Engero za Baganda eza – N – Luganda Proverbs prefix – N
1. N’aganaafa : gasalirwa essubi
2. Nakamwa ntette – – ( Nnakamwa: )
3. Nammwe mutuulanga bubi : gw’ayagala ye all ku ludda oluliko ekitono
4. Nangalongya (= Na-ngalo-ngya) – – ( Nnangalongya: )
5. N’asirika amanya : ekikere bakibikira kwa kyeya ne kikaaba ku nkuba
6. N’asirikirira amanya : ekikere bwe bakibikira okw’ekyanda, olumbe kwa ttoggo kwe kyabiza
7. Na tte eryawuumanga : bw’erimala okugwa wansi, nga n’abaana abato bagituula mu mayembe
8. Na wano lulyabirawo : nga lwa mwavu
9. Ndaba : gwe batta
10. Ndaba ng’onsuula ngajaba
11. Ndaba ongalabanja : ng’akukyawa takubuulidde
12. Ndabidde ku nnamusa
13. Ndege ziba nnyingi – – ( Endege: )
14. Ndiba nsaba ki? : ye asaba kooterezo
15. Ndibiraba ne nziruka : ye agenda na bapere
16. Ndibirya ne bimpitamu
17. Ndifa n’agange : omukadde ku ssogasoga
18. Ndifiira bwereere : asika evviivi lya nte
19. Ndifiira (= nnanfiira) ku kinene : ) ensanafu ku ggere ssajja (= ku kigere eki-sajja) ) ensanafu ku ntumbwe
20. Ndifiira mu bakazi bannange : bamuyisa mu musiri gwa ntungo
21. Ndifiira mu bangi : bamuyisa ku musiri gwa ntungo (or: afiira mu lukangaga Iwa ntungo)
22. Ndifiira mu basajja bannange : bamuyisa mu musiri gwa kasooli
23. Ndifiira mu ppanda zange : nga n’akamwa kalungi (= ng’ayogera bulungi)
24. Ndifiira wabuguma : ennyenje ku kibanyi
25. Ndifiira waggale : bamuyisa ku kifulukwa (= ku kifulukwa ayitako kkutwe)
26. Ndigalya madda (= olulala) : agalya mu kibanja (= asanga kibanja)
27. Ndiga tekimba : olukimba ng’etomera butomezi
28. Ndigudde : abula agumwetikkira
29. Ndigula kalungi : n’agula enkejje empumbe
30. Ndigwa mu bangi – – ( Ndifiira mu bangi: )
31. Ndikibuulira ani? : nga taliiko mukwano gwe yeesiga
32. Ndikibuulira omulungi : bw’okibuulira omu, kibuna ekyalo
33. Ndikirya jjo : bakimutikka
34. Ndikirya na munnyu : akirya na mazzi
35. Ndiko bannange – – ( Bannange banjagala: )
36. Ndikugula : akunkumula lutembe (= matembe)
37. Ndikulyako ki? : nga ndikulya minyira
38. Ndikutuusa : takutuusa
39. Ndikwata ne mpaayo : nga yasikira musikire
40. Ndi mufu muggya : simanyi bifa magombe
41. Ndi mugezi : nga mubuulire
42. Ndi mukazi mutundwa : nneesibira okunywera
43. Ndi mutuba mulami : n’omuto atema ensimbo
44. Ndi muzibi wa maaso : akange ndya nkutte mu ngalo
45. Ndi nnanti nkalu : ye azimba ku nnanti embisi
46. Ndi nkoko mpanga : ntambula ntolooma
47. Ndi nkoko njeru : seekweka kamunye
48. Ndi ntamu nkadde : siterekwa ewa munnange
49. Ndiraba ezange : nga tawa musibe mmere
50. Ndirwanira mu bakulu bannange : omukadde bamuyisa mu jjobyo
51. Ndirwanira waggale – – ( Ndifiira waggale: ) No
