Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

Luganda Anglican Hymns COU lyrics

  • Hymn 30: EKIRO KIYISE Lyrics

    Oluyimba 30: EKIRO KIYISE Lyrics

     

    OLUYIMBA 125: YESU-OMUBIRI GWO Y’EMMERE
    1
    YESU-omubiri gwo y’emmere
    Eriisa-ab’omu nsi zonna,
    Ggwe-obulamu bw’abantu bonna,
    Wafa ku bwaffe-,otuwonye.

    2
    Tunuulira-okusinda kwaffe
    N’okukaaba kwaffe kwonna;
    Embaga-eno-etutegeezenga
    Nga bw’otukkusa mu njala

  • Hymn 46: EKIRO KYA SSEKUKKULU Lyrics

    Oluyimba 46: EKIRO KYA SSEKUKKULU Lyrics

     

    OLUYIMBA 14: KAAKANO BULI KINTU
    1
    KAAKANO buli kinyu,
    Ensolo n’ebimuli,
    N’abantu byebaka:
    Otulo tubikutte,
    Naye ggwe mwoyo gwange,
    Ofumiitirize bino.

    2
    Eggulu litangaala
    Obudde nga buzibye,
    -Emmunyeenye ne zaaka;
    Katonda bw’alimpita,
    Ndigenda mangu gy’ali
    Ne ndeka obuyinike.

    3
    Bitundu byaffe byonna
    Byesiima-okuwummula
    -Emirimu giwedde;
    Bwe gutyo-omwoyo gwange
    Edda bwe guliteebwa
    Gulijjula emirembe.

    4
    Bwe twebaka,amaaso
    Gabeera nga gazibye,
    Nga tetuwulira;
    Naye Yesu akuuma
    Bonna abamwesiga,
    N’abo-abeebakira mu ye.

  • Hymn 31: YESU OMULINDWA, JJANGU! Lyrics

    Oluyimba 31: YESU OMULINDWA, JJANGU! Lyrics

     

    OLUYIMBA 126: LABA-EMMEZA YANGE
    1
    LABA-emmeeza yange
    Nga-ejjudde ebya ssava;
    Mujje ku mbaga-eno
    Mulye-emmere y’obulamu.

    2
    Alina ennyonta
    N’enjala ng’emuluma;
    Ajje mangu gye ndi
    Nange naamuliisanga.

    3
    Nze mmere ennungi
    Kitange gye yabawa;
    Ereetera ensi
    Obulamu-obutaggwaawo.

  • Hymn 47: KINO KYA KTALO NNYO Lyrics

    Oluyimba 47: KINO KYA KTALO NNYO Lyrics

     

    OLUYIMBA 140: EBINTU-EBIRUNGI N’EBINTU-EBIKULU
    1
    -EBINTU-ebirungi n’bintu-ebikulu
    Eby’amagezi,n’ebituukirivu;
    -Ebintu ebinene n’ebintu-ebitono
    Byonna byakolerwa ddala Katonda.

    2
    Nate-ebigambo ebiri mu kyama,
    Bye tulowooza-era ne bye twogera
    Bwe tubikisa mu mwoyo-abimanyi
    Ebyo-ebikweke,byonna abiraba.

    3
    -Abantu ba wano n’abantu b’ewala,
    -Abantu abasiru n’abantu-abagezi;
    -Abaana ba Adanu bonna-abalamu,
    Bonna bakuumibwa Yesu Mukama.

    4
    -Abantu-abgaga n’abantu abanaku,
    -Abantu ba wano n’abava-e Bulaaya;
    -Abaana b’abaddu n’abaana b’Abaami
    Bonna benkana mu maaso ga Yesu.

    5
    Mu nsi tewali na mwana wa muntu,
    Atayagalwa Katonda-Omuyinza;
    Bonna abalina-omwoyo-omuwombeefu,
    Ogumuwulira,abakkiriza.

    6
    Kale,tweyanze Katonda-ow’ekisa;
    Ffe abanaku twakyama twabula:
    Tumweyanze,alokolera ddala
    Bonna-abakkiriza Yesu Mukama.

  • Hymn 32: MULOKOZI WAFFE YATUGAMBA Lyrics

    Oluyimba 32: MULOKOZI WAFFE YATUGAMBA Lyrics

     

    OLUYIMBA 127: GGWE-OMWOYO GWANGE,WEEYONJE
    1
    GGWE-omwoyo gwange,weeyonje
    Ggwe weeyonjenga n’essanyu;
    Va mu nzikiza y’ennaku,
    Laba omusana gw’ensi;
    Jaguzanga nnyo namaanyi,
    Tenderezanga omwami
    Ateekawo-embaga eno
    Okuliisa abalonde.

    2
    Yesu-emmere-ey’omu ggulu,
    Yesu agaba-obulamu;
    -Onsembeze ku mmeeza leero;
    -Onsembez-omubi-omwereere.
    Owa,ku lw’embaga eno
    -Okutegeera-okwagala kwo,
    Onsembeze-omuddu wo nze
    Mu lubiri ng’omugenyi.

  • Hymn 48: YE KIGAMBO WA KATONDA Lyrics

    Oluyimba 48: YE KIGAMBO WA KATONDA Lyrics

     

    OLUYIMBA 141: EGGULU LIKUSINZA
    1
    EGGULU likusinza
    Mukama,Mutonzi!
    Ebbanga likusuuta
    N’ebirimu byonna.
    Tebikoowa kutenda
    -Emisana n’ekiro
    -Amagezi go,n’amaanyi
    -Ekitiibwa n’ekisa.

