Engero za Baganda eza – L  – Luganda Proverbs prefix – L 

Engero za Baganda eza – L  – Luganda Proverbs prefix – L

 

luganda proverbs engero

1. Kabaka afugira wala

2. Kabaka akira oluganda

3. Kabaka akussa owuwo : essanja libabula endagala (sso nga ba luganda)

4. Kabaka muzaawula : nga wa malibu asanze we bafumba emyungu (= we balya ekibumba)

5. Kabaka nnamunswa : alya ku nswa ze

6. Kabaka nnyanja : etta n’atavuba

7. Kabaka nnyanja : temanyiirwa

8. Kabaka nnyondo : ekussa buzito

9. Kabaka omuggya : agoba omukadde

10. Kabaka tamanyi birungi : singa ekitoogo ky’afuusa olunyago

11. Kabaka tatta : omusaakiriza y’atta

12. Kabaka tayotebwa nga muliro

13. Kabaka w’akuleka : si w’akusanga

14. Kabamba-ggulu : ng’obwoya obw’omu kifuba

15. Kabambaala : taganya nzige kusula

16. Kabanda-majjwa : n’enkanaga azibuuka

17. Ka bantende : asigaza misiwa

18. Kabbiiri akira omutumba

19. Kabbo ka muwala : kajja kajjudde, kaddayo kajjudde (ng’alina essimba)

20. Ka beene : ng’akummye we kenkana : ng’akuwadde

21. Kabeera kannya : kanditumaze

22. Kabine abina abasajja banne

23. Kabirinnage : obulungi bwamulobera okuwanvuwa

24. Kabizzi kato : kasigulidde enkulu ekkolero

25. Kabootongo asigira ennungu

26. Kabuga ente : ensimbi aina emu (nti ente egwe)

27. Kabugumire : ng’ensingo y’omunafu

28. Kabula-bugyo : ng’omukazi ow’envuma

29. Kabula butegero : ng’ow’obusa asala omunnyu

30. Kabula we kalaga : bakatema ngalo (or lunwe)

31. Kaabulindiridde : ng’ekinnya ekiri mu mulyango bwe kitayasa nsuwa, kime-nya kugulu

32. Kaabulindiridde : ng’enkonge y’oku kkubo bw’etekukuba magenda, ekukuba amadda

33. Kaabulindiridde : ng’omusanvu oguli ku nju bwe gutakuba nnyinimu, ne gugi-ggala

34. Ka buwere : yawanguza Buvuma

35. Kabuze n’empulutu : anti oluwande lw’ekiwuubiiro

36. Kabwa kabbi : kagumya mugongo

37. Kadduubaale tanfuga : nga si mugole wo

38. Kafa omukkuto – – ( Akafa omukkuto: )

39. Kaafuma : ng’ensawo ey’ekiwero bw’egwa mu mugga, towonya kantu, byonna bitobera ddala

40. Kafumu ka muwunda : kafumitira eruuyi n’eruuyi

41. Kagenda kalya : tikalaba nnaku

42. Kagenderere ng’omukadde awuula (= akogga)

43. Kagere kampadde : w’osanga nga balya

44. Kaggwa ensonyi 🙂 ng’omwana abba nnyina (= kitaawe) ) ng’omukazi awoza ne bba ) ng’alya ne mulamu we enswa

45. Kaggwa ka ttovu : kasonsomolera ne gye katafumise

46. Kaggye taba wabiri : ekitembe kissa lumu, wabula ekya Nnanteza

47. Kagubiiru : nga mutwe gw’omusasi (= ng’ensikya y’omunafu) gugenda gwetisse, ate gudda gwetisse (= gugendera mu nku ne guddira mu matooke)

