Engero za Baganda eza – E – Luganda Proverbs prefix – E
1. Ebbala erimu erya nnamunpoona : terintwala mu nnyange
2. Ebbanja terigenda eri bbanja
3. Ebbanja terivunda
4. Ebbula bikola eritemeza enku
5. Ebemba tekyala : etabaala
6. Ebibuuka bitalagaanye : bikubagana empawa
7. Ebiddawo tibyenkanankana : enkaajumbe temala nju
8. Ebifa mu nnyanja : omuvubi abimanya
9. Ebifiiramu bye bigunyuza : omugenyi tabuuza mutwe gwa nkoko
10. Ebigambo bikira ennoma okulawa
11. Ebigambo bingi : empapula ntono nga tabimalewo
12. Ebigambo biyita
13. Ebigambo bya kuno bingi : ng’omwami y’asuza ababbi
14. Ebigambo bya kuno nga tibyekweka : nga bamugambye gw’ayagala
15. Ebigambo byangu : omukwano muzibu
16. Ebigambo maluma : tigaggwa mu kamwa
17. Ebigambo si mutwalo
18. Ebigere bya mbogo : babyegera ng’egenze
19. Ebigere byantunda : amala okutamwa
20. Ebigere kkumi ttunda : bitunda nnyinibyo
21. Ebigwamu bye bitwala embwa mu katale
22. Ebigwawo tebiraga : Wandiga atambula n’omwana we
23. Ebijjula mu mwoyo : akarnwa bye koogera
24. Ebikongo biwunya ttaka : nga mukadde wo y’abifumbye
25. Ebikunku ebigenda embuga : tebidda bwereere
26. Ebikwatibwa n’omusibe tibitonda : tibibalibwa mu kuliwa
27. Ebinaku n’ebinaku byagalana : emlogoma bw’erwala, ensiri y’erumika
28. Ebinene n’ebinene byagalana : enjovu temenya muvule
29. Ebinene n’ebinene tebisibagana : ttimba singa asiba enjovu
30. Ebingi bikukula
31. Ebintu bifunibwa mulamu
32. Ebintu bwe bigwamu obuzito : ekikere n’emmese benkanya embiro
33. Ebintu tebifaanana abifuna : singa emmese eyitira mu nveera
34. Ebinywera bye bigenda : omukazi yasiba embwa ya bba ku mugugu (= mu-gwa)
35. Ebirabwa si bye bitendwa
36. Ebireetereze : wa maaso by’aleetereza wa mwoyo
37. Ebiriko akuluma : tiweegaana ng’akuloopye wa mu nju
38. Ebirungi birekwa : ) embwa yaleka enseko ) Nsingiisira aleka omuwemba
39. Ebirungi birekwa ku kibuga : oleka omujaguzo evuga ng’oserengeta mu kyalo
40. Ebirungi biri wala
41. Ebirwa bikyuka : amalusu gafuuka engeregeze
42. Ebirwa byerabirwa : singa abafu baziikulwa
43. Ebiriibwa mu ttoggo : byogerwa mu ddumbi
44. Ebisenge by’omuyiisa : tebiggwamu mwenge
45. Ebisula byefuula : omutabaazi yeefuula omwayi (= omunyazi)
46. Ebitabira : biddira mmindi
47. Ebitabo butiko : obutali bulungi butta
48. Ebitali bigabane : bwe babyanuka (= babinyaga) biba by’omu
49. Ebitali byetegeke : embwa bwe bagikuba, omukalo edduka
50. Ebitimba bingi : bitta ensolo
51. Ebitooke bindaaluseeko : kwata kimu n’okissa mu nvuba, bisooke bijee-mulukuke
52. Ebitono biggwa byokya : ) eddiba ly’ensiri likalira mu ngalo ) omukazi tabegera bba busera
53. Ebukojjaabwo : teva wa lubu lwo
54. Ebukojjange banjagala : ng’adda ku nnyoko waali
55. Ebunga : teba ya kisibo
56. Ebweru teremerwa
57. Ebya bangi biwunya ngalo : nga wali oliddeko
58. Eby’abasumba biggwera ku ttale
59. Ebya Buganda : bya kulya na kugula
60. Ebya gundi bya Mwana wa Mukama
61. Ebya kuno – – ( Bya kuno: )
62. Ebya kuno tebiisoboke : nga bamuwaayiriza mukazi mukadde
63. Ebyali ebyannyu babikuseera : enkejje amazzi bagigaseerera mu luwombo, nti ofukamu matono
64. Ebyama ebikulungutanye : bye bizaala ensobi
65. Ebyanfudde bingi : ) agula mutwe gwa nte nti singa oguze enjere eya ssava, ne tumanya bwe bikufa ) enswa eruma mumwa
66. Ebyange tebinfa bwe bityo : gwe mpola embuzi, ampa nte
67. Ebya nkwegayiridde : bimenya omukono
68. Ebyayanga : emmese by’erya mu kifulukwa
69. Eby’e Buganda – – ( Eby’Obuganda byetegerezebwa: )
70. Eby’embuga bijja kiro : obireke bijje
71. Eby’embuga bimalibwa omuzadde
72. Eby’embuulano tibyala (= tibyeyamba) : ) bw’ofuna nnyoko, kitaawo abula ) gy’osiba (= gy’oterekera) embuzi, enkiringi tizidda ) omuwuulu bw’afuna enkoko, omunnyu gumubula
73. Eby’enkwatakwatanye : ejjembe ly’enkoko ku kugulu
74. Ebyo bireetereze : w’amaaso by’aleetereza wa mwoyo
75. Eby’obugagga ddiba : afuluma awalulira gy’ali
76. Eby’obugagga ntuuyo : bw’owummula nga bikala
77. Eby’Obuganda : byetegerezebwa nga kye bakutuma okireese
78. Eby’obukanga tibiggwerawo : kafumita-bagenge w’akufumitira omuggirawo
