Ebisoko -Luganda Idioms – EBISOKO EBY’OLUKALE
Ekisoko (Luganda Idiom) – Amakkulu (Meaning)
1. Okukooka – kuyimba
2. Okuyimbya endubaale – kubonyabonya nnyo muntu
3. Okukooza omuntu akajiri – kubonyabonya nnyo muntu
4. Okulabya omuntu ennaku – kubonyabonya nnyo muntu
5. Okukekkeza ennyago – kulwana
6. Okukweka enjala – kulwana nga okozesa bikonde
7. Ebifuba okubabuguma – kulwana
8. Enkalu okudda okunywa – kulwana
9. Okukoona ebbidde – kunywa nnyo mwenge
10. Okwebikka amazzi – kunywa nnyo mwenge
11. Okubeera Waddanaga – kuba mutamiivu
12. Okubeera lujuuju – kuba mutamiivu
13. Okubeera lugalika bita – kunywa nnyo mwenge
14. Okuwunzika empaawo/endekukunywa nnyo mwenge –
15. Okukongojja omumbejja Nnamaalwa – kunywa nnyo mwenge
16. Okukongojja omulangira Ssegamwengekunywa nnyo mwenge –
17. Okwesiwa amagengere – kunywa nnyo mwenge
18. Okwesekerera obugonja – kunywa mwenge
19. Amataaba – ssente eziweebwa abaafiirwa nga okuziika kwaggwa
20. Omuliro gwa Buganda okuzikira – kufa kwa Kabaka
21. Okukisa omukono – kufa kwa Kabaka
22. Okuggya omukono mu ngabo – kufa kwa Kabaka
23. Kabaka okuseerera – kufa kwa Kabaka
24. Kabaka okubula – kufa kwa Kabaka
25. Okubikka akabugo ku maaso – kufa kwa Kabaka
26. Okubikka akabugo – kuziika kwa Kabaka
27. Okutereka enjole – kuziika kwa Kabaka
28. Ekyemisana okukirunga mu mmindikusiiba njala –
29. Olubuto okuba ku mugongo – bubeera muyala nnyo
30. Enjala okukuulamu olulimi – bubeera muyala nnyo
31. Okwerya enkuta – butaba na kyakulya okumala ebbanga eddene
32. Ab’omu lubuto okubanja bubeera muyala nnyo –
33. Okukoowa nga banyaga – kulemererwa nga oli kumpi kuwangula
34. Okukuba ekintu obudidndakumannya nnyo kintu –
35. Okuba kakensa mu kintu – kumannya nnyo kintu
36. Okuba nnakinku – kumannya nnyo kintu
37. Okubeera mmo mu kintu – kumannya nnyo kintu
38. Okweriisa enkuuli – kusinga bantu balala okumanya ekintu
39. Okunywa mu banno akendo – kusinga balala
40. Okulya omuluka – kusinga balala
41. Okubeera kaliba mu kintu – kumannya nnyo kintu
42. Amatama okufunya ebikonde – kulya
43. Okusereekerera ekitaggumira – kulya
44. Amazina g’ekirevu – kulya
45. Okuwunya ku gwa ddyo – kulya
46. Okuwa amatooke obwala – kulya
47. Okukwata ak’e Wamala – kulya
48. Okugenda okuwooma – kulya
49. Okugenda ku mutala Naalya – kulya
50. Ddungu okuba nga ayizze – kufuna kirungi ky’obadde tosuubira
51. Kye wayagaliza embazzi kibuyaka okuba nga asuddekufuna kyoyagala nga tosoose kutegana nga bwobadde osuubira –
52. Okwekuulira akabazzi ku kugulu – kwereetera bizibu
53. Okwetyabira akalimu obuwuka – kwereetera bizibu
54. Okwezaalira emineene – kwereetera bizibu
55. Okwereetera emiteeru – kwereetera bizibu
56. Okubeera ku yoleke – kubeera na bizibu
57. Okuba mu ddubi – kuba mu buzibu
58. Okuzaala emineene – kuleeta bizibu
59. Okuwoza ogwa kkapa okuzaala embwa nga endiga erinnya enju – buzibu kweyongera
60. Okusoberwa eka ne mu kibira – kusoberwa kya kukola olw’ebizibu
61. Okubeera mu kattu – kubeera na bizibu
62. Omusekera nnyuma – ngalabi
63. Eggaabe – ngalabi
64. Liiso ddene – Katonda
65. Lugaba – Katonda
66. Ddunda – Katonda