48. Kagulumale : ng’omukazi alya n’abaddu

49. Kagumba tekanyigirwa mu nnoga

50. Kagumba weegoge : ng’emmere y’omulima

51. Kajagira obuguzi : ddamu lye limugoba

52. Kajjamni abalagadde ku bbwa

53. Kakejje ntabula ku mbaga

54. Kakerenda : kaava ku lubaya

55. Kakowekowe kanda : katemereza ne we kataalye

56. Kakoloboto Kabaka yamutuma okuwera ekisiibo : n’ate n’alya

57. Kakulu asomba

58. Kakulu : awo omy a ttooke

59. Kakutungidde enkanamu : ng’ayomba n’ayonsa

60. Kakyama mamera – ( Akaakyama: ) Munno

61. Kakyali kansununwa : leka kaweze oluwombo

62. Kalaba-njuki : y’addira omuliro

63. Kalazaane : tekaggya buliika

64. Kalema ka nsinjo : ekyuma kitema kinnaakyo

65. Kaalengeera : ng’akakka k’abatabaazi

66. Kaliba akendo : okalabira ku mukonda

67. Kaliba kaki akalikugwa ku liiso? : ng’omunaku ayombye n’omwana wa boo- wo

68. Kaliba kasajja : akuliisa engo

69. Kakulu takulirwa : ekyuma tikikulira jjinja (= ennyondo tekulira jjinja)

70. Kalifa aleka kalifa : ekiteme okulekawo ensukusa

71. Kalimi ka mwewoze : kaweweera majja (= kajja kawewedde)

72. Kalimi ka mwewozi : kwegonza kajja ne sembera, nkubuuze

73. Kalimi ke keeru

74. Kalimi-ngobya : nga Kanyolo ak’oku muzibo

75. Kalifa abiri : olonda ejjinja nga kalaba

76. Kalinnimi : ng’omuganzi aloo awolereza

77. Kalonda : ng’omusiri gw’omunafu

78. Kalulwe : ) nnantaliirwa mu nnyama ) tabula ku nnyama omumyuka tabula ku mwami

79. Kalya amaggwa : ke kamanya bwe kagakyusa

80. Kalya bugalula : ng’omumwa gw’emmandwa

81. Kalya buguga : ng’ow’obusa atatereka bugenyi nti baganda bo bwe balijja, oli- bafumbira ki?

82. Kalya kokka : keetenda okulya mpola

83. Ka maanyi – kaliibwa na mbiro (= na ngabo)

84. Kambayaaya kakaabya : nnamube olw’eggulo

85. Kambe kaawaase : tekaggwako masanda

86. Ka mbuukire baaba w’abuukidde : agwa mu ntubiro

87. Kamegga enjovu : kenkana wa? ( Akamegga: ) III

88. Kameze mu luggya : ng’osima? (akatiko) ( Asimba kasooli: )

89. Kaami katono : okanyoomera (= okagayira) mitala wa mugga

90. Kampwerenda : ng’ensimbi egula amaduudu

91. Kamukago : okalya dda, kadda dda ejjobyo liddira mu mutwe

92. Kamu, kamu : gwe muganda

93. Kaamukuulo : embuzi ennume erya olw’eggulo, ng’eraba enjuba egwa ng’efu- ndikiriza

94. Kaamukuulo : ng’ensambu ya kasooli

95. Kamuli kansaze : nga ggwe okagoogodde (= okagogombodde)

96. Kamunye nnamukwakkula

97. Kamunye ow’empaka : y’akubya nnyinimu enduulu

98. Kamunye w’agwa : ) tewabula luyoogaano ) we waba olugambo

99. Kaamuwuube : ng’engalabi y’ekyengera

100. Kamwa kabi : katta Siroganga (= kassa Siroganga)

101. Kamwa kanfudde : ayomba n’ow’omuliraano

102. Kamwa nga ggiira (= ng’eggiira) : aktunwesa omukyala

103. Kamwenyumwenyu : embwa k’eseka mu luinbe lw’ente

104. Kannabubwo : tikakirwa

105. Kanaakuloopa : bw’okawa (= olumuwa) omwenge, kafuka ku mpagi

106. Kanaakutanda : akuwa amazzi, ng’akulekera olwendo

107. Kanaalusomba : ng’omuwuulu amuzza ku mmere

108. Kanaaluzaaln : ng’omuwuulu amulisa ku mmere, y’azuula ekkovu

109. Ka ndabe omusika : bw’alya azaala balongo

110. Ka nduve (= ka nguve) ku ntono : ng’ow’ekibuga asanze (= ng’omuyala atuuse) we bafumba

111. Ka ndye mmalewo : yeerabira olumbe

112. Kaneene : ssala (= bunza) miya

113. Ka nnananyi : mubbi tagenda na ndege

114. Kange kakira kaffe

115. Ka nguve ku ntono : ng’ow’ekibuga asanze we bafumba

116. Ka nkuggye amaggwa

117. Ka nkukyukire : omwana akyukira omulezi

118. Ka nkutte kibwamo : wambwa ky’atta amagi

119. Ka nkwasire : omusamaavu w’amannyo ayasira kasooli

120. Ka nkwetegule : ejjanzi lyetegula mukazi muzadde

121. Kannabwala : Omuyima k’akwata eminyira

122. Kannantebya : ) ng’omubbi w’omunju okumala okubba ate ne yeetaakiriza ) ng’omulubaale ow’okumpi kye yawulidde enkya, ky’alagula eggulo

