Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

Luganda Anglican Hymns COU lyrics

  • Hymn 24: OMUKISA GWA KITAFFE Lyrics

    Oluyimba 24: OMUKISA GWA KITAFFE Lyrics

     

    OLUYIMBA 12: ENJUBA Y’OMWOYO GWANGE
    1
    ENJUBA y’omoyo gwange,
    -Omulokozi gwe njagala;
    Bw’abanga-anjakira-,obudde
    Tebujja kunzibirira.

    2
    Emitawaana egy’ensi
    Gireme-okusiikiriza
    Omusana gw’amaaso go,
    Ne siyinza kukulaba.

    3
    Bwe ngenda-okwebaka-ekiro
    Onteeke mu mikono gyo,
    Onkuume mu kabi konna,
    Oneebase mu mirembe.

    4
    Enkya,mu ttuntu, n’ekiro,
    Era ne me bifo byonna,
    Ggwe-ayagala abaana bo,
    Beeranga nange,tondeka.

    5
    Oba nga-omu gwe watonda
    Anyoomye-ekisa kyo leero
    Kaakano-omutaase oyo,
    Mu buyinza-obw’omulabe.

    6
    Ojjanjabe-abalumwa-ennyo,
    N’abatayinza kwebaka,
    Obawonye-endwadde zaabwe;
    Obaggyeko-obubi bwonna.

    7
    Era bwe tunaazuukuka
    Ojje otuwe-ekisa kyo;
    Nga tetunnaba kukola
    Emirimu-egya bulijjo

  • Hymn 25: KITAFFE TWEWAAYO Lyrics

    Oluyimba 25: KITAFFE TWEWAAYO Lyrics

     

    OLUYIMBA 120: KATONDA WANGE NKUWADDE
    1
    KATONDA wange nkuwadde
    -Omwoyo gwange gwonna;
    Nnemenga okukuvaako
    emirembe gyonna.

    2
    Neesudde ku bigere byo,
    Ggwe-eyakomererwa:
    Komerera-ebibi byange,
    Nkuweereze wekka.

    3
    Olw’ekisa kyo-ontukuze ,
    Onfuule owuwo,
    Ndyoke ndabe amaaso go
    Nkutenderezenga.

    4
    Nkuwadde byonna bye nkola
    N’ebyo bye ndowooza,
    Nkuweereze mu bulamu,
    Mu kufa nbe naawe.

    5
    Eddungu weeriri,
    Lye mpitamu,naye
    Ka nnyanguwe gy’oli
    Ennyonta yange-eggwe.

  • Hymn 10: OMPULIRE KITAFFE Lyrics

    Oluyimba 10: OMPULIRE KITAFFE Lyrics

     

    OLUYIMBA 107:- ABATUKUVU BA KATONDA
    1
    -ABATUKUVU ba Katonda
    Entalo zaabwe zaggwaawo,
    Tebakyetaaga mafumu,
    Tebakyewoma mu ngabo.
    Baweereddwa-omukisa bo,
    Bajjudde-essanyu lya Yesu.

    2
    -Abatukuvu ba Katonda
    Batuuka mu kiwumulo,
    Tebeesittala kaakano
    So tebazirika nate.
    Baweereddwa-omukisa bo,
    Balaba-amaaso ga Yesu.

    3
    -Abatukuvu ba Katonda
    Edda baafuba n’amaanyi;
    Mu nnyanja y’ennaku zaabwe,
    -Amayengo nga gabakuba.
    Baweereddwa-omukisa bo,
    Bagobye mu mwalo gwabwe.

    4
    -Abatukuvu ba Katonda
    -Emibiri gyabwe givunda,
    Bw’aliijja balizuukira,
    Ne basanyusibwa Yesu.
    Baweereddwa omukisa-bo,
    Kabaka waabwe-ajja mangu.

    5
    Katonda w’abatukuvu
    Yesu, -Omulokozi waffe
    Omwoyo eyatukuuma,
    Katonda-omu mu Busatu;
    Otuwe-abakukkiriza,
    -Otutuuka mu mirembe gyo

  • Hymn 26: JJANGU GGWE OMUNUNUZI WAFFE Lyrics

    Oluyimba 26: JJANGU GGWE OMUNUNUZI WAFFE Lyrics

     

    OLUYIMBA 121: ALIJJA:ESSUBI ERYO
    1
    ALIJJA:essubi eryo
    Lye litugumya-emyoyo
    Ekiseera kitono
    Okutuusa lw’alidda;
    Naffe tulijaguza
    Fenna Yesu bw’alijja.