67. Nnamugereka – Katonda
68. Ebigambo obutabaako mutwe n’amagulu – kuba nga si bituufu
69. Ebigambo okubeera ebya njwanjwa – kuba nga si bituufu
70. Ebigambo okuba ebya sswakaba – kuba nga si bituufu
71. Okutimba ebbula – kulimba muntu
72. Okutema amagembe – kulimba nnyo muntu
73. Okukuba enkondwe – kulimba nnyo muntu
74. Okubeera nga amatama ntengo – kusobya nga bakubuuza tolina kya kuddamu
75. Ekintu okufa ttogge – kufiira bwereere nga tewali ayamba
76. Ekintu okufaafaagana ng’entungo eyiiika – kufiira bwereere nga tewali ayamba
77. Okuteerawo omuntu akabega – kweyimirira(kuwolereza) muntu
78. Okuzza erinnya – muntu kufiira ku mawanga
79. Okuddira mu bbaasa – kuzza muntu afiiridde ku mawanga
80. Okuta akaka – kuyomba
81. Okubuuka enswa – kuyomba
82. Okwesala akajegere – kuyomba
83. Okulinnya mu kyoto – kugaanira ddala
84. Okukomba ku ppaasi – kugaanira ddala
85. Okwerema – kugaanira ddala
86. Ebintu okuba ng’obutta – nga bingi nnyo
87. Ebintu okuba ng’obugulu bw’eggongolo – bintu buba bingi
88. Ebintu okuwugako ebiwuge – kuba n’ebintu nga bingi nnyo
89. Ebintu okubeera eby’ekkekwa – kuba nga tebirabika
90. Okuba olumbe lw’ekirago – kuyisa bubi banno nebakwetamwa
91. Ennyindo okuba nga ey’enkata – kunyiiga
92. Okuba Sseggaali – kuba mugagga nnyo
93. Okubeera omubede/ ababede – kuba mugagga nnyo
94. Okuba binnyonkondo – kuba mugagga nnyo
95. Okukuba omuntu enkata – kumuwa kyabadde tasuubira
96. Omuntu okuba ng’ensimbi azanjazaamu kati – kuba mugagga nnyo
97. Omuntu okuba bifeekeera – kuba mugagga nnyo
98. Ekintu okuba ekinnya n’empindi – kintu kuba kumpi nnyo(kusemberegana)
99. Okuba kawenkene – omukambwe atenga mukozi wa bivve
100. Embazuulu y’omuntu – omukambwe ennyo
101. Okuba ebyoya by’enswa – butagasa
102. Okubanakamwa akalimu akazigio – muntu kuba nga ayogera burungi
103. Omuntu okuba nakamwa ak’essunsa – muntu kwogera ng’aboggola ate ng’avuma
104. Ekintu oba omuntu nampawengwa – kuba nga talina ludda w’agwa
105. Omuntu okulya mu lulime ne mu luzise – butaba na luda w’aggwa
106. Omuntu okwefuulira mu kiti nga embazzi – muntu kwekyusa n’ava ku kye mwateesezza
107. Omuntu obutaba na mugongo – muntu butanywerera ku kintu
108. Omuntu okutwalibwa embuyaga – muntu butanywerera ku kintu
109. Omuntu okutuuka ku kyalo embwa neziboggola – muntu kutuuka ku kyalo oba kukitundu w’amanyiddwa ennyo
110. Embaki y’omwana – buba mulalu nnyo
111. Okubuuza erigenda e mugga – kubuuza kyolabako
112. Okugwa ku muntu – kumuvuma oba kumugeya
113. Okukuba obuleeyi – kuba nga tolina kyokola
114. Okulera ezitakaayirirwa(engalo) – kuba nga tolina kyokola
115. Okuba akabwa n’engo – kuba nga temukolagana
116. Okuba nga temulima kambugu – kukyawagana na muntu
117. Okusiba olumbe kumpagi – kugenda kukola kintu naye nga tokyalimu maanyi
118. Okukuba evvu – kuduula
119. Obudde okudda ku bunaabwo – bizibu kweyongera muntu
120. Okuluggulira gye lutaggulirwa( ku ppata)kwereetera bizibu –
121. Obulamu bw’omuntu okuba mulusuuubomuntu kuba ng’essaawa yona ayinza okufa –
122. Omutugunda okubala emwanyi – kintu kuba kinyuvu