123. Kano nno keewaniko ng’aka makobe : gabala waggulu ne gagenda kubala nnu- nda

124. Ka nsale (wo) eggoye : omuwa-butwa y’alisalirawo Bubiro

125. Ka-ntanyi kaggweerawo : kafumita-bagenge w’akufumitira w’omweggiramu

126. Kanyinyiggi : omukazi omunafu k’akaaba mu lumbe

127. Ka nzigyewo akabega : Lukoda Baluubu

128. Kapa w’etali : emmese yeekola ebigenyi

129. Kasakkya : n’ataayanike abuuza omusana

130. Kaasa ttaka, nga ggw’osima? : kalisansulira mu ttaka?

131. Kasala becca (= bekkya) : ng’Omunyolo akubagiza Omuganda

132. Kasennya-nku ze yeetyabira : ze zimwokya

133. Kasiru akulembera : kagezi n’ava oluvannyuma

134. Kasiru y’asooka : kagezi ajja luvannyuma

135. Kasita guwedde – – ( Guwedde mirembe: )

136. Kasobeza nga kutu : tikunywa taaba ne kumala kuleeta ebifeetete

137. Kasobeza ng’enneebaza y’omwavu : ajja akaaba bw’omuwa, nti onnanze ki ssebo? ( Omwavu taweeka: )

138. Kasobeza ng’omubbi ow’omu nju

139. Kasobeza ng’ow’ekiwalaata : atudde mu mulyango nga balya ogamba nti mpozzi atunula eno, kazzi atunula mu nju gye balya