52. Ndirya amadda – ( Ndigalya madda: Tuligalya amadda: )
53. Ndituusa wa? : ka lunzite mpeere
54. Nditwala kalungi : mu kibira avaamu atyo
55. Nditwala kinene : afa tatuuse ku buko
56. Ndiwulira : bamufumbira mu kasooli (or: banuulira mu kasooli)
57. Ndiyimbira mu nkambi e Lubaga
58. Ndudde okwewagira : ) enkolo azirya n’ekiro ) muwogo alya na miti
59. Ndwadde ekula kiro : ye aziika omuliro
60. Ndwadde ya muto – – ( Endwadde y’omuto: )
61. Ndya kya bukaba : ng’emmese ey’omu ggwanika
62. Ndya lumu : yazisa Mulajje
63. Ndya wabiri : ng’olubuto lw’emmandwa
64. Ndyebaza ndya : tagunjula munafu
65. Ne gw’oyagala : gw’osalira omusango ne gumusinga n’omuweerera envuma (or: ng’omuliyirako)
66. Ne gw’ozadde : akukubira ennoma n’ozina
67. Ne munno : akutebya
68. Ne ngejja ng’olulimi lw’ekide
69. Newandibadde tetonnye : ebire tubirabye
70. N’ezikookolima : gaali magi
71. Nfulumire ku mugumu : nga y’anaasika
72. Nfuuyira zirwana : wakasanke mu lwa mpanga
73. Ngabo nzira : ogirabira (= ogimanya) ku biwundu
74. Ngabo tekyala
75. Ngajaba : yeebakira emikono gyombi ne yeerabira ababbi
76. Ng’akwata nimpaayo – – ( Kwata n’owaayo: )
77. Ngalaba : ng’alinda luwombo
78. Ngalo njereere : ziwoomera nnyinizo
79. Nnaana bizitowa : ontikka muzigo (oba bbumba)?
80. Nga ndi masane! : enzirugavu okuzaala amata ameeru!
81. Nnaana tabuulirwa kaama
82. Nga onoobiyinza? : nga bawadde gw’atayagala
83. Nga toba ku ebyo : ataalimye anaafumba? ( Weeyogeza ng’ekitaalimye: )
84. Nga azzeemu : ng’agula omugumba omunafu
85. Nnenda eno : lw’aguzza lw’akubuulira
86. Nnende nfumbire omusajja : bwe ligwa mu vvu, y’asooka okulya
87. Ngigyeyo omwoyo : ng’asotta emmere y’embwa
88. Ngo tebuukira walungi : buli lw’ebuuka, nti ebadde endidde
89. Ngujuuba : bw’egabega bw’egalya (or: bw’agabega bw’agalya)
90. Nguve ku ntono : ng’omuyala asanze we bafumba
91. Njala akukulidde mu kibondo
92. Njala : ) ebuza amagezi ) ekeeta ) ekimbya
93. a Njala : evumbula
94. Njasa biggu : ng’omusamize akuba emiggo
95. Njawukana : eva ku mugga
96. Njogera bye ndaba : nti emmese tenywa mwenge nti mu kita ebadde enoo-nyemu ki?
97. Njogera bye ndaba : nti Gatuulemu wuuyo ajja
98. Njogere nsambye : kabaka amuyita kalaka (= kalatu)
99. Njola ki? : ng’ayola akagubi
100. Njuba ebireese
101. Nkaabira mubikire : naye ankutukidde mu ngalo!
102. Nkaajumbe : temala nju mpya
103. Nkalakkalira : ng’ensiriba y’ejjanzi
104. Nkaliriza eriisa enkoko – – ( Enkaliriza: )
105. Nkalubo : ekira amaluma w’osikasikanya oliira
106. Nkalye nkawulire : asula tiyeebase
107. Nkejje nfu : ekira ennamu okutambula
108. Nkerettanyi : bw’ogitega (or: bagitega) amenvu, erya bibombo
109. Nkizzizza buggya : asinga kinkutuseeko