123. Okubinuka amasejjere – kusanyuka oba kujaguza oluvanyuuma lw’okutuuka kubuwanguzi
124. Okubula omukombi – kintu kuba kiyitirivu ate nga kinyuvu
125. Okubuza embuga – kusesema
126. Okuddako akada – kugejjagejjamu obo kunyirilamu
127. Okuddamu akajambujambu – kuddamu maanyi
128. Enswa okugoba ennyonyi – kintu butasoboka
129. Embwa okuzira amata – kintu butasoboka
130. Okugguka obuseke – kutuuka (mu budde)
131. Okugoba obumale – kutuuka (mu budde)
132. Emberenge okugaga – mbeera kwonooneka
133. Obudde okudda ku bunnaabwo – mbeera kwonooneka
134. Ekintu okugula omuddu n’omwana – kuba kya buseere(bbeeyi)
135. Ebintu okugula omukazi omuzungu – kuba kya buseere(bbeeyi)
136. Ebintu okugula obuwanana (ng’obwagula Mukono) kuba kya buseere(bbeeyi) –
137. Okumansa entungo – kwogera nga owemula
138. Okumokkola agagambo aganene – kwogera nga owemula
139. Okwatika n’omuntu – kuyomba na muntu
140. Okulebera n’omuntu – kuneneŋŋana na muntu
141. Okwereega n’omuntu – kuneneŋŋana na muntu
142. Okuleebuukana n’omuntu – kuneneŋŋana na muntu
143. Okwanika omuntu – kuvumira muntu mu lujjudde (kuswaza muntu)
144. Okuyiwa ku muntu ettonotono – kuziika muntu (mufu)
145. Okuwerekera omuntu – kuziika
146. Okuyisa omuntu mu kamwa – kusooza muntu
147. Okuyisa omuntu mu mannyo – kusooza
148. Okuyisaamu omuntu amaaso – kunyooma muntu
149. Okuyisaamu omuntu agengege – kugaya muntu
150. Okuwoza ogwa kkapa okuzaala embwa ng’ate endibga erinnya enju – bizibu oba bintu kwongera kuzibuwala
151. Okuwoza mpola embuzi ndikuwa ente – kwetema kyotoosobole
152. Amatooke okubotoka – kuba nga gengera
153. Okukutwala ekirinnya mutikka – kukutwawala mangu nga teweyagalidde
154. Enva okutwala emmere – nva kuwooma nnyo
155. Omukazi omuyima okutuuliraku kisaabo – kubanga(wali)osiraana mu kyokola
156. Olugendo o’kuteresa embwa – nga lugendo lunene
157. Okwessa mu ddemeezi – kutandika kutambula oba kugenda
158. Okwessa mu ddene – kutandika kutamula
159. Mwasanjala – luguudo lwa kkolaasi
160. Omuntu obutalutumira mwana – muntu kweyigira mukintu
161. Okutomera emmere – kusanga nga balya
162. Amakula – byebintu byebatonera kabaka
163. Okutimba bbula – kulimba
164. Okutereera obubya (obuwombo bwewunzika) – kutuula nokalira mukifo
165. Omwenge okusiiwa – kuba muka nnyo
166. Okukuyeeya – kunyeenyamu mwenge guli mudeku ngogenda kunnywa
167. Obukaba okusiiwa omuntuv – kuba mukabannnyo
168. Olumbe okusogola omuntu – muntu kulwala nnyo
169. Omuntu emagombe okusimbayo ekitooke – kuwonera watono kufa
170. Omuntu okuba ku ndiri – kuba mulwadde nnyo
171. Omuntu okuba ng’olumbe lumubala embirizi – kuba nga mulwadde nnyo
172. Katonda okuba nga akyabisseeko akasubi – okuba ng’omulwadde omuyi akyaliwo tannafa
173. Okusula amaliba – kusula njala
174. Okukowoola omusibe abombye – kumala budde(biseera)
175. Okulonda obwoya mu kkukuuzi – kumala budde ngokola ekintu ekitasoboka
176. Okumala ebiseera ng’alaawa embwa – kutawaanira bwerere
177. Okumala ebiseera ng’akunamira muzibe – kutawaanira bwerere
178. Okutongojjera obusa ng’asaba oluwanga obulamu – kutawaanira bwerere
179. Okumala ebyo mu bulago – kutawaanira bwerere