140. Kaaso ka mpanga : kalaba n’ekiro

141. Kasookedde obirya (= kasooka mbirya) : leero toobisobole

142. Kasooli alituyombya

143. Kasooli w’e Ggomba : aliibwa na mbiro

144. Kasolo akagenda (akanya) obwoya – – ( Akasuula obwoya: )

145. Kasugga kagoba Idsambu : amazzi tigeerabira gye galaga

146. Kaswa akam : bwe buzannyiro bw’endiga

147. Kasiikuuzi akakubya emmomboze

148. Kataggwa buto : ng’akafuba k’ennyonyi

149. Katagirya : enkoko eribiika

150. Kataligirya : erizaala

151. Katangaala : kakira omuggyemu eriiso (= eriiso eriggyemu)

152. Kateebulanya (= kubennanya) : ng’olutta ow’ettulu

153. Kateegaya : ayingirira basajja banne

154. Kateetemera : alifa olw’okubambira

155. Kateeyanira : kafa omutego

156. Kateezaala : tikaala

157. Katikkiro yafa ndi Mugongo : nti kaakati oli muluusi? ( Okekkera ng’Omu- naawa: )

158. Katiko ka mukyala : okakuba nnoga, nako kakukuba nvuba

159. Kati onsanze : tokasikira mbazzi!

160. Katonda akuwa nswa : ggwe okubirira?

161. Katonda mbeera! : n’embiro naawe ng’otadde

162. Katono : kazira mu liiso

163. Katono keewaza : kakira eddene eddwadde (= erinafu)

164. Katono ko (= akako) : kakira eddene erya munno

165. Katubidde : ng’ow’ekirevu ageregeza

166. Katula keebisse buka : naye mu mwoyo ng’ayogeza ekisa

167. Ka tuwulire : asaabulula eriri mu kamwa

168. Katyupya (= Kacupya) : ng’omunnyu ogukoza lumonde

169. Kawakuzi : awakula ennombo ku bugenyi

170. Kawuulu kagezi : kagenda okunywa ogw’obusogozi, nga kamaze okweyalira

171. Kawuulu-ppumi : ng’omutwe gw’omunafu gugendera mu nku, guddira mu ttooke

172. Kawummunta okw’enjala : okw’ekyengera aba mulambuzi

173. Kawumpuli agenda : n’okuba misota?

174. Kawundo ka mputtu – – ( Akawundo: )

175. Kawunguko : ng’ow’enkedi mu nnimiro

176. Kayaayu : olukaatula erinnya, keekuba ensiko

177. Kayemba nnantabuulirirwa : alisaabala obw’ebbumba

178. Kayindiyindi kalangudde ebijanjaalo

179. Kayinja tekanyigirwa wamu na ttooke

180. Kayisanyo : amalusu n’eddookooli

181. Kayita pirya : ng’ow’obusa agoba akayaayu

182. K’eoma : kamanywa mubambi

183. Ke weerimidde : kakira mbegeraako

184. K’ezaala : k’ekomberera

185. Keezimbira : tikaba kato bw’ogenda okukwata akasanke, ogenda osooba

186. Kiba kibi, kiba kikyo : gwe tikube ekyalo nga balangidde omukadde we – – ( Tekiibe kyalo: Ebya kuno tebiisoboke: )

187. Kibatto : ow’ennungu ku mayinja

188. Kibaawo kimala : amaaso g’omulungi galoga enjala (= amaaso g’omuganzi gama- la enjala)

189. Kibaawo kimala : ennyindo y’enkoko kye kyenyi

190. Kibaawo : ng’ekibugo ekikuuma empindi

191. Kibaaze : ) ng’eky’omwanisi wa taaba ) ensekere ky’eyita mu kiwalaata

192. Kibi kigwana wala – – ( Ekibi kigwana: )

193. Kibojjera ku lwazi : kyesiga mumwa bugumu

194. Kibula abuuza : ng’erigenda emugga

195. Kibula buguzi : kiddira nnyinikyo

196. Kibuyaga agwe mu lusuku : kamunye agwe mu nkoko

197. Kidda walime

198. Kiddimusi (= kiddumusi) : tekinyaga byenda

199. Kidiba kidda wabookyo : essaaniko mu lusuku

200. Kifa mukokko : ng’etonnya mu balaalo

201. Kifa omusana : nkuba y’ekinnyulula

202. Kifundikwa kirinsabira : tafuna bwami (or: ng’asubwa)

203. Kigabo kikadde : akyagala yakissaako omuwambiro

204. Kigambo si mutwalo : nga bakutumye gy’oyagala

205. Kigaanira omuddu : (liba) bbwa lya mu mutwe

206. Kigenda kudda wa? : bw’asanga bw’ayisa bwe kisanga, bwe kikola)

207. Kiggweeso : nga ne gw’oyagala mw’agendedde (= agenze)

208. Kigya n’abagya

209. Kigobero : kikira obugenyi

210. Kigomba kikira omwana

211. Kigudde mu ndira : ekimonde ekinene mu maaso ga muwuulu

212. Kigula engabo kiddawo : ng’eyagigula wa maanyi

213. Kiguumaaza : ng’ente esula ku kyoto bw’owulira efuuwa, nti ekuma muliro obudde okukya osanga vvu jjereere mu kyoto

214. Kiguumaaza : ng’ow’ettulu atemya

215. a Kigwa mu muliro : ng’embaala (= ng’ekiwojjolo)

