Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

Luganda Anglican Hymns COU lyrics

  • Hymn 4: MUKAMA WAFFE BULIJJO Lyrics

    Oluyimba 4: MUKAMA WAFFE BULIJJO Lyrics

     

    OLUYIMBA 101: YESU NG’ADDAYO GYE YAVA
    1
    YESU ng’addayo gye yava
    Mu buwanguzi-obungi
    Mumulabe ye Kabaka
    Afuga bakabaka.
    Bamalayika be bomma
    Bakuba nnyo ennanga,
    Eggye lyonna ery’omu ggulu
    Baaniriza Kabaka.

    2
    Ani ajja mu kitiibwa
    N’obuwanguzi-obungi?
    Oyo-ow’amaanyi mu ntalo
    Awangudde-omulabe.
    Bwe yafa ku musaalaba
    Era n’ava mu ntaana,
    N’aweebwa-erinnya-erisinga
    Bonna bamusinzenga

    3
    Atuzuukizizza naffe,
    Tufuge wamu naye
    Eyo mu kitiibwa-ekingi
    Ne bamalayika be:
    Omulokozi afuga
    Katonda-era omuntu
    Erinnya lye wa kitalo
    Katonda ataggwaawo.

    4
    Ekitiibwa-eri Kitaffe,
    N’eri-Omwana we Yesu;
    N’eri-Omwoyo-Omutukuvu
    Era-omu mu Busatu;
    Ekitiibwa kibe gy’ali,
    Ensi zimuyimbire;
    Ettendo libe mu ggulu,
    -Era n’emirembe ku nsi

  • Hymn 5: JJANGU GYE NDI BWE NZUUKUKA Lyrics

    Oluyimba 5: JJANGU GYE NDI BWE NZUUKUKA Lyrics

     

    OLUYIMBA 102: OMWOYO OMUTUKUVU JJANGU
    1
    OMWOYO Omutukuvu jjangu,
    Otusemberere fenna
    Oyakire mu mitima gyaffe
    Otuwe ebirabo byo byonna

    2
    Tufukeeko-okuva mu ggulu
    Omuliro ogw’okwagala.
    Tuzzemu obulamu mu nda yaffe;
    Ggwe wekka-Omusanyusa.

    3
    Jjangu ozibulire ddala
    Amaaso gaffe agatalaba,
    Otukuze ffe aboonoonefu
    N’ekisa kyo ekitakoma.

    4
    Owangule abalabe baffe,
    Otuwe ffe emirembe gyo,
    Bw’oba otukulembera
    Teri kibi kitutuukako.

    5
    Tulage Kitaffe n’Omwana
    Wamu naawe Katonda omu;
    Tutendereze obulungi bwo
    Tutendereze obuluni bwo
    Leero n’emirembe gyonna

  • Hymn 6: ENKYA BW’ONOOZUUKUKANGA Lyrics

    Oluyimba 6: ENKYA BW’ONOOZUUKUKANGA Lyrics

     

    OLUYIMBA 103: EDDA KATONDA BWE YAKKA
    1
    EDDA Katonda bwe yakka
    Ne wabaawo-entiisa;
    Eggulu ne libwatuka,
    Ne gwaka-omuliro.

    2
    Naye-Omwoyo-Omtukuvu
    Bwe yakka-olulala,
    Yava mu ggulu ng’empewo
    Ewuuma n’amaanyi.

    3
    Omuliro-ogw’entisa-ogwo
    -Ogwayokya Sinaayi,
    Ne gukka mpola ku mitwe
    Egy’abatukuvu.

    4
    Kale,tukwegayiridde,
    Jjangu okke ku ffe:
    -Omugabi w’obulamu,kka,
    Jjangu,Musanyusa.

    5
    Tuwe-ebirabo,-okwagala,
    -Emirembe n’essanyu.
    Okgumiikiriza-ekisa;
    -Obutrrfu,-okwesiga.

    6
    Tunaasuutanga bwe tutyo
    Erinnya lye-ekkulu,
    Kaonda Ayinza byonna,
    Atukuza fenna.

  • Hymn Ekisa Lyrics

    Oluyimba Ekisa Lyrics

     

    EkISA kya Mukama wafe yesu kristo,
    nokwagala kwa Katonda,
    nokusekimu Kwomwoyo Omutukuvu,
    bibere nafe fena na’boluganda bonna,
    emirembe egitagwawo,
    Amina.

  • Hymn 7: ZUUKUKA GGWE-OMWOYO GWANGE Lyrics

    Oluyimba 7: ZUUKUKA GGWE-OMWOYO GWANGE Lyrics

     

    OLUYIMBA 104: JJANGU MWOYO WA YESU
    1
    JJANGU Mwoyo wa Yesu,
    Mu nzikiza otuwe
    Omusana gw’obulamu-
    Sembera, Musanyusa,
    Tuula mu myoyo gyaffe,
    Otufugire ddala.

    2
    Ggwe Kiwummulo kyaffe,
    Mu byonna bye tukola
    Otuwummuze gy’oli
    Otumalemu-ebibi,
    Merusa mu ffe-ekisa,
    Tulyoke tukwagale.

    3
    Longoosa-ebyonoonese
    Wonya-ebiwundu byaffe,
    Tonnyesa-emikisa gyo.
    Emyoyo gy’abajeemu,
    Era-abalina-ebibi
    Ogikyusize ddala.

