Oluyimba 40: MU KIBUGA KYA DAWUDI Lyrics
OLUYIMBA 134: MUJJE, NGA MWETEREEREKA
1
MUJJE,nga mwetereereka
Mwenna-eriKatonda,
Okwagala kwe kujjuze
-Emyoyo gyammwe.
2
Wulira:ggwe-alindirira
-Omugole wo leero,
Mu kwagalana-okutaggwaawo
Mugattibwe.
3
Naawe akkiriza wano
Okumufumbirwa,
Laba Kitaffe awulira
-Obweyamo bwo!
4
Nammwe ababeetoolodde
Okubaasabira,
Katonda waffe-akakasa
-Ebirayiro.
5
Mujje nga mwetereereka;
Mukama waffe-ajja,
Okubasembeza gy’ali,
-Abagole be
6
Bwe mutyo mwetereereke
Agabire bonna
Omwaoyo-Omutukuvu
Abasaba.