79. Ebyo bya mukazi na bba
80. Ebyo bye binkanga : ng’omuwa-butwa awulidde kizuuzi
81. Eby’okufuna : bikanula ttulu
82. Eby’okulya bigonza engalo : eyakuwa omukazi omulaza olunwe
83. Eby’okulya tibyandeeta : ng’omugenyi akiina nnyinimu
84. Eby’okuwa bifa obusa : Abanaawa basuuza bbaabwe
85. Eby’olutabaalo tibidda ka : nga tibannakosa mu bbwa
86. Eby’omugagga bijja (= biyingira) kiro : bw’alaba ekikere (or: ekisolo) ng’agoba
87. Eby’omugagga bijja byokka : omusota tagukkiriza kujja gy’ali
88. Eby’omugagga bivunda : bw’alwala ebbwa, ng’anyiga (or: sso ng’ebbwa bwe limukwata ng’anyiga)
89. Eby’omu nju : tebittottolwa
90. Eby’omuweereza : bye bigula omwenge eddenge teete teete
91. Eccwampa tebula byayo
92. Eddagala ekka : lye lituuka ku ndwadde
93. Eddalu ekkazi : likongooza bba waalyo
94. Eddiba likaze : ennyomo zikolonge
95. Eddiba ly’empala-kitale : basoosootola emmere nga bakomerera mmambo (ge maviivi)
96. Eddiba ly’empala-kitale : erirezebwa amaviivi
97. Eddiiro likunnaanya
98. Eddya eddungi : lifumbiza ne waalaga
99. Eggayana (= eggayano) liggwe ku kyalo eggayannano: )
100. Eggeyenguzi ligeya omwami
101. Eggumba ndiwe ani? : nga gw’anaaliwa amulabye
102. Eggwanga ery’okumpi : terirwa kudda
103. Eggwanga n’eggwanga : liggwera ku mwenge
104. Eggwanika ly’omugagga n’ery’omwavu lye limu
105. Eggye ekkise : lirwanira mu kyama
106. Eggye lya Kabaka : teriggwa nnyuma (= mabega)
107. Egindi wala : nga tekuli mumanyi
108. Egwana mpotofu : ng’alina ky’aliira
109. Eka egwana mukazi ne bba : atalina mukazi azimba ekibanja? In a home there should be wife and husband : does a man with no wife put up a plantation?
110. Eka eteefe – – ( Teefe: )
111. Eka ne mu kibira : nsobeddwa
112. Ekiba ku mulungi : kimanyibwa dda
113. Ekibandula enzige : guba musana
114. Ekibanyi kigudde n’amenvu
115. Ekibaawo kimala : omukwano guloga enjala
116. Ekibaawo kye kimala : ennyindo y’enkoko kye kyenvu
117. Ekibbirize : si kigwo
118. Ekibi kigwana wala : ne kitaba ku luuyi lwammwe
119. Ekibi kikira ennoma okulawa
120. Ekibi tekibula musombi : ekigere kitunda ekiwanga e Bunyolo
121. Ekibi tekirinda agenze mugga
122. Ekibojjera ku lwazi : kyesiga mumwa mugumu
123. Ekibuga kifukamiza ente
124. Ekibulako obukulu : tikifa
125. Ekibula omwavu : kye kimutta
126. Ekibunza eggwaatiro : eba enkuba okuyinga
127. Ekidiba kidda waabukyo : essaaniiko mu lusuku
128. Ekifa mu ffumbiro : omufumbi ye y’abika
129. Ekifa mu nnyanja : kibuuzibwa muvubi
130. Ekifaananyi : kissa ensekere
131. Ekifaananyi : si luganda
132. Ekifo ekimu : tekisala magezi
133. Ekigaluza ow’ennombe : ng’owa ky’obinda akuli bubi
134. Ekigambo ekirungi : kisuza mpisi ku lugo
135. Ekigambo ky’emisana : tekiggwa bumu
136. Ekigambo si mutwalo : nga gye bakutumye oyagalayo
137. Ekigambo tekitomera mpagi : singa eby’omu luuma bitomera emiti
138. Ekigaanira mbegera : mmere kuggwa mu ddiiro
139. Ekigaanira omuddu : liba bbwa lya mu mutwe
140. Ekigere kikyali ku ttaka : tikyewala nfuufu
141. Ekigere ky’omukopi : ye nvujjo ye
142. Ekigga kibi : tikifa nsonzi
143. Ekiggwa : tekiba kinene
144. Ekiggya omwoyo omubi : kiba kitono
145. Ekigugu kya kabaka : kyeziziko
146. Ekigwa : toddira
147. Ekigwo ekimu : tikirobera baana kuyimba
148. Ekigwo kya lwazi – ( Kigwo kya lwazi: ) Rub
149. Ekijja obunaku kyemanya : ) ejjanzi terigenda na nzige ) eriiso lijja n’obu-kwina bwalyo
150. Ekijja omanyi : kikunyaga bitono ekiddukano tekinyaga byenda
151. Ekika kisiridde : olubugo mu nkwawa
152. Ekikoloza omubbi (= engabi) : buba buyingirwa
153. Ekikonyogo bakikasukira kulaalira : kidda na kirimba
154. Ekikozza alima : kye kimunnyulula
155. Ekikukubya nkuba : okiriira wakalu
156. Ekikula kyerabira ekyakikuza
157. Ekikulejje : ekikubira engalo emabega ne kimala kuyimba bulungi
158. Ekikuli wala : empenduzo y’enona
159. Ekikusamiza : kye kikusuula mu muliro
160. Ekikuwa obulema : kye kikuwa amagezi
161. Ekikwanguyira naawe okyanguyira : ) ekikajjo olya kibisi bw’olya ekyokye, ng’oli mulwadde ) empogola we yeeyasiza w’ogisusira ) eryenvu olya bbisi