180. Okukootakoota mu ga lumonde – kutawaanira bwerere
181. Ekintu okunnya ng’lutta ow’ettulu – kwanguyilwa
182. Okusindika asitamye – kwanguyirwa kukola kintu
183. Okugobera ekinya mu ssubi – kukugamba kukola naawe kyoyagala
184. Okuyisa omukka mu kisero – kwanguyirwa kukola kintu
185. Okutuma enfuuzi okwennyamira – kwanguyirwa kukola kintu
186. Okuyisa omukka mukisero – kwanguyirwa kukola kintu
187. Okuseereza erigenda enmugga – kwanguyirwa kukola kintu
188. Okusindika omunya mussubi – kulagira muntu kukola kyayagala
189. Okusiindika asitamye – kulagira muntu kukola kyayagala
190. Okuyiringisa entengotengo – kwanguyilwa kukola kintu
191. kulya myungu butesokoola – kintu kuba kyangu nnyo
192. Ekintu okugula obusango – kuba nga kiseerebwa nnyo
193. Okukuysuuula ku migandu – kukusuula ku mitawaana oba buzibu
194. Okuliisa ggoonya – kulima
195. Okusamba ennanda – kulima
196. Okukwata akasimo – kulima
197. Okutemula ensiriƞƞanyi – kulima
198. Obutasekera ku kaalo katono – kuba ng’osekera waggulu
199. Okusenya ku kintu – kintu kuba nga kingi nnyo tokimalayo
200. Okuba n’omusota munsawo – kuba mukodo
201. Ensimo/akasimo – nkumbi
202. Kyapa ggoonya – nkumbi
203. Ekkakkalabizo/ yaafeesi – w’ofiisi
204. Okumaza emmere – kutta munno
205. Okulumisa ekivu – kuttisa mundu
206. Okutemya ebisiki – kusumagira
207. Omukwero – kisasi kya nju/ kifugi/ lubalaza
208. Obuteerya ntama – muntu kuba nga tatya mu kwogera
209. Okulya mu ttama – kuboggola
210. Okulya kameenya – kulya nnyo
211. Okulonda omuntu mu bangi – kufuna gw’oyagala
212. Okulinnya mubintu eggere – kulemesa kintu kyonna mumaaso
213. Okulinnyira omuntu mubigere – kuwerekera ku muntu
214. Okulinnya enkandaggo – bintu kweyongera mumaaso oba waggulu
215. Okukomba mu kibatu – kukuba nduulu
216. Okussaako kakokola tondeka nnyuma – kudduka kabi
217. Okwetegula ekibabu – kudduka kabi
218. Okukuba ez’okumaji – muntu butaba na maanyigakola kintu
219. Okukuba akanuulo – kutambuza bigere
220. Okuyita ku lugwanyu – kuwonera watono kufuna kizibu ekinene
221. Okusimba kasooli – kutambuza bigere
222. Bitooke byebigwa – kukola nnyo kintu
223. Ekinti okugwa omuntu kkono – kuba nga kyamulema
224. Okwesiba ku muntu – kwagala nnyo muntu ate nga ye takwagala
225. Okuzza muddiiro – kuzza oli ku mulimu gw’abade tasuubira olwokuba ng’ogwonoonye
226. Okuggwa ennyalwe – kumatira kintu
227. Okutunula embebere ngo’mukulu ateetimbye – kutunula mungeri ya kiswavu
228. Okuwangaala obusekuzo (ekinu kyatika) – kuwangaala nnyo
229. Okuggundagunda – kuwangaala nnyo
230. Okukula endaala – kuwangaala nnyo
231. Okusiisira awantu – kulwawo nnyo
232. Akasana okwaka ffuwuuke – kwaka nnyo
233. Akasana okuzukuka kawekwed eligangu – kwaka nnyo
234. Akakindo okusala enkoko – kunyirila nnyo
235. Okulunda omuntu – butamuwa ddembe oba kakisa kwetaaya
236. Okwesiba ebbiri – kwenyweza
237. Okugomba o muntu obwa la – kumukwa ta
238. Okussaako omuntu obunnnyogoga – kumusaqaako mpingu
239. Oku weebuka – kuswala
240. Ekintu okugeenda bukwa ku – kukwata kintu ‘nbunyiikivu wa mu n’amaanyi mangi
241. Emmeeme okutyemuka – kwekanga
