambadde : teguyita bwereere (= teguyitira awo)
166. Ogw’edda : tigukutwaza lubugo lumu
167. Ogw’embuga : gutta atagenze
168. Ogw’embuga : ) gutta ogw’obuko (ng’abakazi alina babiri) ) tigulekeka
169. Ogw’embuga : tigunywebwa atudde wamu
170. Ogw’enzikiza : ayogedde ku bule
171. Ogw’obulungi gwa butiko : bw’oggyawo, tokkatira
172. Ogw’okulya : gusuula emmese mu kita
173. Ogw’omulimba : tiguggwa mpoza
174. Ojaganya ng’eyakimeza okw’enjala : nti obutiko bugenda kukuloga enjala?
175. Ojaganya ng’ow’amalibu alonze erinnyo
176. Ojambagiza : ng’akimezezza okw’enjala
177. Ojjanga kwa nkuba : omusana guleeta enjala
178. Ojjanga n’olya : y’akuyita Lubuna miryango
179. Ojjukidde okwebikka : ng’obudde bukedde
180. Ojjukire okwebikka : nga bukyali! ( Ojjukidde okwebikka: ) Think of your bedding (place for sleeping etc
181. Okaabidde mu lwabya : wakasanke mu lwa mngu
182. Okaddiwanga mubiri : n’otokaddiwa mwoyo
183. Okalaliddwa : atali muwadde okuyoya obusera
184. Okambagga (or: Akambagga) : ng’embidde ematirewo
185. Okamaze : omufumba kafu lw’eggulo
186. Okangabadde : ng’ebyanika taba
187. Okansombedde : kimbagaya yakasombera Balama
188. Okantyabidde : akalimu obuwuka obw’okunnuma
189. Okekkera ng’afumba ekiro : nti ssebo tunaaliira mulyango
190. Okekkera ng’afumba obutooke obuto : nti ewaffe tulya ga bisiisa
191. Okekkera nga agula endiga (= ente), nti yaswala amagulu
192. Okekkera ng’agula nnandere : nti taliimu maaso k’oli nti ogula wa kukuuma waka?
193. Okekkera nga muk’omugoma nti ow’omwange leero agireese n’amayembe gaayo?
194. Okekkera nga nnakawere omuli w’omunnyo : nti nnawonyezza kigongo
195. Okekkera nga nnakyeyombekedde asima kandi : nti kuliko nsajjalala nti ekiku-suza wekka mu nju, ng’abasajja ball mu ttaka kiki?
196. Okekkera ng’ava eri omulwadde, nti twasuze ku bugubi
197. Okekkera ng’eyakafiirwa, nti leero nadda wa? : nti abaflirwa edda balaga wa?
198. Okekkera ng’eyeekubye ekigere : nti simanyi kye kinanviiramu
199. Okekkera ng’omufumite : nti omusaayi gupnenze munda bulijjo gubeera wa?
200. Okekkera ng’omugemuzi agamba, nti enkukunyi zampaatidde ku kibuga
201. Okekkera ng’omugenyi eyaliiridde amaluma : nti omutwe nnassa wa? nti zinga mu ddiba ly’embuzi
202. Okekkera ng’omukazi agamba, nti emmanga eyo tekyayita kambe
203. Okekkera ng’omukazi omuzadde : omwana bw’akaaba, nti bwandu bwe bumu-kaabya
204. Okekkera ng’omulimi w’empindi agamba, nti empindi zange zali ziri matuba, ennyonyi zizirya
205. Okekkera ng’omukunku eyeekoonye : nti ekigere nkimazeewo nti kyakume-zeeko ggulo?
206. Okekkera ng’omulwadde agamba, nti kasookedde ndwala siryanga ka mu ntamu wabula obusera bwe nnawuseeko eggulo bwokka
