Oluyimba 346: AWO-YESU BWE YATAMBULA Lyrics
OLUYIMBA 41: OMWANA YAZAALIBWA
1
OMWANA yazaalibwa,
Ku lwaffe mu nsi muno,
Mu kibuga kya Dawudi Eyasuubizibwa-edda.
Lunaku nga lukulu!
Yesu lwe yajjirako;
Kitegeezebwe wonna,
Yesu bwe yazaalibwa.
2
Abasumba baalaba
Malayika ekiro,
N’agamba nti Temutya,
Mbaleetedde-eby’essanyu.
Lunaku nga lukulu!
Yesu lwe yajjirako;
Kitegeezebwe wonna,
Yesu bwe yazaalibwa.
3
Kristo Omulokozi
Eyatonda-ensi zonna,
Olwa leero-azaaliddwa
Mu kiraalo eky’ente.
Lunaku nga lukulu!
Yesu lwe yajjirako;
Kitegeezebwe wonna,
Yesu bwe yazaalibwa.
4
Omwana-Omutukuvu,
Ffe leero tuzze gy’oli;
Tukweyanza-ennyo nnyini,
Olw’ekisa kyo-ekingi
Lunaku nga lukulu!
Yesu lwe yajjirako;
Kitegeezebwe wonna,
Yesu bwe yazaalibwa.