110. Nkoba za mbogo : zeggya zokka mu bunnya
111. Nkoko ekkuta – – ( Enkoko ekkuta: )
112. Nkoko njeru : yeeyoleka kamunye
113. Nkoko nnyoole : yalema Abaadi (= Abawadi)
114. Nkoko tekuba A hen does not belch
115. Nkoko teyota : bw’olaba eyota nga bagiwujja
116. Nkoko ya mwavu : teggwa meebaza
117. Nkoko yange ebuuka emiyagi : nnyiniyo obuuka omuvule? ( Okekkera ng’omusumba w’enkoko: )
118. Nkoko yange eyo yeeyambula bbombo : nnannyiniyo we yeeyambula aba- longo
119. Nkole mpoomye : Nnalunga yagoya amayuuni
120. Nkolola nsajja egoba ngo
121. Nkolo tenyigwa
122. Nkomaga ka mwana : ye nkomaga mbi
123. Nkonge bw’etekukuba magenda : ekukuba amadda
124. Nkonge ya muvule : nnantagwira kyeya kimu
125. Kkonkome bbi – ( Ekkonkomi: )
126. Nkuba eritonnya ddi? : emutonnya mu kamwa
127. Nkubaguliza nga lw’ebibo
128. Nkuba teyaza kyayo : singa ekitoogo bakitemya mbazzi
129. Nkubye mu kisaka ejjinja : kuwulira bivaamu (= okulaba ekinaabuukamu)
130. Nkuagirira okutega : bw’olitta olimpa (= n’oleeta omwange)?
131. Nkumanyi muze : takuganya (= takulinda) kwetonda
132. Nkusalidde ga nkolwa
133. Nkusuulidde mwoyo :
134. Nkutabadde : omunafu atabaala omulima
135. Nkutaddeko abiri : ow’ettulu g’ateeka ku basengezzi
136. Nkutuse buyiso : sikyadda mu ssasa
137. Nkuwawaabidde : takuviirako awo
138. Nkuwe nkuwadde) ekyanya : ow’amalibu ky’awa ennoga (= akiwa ennoga)
139. Nkuyita okulaba : nga ow’amalibu asanze bafumba ebikongo
140. Nkuyigiriza okutega – ( Nkulagirira okutega: )
141. Nkuyiire nkuwe akanyama akabisi owuute otuzzi
142. Nkwane ono nkwane : talema kugwa mu kabi
143. Nkwatanyekwatanye : Kalambi ne Bbira
144. Nkwatiraako : si bumbowa (= tafuuka mumbowa)
145. Nkwegaanyi : omuggo akwekwesa
146. Nkwesambye : Nnasswi mugalabi
147. Nkwesiga : omukazi munafu yeesiga nnyazaala we
148. Nkwetegule : ejjanzi lyetegula muzadde
149. Nkwettire : amasanda gettira enswera
150. Nkyatudde ku mmere ya baze
151. Nnaabalira ku lugoye : entungule ziwubira
152. Nnabaana bangi : eggobe ntitti (= ttitti)
153. Nnabe-ffulula-biswa
154. Nnabe zzisa : ng’ekiti ky’embazzi ekizisa ginnaakyo
155. Nnaabikyusa : ng’omuganzi aloopa (banne)
156. Nnabugwamu : ng’ow’e Ssambwe
157. Nnabwekomba : nga kadduubaale asebeya
158. Nnabyejeeguula ng’enswa : tennaba kutuuka gy’egenda, ng’embugo esuula
159. Nnabyejeeguula : ng’omuwuulu agaba nsimbi
160. Nnabyewanga : ng’akaliga akaliira mu nte
161. Nnaafiira ku kinene – – ( Ndifiira ku kinene: ) Rowl
162. Nnaagazina dda : ye agenda nago (= nga tagayinze)
163. Nnagenda ne kye bannambye (=– bakuwammye) : ng’enuneeme etodde
164. Nnaggerenjula : bw’akuyita okulya akugeyera emmere
165. Nnaggerenjula : ng’eddimi ly’enjala