    2
    Be twayagalanga ffe
    Bwe baba nga beebase
    Ne tweraliikirira
    Ne tubeera mu nnaku;
    Ka tuleke-okukaaba;
    Tuliwona,bw’alijja.

    3
    Bwe tulaba ennaku,
    Tetunyiiga n’akamu;
    Okufiirwa bannaffe
    N’ennaku ze tulaba;
    Tubigumiikirize,
    Okutuusa lw’alijja.

    4
    Ka tulye ku mbaga ye
    Ey’enviinyo n’emmere;
    Bino bye bijjukizo,
    Okutuusa ku biro
    Lw’alituliisa fenna
    Be yayita, bw’alijja.

  • Hymn 11: KABAKA WANGE Lyrics

    Oluyimba 11: KABAKA WANGE Lyrics

     

    OLUYIMBA 108: ABALOKOLE BA YESU,BE YATUUSA MU GGULU
    1
    ABALOKOLE ba Yesu, be yatuusa mu ggulu,
    Bonna baana baKatonda, bonna batuukirivu;
    Aleruuya,Aleruuya,bwe bayimba bwe batyo:
    Ne bakuba-ennanga zaabwe,olw’essanyu lingi nnyo.

    2
    N’abawonya-ennaku zaabwe,n’abawa-obulamu bwe,
    Ne baweebwa-obutuukirivu ku lw’omusaayi gwe;
    Era-engoye zaabwe zonna ne zimasamasa nnyo;
    Yesu n’abafuula-abaana,n’abasanyukirako

    3
    Omukadde,era nabbi,abamugoberera,
    Omulenzi n’omuwala,era n’omuvubuka,
    Abaayagala Katonda,era-abaamwuweereza;
    Baali baddu ba Ssetaani,kaakano balokose.

    4
    Bwe baabeera mu nsi muno,bo baalwana n’amaanyi;
    Ne balaba-ennaku nnyingi,ne bakolwa obubi;
    Ne bakubibwa-amayinja,ne bajoogebwa-ababi;
    Ne baduulirwa-ab’ettima,bwe baalumwa bwe batyo

    5
    Yesu kiki-ekyabawanguza Ssetaani bulijjo?
    Ku lw’amaanyi go baawangula,era ku lwekisa kyo:
    Ne bayoza-engoye zaabwe mu musaayi gwa Yesu;
    Bo baakemebwa Ssetaani,ne banywerera ddala.

    6
    Katonda wa bakatonda,ggwe-eyazaalibwa wekka,
    Ggwe-omusana omulungi, olw’abo tusanyuka:
    Ka tukwate-empisa zaabwe,nga tukwesiga wekka
    Yesu Mulokozi waffe,ggwe eyatufiirira

  • Hymn 27: MUZUUKUKE! MMWE-ABEEBASE Lyrics

    Oluyimba 27: MUZUUKUKE! MMWE-ABEEBASE Lyrics

     

    OLUYIMBA 122: ENJALA N’ENNYONTA
    1
    ENJALA n’ennyonta
    Binnuma-:ompeereze
    Amazzi g’obulamu-
    N’emmere-eva gy’oli.

    2
    Ggwe-eyabetentebwa,
    Ku bwange,Mukama;
    -Omugaati gw’obulamu
    Gumpe, nneme-okufa.

    3
    Ggwe,Ayi Muzabibbu
    Oguleeta-obulamu
    Onnywese-enviinyo yo,
    Envumule-omwoyo,

    4
    Nkooye n’okukoowa,
    -Olugemdo lunnyinze;
    -Ondiise ku mmere yo,
    -Ombeere,Mulokozi.

    5
    Eddungu weeriri,
    Lye mpitamu,naye
    Ka nnyanguwe gy’oli
    Ennyonta yange-eggwe.

  • Hymn 12: ENJUBA Y’OMWOYO GWANGE Lyrics

    Oluyimba 12: ENJUBA Y’OMWOYO GWANGE Lyrics

     

    OLUYIMBA 109: KATONDA YAGABA EGGYE
    1
    KATONDA yagaba eggye
    -Okulwana n’ebibi;
    -Omugabe we ye mwana we:
    Musajja we y’ani?