    4
    Abeesigira ddala
    Obuyinza bwo bwonna
    Bulijjo-obakuumenga
    Mu nsi-otwe-ekisa kyo,
    Era ku lw’amaanyi go,
    Otutuuse mu ggulu.

  • Hymn Essala esaba ekisa Lyrics

    Oluyimba Essala esaba ekisa Lyrics

     

    ayi mukama,kitaffe ow’omuggulu;
    katonda ayinza byonna atagwaawo;
    gwe atutuusizza nga tuli balamu ku lunaku luno we lusookera,
    otuzibire n’amanyi go,
    otubeere tuleme okwonoona leero
    newankubadde okuyingira mukabi konna,
    naye buli kye tukola ,
    okilungamye mu kufuga kwo,
    tukole bulijjo ebiri mu maaso go eby’obutuukirivu,
    kubwa yesu kristo
    mukama waffe,amiina.

  • Hymn 8: GGWE MUSANA GW’OBULAMU Lyrics

    Oluyimba 8: GGWE MUSANA GW’OBULAMU Lyrics

     

    OLUYIMBA 105: OMWOYO OMUTUKUVU
    1
    -OMWOYO-Omutukuvu
    Oyingire mu ffe;
    Emitima gyaffe
    Gijjule-okwagala;
    Mubeezi waffe yakira
    Mu bulamu bwaffe bwonna.

    2
    -Omwoyo-Omutukuvu
    -Otumalemu mu ffe
    Okwegomba kwonna
    Okutasaanira;
    -Omusana-ogwakaayakana
    Omulise-emyoyo gyaffe.

    3
    -Omwoyo-Omutukuvu
    Tuwe-Okwagalana;
    Tutuukirizenga
    Etteeka lya Yesu:
    Twesibenga-obuwombeefu
    Tunakuwalire-ebibi.

    4
    -Omwoyo-Omutukuvu
    Otusobozese
    Okutuukiriza
    Yesu by’ayagala;
    Tuyaayaanire Katonda,
    Bye yategekera fenna.

  • Hymn ENZIKIRIZA YA’BATUME Lyrics

    Oluyimba ENZIKIRIZA YA’BATUME Lyrics

     

    Nzikiriza Katonda Kitafe Omuinza webintu byona,
    Omutonzi wegulu Nensi;
    Ne Yesu Kristo Omwanawe omu yeka Mukama wafe,
    Eyazalibwa omuwala atamanyi musajja Malyamu,
    eyali olubuto Olwomwoyo Omutukuvu.
    Nabonyabonyezebwa ku mirembe gya Pontio Pirato;
    Nakomererwa ku musalaba; Nafa; Nazikibwa;
    Naka Emagombe mu bafu;
    Olunaku olwokusatu nazukira mu bafu,
    Nagenda mu gulu;
    Atude ku mukono ogwadyo ogwa Katonda Kitafe Omuinza webintu byona;
    Naye alivayo okukomawo okusala omusango gwabalamu nabafu.
    Nzikiriza Omwoyo Omutukuvu;
    Nekanisa entukuvu Eyabantu bonna ela ebuna wona;
    Nokusekimu okwabatukuvu;
    Nokusonyibwa ebibi;
    Nokuzukira kwomubiri;
    Nobulamu obutagwawo.
    Amina.

  • Hymn 9: GY’OLI YESU TUWAAYO Lyrics

    Oluyimba 9: GY’OLI YESU TUWAAYO Lyrics

     

    OLUYIMBA 106: OLWA LEERO MBAGA:OLUNAKU LUNO LUKULU!
    1
    OLWA leero mbaga: Olunaku luno lukulu!
    Bwe tulwaniriza,ka tulukwatenga.

    2
    Leero-Omutonzi w’eggulu,olunaku n’ennyanja byonna,
    Yatandika-omulimu gwe,olw’amagezi ge.

    Olwa leero mbaga: Olunaku luno lukulu!
    Bwe tulwaniriza,ka tulukwatenga.

    3
    Leero Mukama yazikiriza okufa mu kufa kwe,
    Bw’atyo n’alyoka atuwa-essanyu n’essuubi lingi.

    Olwa leero mbaga: Olunaku luno lukulu!
    Bwe tulwaniriza,ka tulukwatenga.

    4
    Leero Katonda yajjuza-abatume amaanyi g’Omwoyo
    Okuyigirizanga era n’okulunggamyanga.

    Olwa leero mbaga: Olunaku luno lukulu!
    Bwe tulwaniriza,ka tulukwatenga.

    5
    Leero mwenna abakkiriza mu nsi yonna mumutende
    Omununuzi wammwe namaloboozi gonna.

    Olwa leero mbaga: Olunaku luno lukulu!
    Bwe tulwaniriza,ka tulukwatenga.

    6
    Leero abali ewala mu nzikiza balitegeera
    Ekitiibwa kye-ekingi n’obutuukirivu bwe.

    Olwa leero mbaga: Olunaku luno lukulu!
    Bwe tulwaniriza,ka tulukwatenga.

    7
    Tukusaba, bulijjo-obeerenga mu myoyo gy’abantu bo,
    Ggwe Mulokozi Yesu,era Mukama waffe.

    Olwa leero mbaga: Olunaku luno lukulu!
    Bwe tulwaniriza,ka tulukwatenga.