166. Nnaagunywanga ne nsulayo : nga gy’agunywedde gy’akwanye
167. Nnagutta : n’alindyamu olukwe
168. Nnajja kulaba nnyabo : bw’atambula (= atuuka) abuna ekyalo
169. Nnajja n’ebyange : bitanga ayonzesa mbuga
170. Nnajja n’ebyange : ne binyiriza embuga
171. Nnajja okumala : tamala mbale
172. Nnajjukiranga ne nseka : nga si ggwe bakigambye
173. Njakablito teyeesigwa
174. Nnaakalyako ani? : abula gw’akkusa
175. Nnakamwa ntette : ng’ageya gw’ayita naye
176. Nnakamwa ntette : ye yabuulira nnyini ttooke, nti ettooke ly’emmanju lyenge-dde
177. Nnakapanka : ng’omukazi akalakata nkumbi nti osiimuulako ki? kuliko ttaka?
178. Nnakatandaggizi : talera wa mugumba
179. Nnakatintigiri : ng’omuzaana adduka obuko
180. Nnakawangiza-nkoto : ng’omukazi aloota ennoma ezirawa
181. Nnakawere akankana : ng’alabye amuweereza
182. Nnakawuka : we kagwa mu nvubo amansula
183. Nnakikubye : tatuuka ku nsonga
184. Nnakkwale tanfuga : nga si mugole we
185. Nnakubyejuula : ng’omusanvu gw’oku nju ne nnyinimu gumukuba
186. Nnakuddamu ntya, jjo? : bw’akukwata takuta (or: akusiba akunyweza)
187. Nnaakukomeka effumu : omukadde akomeka luggi
188. Nnakula sibbye
189. Nnaakuliriranga : ebiwaata ngululu (= mawaata ngululu)
190. Nnaakuloga empyangira : kabootongo z’aloga omuluvu
191. Nnaakumala amamiima : nnabanfuddu ge yamala nnabbubi
192. Nnakumanyanga : eyakumanyanga bw’avaawo, ekkubo liziba
193. Nnaku musana – – ( Ennaku mufunza: )
194. Nnaakussa ekkande : nti kasooli wa kuno tayera awunda awo, ng’ogwa nna- kande kusaawa
195. Nnaakuyigiriza ag’enkolwa
196. Nnaku z’abato : n’atazaala akuba
197. Nnaku za mbwa : n’atagifuna aboggoza
198. Nnakyemalira : ng’engalo ensajja
199. Nnaakyesaga : nga ttu ly’empande
200. Nnakyeyitize : ng’ezzimu eggumba
201. Nnakyeyombekedde gw’ayiisa : gwe gumusambya (= gumukubya)
202. Nnalemwa ebbuzi okutuga : terintunuulidde? ( Anaalemwa ebbuzi: )
203. Nnali nkirabye : enseenene eva ku mumwa gwa nsawo
204. Nnaalinnya : omukazi talinnya nnyumba n’egwa munyale
205. Nnaaliira mtofu : ng’alina gy’aliira
206. Nnalubamba : ng’amatu g’omulwadde
207. Nnalubwa : tagenda gy’atuuka
208. Nnalukalala : muzira asegulirwa mu kkubo
209. Nnalukoola : all mu kibira amayu gaggya
210. Nnalulaba : y’alaba embiriizi z’ekiswa
211. Nnalumanya ne Saalumanya : ffenna mwe tugendedde
212. Nnalwalwayo ajja n’ettu : akira Nnayanguwako
213. Nnalwanjo : alya mu basenze abaggya, ng’emmere bajja nayo mu migugu
214. Nnaalwayo : ng’omuweesi ayota omuliro
215. Nnalwemanya : enseenene ebeera ku mumwa gwa nsawo
216. Nnalwemanyidde : ng’omukadde (= ng’omunafu) atabaaza embazzi
217. Nnaalya bibiri : y’ayombya ennyama
218. Nnamaka abirye : afa enjala