216. Kigwana gonja : nga bamuzaala mu Busiro

217. Kigwo kya lwazi : bwe kitakumenya mukono, ne kikwasa omutwe

218. Kijja omanyi – – ( Ekijja omanyi: )

219. Kikere : ky’osammuza omuti, oluvannyuma okikwasako ngalo

220. Kikira ennoma okulawa

221. Kikira obusa : afumbirwa muggavu w’amatu

222. Kikonde : kikuba all kum

223. Kikonyogo : bakikasukira (= bakikanyugira) kulaalira ne kijja n’ekirimba

224. Kilcoyo : tekiriisibwa maddu (= bw’okifumbya amaddu tokirya)

225. Kikubuuseeko : ekyabuuka ku mugenyi omu

226. Kikuffiriddeko : ng’endwadde y’enkoko

227. Kikujjuko : ng’ow’ennungu ayita ku mayinja

228. Kikulejje : ekigenda emug,ga n’emmindi

229. Kikuuno : ng’olabye akukuunirako

230. Kikwanguyira : ky’olya

231. Kimala mpaka : kusirika

232. Kimala okwola : bakikwasa engalo

233. Kimaza bbiri (= nnya) : y’aliwa ogw’omugenyi

234. Kimira mwoyo : ng’enkoko emira ensanafu

235. Kimmanje : bwe kita (= okuta), ensuwa nga luggyo

236. Kimpowooze : ng’ogw’amenvu

237. Kimunkumunku : ng’omukira gw’endiga omuliire ku bijanjaalo

238. Kimwa kya mugole : kijja ne siirye, kimala omuwumbo

239. Kimwa-kitoole : ) ng’omukazi alya emmamba ) ng’omusajja alya ebbumba

240. Kimyanku ye mugabe

241. Kinaabataya (= kinaabasobeza) : ng’amatooke amatono bw’ogalya omu, toga-mala bwe mugalya babiri simukkuta

242. Kinaagomba : tikibuulirwa mulunnyanja

243. Kinaakulyako amenvu : kituukira ku kususa olumala okususa ng’alya

244. Kinaataama : tekikomerekeka

245. Kinaayokya nkimize

246. Kinene kya nkukunyi : owanda mu ngalo amalusu n’olyoka okisitula

247. Kinnanga : tekiggwaamu (= tikiggwaako) lumonde

248. Kinnya kya mulyango : bw’otokigwamu mafuluma, okigwamu amayingira

249. Kino kibatto : ow’ennungu ku mayinja

250. a Kino kiggweeso : nga ne gw’ayagala mw’ajjidde

251. Kino kiggweeso : nga gw’ayagala agenze

252. Kino kinyeenya magi! : ng’enkoko ebiika endege

253. Kino kirungi : na kino kirungi

254. Kinsanze n’oluku

255. Kintabuli : amalibu n’omuzigo

256. Kinyiigo tikiyuza lubugo

257. Kinyoola mumwa : nga gw’ageya wa kumpi

258. Kinyonyi kibi – – ( Ekinyonyi: )

259. Kirabise ng’Abaseveni bangi bajja kuddayo mu maggye : kubanga amagatto ne kabuuti baabitunda

260. Kirabwa abangi : omunafu alima ku kkubo

261. Kiralire : wa ddalu tawulira

262. Kiraza mwoyo : ng’ebbwa eridda mu nkovu

263. Kiraza mwoyo : ng’omuwuulu ayimba, nti ndibula naye nti simanyi alibula na wange?

264. Kirevu ntende : kyalekerera wante ne kikwata wambuzi

265. Kireebereebe : ) ng’empagi ey’omu ddiiro ) ng’amazzi g’omukonda gw’essu- nsa

266. Kiriba edda : mmese ya ku mutala

267. Kiriba edda : bw’aliba akootakoota, alingoberera

268. Kiridde obwami : ekyamusengusanga akyerabira

269. Kiridde obwami : tabula muganda we (= tekibula anda zaakyo)

270. Kiridde nnamube : omunaku lw’ayiga okulonda

271. Kiri ewala : mnduzo (= mndo) y’ekireeta (= y’ekiggya)

272. Kiriggwa jjo : ) tekikutunuza ng’alira ) tekikuggyaako munno

273. Kiri mu bbanja : tekinunula mwana

274. Kiri mulaala : ) teyeekolera luggi ) omusigire teyeegulira ngabo

275. Kiri mu ttu : kimanyibwa nnyinikyo (= nnyiniryo)

276. Kirinde kiggweeyo – – ( Linda kiggweeyo: )

277. Kirindizo : ng’aga Lubuga

278. Kirinsanga ewange : emmese efiira mu bunnya

279. Kirintwala ekipaalo : nga ne gy’alikiggya amanyiiyo

280. Kiro kyakulimbye ki? : y’akuzaaza olugambo lw’enkya

281. Kiruyi kya muzaana : kiggwera ku mmere

282. Kiryango kibi : ekiyingiza ababi n’abalungi

283. Kiriibwa atabaala : tikifa busa

284. Kiriibwa omukulu : tekibula nsaano

285. Kiryoka embi : kye kiryoka n’ennungi

286. Kisaala munyazi : nti nnyinikyo eyakifuna anaakaaba musaayi (= okukira ald-funa)

287. Kisala obulungi : kye kikuwa embikka

288. Kisasa : n’ataaweese aganzika