207. Okekkera ng’omulwadde anywa taba : nti kasooka ndwala siriimu mukka
208. Okekkera ng’omulwadde nti lulinzita nga lummazeemu amaanyi
209. Okekkera ng’omulwadde nti olumbe lwanzimba munda
210. Okekkera ng’Omunaawa : nti Kabaka yandeka nga ndi gongo nti kaakano oli muluusi?
211. Okekkera ng’Omunnabuddu : nti Kabaka yantuma lwokyo nti olwokya Kaba-ka baluggya Buddu? ( Oyogedde bitajja: )
212. Okekkera ng’Omunnabusiro asima balugu : nti laba Kabaka mwe yakkira! nti owuwo ali mu ttaka?
213. Okekkera ng’Omunnabuyaga : nti leero Kajeerero ali Nkira, nti edda ggwe wamukiranga?
214. Okekkera ng’omunnabyalo : nti singa bantadde ne nzira eka, ne ngwa ku mu-gagga nti ab’omubyalo ne basinga bakatikkiro? ( Okekkera ng’omwavu: )
215. Okekkera ng’Omunyolo : nti okulya enkolo, ndya lumonde nti enkolo, nga lumonde gw’olabye?
216. Okekkera ng’omunywi w’emmindi : nti mundeke, sikyalimu mukka
217. Okekkera ng’omusasi : ) nti nnyabo nnyinyika! ) nti nnyabo tompeereza mutwe?
218. Okekkera ng’omusumba w’enkoko : nti ez’ewange ziwalalira emiyagi nti ggwe, nnannyinizo owalalira emivule? ( Amampaati aga nnyini: )
219. Okekkera ng’Omuyima (= Omulaalo) : nti nnalidde enjuba nti eyiyo eri munda?
220. Okekkera ng’Omuzungu : ndiyo nti wabuna nsi? You talk nonsense like a White man, constantly saying ndiyo
221. Okekkera ng’omwavu gwe bakwatira ku kibuga : nti singa bantadde ndaba omugagga mu kyalo, mmugwako
222. Okekkera ng’ow’ebbango, nti bwe nnatuuka, nnagwa bugazi
223. Okekkera ng’ow’ebikaata ava embuga : nti tukutte mu gabuguma
224. Okekkera ng’ow’ejjanga abika, nti gundi yafa : nti naffe tulabye bw’okaaba
225. Okekkera ng’ow’ekirevu akuma omuliro : nti bampeeyo essubi nkume omuliro nti eryo lyonna erikuli ku mumwa?
226. Okekkera ng’ow’ekiwalaata abika : nti olumbe lwanjera (= lwatwera) ekyenyi nti naffe tulaba bwe kikutte e Bule ne Bweya
227. Okekkera ng’ow’ekiwalaata akka (= akkirira) ekibira : nti munterekera ku butta nti tunaabuseera wa omaze okugenda n’olubengo?
228. Okekkera ng’ow’ekiwalaata alabye engo, nti bwe ndabye ensolo, enviiri ne zinva ku mutwe
229. Okekkera ng’ow’ekiwalaata : nti ekimmalako abaana sikimanyi nti kyo ekya-kumalako enviiri wakiraba?
230. Okekkera ng’ow’ennungu eyalya obwa-Mukwenda : nti obuyinja bunnyiga (= bunkosa) nti va mu Mityana (= bwa-Mukwenda), ogende (= olye) Buyinja
