Oluyimba 355: OMUTAMBUZE-OMUTO NZE Lyrics
OLUYIMBA 45: BAANI ABAYIMBA TOBAWULIRA
1
BAANI abayimba,tobawulira?
Laba abasumba bafukamidde;
Ssanyu,ssanyu,ssanyu,lize mangu nnyo
Obulokozi bwe butuuse mu nsi.
2
Bbanga ddene ddala twali mu kabi,
Nga tewali ddembe,wabula-obuddu:
Kale nno atuuse -okutufuga ffe,
Wa kisa,wa maanyi,Omulokozi.
3
Kale naffe fenna tumukkirize,
Ffe fenna tweweeyo mu bufuge bwe;
Ku lwaffe-eyeewaayo ffe tulamuke:
Mujje mumusinze,Omulokozi.
4
Ayi Mukama Yesu,fenna-abaana bo;
Tukutendereza,tukweyanza ggwe:
Aleruuya mu nsi,Aleruuya nnyo;
Obulamu buzze,obulamu bwo.