162. Ekikyo kikyo : n’ekya munno kya munno
163. Ekimala mpaka : kusirika
164. Ekimala omugole ensonyi : byeyazike nga babizzaayo
165. Ekimanyire bwe kiba : emmese tetomera buziizi
166. Ekimmanyimmanyi kikwasa – – ( Olummanyimmanyi: )
167. Ekinaagomba : tikibuulirwa mulunnyanja
168. Ekinaakulya kijja olaba : ekiwalaata mu masega
169. Ekinaakulyako amenvu : kisookera ku kususa
170. Ekinaakulya ogoba kijja (= okubirira kijja)
171. Ekinatta amaka (= nnyini maka) : tekyeramba luggya
172. Ekinaawola kikwokeza ki?
173. Ekinene kigenda na kusingirwa : enseenene zigenda na vvu
174. Ekinene kigenda na nduulu
175. Ekinene kye kimira ekitono : emmamba emira enkejje
176. Ekinene tikyetwala : kabaka ayingira ewa Kibaale
177. Ekinogezi ekibeera mu ttimpa : kye kikukombya (kikongobya) engalo
178. Ekintawa : naawe kirikutawa
179. Ekintu ekirungi : kikuleetera obubbi
180. Ekintu tekiwoomera matama abiri
181. Ekinuuno tekimala munnyu
182. Ekinyiigo : tekinyuza lubugo (or: bulago)
183. Ekinyonyezebwa abangi : tikibula alaba
184. Ekinyonyi ekibi : kibaagirwa (kimaanyirwa) mu bangi
185. Ekinyumu ekingi (= ekiyinga) : kireka (= kyaleka) emmese obuwuulu
186. Ekinywa ky’amaggwa : akisiba y’amanya bw’akyetikka
187. Ekiragala kya kibira : tikibikka lusuku
188. Ekiri wala – – ( Kiri ewala: )
189. Ekiriggwa jjo : ) tekikuggyako munno ) tekikutunuza ng’alira
190. Ekiriko atuma : ne nnamukago atuga
191. Ekirikutta kye nditta : wabula ennyanja n’omuliro
192. Ekiri mu bbanja – – ( Kiri mu bbanja: )
193. Ekiri mu ttu : kimanyibwa nnyiniryo
194. Ekiri omwange : akwettira obufumbo
195. Ekiri waggulu bwe kiribwatuka : omwana aliyita nnyina
196. Ekiri waggulu : kirwaza enkoko olukya
197. Ekiroga emka : kusirika
198. Ekiro kyakulimbye ki? : y’aleeta olugambo lw’enkya
199. Ekirungi kyeresebwa : n’okiwa munno
200. Ekirungi mannyo : oseka obikkako
201. Ekirwa mu mutwalo : kiwumba
202. Ekirya atabaala : kye kirya n’asigadde eka (= n’asigadde eka kimulya)
203. Ekirya omunaku : tikimalawo (ekisolo)
204. Ekiriibwa omukulu : tikibula nsaanu
205. Ekiriisa enkoko omuddo : budde kuziba
206. Ekiryo ekinaakuwonya : kikusooka obugujju
207. Ekisa ekitagaana : kizaala obulimba
208. Ekisa ekiyinga : kikulumya ejjenje
209. Ekisa ekingi : kitta obwami
210. Ekisa kitta : n’enge (etta)
211. Ekisa ky’omugumba : kijja emmere eggwawo
212. Ekisa ky’omuzadde : kijja emmere eggwawo
213. Ekisala : kye kikuwa enjaliira
214. Ekiseke ky’omunyumya : kijjula malusu
215. Ekisigula ennyana : kiva mu kibeere (= kigiva mu kibeere)
216. Ekisiimibwa omuyise : omutwalibwa tasiima
217. Ekisinde kyo n’ekya munno gw’oyita naye : kye kimu
218. Ekisirisa afumba : ajja okulya takimanya
219. Ekisooka kye kikulu : ebigere bisula mirannamiro
220. Ekisolo tekirya munaku
221. Ekissa omukwano gwabwe mawolu
222. Ekisuula entabi : kye kikuwa entindira
223. Ekita ekitava ku ssengejjero : ye wankindo (= ya nkindo)
224. Ekitagaanwa musana : bwe bakugoba mu luggya ogwotera mu nsiko
225. Ekitaggwa ku ssengejjero : ye wankindo
226. Ekitaakule : kizimba mu lumuli
227. Ekitakusaagirako : naawe tokisaagirako evvuuvuumira tirisaagira ku mwennya-ngo
228. Ekitali kikyo : bbeere lya muto
229. Ekitaliiko bukojja tikiriibwa : ekitooke n’ekitembe
230. Ekitali kyetegeke : omukalo gugoba embwa
231. Ekitali kyogere : enseko zikiyitako
232. Ekitali kyogere : kizimba ku mwoyo
233. Ekitaliiwo : tekikaabya (= tekiriza) muto (= mwana)
234. Ekitalo mazuuku : omwana okulya munne
235. Ekitaliibwa tikirema kwala : ekikere kyayaza ennyama ku mutwe
236. Ekitamba (= ekiziyiza) mka : kusirika
237. Ekitasala kizigigwa omutaka
238. Ekitatengezza : tikizza nvuma
239. Ekitatta Muyima : tekimumalako nte
240. Ekitava ku ssengejjero – – ( Ekita ekitava: )