231. Okekkera ng’ow’ettulu agamba nti mpaayo amazzi, nnaabe mu maaso
232. Okekkera ng’ow’olukuku azimba e Kyaggwe
233. Okekkera ng’ow’oluwumu ayombera embuga, nti tuva kusasambuka n’omwami
234. Okendedde : ng’omulima atalya mmere ye
235. Okerebera : ng’ow’ekirevu akuma omuliro
236. Okikinadde : ng’ensejjere eyingira enkaata
237. Okinagguka : ng’azaala akuza
238. Okinagguka : ng’omusezi awakanira endeku ejjudde?
239. Okinsombedde – – ( Okansombedde: ) AEm
240. Okirekanga : n’otokyegomba
241. Okirimbire : omukopi talya ttooke Kabula
242. Okkuse emirembe : leero owonga ogalamidde
243. Okembye mu kya kkobe : eky’ettungulu kiwoomerera
244. Okongodde jjawe
245. Okoonye ku mmanvu : kuzuukusa kawundo
246. Okoosekoose mu ga lumonde : anti tegamalako maviivi
247. Okooye : banyaga
248. Okoowodde abombye : kweyongera kukukuma
249. Okuba kalakya : omwavu akakuba ku mmamba
250. Okuba ndugga butannyuka?
251. Okubennanya : ng’olutta ow’ettulu (= ng’olutta ow’erimu)
252. Okubeera ku lusozi : ne weeyama olusozi
253. Okubuga : ng’omugenyi atakkuse nti n’abakadde ab’enunanga nnaabasiibula
254. Okubujjabujja : ng’ebbuzi eddume
255. Okubula obuwolezo : butta abaana ba wamusu
256. Okubula omwana : kwesituldra
257. Okubuuza : si kuwaba
258. Okubwesooka si kubulya : ) singa emmgama y’etta enswa ) ebigere ebi-sooka ku buliri biba mirannamiro
259. Okubyeko kati : ow’ebikunku ku mpomero
260. Okudaagana : ng’olwatta oobe
261. Okuddaabiriza emimwa : ng’ayita baffe
262. Okuddinnanibwako si kwagalana : singa essanja tiribabula lulagala
263. Okudizza kaneene nsonzi
264. Okuddiza guba mwoyo : ) omukazi omunafu asala ku lusuku lwe n’addiza ensiko ) emigga giddiza ennyanja ) n’owuwo akumma