219. Nnamaka abirye : tawongera mwami
220. Nnaamanyira ku ki ebigenda ekiro : nga ne Mukwenda yeetikka? ( Osoboleza wa ebigenda: Ebigenda eldro: )
221. Nnambaalaala : omwenge agunywa kisajja
222. Nnampa-Idmalo : ng’ekkisa ly’embwa
223. Nnampa-we-ngwa : ng’ekituuti kya mayiro
224. Nnampa-we-ngwa : ng’envubu ab’oku ttale bagibuuza omusolo, nti ndi wa nnyanja
225. Nnampa-we-ngwa : ng’omukatoliki atalina mudaali
226. Nnamlira-zzibi : nti balo embogo yamutta nti owange bw’azitta atyo
227. Nnamugalula : eyagalula ejjembe ly’enkoko, eribeera ku mutwe gw’embuzi n’eribeera ku kugulu kw’enkoko
228. Nnamugenyi-mubi : y’asuza omulungi enjala
229. Nnamulanda : ng’ekibere ky’embwa
230. Nnamugereka : eyagereka amayembe ag’enkoko n’agaggya ku mutwe n’agassa ku magulu
231. Nnamuldsa : ajjula emyungu n’emikonda
232. Nnamulimi akutuse olwala
233. Nnamungi tafumba : ayokya
234. Nnamunnoona : ebbala erimu terimubuusa na nnyange
235. Nnamunkanga tadduka buko : kubanga bw’osimba effumu n’ajja n’agwako
236. Nnamunswa : alya ku nswa ze
237. Nnamunye tamala kubala nnyumba : buli ezimbwa ng’agirinnyako
238. Nnamunyi w’atubira : ) enkofu teyitawo ) aali tatengejja (= ayisa mu lyato)
239. Nnamusava w’olumu : ) takusisa lunnyo ) takusuuza ntula
240. Nnamusenga edda : effumu akwata lya nnembe
241. Nnamwanjula : nsawo y’Abagwe
242. Nnaamwatulira : abulako munywanyi we (= abulwako munne, = tabaako munne)
243. Nnandiwunye mu kabwebwe?
244. Nnangalongya : ng’atukula ogumu, agabanya ebiri
245. Nnannimi-bbirye : ng’Omunyolo ow’oku muzibo
246. Nnannyini kabya : tayasa, abumbirira
247. Nnannyini kasooli : y’amuwa abaayi bw’aba azikiriza, nti atuuse ekiryabaayi
248. Nnannyini kiggwa ye akiweebuula : anti ng’akiriiramu emmwanyi
249. Nnannyini kitiko : akkuta kibisi (= bubisi)
250. Nnannyini maka : y’agoonoona
251. Nnannyinimu ayomba : nti newakubadde ewunya, nze empoomedde
252. Nnannyinimu bw’atabaawo : ebikere bitemba enju (= beetemba enju)
253. Nnannyini mufu : ye akwata awawunya
254. Nnannyini mulimo : takeera kwota
255. Nnannyini ndwadde, nkugamba nti siisulewo nti leka kundwaza mwoyo
256. Nnanoga taba : ne mbulwa emmanvu
257. Nnantabuulirirwa : alisaabala obw’ebbumba
258. Nnantabwaza (= nnantabweyaliza) : akuba mu ly’enkejje obusomyo (okunyu- nyunta eggumba lyayo)
259. Nnantagambirwa muka-sse : aligambirwa nnyina
260. Nnantagambwa kabi : ng’ekkubo erigenda mu ffumbiro (= ng’ekkubo ly’omu kiyungu)
261. Nnantaganyula : ng’omunafu omugumba
262. Nnantaggwa buto : ng’akafuba k’ennyonyi ak’enkulu n’ak’ento babubaaza bumuli
263. Nnantaggwa buto : ng’ekifuba ky’ennyonyi baagizaala ku Myanga na kaakati bakibaagisa kamuli
264. Nnantaggwa malambula : ng’omukwano gw’olusuku