    2
    Enjuba-ey’ekitiibwa,
    Etenda-amaanyi go;
    Omwezi n’emmunyeenye
    Bisinza-erinnya lyo;
    Bibuulira-amawanga
    Agatannalaba,
    Bulungi bwa Mukama
    Bibuulira-amawanga
    Agatannalaba,
    Bulungi bwa Mukama
    Eyatonda byonna.

    3
    Kigambo kya mazima
    Kye watuweereza,
    Ktukuvu,kirungi,
    Kisanyusa ddala.
    -Amateeka ge watuwa
    Malungi,ga kisa;
    Gagaggawaza-abaavu,
    Galeeta-amagezi.

    4
    Tewali n’omu-ayinza
    Kwekuumira ddala,
    N’okutuusa-amateeka,
    N’obutayonoona.
    Katonda,ombeerenga!
    Nneme-okwerabira,
    N’okukunakuwaza
    Nga nkyamu bulijjo.

    5
    Eggye er’omu ggulu
    -Ebitonde-eby’omu nsi,
    Byonna bitendereza
    Erinnya lyo-eddungi:
    Nange Mukama wange
    Ka neeweeyo gy’oli;
    Omwoyo n’omubiri,
    Okukuweereza.

  • Hymn 33: LABA,ANAAWASA-OMUGOLE EKIRO AJJA Lyrics

    Oluyimba 33: LABA,ANAAWASA-OMUGOLE EKIRO AJJA Lyrics

     

    OLUYIMBA 128: GGWE-EMMERE Y’OBUGENYI
    1
    GGWE-emmere y’obugenyi,
    Ggwe maanu y’abalonde,
    Eriisa-abeesigwa:
    Abatambuze-abakoowu
    Tulumibwa enjala
    Olw’obulungi bwo.

    2
    Ggwe-oluzzi olutaggwaawo
    Era-olukulukuta
    N’essanyu n’ekisa,
    -Oluwummuza-ab’ennyonta
    -Okutuusa lwe bawona
    N’amazzi g’obulamu.

    3
    Tulabira kaakano
    Kyokka mu ndabirwamu;
    Ebitalabika:
    Naye mu biro biri
    Tunaatunuuliranga
    Amaaso ge ddala

  • Hymn 49: KU LUNAKU LUNO Lyrics

    Oluyimba 49: KU LUNAKU LUNO Lyrics

     

    OLUYIMBA 142: ENKYA BWE NZUUKUKA
    1
    ENKYA bwe nzuukuka,
    Bwe mba ngolokose;
    Nnasuutanga Katonda
    Ng’amaaso galaba
    Enjuba evuddeyo
    Nnaasuutanga Katonda.

    2
    Ng’engoma-entukuvu
    Ez’akawungeezi
    Bwe ziyita-okusaba,
    Kyenva njijukira
    Obulungi bwe bwonna
    Ne nsuutanga Katonda.

    3
    Bwe nkola-omulimu
    Ogundagirirwa,
    Nnaasuutanga Katonda;
    Nga ntoowolokoka,
    Nga nzannya-,oba nga ndya,
    Nnaasuutanga Katonda.

    4
    Mmwe-abantu b’omu nsi,
    Mmwe mwenna, bulijjo
    Musuutenga Katonda
    Bw’asaanidde yekka
    -Okutenderezebwa;
    Katonda-Ayinza byonna.

  • Hymn 34: MMWE MWENNA-ABALONDE Lyrics

    Oluyimba 34: MMWE MWENNA-ABALONDE Lyrics

     

    OLUYIMBA 129: KRISTO,BW’ATYO,BWE YEEWAYO
    1
    KRISTO,bw’atyo,bwe yeewayo
    Ku lwaffe, ku muti;
    Bwe tutyo naffe tweweeyo,
    Okulokolebwa.

    2
    Omubiri gwe ye mmere
    Eriisa-abeetaaga
    Kigambo kye tekiggwaawo
    Emirembe gyonna.

    3
    Otuliise-omubiri gwo
    Tunywe-omusaayi gwo;
    Nga bwe tusembera gy’oli
    Tufune-obulamu.

    4
    Kitiibwa eri Kitaffe
    Era neri-Omwana.
    N’eri-Omwoyo-Omutukuvu
    Emirembe gyonna.

  • Hymn 35: ABAKRISTAAYO BOONA-AB’OMU NSI Lyrics

    Oluyimba 35: ABAKRISTAAYO BOONA-AB’OMU NSI Lyrics

     

    OLUYIMBA 13: MUSANA MULUNGI
    1
    MUSANA mulungi
    Oli ne Kitaffe;
    Ow’ekitiibwa,-ekingi,
    Wakka ku lwa -ababi;
    Mulokozi Yesu,
    Twesiimye-okukulaba.

    2
    Nga tebunnaziba,
    N’enzikiza ng’ejja,
    N’ennyimba z’olw’eggulo,
    Tusuute Kitaffe,
    N’Omwana we Yesu
    N’Omwoyo Omutukuvu.

    3
    Ggw’oli Mutukuvu,
    Tukutendereza.
    Yesu bulamu bwaffe
    Wansi ne mu ggulu;
    Ensi-ekusuuta
    Teekomyenga ttendo lyo.