265. Okudduka omuwawaalo : ng’essolo eggumba
266. Okufa si ombo : nti eridiba (= nti eridiba mangu)
267. Okufuuwa omukka mu kisero
268. Okugaba kuzibu : okuddiza guba mwoyo
269. Okugaba kweterekera
270. Okugandaala ng’enku enzige
271. Okugenda ekipaaze : eky’omwanisi wa taba
272. Okugenda ekiserebetu : nga njala
273. Okuggyako omwoyo : ng’agotta ey’embwa
274. Okuggya si kuzzaayo : kitaawo bw’afa tozzawo mulala
275. Okuggyawo ekitayiro : ng’ow’obusa azadde ow’obuwala
276. Okuggwa enkuuka : ng’omusezi ly’aggwa mu lutabaalo
277. Okugwa ettente : ng’omukulu omukwate ku kutu
278. Okujaganya : ng’ezzaana eddekere enju
279. Okujja gawanye : ng’ebisesemye
280. Okujjonkera : ng’ow’olufuba atakkuse lumonde
281. Okujjukira okwebikka : nga bukedde
282. Okukaaba ennyo : tekuzuukusa afudde
283. Okukaabira ebitali bibyo : amaziga gamala gajja
284. Okukembakemba : ng’atwala emyali
285. Okukiina abaafa : nti olumbe lutumazeewo! ( Tufudde tuweddewo: )
286. Okukinagguka : ng’azaala akuza nti owange saamunywerako ddagala
287. Okukisulako : si kukimanya
288. Okukizza munda : ng’akaabira eddiba ly’enjobe nti eddiba lyange litobye ebi-renge nti anti mu mazzi mw’ekulidde
289. Okukola mbyone : ow’obusa by’akola ewaabo
290. Okukuba akalali ak’engalabi eseka n’enti mu mubiri
291. Okukuba embukutiro : ) omwavu z’akuba omugagga ) omukadde z’akuba omuyaiyu, nti gulya kabi ki?
292. Okukuba engulegule : omusezi z’akuba ku ndeku nti waseranga mu bya nkago, ebya mbidde bye walekanga!
293. Okukuba omwana : si kumunoba (= kumukyawa)
294. Okukubiira ensingo (= essingo) : ng’ow’ettulu alamusa abangi (= abasatu)
295. Okukulabako : ndabye ku muzi gwa jjinja
296. Okukula : kudda buto, ng’ettungulu
297. Okukulunga amalusu : ng’enkuyege ey’ekyanda
298. Okukuma ekkungu : omubootongo ly’akuma mu luggi
299. Okukuuma olubugo : lubaale nga mubbe
300. Okukwata omukulu mu kiseke
301. Okulaba ebinene si kuwangaala : abaalaba ku Bukya bandiwangadde
302. Okulagulwa : kuzaala obulogo
303. Okulamusiza ewa munno : tekiba kisa
304. Okulangajja : ng’eyakasibira e aale
305. Okulebera : si kugwa
306. Okuleeta obukula : embogo ekyama
307. Okulindiggula : ng’abika atali wuwe
308. Okuliraana ennyanja : si kuliira
309. Okulira nnyo tekuzza : singa Kaweekwa e Ggangu yankazze
310. Okulokopya : nga ye anyaga emu
311. Okulukumba : ng’ow’ebbango ayambalidde ebita
312. Okulumya engabo amannyo
313. Okulunga amalusu : ng’enkuyege ey’ekyanda
314. Okulungutana : ng’emmese eruma omutwalo
315. Okulungutana : ng’omutabaazi anyaze amagi
316. Okulunze ennoga : ng’amannyo tegagyase
317. Okulunze obulago : ng’ow’ettulu alamusa abali abasatu
318. Okulwa e Buddu : gwe musujja
319. Okulwa ku buko : kukuliisa mayiba
320. Okulwa ku kyalo : ) si kukimanya ) kukumanyisa enkuba gy’efuluma
321. Okulwa ku luggya : kukulabisa entumbwe za ssezaala wo bwe zaaswala
322. Okulwa okutabaala : ensiisira alasa kibandwa
323. Okulwawo kukusabya mukyala wo gonja
324. Okulwawo : kwengeza enkana
325. Okulya ekiguude : ensega ky’erya omufu
326. Okulya enkolo : ndya lumonde
327. Okulya ennunza n’ennunzibwa
328. Okulya ennyingi si kugejja : singa enkoko yenkana nte
329. Okulya ennyingi : si kuggwa maddu
330. Okulya nnyo : tekugezza nkoko lulundulunduli
331. Okulya ojjanga : akagere ta!
332. Okuuma embwa ensajja : n’otokuuma nkazi