241. Ekitayogera : tikirema ayogera
242. Ekitembe tikissa mirundi ebiri : wabula ekya Nnanteza
243. Ekitentegere bw’okisubula tokivaako nga tikikusiize masanda
244. Ekitentegere gye bakyagala : gye bakyaliirira omusala (or: gye kituula ku nketo)
245. Ekiteezadde (= ekiteezaala) tekyala : kasooli agoberera muyini kwekoota
246. a Ekitooke : kidda walime
247. Ekitooke kyenkanya ne bannannyinimu
248. Ekitta akimanyidde – – ( Kitta nkimanyidde: )
249. Ekitta amaka : tikyeramba (= tikyewanga) luggya olumbe lwa ndiga luva mu luggi
250. Ekitta engo : kigiyinga buzito
251. Ekitta obuliirawamu : gaba mawolu
252. Ekitta obusenze : buba bunaanya (= bunafu)
253. Ekitta omukwano gw’abato : nseko
254. Ekituuliriro (= ekituulirizi) : kimala enku n’amazzi
255. Ekitundu kya gonja : kyamponya enjala ku Mulago
256. Ekitwala omwaka ewala : nkuba kubula (= eba nkuba obutatonnya)
257. Ekivume : tekimenya ggumba
258. Ekiwemula omukuumi w’awaka : mawolu
259. Ekiwera mbegera : emmere okuggwa ku lujjuliro
260. Ekiwera mu ttama : kye kikuwa envunyuula (= engaaya)
261. Ekiwooma : kye kifulula obukulu
262. Ekiwoomereze ekitata (= ekitaggwa) : kizaala enkenku
263. Ekiwotoka tikyala : omukalo gwa njovu bagufumba mu nsaka
264. Ekiwuugulu bwe kikaabira mu luggya Iwo : ng’ennyumba omenyawo
265. Ekiwuka ekitaluma : ye nte y’abaana (abato)
266. Ekiwumbya engalabi : guba mwenge okubula
267. Ekiyini kibi – – ( Kiyini kibi: )
268. Ekiyinula ennyana – – ( Ekisigula ennyana: ) Munno
269. Ekiyiira omunaku : kigwa mu vvu
270. Ekiyisanyo : amalusu n’eddookooli
271. Ekiyita waggulu : kirwaza enkoko olukya
272. Ekiyita waggulu : otega wansi emngu terya bire
273. Ekiyombya mwannyoko : ky’otenderako balo mumwa?
274. Ekiyonjo ekitono – – ( Omuyonjo omufunda: ) Munno
275. Ekizeezengere kibaguliza okukaaba
276. Ekwata omwami : tereka muganzi waka
277. Ekya bangi : kibuna engalo
278. Ekyagaza omubi : omulungi takimanya
279. Ekyajja obunaku : ejjanzi sirigenda na nzige
280. Ekyakutuma okusamira : kirikwokya omuliro kinaakusuula mu muliro)
281. Ekyalo ddiba lya mbogo : terizingibwa omu
282. Ekyalo ekitaliimu busikwasikwa : kizikirira
283. Ekyalo ekivuddeko omumanye : okiraza mumwa
284. Ekyalo ky’omukadde : jjingirizi
285. Ekyana ky’endiga : kiwooma kikyali kito
286. Ekizikiza kiyamba mumizi
287. Ekizirakizira : omukazi tabegera bba busera
288. Ekkerenda liva mu lubaya
289. Ekkonde evannyuma : lyasa omutwe
290. Ekkonkomi ebbi : lye linnannyini kigagi
291. Ekkubo erimu : lyassa wamusu
292. Ekkubo litemwa mukulu : nga tebannabagoba
293. Ekkubo ly’omulimba : liba ku lusebenju (= likala emanju)
294. Ekkumi limu : terikyawa omu
295. Ekkoma-mwaka : n’ebyayi osala bingi
296. Ekuba omunaku tekya : esigala ku mutwe
297. Ekyanika taaba bwe kikubirwa enkuba ebweru : nga nnannyinikyo taliiwo
298. Ekyasooka kye kikulu : akakowekowe ke kakulira ekirevu (= enkowekowe zikulira ekirevu)
299. Ekyasooka kye kikulu : eky’ensuuti ky’enkoko sikyetikka
300. Ekyatta omwami nnakimanya : nti lwaki tewakyogera nga tannafa (= nti ekyakulobera okwogera awo kiki)? ( Olwatta: )
301. Ekya weeraba : tikikuzibiriza budde
302. Ekyekango : tekitya (= tekimanya) muzira
303. Ekyekulumbaza tikituuka wangulu : singa enjovu etuuka ku bire
304. Ekyengera amangu : kivunda mangu
305. Ekyenyi ky’omubi : kye kisabira omulungi amazzi
306. Ekyesiga omumwa omugumu : kye kibojjera ku lwazi
307. Ekyetimbwa : kikira ekyebikkwa
308. Ekyeyagalire : tekiri nga kikwatire (= tekikalaza)
309. Eky’okulya : kikalula ttulu
310. Eky’okwebikka kirintwala ekialo (= ekiwaalo) : ng’alabye bwesigiro (or: ng’olina gy’okisuubira)
311. Ekyonooneka nga mmwenna mulaba : tokinenyeza munno
312. Ekyuma eky’omuto : kikuggya empeesa embi
313. Ekyuma kitya muweesi
