Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

Luganda Anglican Hymns COU lyrics

  • Hymn 384: SIKUKULU EYASOKA YAJIRA ABASUMBA ABALUNDA Lyrics

    Oluyimba 384: SIKUKULU EYASOKA YAJIRA ABASUMBA ABALUNDA Lyrics

     

    OLUYIMBA 71: BINKOOYESA-EBIBI BYANGE
    1
    BINKOOYESA-ebibi byange
    Ne njagala-okuwummula:
    Ggw’oli kigo kyange,Yesu
    Mwe neekwekanga bulijjo;
    Ggwe muwolereza wange
    Mukama wange ddala ggwe.

    2
    Okwagala kwo kusinga
    Amaayi ebibi byange
    Nzize gy’oli, gunsinze nnyo,
    Ogolola-emikono gyo:
    Omwonoonyi-omusembeze
    -Omunaaze mu musaayi gwo.

    3
    Ontambuze mu kkubo lyo,
    Ka nzire mu bigere byo,
    -Olw’ekisa mpa ku maanyi go,
    Obutayonoona nate,
    Ebyagwa mu mwoyo gwange,
    Obirongooseze ddala.

    4
    Omwoyo ogukutya ggwe,
    Ogwagala-amateeka go,
    Ogumpe nze,omuddu wo
    Nneme-okuva mu maaso go,
    Yesu Mukama wange,nze
    Neeweeyo mu mikono gyo

  • Hymn 385: OJE,OMWOYO,OMUTUKUVU OMULISE EMITIMA GYAFFE Lyrics

    Oluyimba 385: OJE,OMWOYO,OMUTUKUVU OMULISE EMITIMA GYAFFE Lyrics

     

    OLUYIMBA 72: TULI BOONOONYI DDALA
    1
    TULI boonoonyi ddala,
    Abasibiddwa-ebibi;
    Ggwe abeera-abanaku,
    Otusaasire,Yesu

    2
    Tetulina bulungi
    Mu byonna bye tukola,
    Ggwe-otegeera bwe tuli,
    Otusaasire,Yesu

    3
    Tetwanganga kugenda
    Gy’oli mu kitiibwa kyo;
    Eyamanyiira-ennaku;
    Otusaasire,Yesu.

    4
    Ssetaani yatusiba
    Mu kkomera ly’ebibi ;
    Otufuule ba ddembe,
    Otusaasire,Yesu.

    5
    Ali omu mu ggulu
    Atulokola yekka,
    Tatuggalira bweru;
    Otusaasire,Yesu.

    6
    Ye atuwolereza,
    Mu maaso ga Katonda,
    Ku bw’oyo tuwangula,
    Tulituuka mu ggulu

  • Hymn 370: MU BUYINIKE-OBUNGI Lyrics

    Oluyimba 370: MU BUYINIKE-OBUNGI Lyrics

     

    OLUYIMBA 59: EGGYE LYONNA ERY’OMU GGULU
    1
    EGGYE lyonna ery’omu ggulu,
    Mwetooloole-ensi yonna;
    Mumuyimbire Kabaka
    Azaaliddwa-olwa leero.

    Katusuute
    Katwebaze
    Kabaka
    Azaliddwa

    2
    Kalr abagezigezi
    Mwanguwe okugenda,
    Nga munoonya Kristo waffe
    Kabaka w’ensi zonna.

    Katusuute
    Katwebaze
    Kabaka
    Azaliddwa

    3
    Abasumba nga bakuuma
    Ndiga zaabwe ekiro,
    Naye eri mu kiraalo
    Omusana nga gwaka.

    Katusuute
    Katwebaze
    Kabaka
    Azaliddwa

    4
    Laba azze mu yeekaali
    Naye nga tetumanyi;
    Simulaba naye ye-oyo
    Essuubi ly’ensi zonna.

    Katusuute
    Katwebaze
    Kabaka
    Azaliddwa

    5
    Kino kya kitalo ddala;
    Omwana oyo-omuto
    Alifuga ensi zonna
    Emirembe-egitaggwaawo-

    Katusuute
    Katwebaze
    Kabaka
    Azaliddwa

  • Hymn 386: OMUTUKUVU OMUTUKUVU Lyrics

    Oluyimba 386: OMUTUKUVU OMUTUKUVU Lyrics

     

    OLUYIMBA 73: MU KWETAAGA KWAFFE-OKUNGI
    1
    MU kwetaaga kwaffe-okungi
    Tukoowoola,AyiKatonda,
    Tusaasire,tega-okutu,
    Tuwulire-olw’ekisa kyo!
    Mukama bw’onoolabanga
    -Ebibi n’ensonyi-eby’abantu
    Aliyimirira-aluwa?