333. Okumira ekirevu : okuyita emmere? T
334. Okuumiira : ng’ow’ekirevu ayasizza endeku
335. Okumussa akasiiso : ow’endali k’assa omukukumi
336. Okumyuka amaaso : si buzira omukazi endegeya agobya ffunfugu
337. Okunpanga amadda : n’otokunga magenda
338. Okunguyidde ng’ey’omuluvu : w’alaba akalengejja n’akakutulako n’alya
339. Okununkidde : ng’emmindi enkwatire ku ffumu
340. Okupalappalanya : ng’atatte mukago
341. Okusaba ndikulaba : ng’asaba eryenvu erimu
342. Okuusakuusa nga anaakwokya : nti siigawo evvu
343. Okuseka ebikette : nga muka omugoma, nti baze agireese n’amayembe gaayo
344. Okuseka ekimwegeru (= ekimwege) : embwa ky’eseka mu lumbe lw’ente
345. Okusekera mu bikonde : nga asikidde omugagga
346. Okuseemyaseemya : nti tugenda okukoola emmere
347. Okusigalawo kuzirinda : ng’omwana w’omufu y’asabye lubugo
348. Okusiimuula engalo : kuva ku mukkuto
349. Okusinziira (= osinzidde) ku ssinzi : n’ogoberera ekkobe
350. Okusitukiramu : ng’eyatega ogw’ekyayi
351. Okusiwa ensaano ku mazzi
352. Okusoonooka si kubba : singa nnawolovu amaze ebintu (= amazeeko abakazi enkumbi)
353. Okusula kudda buto
354. Okusumika obulungi : si kuwasa
355. Okutambula kuziiziina : asisinkana y’avuma
356. Okutambula sserebu : ng’eyakwana ogw’okumpi
357. Okuteebuuza : ng’olutta omuwere
358. Okutegeeza kasiru : osooka kumuggula matu
359. Okutengejja : ng’asaba oluwanga obulamu nti oyo teyafa lumbe?
360. Okutitibana : ng’atuga omulalu
361. Okutta ekibyamu : embwa ky’etta amagi
362. Okutte enkofu : okayanidde ejjiba?
363. Okutte gano ne gano : ng’agula omugumba omunafu
364. Okutuubagira : ng’eyakaabira Nnamumwa
365. Okutuula ekisajja ekikulu : embwa ky’etuula mu lumbe lw’ente
366. Okutuula ekitebe : enjala ky’etuula mu lubuto
367. Okutuula ekiyaziyazi : omugumba ky’atuula ku mbaga
368. Okutuula olubuti : omubi lw’atuula mu balungi
369. Okutunda mwoyo : ng’enkoko emirs ensanafu
370. Okutunguutana : ng’amasiira amalonde
371. Okutunula embebere (= mpwangali) : ng’omukulu ateetimba
372. Okutunula kalyolyo : ng’embwa eyota ekikoomi
373. Okutunula na kimaka : ng’eggumba eggereke ku nkolo
374. Okutunula sseddoolo : ng’omukadde ayogereza
375. Okutya okusekwa : omwana tayambala lugoye lwa kitaawe
376. Okuvuma tikuweerezebwa
377. Okuwakanya emmandwa : si kuyubuka mimwa
378. Okuwa : kutereka
379. Okuwangaala : ensejjere egula omuddu
380. Okuwera enkolokooto ey’omuvumbuzi w’amawolu : ky’ajje avumbule, ng’akuba mu ngalo nti abanaagalya banaakuba mpina?
381. Okuwola n’okwazika : bye bitta omukwano
382. Okuwonga okungi : si kuzza lubaale (= si kuwuliza lubaale)
383. Okuwoza tekubongola mannyo
384. Okuwummula si kutuuka
385. Okuyanza amagalo – – ( Oyanza amagalo: )
386. Okuyitaba wangi : si bufuge
387. Okuyita kungulu : ng’omuwuzi
388. Okuyita okulaba : ng’ow’amalibu asanze ebikongo
389. Okuyomba entulumuko : ng’ayomba (omukwano) ogukaze
390. Okuzaala : kukira okutema ente
391. Okuzaala kulungi : ng’olabako
392. Okuzimbya entwiri : ng’omukulu agaba enkejje
393. Okwagalana kyayi kya mso : bwe kitasoba(ko) tikitunga
394. Okwambala bulungi si kuwasa bawala : singa akasanke kamaze abawala mu nsi
395. Okwasaamirira si kumira : singa ennaana emira bugobo
396. Okwebaka kufa : ye asiba oluggi (= y’akomeka oluggi)