242. Okubeera mu katyabaga – kubeera mu mitawaana
243. Okubeera ku kanaayokya ani – kubeera mu mitawaana
244. Okubanga gakyaali maabaga – kintu kuba nga tekinagenga wala oba maaso
245. Okugwa kungo eriko omwana – kugwa kubuzibu obwamaanyi
246. Okuzinya omuntu engeera – kubonyabonya nnyo muntu
247. Okuba omuddusi kayigo – kuba muddusi nnyo
248. Okwenkana ensiri – kuba mutono nnyo
249. Okubalira ebintu kungalo – kuba nga bitono nnyo
250. Okwogeza akamwa – kwogera bwogezi nti ekintu ate nga tookikole
251. Okuda mukulya nga katonga ajjula – kulwawo kukola kintu mu kiseeraekyetagisa era wewandikoledde
252. Okutunula kimpewukirize ng’embwa esitamye ku malaalo – kubeera mu bweralikirivu
253. Omusana okwokera omuntu e katebo – kutawaanira bwerere
254. Okusibira entanda – kubuulirira oba kuwa magezi
255. Okuva ku kintu obukumbu (nkuyege kuggi) – kukiviirako ddala butakiddira
256. Okusiibula ekintu (musota bwoya) – kukiviirako ddala
257. Okwekengera omuntu – kumutya oba butamwesiga
258. Okwekomba ebinkumu – butaba na kyakulya
259. Okuba omusaale – kuba nga gw’asoose okwenyigira mu kintu
260. Ekintu okudda omuntu – kumusemba oba kumutama
261. Okutagalatagala ng’obussajja bw’e Bulemeezi – kuwowoggana n’ebintu ebitagasa
262. Okukonjera omuntu – kumuwaayiriza
263. Okuliwa omuntu – kumusasula nga wamusobya mu ngeri y’okutanga
264. Okutuuza nniya – kusoka kwesonyiwa kintu
265. Okukakuba nekalaala – kusoka kulaaza oba kusirika
266. Okumma ebintu ammazzi – kuyeesdoinyiwa
267. Okubuuka – okufa k’omulongo
268. Okugalambya – okuziikibwa kwomulongo
269. Omulwadde okuluma ejjiiko – mbeera oba bintu kwongera kwononeka
270. Ekiwundu okusamba eddagala – mbeera oba bintu kwongera
271. Okulinnya abantu ku mitwe – kubajooga
272. Okulinnya ku nfeete – kuwangula kyobadde olwanyisa
273. Okukuba oluku mu mutwe – kuwangula
274. Okulinnya ebbaati – kulinnya nnyonyi
275. Okulinnya omuntu akagere – kugoberera muntu nga tamanyi
276. Okulya ekimuli – kusaza mu mboozi ya muntu nga abadde anyumya ggwe n’oleetawo eyiyo
277. Okusala omuntu ekirimi – kusaza mu mboozi ya muntu nga abadde anyumya ggwe n’oleetawo eyiyo
278. Okukongooza ebigere – kunyooma
279. Okukkirira ewa Ssenkaaba – kufa
280. Okugenda e Kalannamo etagenda badda – kufa
281. Okukyala(kugenda) ewa Walumbe e Ttanda – kufa
282. Okugenda ennyindo gye zirembekera mukoka – kufa
283. Okugenda emikono gye girerera ebisambi – kufa
284. Okugenda gye batambuliza omugongo nga obwato – kufa
285. Okussa omukka ogw’ekomerero – kufa
286. Okumiza (omukka) omusu – kutta muntu
287. Efumbira omuntu okuvuunikibwa – kufa
288. Okugenda okulunda embogo – kufa
289. Okugenda enviiri gye zittira ng’omuddo – kufa
290. Okugenda ezzira kumwa – kufa
291. Okugenda ekingi bantu – kufa
292. Ennaku okuyonka omuntu butaaba – muntu kulaba nnaku nnyingi
293. Enkalu okunoonya obukongovule – bintu kukaawa/ kuva mu mbeera
294. Embooge obutabuguma – kuyita mu bwangu ennyo
295. Akataayi obutasala kkubo – kuyita mu bwangu ennyo
296. Mu kaseera mpaawe kaaga – kuyita mu bwangu ennyo
297. Mu lutemya lw’eriiso – kuyita mu bwangu ennyo