314. Ekyuma okikube nga tikinnafuyibwako mpewo
315. Embaga enyuma kiro : bw’atagenda kubba, agenda kulwana
316. Embaga ya mangu : n’ow’ettimpa aleeta
317. Embazzi bagisaasira amalinnya
318. Embi erumira ennungi okugitta
319. Embiro entono – – ( Mbiro ntono: a)
320. Embiro za wakayiba : tezimalako lusuku
321. Embooge bw’ekona : ) enjagi totegana kusumulula ) muwogo tosumulula
322. Embogo ezaala : n’omutyuma guzaala (or: ne Mucuuma azaala)
323. Emboozi endagirize : egwana bayomba
324. Emboozi ennungi : ekaatuula (= ekaatuusa) eminyira
325. Emboozi ensuulane : egwana abayomba
326. Emboozi k’egwe amakerenda : ng’omuyala atuuse we bafumba
327. Emboozi teba nkadde : nnyiniyo y’agikaddiya
328. Emboozi tenyumye : ng’asanze eky’okulya kiwedde
329. Embuga ekwagala – – ( Mbuga ekwagala: ) Rub
330. Embuga ky’ekuwa : kye kibeera ekikyo
331. Embuga teba lusuubo
332. Embuga tesiibulwa : nga si muganzi
333. Embuga tezannyirwa
334. Embugo ziwooma ntono : nga yeebikka bbiri, nga yeesiga ezo okumumala
335. Embuulire tefa yonna
336. Embuuze ze nva : nga mwannyoko y’azifumbye
337. Embuzi bw’eva ku nnyiniyo : era n’omusumba tagisobola
338. Embuzi ekogga : nnyiniyo n’agisanga
339. Embuzi mulanga : amaziga bbule
340. Embuzi terya ntula : nga yalabira ku nnyina waayo
341. Embwa bw’ebula agyasira : teyigga
342. Embwa bw’eggwa amaanyi : nga n’amaddu gawedde
343. Embwa bw’olaba egoba ow’ekiwempe : ng’ow’eddiba tooyite
344. Embwa engizzi (= enjizzi) : ezaala enkolya
345. Embwa ennyingi : ziwabya omusu
346. Embwa eyiggira gaayo : n’aga mukama we
347. Embwa tiyeerabira yagyola
348. Embwa yange tebba : ng’eyise ku lwa taaba
349. Embwa zaafa : amagunju gayinaayina
350. Embwege ziwa emmere obwami : nti emyuse ey’eggulo gye banaafumba jjo eriba Ssekiboobo nandiki Mukwenda?
351. Emikkuto egyenkanankana : gye mikkuto
352. Emikwano efa : ow’omuliraano n’atakukyawa
353. Emirembe ngalo : buli ogujja gukira gunnaagwo (= tigyenkanankana)
354. Emitawaana emingi : gikukuliza enjala ku ngalo
355. Emitawaana emingi : gyaziyiza wannyindo okwekolera oluggi
356. Emiti emito : gye giggumiza ekibira (= gye kibira)
357. Emitwe emingi : gye givaamu ebigambo
358. Emitwe emingi : mwe muva ekigambo ekituufu
359. Emmamba tefa ttama
360. Emmandwa lwe bagisingira : tesula (= ng’egenda)
361. Emmeeme ekutundugga : nga kanyonyi akakwate mu ngalo
362. Emmeeme engwa : ng’olabye akuwa
363. Emmeeme etujuba (= etefumba) kigambo : ekwogeza munno ky’atalyerabira
364. Emmeeme ewuula n’etefa
365. Emmeeme gy’esula : ebigere gye bikeera
366. Emmeeme katale : ky’esiima ky’egula (= oli ky’asiimamu ky’agula)
367. Emmeeme si bigere : etuuka gy’otootuuke nga olowoozayo
368. Emmeeme y’omukulu : esirikira bingi
369. Emmeeme y’omutambuze : eruma madda
370. Emmere embisi tekubya mukazi : kubanga akusaasidde enjala
371. Emmere ennyingi : etta mwana wa boowo
372. Emmere ewooma eggwaawo ng’oyagala
373. Emmere ey’abatabaazi gye bagenda balya : twayita muno nga tweriisa enkuuli
374. Emmere ey’omu : ewooma kwa njala
375. Emmere y’eky’emisana : tegerebwa
376. Emmese egenda okubba eby’omu nnyumba : ng’obunnya emaze kuweza
377. Emmese ennenyi : tiyeesimira bunnya esinnana busime
378. Emmese bw’olaba eruma omutwalo : ng’obunnya ewezezza
379. Emmuli zigula ki? : y’akaza obusenze
380. Emmundu w’eraga : ettawo
381. Emmwanyi emu : yalima junwa
382. Emmwanyi gye weesiga : tebaamu mulamwa (-= muwula)
383. Emmya : kabootongo z’amala enkwale
384. Empabati : esaabala mu luwero
385. Empafu enkununkirize zimezza
386. Empagi bw’ekukuba : toli muzimbi
387. Empaguka ekendeeza atayunja
388. Emka ennemeremu : zikubya mukyawe
389. Empale ya lucoolo eba emu : y’ekyala, y’ekola emirimu
390. Empande emu : eyiwa ekisero
391. Empanga ebbiri tezisibibwa mu luwombo lumu