397. Okwebaka lulingolola : ng’omwavu omulekere
398. Okwebambalika : ng’omunafu alima ku kkubo
399. Okwefetta ng’omukazi omunafu : nti baze bw’alinvuma, ka ne nzita emiko-no sooka otte enjoka ezirya amatooke
400. Okwegambagamba ng’ow’amalibu ayasira embwa : bw’eribulwa amannyo, ndigisongolera emmambo
401. Okwegaana mulanga : endiga ndege, ente kide, embwa kyuma, embuzi mujugo
402. Okwegendereza ng’eyafumbirwa wa mayuuga : bw’alaba ekkonkomi, ng’aga-mba nti anaaba ssezaaIa wange
403. Okweggala si magezi : emirembe giva e mbuga
404. Okweggyako ekigombo : n’owa busa azaalira ku luggya
405. Okwegulira kukira okubba
406. Okwekobereza : ng’afumbye gonja, nti lyako abiriridde
407. Okwekuukuubya : ng’ezzaana eddekere enju
408. Okwekuluumulula : ng’amale ag’ekyeya
409. Okwemala eggoga : omulogo (= omusezi) lye yeemala mu lutabaalo
410. Okwenyumiikiriza : ng’olugunju – – ( Weenyumiriza: )
411. Okwerinda si buti : ensanafu etambula egaludde (= eteze)
412. Okwesimba obulere : ow’ennombe akiika
413. Okwesogolera kulungi : n’okomba engalo
414. Okwesulubabba : nga nnasswi w’embwa
415. Okwesumagga : ng’omusagga gwa Nnakkobyo
416. Okweswalinga : ng’omunafu alima ku kkubo
417. Okweteganya : nga lumonde akona
418. Okwetematema : ng’omubi awonga nti njagadde ekibi kigwe wala nti ggwe bakusuula wala
419. Okwettira ekitakwettidde : embuyaga ku jjinja
420. Okwewuliriza : kunyooza ennanga arhatu
421. Okweyenga : ng’aggya endoko
422. Okweyisaako : ng’omwavu agamba, nti kiki ekinnuma?
423. Okwezza ennyuma ng’ensama : yenkana nte, esuula nkiringi
424. Okwogera amakuumuule : ng’aga lumonde
425. Okwogera endibattiriro ey’omuyizzi : nti mala okunaaza omusu ojje onkulu-buute ku bigere nti omusu gwe mba nnaaza, ggwe baze gwe mba nkulubuuta
426. Okwogera nnyo si kulya bwami : singa ennyonza erina obwami
427. Okwogerera waggulu si kitiibwa : singa elvaana ye kabaka w’ennyonyi
428. Okwo nno kukuumiira : ng’ow’ekirevu ageregeza
429. Okwo nno kuseka nnyindo yankolera
430. Okyaliza ntondo : nga kabu
431. Okyemanyi Omunyolo : mwa Luwalira
432. Olaba eyagenze n’ebyayi ng’adda n’olutala : ng’akatale keetuuze
433. Olaba lulema yalukedde : nga ggwe atandise mu ttuntu onoolukola otya?
434. Olaba nnasswi akulembedde : nti Obuganda mirembe?
435. Olaba omugenge nga yeeyuna ettu : ng’engalo kw’asigalako ensajja
436. Olaba malinnya : amakka ganaalema
437. Olangajja : ng’afumita ekitaliibwa
438. Olangajja : ng’eyakasibira e Mbaale
439. Olejjalejja : nga baakwaluza mukalo gwa ndegeya
440. Oleese mawano : ng’atadde emmindi ku kamwa
441. Oli balusagya : ng’omuwuulu agula enkulo
442. Olidde eggi : kwesubya muwula
443. Olidde ka bulanga
444. Olijja ddi ewaffe? : lye bbanja ery’omugenyi (= omugezi)
445. Oli kajagujagu ng’akabwa akato : tikannazibula, nga kasutama
446. Oh kasalabekkya : ng’Omunyolo akubagiza Omuganda
447. Oh kasobeza ng’okutu – – ( Kasobeza nga kutu: )
448. Oh kasobeza ng’omuweesi : akugamba okufukuta n’afukamu amazzi
449. Oli kasobeza ng’omuyizzi : agamba embwa mutte, mulye!
450. Oh kikonde : kikuba ali kumpi
451. Oh kimwakitoole : ng’omusajja alya ebbumba
452. Olikiraba : takikutendera
453. Oh kkalu-muliro : ng’eggye lya Kasujju
454. Oh lumbe lwa kirago
455. Olima awatono : ne wattira
456. (Amin ng’ow’effumu limu : nnaakukuba amanyago (so ng’alina olunyago lumu)