289. Kisawo ky’ataliiwo : kijjula mayinja

290. Kisaayire okitte : akirinda kwa mweya (= kwa kyeya)

291. Kiseke kya munyumya : kijjula malusu

292. Kisekwa abangi

293. Kisenyi (= kyoto) : nnantayombooza

294. Kiserebetu : ng’omukkuto gw’amenvu

295. Kisiibule : omusota bwoya

296. Kisige : tikigatta na nviiri

297. Kisigula ennyana : kigiva mu kibeere

298. Kisikirize (= ekisikirize) : kyeggamwamu musana

299. Kisiimwa omuyise : omutwalirwa tasiima

300. Kisinde kyo n’ekya munno gw’oyita naye : kye kimu

301. Kisisinkana ataakitte : ng’omutamanyapnamba asanze omwenda

302. Kisookondwe : bw’okifumbira mu nva, tozirya

303. Kiiso kya mbuzi : kirekerera omussi ne kitunuulira omubaazi

304. Kisosonkole (kya ggi) : bakisuula mu luguudo

305. Kisugga kya munafu : kye kitema omulima enkizi

306. Kitagenda : azaala abagenzi (= kizaala abagenyi) ekikonde kisindika effumu

307. Kitaka talya : atereka buteresi

308. Kita kitava ku ssengejjero : ye ya nkindo

309. Kitaakule : kizimba mu lumuli

310. Kitali kibbe : eggufa osuula mu mulyango

311. Kitange mmulaba : tekirobera musibe kubomba

312. Kitamu kya muyiga : omuguzi akyegaanagaana

313. Kitasimbwa : kyajja ne mukoka, kimala kibala emyungu emingi (= kibala ebita)

314. Kitatta yima : tekimumalako nte

315. Kitembe kissa lumu : wabula Nnanteza, kye kyassa emirundi ebiri

316. Kitentebere : ng’omusajja alya (= alega) ebbumba

317. Kitentebere : ng’omusajja akubira nva ekifo

318. Kitentegere : bw’okisubula tokivaako nga tekikusiize masanda

319. Kitentegere : we bakyagala we bakituuza ku musala

320. Kiteezaala tekyala

321. Kiti kya muwogo : gy’okisuula gye kimerera (= bakisuula obutadda ne kirokera)

322. Kitonto(golo) : ggumbya ennyonyi

323. Kitta nkimanyidde (= akimanyidde) : ennyanja etta muvubi

324. Kitta engo : kigiyinga buzito

325. Kituuliriro kimala enku n’amazzi

326. Kitundu kya muwogo : bakisuulira butadda gye kimerera

327. Kivu : kijjirira okuluma n’okutwalana

328. Kiwaluko : tikinyaga byenda

329. Kiwanga kya musenguse : kiva we bandikiziise, kigwa ku kubbo

330. Kiweddeko abamanye : akiraza mumwa

331. Kiweddeko endere

332. Kiwola (= ekiwola) : bakikwasa ngalo

333. Kiwooma magaaya : bw’oba okimize tokisesema

334. Kiwombe y’eyiwa amata (ameeru)

335. Kiwotoka tekyala : ) omukalo gw’embogo gugendera mu nkwawa ) eddiba ly’engo balyesiba mu kiwato

336. Kibuuka lubona mawano

337. Kiyenjeezi : kigya n’abagya

338. Kiyiifuyiifu : omugole ky’agwa ku nkyakya

339. Kiyini kibi : kijjukirwa malima

340. Kiyiira omunaku : kigwa mu vvu bazibumbira okufa, ziramira mu kyokero

341. Kiyirikiti kirinnyibwa buwaze : embwa bagikirinnyisa efudde

342. Kiyita waggulu : otega wansi

343. Kiyuuni kiriibwa omukulu : tekibulamu nsaano

344. Kizeezengere : kitta wa mputtu

345. Kizibu okulaba : ng’ekimuli ky’ekira (= ndaggu)

346. Kiziribano : nga gonja omwokere musasa

347. Kizzeeyo : mw’asiimira

348. Kkomekkome : ng’erigenda emugga (= e Bubebbere)

349. Kkomekkome omuzaalisa ku lubugo : bw’olaba ng’atutte olubugo, ng’omwana omu bw’olaba ng’atutte embuzi, nga balongo

350. Kkonde vannyuma – – ( Ekkonde evannyuma: )

351. Kkonkomi bbi – – ( Ekkonkomi: )

352. Kkubo likozza

353. Kkubo litemwa omukulu – – ( Ekkubo litemwa: )

354. Kkubo ly’omulimba – – ( Ekkubo ly’omulimba: )

355. Kkumi limn – – ( Ekkumi )

356. Kkumi lya mpisi : n’obuto nga bugenda

357. Koogera ekibi : ne katatuulira awo

358. Kojjange ammanyi : ekikere kyasubwa omukira

359. Kookolo bba mabwa

360. Kola ng’omuddu : olye ng’omwami

361. K’olya enkya : k’ogwa nako

362. K’onooweeka : tokalinda kusaabaana ttosi (= kusaaba ttaka)

363. Kope : ng’amasavu g’engabi

364. K’osima : k’olya

365. K’otonnaba kumwesa : k’otenda obwogi