    2
    Akwata-omusaalaba gwe
    Ayita ne Yesu,
    Ass’ekimu n’ennaku ze,
    Musajja we y’oyo.

    3
    Ng’oli gwe baakuba edda
    Ku lwa Mukama we,
    Bwe yali ng’abasabira
    Baali balabe be,

    4
    Baamutta ng’afukamidde
    Ye ng’alaba Ye su.
    Bwe yali ng’ayimiridde
    -Okumulwanirira.

    5
    Eggye-eddungi ery’ettendo.
    Ery’abajulirwa;
    Abaafiira mu muliro
    Era ne ku miti.

    6
    Mu bunnya bw’empologoma
    Bangi baasuulibwa;
    Era baabatta n’empiima,
    Naye ne baguma

    7
    Eggye-eddungi ery’abantu
    -Abakulu n’abato
    Beeyanza Yesu n’essanyu
    Leero ne bulijjo.

    8
    Mukama waffe, tusaba
    Otuwe-ekisa kyo;
    Ennaku bwe tuziraba,
    Twesige-amaanyi go

  • Hymn 28: YESU ALIJJA N’EBIRE Lyrics

    Oluyimba 28: YESU ALIJJA N’EBIRE Lyrics

     

    OLUYIMBA 123: MUJJE MUWEEBWE EKIJUKIZO
    1
    MUJJE muweebwe ekijukizo
    -Eky’okufa n’okulumwa kwa Yesu.

    2
    Bonna-abakkiriza ssadaaka ye,
    Olw’ebibi byabwe,balokoke.

    3
    -Omusaayi n’omubiri biriisa
    Emyoyo gyaffe lwa kukkiriza.

    4
    Eyatuwa-obulokozi bwaffe,
    Ye nnyini ali wakati mu ffe.

    5
    Tusemberenga n’okukkiriza,
    Tufune-amaanyi ge twetaaga ffe.

    6
    Yesu-Omugabuzi w’embaga-eno,
    Tusseekimu ffe naawe mu ggulu.

  • Hymn 13: MUSANA MULUNGI Lyrics

    Oluyimba 13: MUSANA MULUNGI Lyrics

     

    OLUYIMBA 11: KABAKA WANGE
    1
    KABAKA wange nsanyuka
    Okwebaza-ekitiibwa kyo,
    Enkya okusuuta-erinnya lyo,
    n’okulinyumyako-ekiro.

    2
    Lunaku lwo lutukuvu
    Lwa kitiibwa, lwa ssanyu nnyo:
    Muyimbe mwenna amawanga,
    N’essanyu lingi n’okutya.

    3
    Bakozi b’obubi bonna
    Bajja kusaasaanyizibwa
    Baloka mangu ng’omuddo,
    Naye balizikirira.

    4
    Batukuvu ba Mukama
    Banywera nnyo ng’omuvule,
    Kibuyaga tamenya bo,
    Baweereddwa-okubeerawo.

  • Hymn 29: MUSANYUKE ABALOKOLE Lyrics

    Oluyimba 29: MUSANYUKE ABALOKOLE Lyrics

     

    OLUYIMBA 124: KABAKA-OW’EKISA,TUNUULIRA
    1
    KABAKA-ow’ekisa,tunuulira
    Leero ffe-abaana bo abasaba.

    2
    Ggwe-Omusumba eyatununula,
    Kuuma leero endiga zo zonn.

    3
    -Omulokozi eyatufiirira,
    Leero-otuwe-obulamu-obutaggwaawo.

    4
    Ggwe-emmere y’obulamu-otuliise
    Tufune-amaayi mangi mu mwoyo.

    5
    Beera naffe buli gye tugenda,
    -Omugabe waffe,era Omusaale.

    6
    Bwe tutyo bwe tulimala-okufa,
    tulituuka nessanyu mu ggulu