392. Empape mpologoma : bw’erwala, ensiri erumika tebula byayo
393. Empemukira busa : esuuza enkoko ejjanzi
394. Empera tekwata magulu : ekwata akamwa
395. Emperekeze tefuuka nnyini dda
396. Emperese efa : ng’ewaabwe mirembe
397. Empiiga n’empiiga : terima kyalo
398. Empiima teseera – – ( Mpiima teseera: )
399. Empindi zaafa : eggobe mu mutwalo
400. Empisa gy’omanyi – ( Omuze gw’omanyi: )
401. Empisi enzitira omwana : nga bali ku wuwe
402. Emsi ey’amaddu : efa kiteteme
403. Empola mpola : tyiisa obusera
404. Empologoma ye bba obusolo
405. Empooza eva eka : ng’emanyiddwa
406. Empoza mbi : tebongola mannyo
407. Empummumpu mu lusuku : kubanga zikoonola nnyingi
408. Empunyiwunyi : ziramusa awaggale
409. Emtte baaziwa okulya Masaka (Kyalugo) : ne zirya Kasaka (Bbaale)
410. Emyasira ebiri : giwabya embwa
411. Emyungu emiwagiikirize : gyasa entamu
412. Encwampa tebula byayo : empologoma bw’erwala, kivu kye kirumika
413. Enda mawogo : ezaala abalungi n’ababi (= ng’omubi azze ku mulungi)
414. Enda ziraba
415. Endege ziba nnyingi : ne ziyoogaana (= ne ziyomba, = ne zivuga)
416. Endiga okusulika omutwe : tekugigaana kumanya mbuzi gye zizze
417. Endiga w’ekootakoota : emanyi nga waggulu nga wala
418. Endwadde ekula ekiro : y’aziika omuliro
419. Endwadde ennene tewonera lumu : embogo bagifumita effumu limu?
420. Endwadde etewona : ) ekuggyako erinnya ) emala eddagala
421. Endwadde teriira mu nnamu
422. Endwadde ya kibiribiri : ng’olangira (= nga n’okulangira eddogo)?
423. Endwadde y’omukwano : busobya
424. Endwadde y’omuto tekwata : ng’amuzaala muganzi
425. Endya birungi : tegomoka (= tegimuka)
426. Endya lumu : yazisa lajje
427. Endiiro (= endiira) ewedde
428. Endiiro (= endiira) y’okumpi terwa kudda : ejjobyo liddira mu mutwe
429. Eneefa : tewulira nnombe
430. Enfumo eyidde : ng’eri ku mugenyi
431. Enfuna embi : ekira obwavu
432. Enfuuzi : tefa nto
433. Engabi eneefa : tewulira nnombe
434. Engabi eyeewala : y’ekalubya ennyama (= ewangaala)
435. Engabi tekooyera : awatali kibira
436. Engabo enzira – – ( Ngabo nzira: )
437. Engabo gy’otonnakwatamu : gy’oyita ennyangu (= gy’otenda obwangu)
438. Engajaba : yeebakira emikono gyombi ne yeerabira ababbi
439. Engalangasi aginoonyeza mu banne : nti banno balima, tolaba?
440. Engalo ebbiri : ziwa obutwa
441. Engalo ennyingi : ziwa obutwa
442. Engalo ensa (enjereere) : ziwoomera nnyinizo
443. Enge ensasulanye : y’erima kyalo? ( Empiiga n’empiiga: )
444. Engobya n’engobya : zaasisinkana Kijonjo
445. Engo ennafu : erya bbumba
446. Ennoma tezirawa npumba : ng’ababo bakomyewo
447. Epnombe y’ekikaayi (= ey’ekireku) : tekulagaanyisa na munno
448. Eombo ekwata omwami : ) ebuna ekyalo ) tereka muganzi (waka)
449. Ennombo ennungi : ekwogeza ku mufu
450. Ennonza-oluganda : gye bayita ensebeezi
451. Enjala akukulidde – – ( Njala: )
452. Enjala bugumba : bukutumya n’ataakuweereze
453. Enjala ekeeta
454. Enjala eruma omuwuulu : y’etuumisa nnyinimu erinnya, nti Byakagambwa, emmere yaffe eyasuze tunaagirya ddi?
455. Enjala esaza amagezi
456. Enjala gw’eruma : y’atereka amawolu
457. Enjasira ennyingi : ewabya embwa
458. Enjogera embi teyuza bulago (= kamwa) : singa obw’ennaana bujjudde nkindo
459. Enjogera ennungi : ) ereeta ekiswa mu luggya ) ereeta entunda mu luggya
460. Enjogeziyogezi : etuuka nnyinimu ku muze
461. Enjogeziyogezi : eziza enkoko amagi
462. Enjovu teremererwa masanga gaayo
463. Enjuba n’omwezi bwe byalwana : ne bigwa e Bakka, Wanga n’abiwanga
464. Enjuba yeekisa (= yeekisizza) mu kire
465. Enju y’omu nnungi : okuba ennoga akalanga
466. Enkaaba ennyingi : tezza mulambo
467. Enkaaga n’enkaaga e Ggomba tebanja
468. Enkaliriza : y ‘eriisa enkoko y ‘omugenyi
469. Enkalubo ekira amaluma