457. Olimbyerimbye basuze : abalungi bagenze n’omwami
458. Olimpa ki? : ng’olimpa nkuti
459. Oli mpalakitale ng’eddiba ly’emmere : amaviivi ze mmambo
460. Oli mpaiakitaie : ekaabira ku nsozi essatu
461. Olimu akeewaniko ak’amakobe
462. Oli mugabi nga jjenje : olulikwatako nga likulekera kugulu
463. Oli mugayaavu nga kyannyanja : kisula mu mazzi ne kitanaaba kutukula
464. Oli mukaba nga Mulemeezi : yasibira Kangaawo ekkubo
465. Oli mukaba nga nsiko : etuyana kiro
466. Oli mukalabakalaba ng’omumwi w’ekirevu : awatali linnyo, awangawo
467. Oli mukubi wa mpi mu kigongo
468. Oli mu kulya : nga Katonga ajjula?
469. Oli mukuusa nga jjembe : liva ku kikondo nti nva Buvuma
470. Oli mulangaasira : nga bulago bw’emmese
471. Olimulisa mu kika olumuli
472. Oli musezi : talengera nnimiro
473. Olina akajanja : akannamukazi-omu nti omwandu tunaagukisa wa? nti ggw’oli-na?
474. Olina akambayaaya : akasengusa ennyonyi ekiro, ng’ewa musolo
475. Olina akasattizo (= amampaati) : akambaliza ekkovu ekita, nga ligenda kusenge-jja
476. Olina enfubitizi : ekusuza n’omulamu ng’agenda okufa ali wall
477. Olina kasiikuuzi : akakubya emmomboze eyajja n’ebigere byayo
478. Olina mwegunja : ng’anyumya aseka
479. Olina obukabakaba obwa wamumwa : nti tulye entanda
480. Oli ng’akakowekowe : katemereza ataakawe
481. Oli nga mazzi ag’oku lutimpatimpa
482. Oli ala : ng’emmindi ewona ekiziyiro
483. Oli njuki : esomba bidumo
484. Oli nkoko : tosaggirirwa
485. Oli nnakifankenyere : ekinywera amazzi emugga
486. Oh nnama we ngwa
487. Oh nnasajja : ng’omugomo ogutta ensonzi n’obuyamba
488. Olinnye gye gava : kunywa matabangufu
489. Oliraana wa butwa (omuwa-butwa) : n’otoliraana wa kyokoola
490. Oh Ssekadde : yeegabira Mukono
491. OH waggume nga mugoyo : bagutenda buwoomi ate gusiiwuusa mimwa
492. Oli wa kalogojjo : nga mubumbi
493. Oh wa kitalo nga mugoyo : bagutenda buwoomi ate gusiiwuusa mimwa
494. Oli wa kyejo : bwe nnaakusimbako enjala, omukka onoosiza mu byayi nga tabs
495. Oli wa mukisa : ng’anyaga embwa ekuzizza
496. Oli wa mukisa : ng’omunafu gwe baagala
497. Oli wa mugoonyo : bw’otta enkoko, ofumba kasooli
498. Oli wa nnyomba mbi : ng’alima emmere ye ku kkubo
499. Oli w’e Ssambwe : Nnabugwamu
500. Olondobereza ng’eyanyaga emu : nti Kabaka (or mwami) y’ankongoola
501. Oloodde muganzi mu kizikiza
502. Oloose ky’oliraba : nnaloose nfudde
503. Olubbobbo oluwaanyisa ekiramu
504. Olubuto kyoto : alutyabira (= alusombera, = akisennyera) enku y’akoowa
505. Olubuto lugwana okulya
506. Olubuto olubi : lukwogeza bye walidde
507. Olufumbe olukulu lulwanira okufa
508. Olufumbe olukulu bw’olaba nga lulwanya embwa : ng’essanja basala
509. Oluganda kulya : olugenda enjala terudda
510. Oluganda luva ku kkubo
511. Oluganda lwala mukwano
512. Oluganda nkovu : teggwa (= teruggwa) ku mubiri (or: sirunaabibwa)
513. Oluganda talya kya munne : ttaka tirirya lwa ntamu
514. Olugenda enjala : terudda
515. Olugero olukadde : lusala oluggya
516. Oluggumuggumu : lusiriiza ennumbu
517. Olugo olugenyi : terumanya mbuzi mponge
518. Olujuukirira lw’anjuukirira gvantiisa
519. Olukadde eyalumanyanga (= eyalulaba) : y’aluggya mu mwandu
520. Olukadde olwa Nnyenga : w’otolulaba mu katale, ng’ogamba nti yafa
521. Olukka ennyanja – – ( Lukka ennyanja: )
522. Olukuba omwana : lwagala nnyina
523. Olukuba Waliiso : lulekera Wannyindo okufeesa
524. Olukuba Wannyindo : lulekera Waliiso okulira