298. Okudduka ez’embwa(embiro) – kudduka misinde
299. Okutyekula engere – kutambula nga oyanguwa
300. Okusika ez’e Luzira – kwewulira
301. Okwebaka empologge – kwebaka nnyo
302. Okwebaza eyazimba – kwebaka ng’ofuluuta
303. Okufuuwa ekinyanyimbe – kwogera bulungi(nnyo) Luzungu
304. Okugenda mu nsowera/obunyonyi – kukeera nnyo
305. Enkoko okugikwata omumwa – kukeera nnyo
306. Eddaaza – mwaka
307. Ezzooba – mwezi
308. Ddimansi – sabbiiti(week)
309. Enzingu/oluzingu – lunaku
310. Ensimbi okwekisa mu kikande – kuba nga tezirabika
311. Omulenga njuba – ssaawa
312. Omutega nsowera – kkanzu
313. Ekizibaawo – kkooti eyambalwa
314. Sseppeewo – enkofiira
315. Enkampa – sitookisi (shocks)
316. Ebiraato – engatto
317. Akafulaano – vesiti(vest)
318. Okusanga ekiyumba munyake – kusanga nnyumba nkalu
319. Okuba mukubya byayi – muntu kubeera wa kisa
320. Okuba ente y’abato – kusaagisa nnyo baana nga tebakutya
321. Okutata – kusaaga
322. Okutuula omuntu mu kifuba – kumutwalako mukazi
323. Endeereetu – leediyo
324. Akamansukira – kazindaalo akoogererwako
325. Kaasuze katya – amafuta agatwalibwa mu kwanjula
326. Omutwalo – ettu ly’enswa, edda baalikozesanga okugula omukazi oba okuwa omusolo nga ssente tezinnabaawo
327. Okusekera mu kikonde – kuseka nga toyagala kulabibwa nti osanyuse
328. Okusibako amatu g’embuzi okuliisa engo – kuwaayiriza
329. Okukuba omuntu omutwe – kusooka kusanga muntu nga oli mu lugendo
330. Okulima empindi ku mabega – kuwaayiriza muntu
331. Okuba matankane ng’empale z’abaseveni – butaba na ludda lutuufu w’ogwa
332. Okwetala nga namutale omunyageko ente ye – kwanguwa ng’oliko kyoluubirira oba kyolwanira
333. Okwagala omuntu nga akageregere – kumwagala nnyo
334. Okutunda omwoyo ng’enkoko emira ensanafu – kwewaayo kukola kintu kiyinza kukuviiramu buzibu (kizibu)
335. Okussa omuntu akasiiso ow’endali kassa omukukumi – kusiriikirira muntu nga akola ensobi
336. Okuba katula keebisse buka – kukweka mize gy’olina
337. Okwekwata omusoobooza – kubeera nga weetya
338. Okulimba Mukasa nti Wannema mulwadde – kulimba kintu kirabikako
339. Okugalinnya gye gava – kwettira mikisa
340. Okulimilira omuntu – kulemesa muntu kintu kyabadde akola nga kimugasa eg’okumugobessa ku mulimu
341. Okwetema engalike – kwogera bikontana na byasoose
342. Okujja obukula/obubogo – kujja nga omaliridde
343. Okuloopera omuganzi mu nzikiza – kutawaanira bwereere
344. Okuliisa ebijanjaalo empiso – kugayaalirira kintu kya bulabe
345. Okubeera enkoboli y’omusajja – kubeera muzira
346. Okubeera kagumba weegoge – kintu kuzibuwala ne kisinga bwe wakisuubidde
347. Okuba nga tonyigirwa mu tooke – kuba nga teweetya
348. Okuba embalangu – kuba nga okola ebiswaza, nga teweewa kitiibwa
349. Okwogera olulonda kambe – kwogera nga tomaliriza ne bakwetamwa
350. Okubeera omulangaasa – ye muvubuka atawasangako
351. Omusajja omuwuulu – ye musajja awasaawasa nga banoba olw’emize gye
352. Okubeera enteeka – ye muwala atamanyi musajja
353. Omwana nnaatuukirira – mwana mulenzi
354. Omwana omuyebezi – mwana muwala
355. Omwana ggannemeredde – mwana muwala
Leave a Reply