470. Enkanula maaso yagoba olubende mu nju ne lugenda lubeera mu nsiko
471. Enkasuka ennungi : y’ezza omusu
472. Enkejje bwe muzirya enjokerere ( Gw’olya naye enkejje: )
473. Enkejje enfu – – ( Nkejje nfu: )
474. Enkerettanyi bw’ogitega amenvu : erya bibombo
475. Enkima tesala gwa kibira
476. Enkira ogirimba (= erimbwa) mukadde
477. Enkoba z’embogo – – ( Nkoba za mbogo: )
478. Enkobe ento eseka ekibira nga kiggya
479. Enkodomali enywera amazzi ku nsuwa : sso nga waliwo olwendo
480. Enkoko bw’ebulwa amagi : tebiika byenda
481. Enkoko ekkuta : y’ebiibya essakiro
482. Enkoko tebiika byenda
483. Enkoko tekuba mpiiyi
484. Enkoko y’omwavu : teggwa nneebaza (= meebaza)
485. Enkoozikoozi : tekooza waaboyo w’etudde, = waayo)
486. Enkuba bw’etonnya : ne bannamunye banaaba mu bitaba
487. Enkuba ekuba omunaku : tekya
488. Enkuba eritonnya ddi? : emutonnya (= ekutonnya) mu kamwa
489. Enkuba eritonnya ddi? : ne tulya ku mpwankimpwanki w’alaba ekkovu asammuza oluti (= olusirinnanyi bw’alaba luyingira, ng’asammulira bweru)
490. Enkuba eryokanga n’etonnya ne tulaba nsiisira we zenkanya omwoyo
491. Enkuba eyinze : erobera emngu okweyanjuluza
492. Enkuba ka etonnye : tulabe ensiisira we zenkanya emyoyo
493. Enkuba teyaza kyayo : singa ekitoogo (ky’omu Kajjansi) bakitemya mbazzi
494. Enku ennyingi : zitta mutyabi enziku etta mwenzi
495. Enkula embi : ekaddiya ekikere nga kito
496. Enkumbi bw’eggweerera : baginazako
497. Enkumbi okubula : ewa munafu empoza
498. Enkumbi tebba w’erimye
499. Enkunguutale : etezebwa amayinja
500. Enkusu eyali ekulabye : ekusuula omuzima
501. Enkuyege esenda nswa
502. Enkwale emu : ng’ebigere ossa mu kisasi
503. Enkyukira : omugenyi gy’akuba ku lumonde
504. Ennaku azanjazaamu kati : tafaanana kuzibaako
505. Ennaku ennindiza : zitta amenvu
506. Ennaku ennungi : tezikya bbiri
507. Ennaku mufunza : tegwokya omu
508. Ennaku teziba nkadde
509. Ennaku z’abakyala : buli omu azisinda bubwe
510. Ennaku z’abasajja : teziggwa matenda
511. Ennaku z’embwa : n’atagifuna aboggoza
512. Ennaku zigwana muto : bw’omubikira n’aseka
513. Ennaku zikulaga omulimo
514. Ennaku ziri wa zuukuka olye!
515. Ennaku ziri mu kufiirwa : eyali mwannyoko, okufuuka kitaawo!
516. Ennaku zisembera nga kikande
517. Ennimi ennamu : tizisoboka
518. Ennimira waabo : terimira mu bufumbo
519. Ennimiro y’ewala : tekuleetera kisa
520. Ennindiza etta amenvu
521. Ennindiza yamezza Ssemitego
522. Ennongoosereza : emasula omutego
523. Ennume : ekula bigwo
524. Ennume gy’egwa : we batemera
525. Ennungu enkalirize ekisa : teziwona
526. Ennyama enkapa esinga nva : enkalubo ekira amaluma
527. Ennyama entono : okaayana eri mu nkwawa
528. Ennyange teyita na kimbagaya
529. Ennyanja ey’omukopi : ebeera ku lusebenju
530. Ennyooma bakama : tenyooma omu
531. Ennyongereza teba ntono : oluwandaggirize ku nnyanja
532. Ennyongeza : tetta buguzi
533. Ennyonyi enkulu : y’eragira (= ebuulirira) ento okwonoona (= okunya) mu kisulo
534. Ennyonyi entono : yeekemba (= eyala) byoya
535. Ennyonyi eteyise : ekololera makaayi
536. Ennyumba bunyonyi : eteesa bwayo
537. Ennyumba eteriimu mukyala : abaana tibakkuta
538. Ennyumba ezimbwa ku bugenyi
539. Ennyumba kibira : tegeyerwamu muntu
540. Ennyumba kisaka
541. Ennyumba y’ewaffe ngyeyabyamu : bw’aba yeesiba, ng’adda mu kisenge
542. Ensawo ey’ataliiwo : ejjula amayinja
543. Ensawo ey’omusango ebeera mu vviivi : olugira, nti gunzise mu vvi
544. Ensawo ya mukulu wo : tekuterekera
545. Ensawo y’omukulu : tebulamu zziika
546. Ensega tegwa ku mulamu
547. Ensekere ekulumye evudde mu lubugo
548. Ensenza ennafu : etikka mukama waayo omugugu
549. Ensiba embi : edibya mutere
550. Ensi egula mirambo : nga tebasse wuwe
551. Ensigalira : ebanjwa mugezi
552. Ensimbi emu : ekummisa ekyasa