    2
    Naye kino kye tumanyi
    Nga waliwo-okusonyiwa.
    Eri ggwe Katonda waffe,
    Awulira n’asaasira!
    -Ekigambo kyo,Ayi Mukama
    Kya nsuubira -ennaku zonna,
    Nindirira ggwe Mukama.

    3
    -Abakuumi baalindirira
    Obudde okukya,naye
    Emmeeme yange-esinga nnyo
    -Okuyaayaanira Katonda,
    Kubanga-awali Mukama
    Wewali okusaasira,
    Mwenna mumusuubirenga.

  • Hymn 371: KABAKA W’EGGULU N’ENSI Lyrics

    Oluyimba 371: KABAKA W’EGGULU N’ENSI Lyrics

     

    OLUYIMBA 6: ENKYA BW’ONOOZUUKUKANGA
    1
    ENKYA bw’onoozuukukanga,
    Nga tosoose mirimu,
    Sooka-osome mu kitabo
    Yesu kye yawandiisa,
    N’ofukamira mu maaso
    Ga Katonda-Omulamu-,
    Anaakuwanga-omukisa,
    Bwomubuulira byonna.

    2
    Oba ssanyu,oba nnaku
    Bwe bijja gy’oli leero;
    Tebiireme kukusanga
    Nga weeteeseteese nnyo.
    Totya maayi ga mulabe,
    Ssetaani muwangule,
    Onoomukubanga-enfuka;
    Bw’onokkiriza Yesu.

    3
    Ebigambo bya Katonda
    Bikuliisa-omwoyo gwo,
    Nga bw’obyekkaanya-era bw’otyo
    Bw’olaba-emirembe gye.
    Mu kusaba mw’onooweerwa,
    Amagezi n’amaanyi;
    Okugoba abalabe
    Bwe bakulumba-obubi.

    4
    Obukoowu n’obunafu,
    Era n’obuyinike,
    N’emitego gya Ssetani
    Onoosobola byonna.
    Saba Yesu-okukubeera
    Buli lw’olaba-ennaku;
    Bw’otyo bw’onoofuna-amaanyi,
    Bw’omubuulira byonna.

  • Hymn 387: OMWANA GW’ENDIGA Lyrics

    Oluyimba 387: OMWANA GW’ENDIGA Lyrics

     

    OLUYIMBA 74: EBYONOONO BYANGE BINKOOYESA
    1
    EBYONOONO byange binkooyesa
    Neegomba nnyo-okutuuka mu ggulu;
    Teri kibi kyonna-ekiyingira
    Naye-eddoboozi limpitaJjangu

    2
    Nze muddu w’ekibi okuva-edda,
    Naasuubira ntya-okuyimirira
    Mu maaso ga Mukama w’emyoyo?
    Naye akkiriza-okunsembeza.

    3
    Bwe njagala-okukola-obulungi,
    Ekibi kimba kumpi bulijjo;
    Naye nze mpulira bw’oyegera
    Weenenye,kkiriza-,onoolokoka

    4
    Mpulira eddoboozi lyo,Yesu,
    Emikono gyo gye ginsembeza,
    Era-omusaayi gwo guntangira;
    Ogwayiika-edda ku musaalaba

    5
    Mulokozi w’abalina-ebibi,
    Onnyambaze obutuukirivu,
    Ndyoke ndabikire mu ggwe wekka,
    Eyanzigyako-empeera-ey’ekibi

  • Hymn 372: KATONDA TUMWEBAZE Lyrics

    Oluyimba 372: KATONDA TUMWEBAZE Lyrics

     

    OLUYIMBA 60: YESU NGA BWE YAZAALIBWA
    1
    YESU nga bwe yazalibwa,
    Mu kibuga-ekinyoomebwa
    Bamalayika bayimba:
    Ekitiibw(a) eri Katonda.