265. Nnantakiika : nti embuga egabula baganzi (or: eby’embuga biriibwa baganzi)
266. Nnantalabikalabika : ng’ekimuli ky’endaggu
267. Nnantalaga : abula obwagaliro
268. Nnanteebuuza : atema eteri ndagire (= atema eritali ddagire)
269. Nnasajja : ng’omugga omufa ensonzi
270. Nnasajja : ng’omugomo (= omuya) ogutta emmamba (= ensonzi)
271. Nnasala ngatto : kwewonya maggwa
272. Nnaasiwa mu (kaato) kange : asiwa mu ka bukuku
273. Nnasuze lungaaya : asekera wa npenda nalwo
274. Nnatta aga n’aga : embwa yagatta Nnamugonga
275. Nnaatwala kalungi : mu kibira avaamu atyo
276. Nnawalubwa : tagenda gy’atuuka
277. Nnawolovu : tattirwa ku bbala limu
278. Nnaayitanga ku lusozi : aboola ab’oluganda
279. Nnaayitanga n’abagula : abayiisa gubaggwaako
280. Nnazaala omu : kwewonya obugumba
281. Nnazikuno ajeemera kabaka : ng’azimba Bunyolo
282. Nnazze kulya : agenda njala
283. Nneegendera : bw’afa omuliwa nga ggwe wamutuze
284. Nneekutte ku mugongo gw’enjovu : sigenda kufa nnyanja
285. Nnengejja nga olulimi lw’ekide
286. Nneesittadde ku jjinja : ngudde ku lwayi
287. Nneetambulira makubo gange
288. Nnuma kigumba kyange : bwe bukodo
289. Nnume tetinta ng’omugongo
290. Nnyama ntono : okaayana eri mu ngalo (or: mu nkwawa)?
291. Nnyina abaana bangi : eggobe ntitti
292. Nnyini eka w’ataba : ebikere bitemba enju
293. Nnyini ffumu : tasubwa nnyama
294. Nnyini kakomo : bw’akusaba, ossaawo mukono
295. Nnyini kamwa : y’akagerera ennoga
296. Nnyini kiggwa (or ssabo) : y’akiweebuula
297. Nnyini kitimba : tasubwa nnyama
298. Nnyinimu akugoba : nti nnaasula mu bisegguusi?
299. Nnyinimu atiibwa
300. Nnyinimu w’atali : ebikere bitemba enju
301. Nnyini mwana akubuulira : ko ggwe Bambuulira
302. Nnyini nju w’atabeera – – ( Nnannyinimu bw’atabaawo: )
303. Nnyoko abanga Omunyolo : n’akuzaala mu kika
304. Nnyongereza teba ntono – – ( Ennyongereza: )
305. Nnoonya akalungi : avaamu atyo
306. Nnyonyi ntono : yeekemba byoya (= eyala byoya)
307. Nnyweredde ng’akayinja ak’e Nnalubaale
308. N’ojja olimba : nga limuyiseeko
309. N’omugezi awubwa : omuweesi ekyamuzimbya ku kkubo kulagirirwa
310. N’ow’emu : akoomera
311. Nsambu nkadde : ekuliisa amaluma
312. Nsambu y’ewala : ekuliisa kiro (= lwa ggulo)
313. Nsambu y’ewala : temala njala
314. Nsawo tebba : kya mukama waakyo
315. Nsawo y’omukulu : tebula zziika (= tebulamu zziika)
316. Nsawo ya mukulu wo : tekuterekera
317. Nsaaze busaazi : nga gw’asabye amummye
318. Nsekedde mu kikonde : ng’omuwuulu asikidde abataano
319. Nseenene : nva lugendo
320. Nsiba byange : amala ebyayi mu lusuku
321. Nsiba-mbi : edibya mutere
322. Nsibirwa : lw’efa lw’emanyika nnyiniyo
323. Nsiko : teyomba
324. Nsiko : etuyana kiro