525. Olukula luyonka abaana baiwo
526. Oluliko omwenge : terubula asulamu
527. Olulyo olw’omukyawe tirukala : olwange lubaze
528. Olumbagayiza : lusuza omugumba enjala
529. Olumbe kijjolooto : olaba lutta Kagulu atafa
530. Olumbe lubugo : tulwebisse
531. Olumbe lutumazeewo enkoko : asuula ku luwe
532. Olumbe lwa nnabe : ffulula biswa
533. Olumbe lwakeera okutta abantu : ng’asikidde mugagga
534. Olumbe lw’ekirago
535. Olumbe lw’omugagga tiwabula alutuukamu : wakasanke atuuka mu lwa mpanga
536. Olumbe musolo : teruddukwa gye lukusangira gy’oweera (= gye gukusangira gy’oguweera)
537. Olumbe sirutta bumu
538. Olumbe terukuba misinde
539. Olumbe terulaga nnaku
540. Olumbe teruweebwa mukono
541. Olummanyimmanyi : lukwasa embwa mu mannyo
542. Olumyu olukula : luyonka abaana baalwo
543. Olunaku lumu : tiruboza nnyama
544. Olunaakutta : akabira kakwesamba
545. Olunaakutta : ) lukuggya enunere mu kamwa ) lukuggya we bajjula
546. Olunaakutta : lukuziba amatu
547. Olunaakutta : lwasimuka ebiri
548. Olunatta Wambwa : lumuziba ennyindo
549. Olunda ntono : ne ziba ezannyo (= ezizo)
550. Olunderebu olwambaliza ekkovu ekita : nga ligenda kusengejja
551. Olunkulu lwayokesa Ssekiboobo Mbuula embuga ye
552. Olunkulu lw’emisota : emito n’emikulu gyonna girya gigalamidde
553. Olusala ekyayi – – ( Lusala ekyayi: ) Roscoe
554. Olusozi lw’ababbi : ndikubbirawo (ewa Mugema)
555. Olusozi lw’abakozi : nti nange mbalwa
556. Olusozi lw’abammi : ndeke okulya, mpe ggwe?
557. Olusuula entabi : lukuwa okutindira
558. Olutafuka lw’omukyawe *: lujjula mawuggwe
559. Olutototo lwa kamunyi
560. Olutta ente : lulekera embwa omunyeroonyero
561. Olutta wambwa – – (Olunatta wambwa: ) Munno
562. Olutu olutu ng’amazzi ak’oku lutimpa – – ( Wulutu: )
563. Oluva e Mukono lwe lulissa Abakunja entubiro
564. Oluvulunguti : abasajja lwe balya mu magi
565. Oluwanga lw’embwa – ( Luwanga: )
566. Oluwijja oluweesa mpiso : luweesa n’akambe
567. Oluyindi tiruliibwa nkagga
568. Oluyitaayita : lukira oluliira ku nkoligo
569. Olwali wa gundi : lwali ku njovu Kavumba
570. Olwa mulungi : tiruggwa atenda
571. Olwatika olunatta entamu : lugifuluma mu ntobo
572. Olw’ennyama teruggwe? : nga y’alidde ebbango
573. Olweyaniikirizo : lwakubya abataka
574. Olwa kulya : lusuula emmese mu kita
575. Olw’okulya : lusuula enkinzi
576. Olwokya enju : lwe lulaga nnamunye ekkubo
577. Olwo lwoya lwa mu nnyindo
578. Olya entono : nga teziriimu ttaka
579. Olya kizze : nga muwooza wa katale
580. Olyanga akatono : n’otofa
581. Omagamaga : ng’aggya akamu
582. Omala okuyombera ku buko : nti alinnyimba ndimutta
583. Omezze ate oluma? ( Amezze n’assaako n’okuluma: )
584. Ommaze enviiri – – ( Munnange, ommaze: )
585. Ompadde amaanyi : enjala egawa omutwe
586. Ompiseeko kkuutwe : embwa ly’eyita ku mubumbi, ng’egenda eri omuwazi w’amaliba
587. Ompise Ssekibotta akubira enva engalabi : ezange leka wano
588. Ompitako nti nadda ne nkulamusa
589. Ompubanyizza ng’ekiwalaata akyala : nti nnaasanga ng’omaze okusa obulo nti obulo nnaakuseera ku ki? anti olubengo otutte
590. Omubaaga-zibi abaaga lumu
591. Omubbi akubba : entuuliirizi n’etekutuuliirira
592. Omubbi mmese : ategwa kirungi
593. Omubbi tawerekwa
594. Omubi abijja n’ebibye : mpokya abijja n’eggobe lye
595. Omubi akira ebbanga
596. Omubi anyumya : akira omulungi akuumiira
597. Omubi atavaawo : olwaddaaki anaaza omulungi emabega
598. Omubiri bwe gukuggwa : ataakulaba aku
Leave a Reply