    2
    Tusanyuke n’okuyimba
    Yesu azaaliddwa leero;
    Bamalayika bayimba:
    Ekitiibw(a) eri Katonda.

    3
    Basumba bwe baawulira
    Oluyimba olw’omu ggulu,
    Baasanyuka nnyo nnyini;
    Ekitiibw(a) eri Katonda.

    4
    Leero nammwe-abawulira
    Mugende e Beesirekemu,
    Muwulire-oluyimba:
    Ekitiibw(a) eri Katonda.

  • Hymn 388: ENSI ZONNA ZIYIMBE Lyrics

    Oluyimba 388: ENSI ZONNA ZIYIMBE Lyrics

     

    OLUYIMBA 75: TUSAASIRE FFE-ABANAKU
    1
    TUSAASIRE ffe-abanaku,
    Tuzirise olw’ebibi;
    Otubeere-Omulokozi
    Kubanga ggwe osaasira.

    2
    Tusonyiwe abeeneya,
    Tutambule mu maaso go
    Ng’aboonoonyi-abasonyiwe,
    Tukwebaze-Omulokozi.

    3
    Tuzze gy’oli-Omulokozi,
    Ggwe eyafa ku lw’abantu
    Naffe fenna aboonoonyi
    Tumanyi nti osaasira.

    4
    Tetukyatya omulabe,
    Takyalina maanyi gonna:
    Kale leka tukwesige,
    Tusaasire -Omulokozi

  • Hymn 373: OMWANA WO NKUKOOWOOLA Lyrics

    Oluyimba 373: OMWANA WO NKUKOOWOOLA Lyrics

     

    OLUYIMBA 61: AYI KITANGE,NKWESIGA
    1
    AYI Kitange,nkwesiga
    Okumbeeranga
    Mu-ebyo-ebinambangako
    Mu mwaka guno:
    Sisaba kuggyibwako
    Bizibu byonna,
    Kyokka nsaba-erinnya lyo
    Lyebazibwenga.

    2
    Mwana ki-eyeerondera
    Ye by’ayagala?
    Ebirungi kitaawe
    Tabimugaana.
    Bulijjo-otuweereza
    Emikisa gyo;
    Kyenvu nsaba-erinnya lyo
    Lyebazibwenga

    3
    Bw’onompa mu bulamu
    Ebisanyusa,
    -Essanyu lyange lye nnina
    Lineeyongera:
    Ka nnyimbenga bulijjo
    Amatendo do,
    Mu byonna erinnya lyo
    Lyebazibwenga

    4
    Bw’onompita-okwetikka
    -Omusaalaba gwo;
    Ne gundeetera-ennaku
    N’obuyinike;
    Kandowooze ku Yesu
    Mu kitiibwa kye.
    Bulijjo,erinnya lyo
    Lyebazibwenga.

  • Hymn 389: KATONDA BYASIMA YE BIRIKOLERWA DALA Lyrics

    Oluyimba 389: KATONDA BYASIMA YE BIRIKOLERWA DALA Lyrics

     

    OLUYIMBA 76: OWEEBWE NNYO-EKITIBWA
    1
    OWEEBWE nny(o) ekitiibwa,
    Ggw(e) eyatununula;
    Eyagulumizibwa
    N’emimwa gy’abaana.

    2
    Kabaka-agaba-obuwa,
    Omwana wa Dawudi,
    Mu linnya lya Mukama,
    Eyajja gye tuli.

    Oweebwe,nny(o) ekitiibwa,
    Ggw(e) eyatununula;
    Eyagulumizibwa
    N’emimwa gy’abaana.

    3
    Bamalayika nabo
    Baasuuta-erinnya lyo;
    Abantu n’enitonde
    Mu nsi ne baddamu

    Oweebwe,nny(o) ekitiibwa,
    Ggw(e) eyatununula;
    Eyagulumizibwa
    N’emimwa gy’abaana.

    4
    Abayudaaya-ensansa
    Baakukulembeza;
    Naffe tuyimba-ennyimba
    Nga tutendereza.

    Oweebwe,nny(o) ekitiibwa,
    Ggw(e) eyatununula;
    Eyagulumizibwa
    N’emimwa gy’abaana.

    5
    Bo baakutendereza
    Eyafa ku mit:
    Ffe tusinza n’ennyimba
    Kabaka-afuga-ensi.

    Oweebwe,nny(o) ekitiibwa,
    Ggw(e) eyatununula;
    Eyagulumizibwa
    N’emimwa gy’abaana.

    6
    Ennyimba ez’abaana
    Ggwe wazikkiriza
    Naffe-era totugaana
    Byonna bye tusaba.

    Oweebwe,nny(o) ekitiibwa,
    Ggw(e) eyatununula;
    Eyagulumizibwa
    N’emimwa gy’abaana.