553. Ensimbi emu kanyonyi : bw’otokatega tokakwasa
554. Ensimbi emu : tekuba nnyonyi
555. Ensimbi tezaalira mu ttaka
556. Ensimbi ze nfuna zimpita mu ngalo : tatungiramu maliba, zireme kuyitamu
557. Ensimbo efuna ginnaayo
558. Ensi okufa : nnakasugga afuuka njagi
559. Ensisinkano teba ya lumu : enkejje amazzi egaleka mu nnyanja, egasanga mu luwombo
560. Ensi tekula lumu nga katiko
561. Ensi tugituulidde : nga bagimenya
562. Ensonzi bw’ekukuba mu ttosi : ogikuba mu vvu
563. Ensowera ekwagala : y’ekugwa ku bbwa
564. Ensowera ey’amaddu : y’efa ekigu
565. Ensugga zigoba kisambu
566. Enswa emu : ekira eddembwe
567. Enswaswa eteeyanula : y’ereega engalabi
568. Entajjukira : erireka omukadde ku lusozi
569. Entalambula : eboza ennyama
570. Entalowooza : tekuba bbiri
571. Entamu bw’eyatikira omugoyo : tewaba anenya
572. Entamu ennene : terya ka mufumbi nti suula empiso mu nnyanja tulabe oba onoogiggyamu
573. Entamu ennyangu : bagitenda nnyo
574. Entamu ewulira gwa luberyeberye
575. Entamu gye wali ofumbyemu : togamba, nti ya nfumba mbi
576. Entanya : y’ekonya amenvu (= etta amenvu)
577. Entaanya : ow’amaanyi okulwala omunafu ne yeesekera
578. Entasiima : ebula agiwa
579. Entasumika : bagitenda wabiri
580. Entate tezaalwa : amakondeere bagafuyira Sseguku, ng’enkumbi eyagalima bakweka
581. Ente bwe zifa : amaliba gakyalira omwenge
582. Ente enkulu evaako ennyuma : n’abaana bakulembera
583. Ente ensibe : lw’efa lw’emanyibwako nnyiniyo
584. Ente esomoka – – ( Esomoka: )
585. Ente etali yiyo : togikubira kisibo
586. Entetenkanya : ekonya obuto (= ezaala bigambo)
587. Ente yange bbuuka-maziba : bwe wagifuna n’obuuka ennyanja
588. Entokotoko ezadde embette : ng’omunafu azadde kaliira
589. Entubiro eteekumire : tekukwasa ku nkanaga
590. Entujjo ennungi : ekusanga na gwa lwayi
591. Entumwa tettirwa gye bagituma
592. Enva ez’amazzi : tezikuliisa maluma
593. Enva ennungi : sizirwa kugaga
594. Envuba temulya : nga gwe bakutte gw’otomanyi
595. Envumbulira : eriibwa munaku
596. Enzaala mbi : ekira obugumba
597. Eradde, eradde : gye migogo
598. Eriggwa likufumitira ku ttale : ate oddira eriggwa n’oggyaamu erikufumise
599. Erigwa amakerenda
600. Eri omugga gye tugenda : nti mala okundaga ku ntumbwe nti onooziraba nga tusomoka
601. Eriiso ly’omukulu : awaddugala we walaba
602. Eriiso nnamwanjula : likulabisa ky’otoolye
603. Eruma nnyinimu : omugenyi agiyita biseera
604. Erwanira obuko (= ku buko) : ekuuka ejjembe
605. Erya mteeyite : si kkubo
606. Eryato erikuwungudde : toliyita gwato
607. Eryato lifa amagoba
608. Eryato limanyibwa mugolomozi
609. Eryokanga n’etonnya : ne balaba ensiisira we zenkanya emyoyo
610. Esomoka tewoloma
611. Essanyu lye nnina mulalu : baba bamubajjira envuba, nga ye azina (= babajja envuba eno ng’azina)
612. Essanyu ly’omwokyi wa gonja : tannaggya, ng’akuba mu ngalo
613. Essesema erimu : terikuziza ntula
614. Essolo eggumba : bwe lidduka teribalira
615. Essujju bbi likunamira – – ( Nsujju mbi: )
616. Essuku eggimu : likummya obwami
617. Eteefe – – ( Teefe: ) Ap
618. Eteekutte : tekwefunguliza mwami waakalwala ejjute nga weefungula, nti liirino linzita
619. Etemwa omukulu : tenyiiga (= tenyligwa, = tenyiigirwa)
620. Etewulira mukama waayo : ebiika masumba
621. Ettaka lirya : ageya mufu
622. Ettufu liba wala : akatale k’emmese mu Busoga
623. Ettutu lifumita likyali tto : bwe likula lisogola mwenge
624. Eva ku mugendo : y’efuuka kaasa
625. Eva olulagala : edda lulagala
626. Evviivi : we livaako – – ( Vviivi: )
627. Ewaabo bbanja : tegenda bbanja
628. Ewaffe tutudde kitebe : enjala ky’etuula mu lubuto
629. Ewaffe zirya ngugo : akuddiza maliba
630. Ewooma mpotofu : ng’aliko ky’anaaliira
631. Ey’ababiri : evunda
Leave a Reply