366. Kozo mpola, tumalirize : nga munda yanyiize dda

367. Kubennanya : ng’olutta ow’ettulu

368. Kubula mwana : kwesitukira

369. Kufuuyira mbuzi mulere : sso nga teezine

370. Kukaddiwa : kudda buto

371. Kulaba binene : si kuwangaala

372. Kulaba nsega ya museera

373. Kulaba obukulu : akuteebeza Obunyolo

374. Kulemberamu : akulega ntumbwe

375. Kulika empewo y’enkya! Praise for (the work in the field during) the cold of the morning

376. Kulumwetu : ng’ensekere emnga

377. Kulya mungu : buteesokoola

378. Ku mbuga ndivaako bwereere : ennyama anyaga ya vviivi embi nti nno singa anyaze ennungi

379. Kumira mwoyo : ng’enkoko emira ensanafu

380. Ku mumwa kuliko ekkubo

381. Kunaaba kumirungusa : ng’ow’amalibu asanze bafumba emyungu n’ettooke

382. Kunaabeera kubennanya – – ( Okubennanya: )

383. Kunaaza mulungi mabega

384. Kunguyiza : ng’omubbi owa mu nju

385. Kunogola nsingo : ng’ow’ettulu alamusa ababiri

386. Kuno kuseereza : ligenda mugga

387. Kuno kwe kwaffe : takulaga gy’asula

388. Kuno tekuli kabi : yeerabira ekigenyi

389. Ku ntujjo : sikubula musiiwuufu

390. Kuseka kamwenyumwenyu : embwa k’esekera mu lumbe lw’ente

391. Kuseereza ligenda mugga

392. Kusigalawo kuzirinda : ng’omwana w’omufu asaba ow’omulamu olubugo

393. Kusooba si kubba

394. Kusula kudda buto

395. Kutta : kulimu ki? Killing? What good is in that? Referring to war or a skirmish

396. Kutussako-akasiiso : ow’endali k’assa omukukumi

397. Kuwala nswaswa ku lwazi

398. Kuwerekera nsusso : owa busa bw’awerekera ab’ewaabwe

399. Kuwoleza mukazi gye yanobera

400. Kuyitaba wangi – – ( Okuyitaba: ) Rowl

401. Kuyita kulaba ow’amalibu ng’asanze bafumba ebikongo

402. Kuyitira mu biryo : ng’akwagaza olutalo

403. Kuzaala kulimu ki? : nga gwe waza?la takuwulira

404. Kuzaala kulungi : nga gwe wazaala akuwulira

405. Kwa mwezi : baamuleka aale

406. Kwana bangi : weesige batono

407. Kwata n’owaayo : nga yasikira musikire

408. Kwebaka kufa – – ( Okwebaka: )

409. Kwe galaba : omugumba ku bba

410. Kwegendereza : ng’ow’amayuuga ayita ku lutindo

411. Kwe kuwamnya : ng’abulidde embiro nti aligoba wa mmindi

412. Kwemmembekedde : ng’eya wakati

413. Kwe nkuba omuggo

414. Kwerinda si buti

415. Kwetaganya : ng’akyawa gw’ayita naye

416. Kwolera mri (= essalambwa) mu bunnya

417. Kya bangi : ) kibuna ngalo ) kijjula ngalo ng’olabye akwolesako ) kinoga (= kirondamu) nnawalubwa

418. Kyafa kirina ki? : nsawo y’omuwuulu

419. Kyaffe babiri : bw’efa esula

420. Kyajja na mazzi : ne kibala ennunda

421. Kya kagambwa : ng’omuwuulu anaatuuma nnyinimu erinnya

422. Kyakatuuka : tekibula mutengeetero (= mutengeeto)

423. Kyakayiga bw’akuba engalabi : tayimbirira

424. Kyakonye : tekiwulira muliro

425. Kya kuba : tagaanira muggya we

426. Kyakula ggala : ng’emmese esula omw’omunafu

427. Kyakula ndaba : ennyanja etta omuvubi

428. Kyakulumbye : tekizzikayo

429. Kya kuno bwe kityo : avuma mwami

430. Kyakuwangaaza : k’omere ejjobyo ku mutwe

431. Kya kwambala : kitambye amagero

432. Ky’aleeta : tokizzaayo

433. Kyalemye : ng’omwana alemye nnyina okumubuulira

434. Ky’aligamba : ndikikola

435. Kyali ky’obulungi : kifuuka kya bubi

436. Kyaliiro kya mmere : bakyagalira mu ddiiro

437. Kya maanyi : kiriibwa na ngabo

438. Ky’amukoze : enkoko ekikola baana baayo ky’ejje ebazaale ng’ebafuula ntebe

439. Ky’amukubye : Kawuta akikuba ente mu lubiri

440. Kya mummi : okiriira ku mwana

441. Kyassanga : akomereza ndu

442. Ky’atalabangako bwe kituuka : taldtegeera

443. Ky’aterekera omulamu : tekivunda

444. Kyazze : tekizzikaayo

445. Kye banjagaza : bw’atabaala tadda

446. Kye baanoonyezanga embazzi : kibuyaga asudde

447. Kye bavumagana : kye balya

448. Kyebonere : ng’amasavu g’engabi

449. Kyebonere : ow’entumbi ng’ameze ebbango