325. Nsimbi emu : tekuba nnyonyi
326. Nsimbi emu : tennyombya nga wa luganda y’agitutte
327. Nsimbi mbi : ewoomera mu kyasa
328. Nsimbi tekubalirwa munno
329. Nsimbi tezeeyamba : omutego azitega gumu
330. Nsimbi : ziwoome
331. Nsimbye bwanda obutavaamu
332. Nsirikirirwa nfiirwa : bannyinaze babiri, enkoko emu!
333. Nsisinkano teba – – ( Ensisinkano: ) Munno
334. Nsobeddwa eka ne mu kibira – – ( Eka ne mu kibira: )
335. Nsolo imenyi : bw’esula ku kyalo timwebaka
336. Nsujju mbi : ekunamira ku lulyo gye yava
337. Nsukusa ekulira ku kiteme
338. Nsula mwange : omuwuulu y’amegga
339. Nsumulula osuna : ebiyiika by’oyagala? ( Nsima otakula: )
340. Nsuuta ani? : nga nsuuta omwana wa mwannyinaze, zooboota
341. Nswa emu : ekira eddembwe
342. Nswaswa eteyanula – – ( Enswaswa: ) Rowl
343. Ntadde : omuti guta malagala
344. Ntamala : nga agafumbwa mu kkobe
345. Ntaama ngevvu : bw’ogirabako omukira nga ya mugagga
346. Ntambaazi ya kinyomo : erinnya omuti nga yeetisse
347. Ntambudde ssajja na mwana
348. Ntamu nnyangu – – ( Entamu ennyangu: )
349. Ntasumika bagitonda wabiri : olubugo nga balututte
350. Ntegedde : ow’omumwa ategeera ng’awudde
351. Ntegedde : y’amala abuuza
352. Ntemera ku lwa jjo : tamiramira, akoowa
353. Nte nsibe lw’efa : lw’emanyika (= lw’emanyibwako) nnyiniyo
354. Ntetenkanyiriza ekonya obuto
355. Ntudde entende : ng’omubbi ow’omu nju
356. Ntudde kitebe – – ( Atudde kitebe: )
357. Ntudde nkaabirwa : okutu gye kutuula ku mutwe agandibadde emabega, gye kukuba embuga
358. Ntudde obukonge : Ndawula bwe yatuula e Kyebando
359. Ntujjo nnungi ekusanga na ga lwayi
360. Ntumwa : tefiira gye baagituma
361. Ntuuse mu lyaffe eddemeezi : abula w’alya ekyemisana
362. Ntuzza-liiso : ng’embwa ekubagiza ginnaayo
363. Ntwalanga ku nkumbi ya nnyabo : asula tiyeebisse
364. Ntya mu kibira : nga ekyamukangawo akimanyi
365. Nva enkoto : nga ky’ayokya kiwedde
366. Nva nnungi : tezirwa kugaga
367. Nva za munyaga : ziriibwa wa mwoyo
368. Nve nkoto – – ( Nva enkoto: )
369. Nvuddeko bukumbu : ng’enkuyege bw’eva ku ggi
370. Nvuma ne nvuma : tizaagalana
371. Nzaala mbi : ekira obugumba
372. Nzaala mbi : teweekula
373. Nze embaga zantama : nga ne ky’ayambala
374. Nze mpoza bitono : nga bya musigire
375. Nze ndi kkubo lya mulimba : likala mmanju
376. Nze ndi nseera bweru : bwe nsa bugenda n’embuyaga
377. Nze nnakula sizannya : nga ayambadde olukadde
378. Nze siyombayomba na nnanda zange – – ( Siyomba: )
379. Nziddemu nziddiddemu) mu bisolo byange : nga mulimu n’ez’embuga
380. Nzigyeyo omwoyo : ng’asotta emmere y’embwa
381. Nzira galeekaana : ate ayiisa mwenge
382. Nziyako (= nzigyako) akajanja ak’omuddukizi w’omuliro
Leave a Reply