450. Kyegombe : tekirwa kubula (= kuggwawo)

451. Kyejjusa : ng’eyakwana ow’amayuuga

452. Kyekango : tikimanya muzira

453. Kyekulumbaza sikirya : effa-mpewo ndiwa nnyinimu

454. Kyemanyikiriza : ng’abaleeta omumbejja omubi

455. Kyemanyikiriza : nga Munnabusiro omubbi nti ndi ku Bbira awo

456. Kyemanyikiriza : ng’omulungi eyeetuuma Nnabiweke

457. Kye ndikuwa olikwasaako ebbiri : akuwa lumonde wa bikuta

458. Kye nkola bannange : saagala bakinkole ng’omubbi bamubbye (or: ng’omu-sezi bamuseze)

459. Kinkubidde mu nnimiro : ) n’okubunga ng’obunga ) ng’ezzimu eggumba

460. Kye nkulekera olyanga : bwe yeerabira ensawo, akoma mu luggya ng’agiddira

461. Kye nkwagala : kin mu jjinja

462. Kye nnalaba ewattu : sikitenda mu ddya

463. Kyenyi kibi : tekirukirwa nkundulu omala nga bambalikawo

464. Kyenyi ky’empumi : tekirukirwa nkundulu

465. Kyenyi ky’omubi : kisabira omulungi amazzi

466. Kyerabirwa mugambi : naye omugambibwa takyerabira

467. Kyeresebwa : n’okiwa munno

468. Kyereeta : ng’omususi w’amenvu

469. Kyerondera : taba mubbi

470. Kyeroopa : nga w’ettu ly’empande

471. Kye sirya, mbuusa : omuyaayu ndaba ddiba

472. Kyetta ng’eya zigoto : amayembe ezza mu kyenyi

473. Kyetunda : ng’ow’ettulu asima enju

474. Kye wajja okulaba, olyekkaanya : omunya gwekkaanya omunyale

475. Kye walabye : kye kiba ekikyo

476. Kye-walyanga : bw’olaba ennaku olekayo

477. Kye wazadde : tekiba kibi

478. Kye weetema olwadde : bw’owona tokiwa

479. Kyeyagalire : bbwa lya njola

480. Kyeyendere : bbwa lya njola bwe likutanirira, tonyiiga

481. Ky’ofa togabye : Walumbe y’agaba (= akigaba, = akikugabira)

482. Ky’ofuna oyagala : bwe kikudibirira (= bwe kikutamirira) oyita Katonda, nti Ayi Katonda, singa okinzigyeko!

483. Kyogereko : tekirema kubaawo

484. Ky’ojje obege : ng’oli ku bbiririvu

485. Ky’okisa ewannyu : omulubaale y’akyogera

486. Ky’okoze, enkoko – – ( Ky’onkoze: )

487. Ky’olabako ky’obuuza? : nti Endiga yazaala bumeka?

488. Ky’olaba omu : kikussa matenda (= makunga)

489. Ky’olabye : gonja akiraba kwa njala

490. Ky’oleka ennyuma : kye kikusinza

491. Ky’olimba obuko : kye kibutta ndikuttira enswa, ng’ekiswa kikotera

492. Ky’olyako omuddu : kye kikuseenyeza enviiri ku mutwe

493. Ky’olyako omujjwa : kye kimuyombya

494. Ky’omanyiira bwe kiba : emmese tetomera mpagi

495. Ky’omanyiira bwe kiba : amaaso g’omunya tegafa munyale

496. Ky’omanyiira tokitya : envubu tetya nnyanja

497. Ky’omummi – – ( Kya mummi: ) ,

498. Ky’onkoze, enkoko ekikola bwana bwayo : ky’ejje ebuzaale, ng’ebufuula ente- be yaayo

499. Ky’osimba onaanya : ky’olyako ettooke

500. Ky’oteebeza embazzi : kibuyaga asudde

501. Ky’oterekera omuganzi : mukyawe y’akirya

502. Ky’otobuulirako munno : ) enseko zikiyitako ) emmese ekibba

503. Ky’otolya : okiwa banno ne bakirya

504. Ky’otoolye kukkuta : okirekera abaana ne balya nnasswi takwata ku nkejje

505. Ky’otoolye : tokigobako mbwa

506. Ky’otomanyi bwe kiba : amazina ag’ekirevu olabira ku mmere

507. Ky’otomanyi : matooke magoye togamanyi muwendo

508. Ky’otonnalya : tokyesunga ettooke balitutte kiro

509. Ky’otonnalya : tosooka kwasama

510. Ky’otoowe mukulu : tokimulimba

511. Ky’owa omutomi : olyako

512. Ky’owola otudde : okibanja oyimiridde

513. Ky’oyagala kikuseeza : Omunyolo amalibu gaamuttira olubimbi

514. Ky’oyagala : okigundiza

515. Ky’oyagala tekijja gy’oli : Nnabuzaana akwata Banyolo

516. Ky’oyagala tekikwagala : gy’okuba olubuto, entumbwe ekubayo mabega

517. Ky’oyagala tekikwagala : omwana wa mwannyoko akula nga nsujju

518. Ky’oyagala tekikwagala : singa emmere esula mu ttama

519. Ky’oyagaliza embazzi : kibuyaga asudde

520. Kyuma kitya muweesi

 

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *