Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

Luganda Anglican Hymns COU lyrics

  • Hymn 68: YESU MUKAMA WAFFE Lyrics

    Oluyimba 68: YESU MUKAMA WAFFE Lyrics

     

    OLUYIMBA 16: GUWEDDEWO OMUSANA
    1
    GUWEDDEWO-omusana;
    Yesu tweyanza ggwe;
    Ekiro tukusaba
    Tuleke ebibi;

    Mu budde obw’enzikiza,
    Ayi Yesu,otukuumenga.

    2
    Biweddewo kaakano
    Bigambo bya leero;
    -Omulokozi,tuwonye
    Mu maayi g’ekibi.

    Mu budde obw’enzikiza,
    Ayi Yesu,otukuumenga.

    3
    Emirimu giwedde;
    Tukwegayirira,
    -Otuggyeko-akabi konna;
    Otuzibirenga.

    Mu budde obw’enzikiza,
    Ayi Yesu,otukuumenga.

    4
    Tukuume-emyoyo gyaffe;
    Katonda ggwe-omanyi,
    Obubi bw’omu kkubo
    Ffe lye tuyitamu.

    Mu budde obw’enzikiza,
    Ayi Yesu otukuumenga.

  • Hymn 53: YESU OMWANA OW’EKISA Lyrics

    Oluyimba 53: YESU OMWANA OW’EKISA Lyrics

     

    OLUYIMBA 146: KA TUMUSINZE,KATONDA WAFFE
    1
    KA tumusinze,Katonda waffe
    Tumuyimmbire-eby’okwagala kwe,
    Akuuma,ayamba,Mukulu wa dda,
    Ekitiibwa kyonna kimwetooloola.

    2
    Obuyinza bwe neby’ekisa kye
    Tubibuulire mu nsangi zonna,
    Eggulu n’eraddu-era n’omuyaga
    Byonna be baddu be abaweereza.

    3
    Wansi w’eggulu,Kabaka waffe,
    Waateekebwa dda enkuluze yo
    Y’ensi gye wasimba,n’ogyetoolooza
    Ennyanja zonna nga ensalo zaayo.

    4
    Ani ayinza okunnyonnyola
    Eby’Omugabi waffe by’agaba;
    Ensozi n’ensenyi,-enkuba n’olume,
    Empewo, n’omusana bimusuuta.

    5
    Ffe-abaana-abato banafu ddala
    Tukwesiga ggwe atatulimba,
    Eby’ekisa kyo bye by’okwewuunyisa,
    Ggwe-atonda,ggwe akuuma,ggwe-akwana,Yesu.

    6
    Ayi ow’amaayi, ow,okwagala;
    Bamalayika bakutenda nnyo
    Emigigi egy’abanunule bo
    Basinza, basuuta,baleeta-eteendo.

  • Hymn 69: KATONDA, BWE BAALUMWA-ENNYO Lyrics

    Oluyimba 69: KATONDA, BWE BAALUMWA-ENNYO Lyrics

     

    OLUYIMBA 160: YESU YE YAVA MU GGULU
    1
    YESU ye yava mu ggulu,
    N’akka-okufiirira-abantu;
    Era-ekitabp kyogera
    Bw’asaasira ffe-aboonoonyi.

    2
    Yatambulanga bulijjo,
    N’avumulanga-abalwala;
    Yalongoosanga bangi nnyo,
    N’azuukizanga abafu.

    3
    Yabuuliranga bulinjo
    Enjiri-ey’obulokozi;
    Era kubanga wa kisa,
    N’asembezanga abaana.

    4
    Naye oyo-eyakolanga
    -Obulungi bwonna-obw’ekisa
    Yabonyaabonyezebwa nnyo,
    N’awanikibwa ku muti.

    5
    Bw’atyo bwe yafa, yafuuka
    Omuntu n’atufiirira:
    Ffe tulyoke tusonyiyibwe
    Ebyonoono byaffe byonna.

  • Hymn 54: NSANYUKIRA OLUYIMBA Lyrics

    Oluyimba 54: NSANYUKIRA OLUYIMBA Lyrics

     

    OLUYIMBA 147: MUKAMA OMUYINZA WA BYONNA,OMUTONZI
    1
    MUKAMA Omuyinza wa byonna,Omutonzi;
    Ka mmutenderezenga Omulokozi wange:
    Musembere
    Abooluganda bonna,
    Mujje tusinze n’essanyu.

    2
    Obufuzi bwe butenderezebwenga wonna:
    Obw’oyo-akuuma n’ekisa,ayamba-obulungi:
    Tolabanga?
    Bw’anaakugabiranga,
    Omwoyo gwo bye gwegomba.

    3
    Omwoyo gwange gwonna gumutende n’amaanyi
    Abantu ne bamalayika bonna basuute:
    Tuwulire,
    Abantu bwe bayimba
    Ennyimba ez’amatendo.

  • Hymn 55: LABA -OMWANA AZAALIDWA Lyrics

    Oluyimba 55: LABA -OMWANA AZAALIDWA Lyrics

     

    OLUYIMBA 148: MUMUTENDE YE
    1
    MUMUTENDE ye
    Mmwe eb’omu bbanga
    Ne bakkerubi
    -Olw’obutonzi bwe.
    Mmwe-eggulu musuute
    Eyabatonda;
    Mumuvuunamire
    Mu bukulu bwe.

    2
    Mumutende ye
    Mmwe ab’oku nsi,
    Mukube-ennanga
    Mmwe abalonde be.
    Mumutende-olwa byonna
    Eby’ekisa kye;
    Musuute-eyabawa
    Okuyimbanga.

    3
    Mumutende ye
    Mmwe ebivuga
    -Eby’engeri zonna
    -Ez’amaloboozi.
    Mukube nnyo-ennanga
    Lw’ekitiibwa kye,
    Mmwe-ebitaasa mwenna
    Mumuwe-ettendo.

    4
    Mumutende ye
    Era mwebaze,
    Mu biro byonna
    Mumusuutenga;
    Eyatwagala-ennyo
    N’atununula
    Atenderezebwe
    -Emirenbe gyonna

  • Hymn 56: EKISEERA KYE KITUUSE Lyrics

    Oluyimba 56: EKISEERA KYE KITUUSE Lyrics

     

    OLUYIMBA 149: OKWOLESEBWA KULUNGI
    1
    OKWOLESEBWA kulungi,
    Nabbi kwe yalaba-edda;
    Maloboozi ga kitalo
    Olwo ge yawulira.

    2
    Mu yeekaalu ya Katonda,
    Ng’atudde ku ntebe ye;
    Bakkeerubi,Basseraafi;
    Bayimba-Antifoona-eno:

    3
    Ekitiibwa kyo kinene,
    Mu nsi-era ne mu ggulu;
    Oweebwe-ekitiibwa kyonna,
    Mukama Mutukuvu.

    4
    Mu ggulu bakyamusuuta,
    Ne mu nsi ne baddamu
    Nga bayimba:Mutukuvu
    Mukama-ow’eggye lyonna.

    5
    Wamu ne Bamalayika,
    Wamu n’Ekkanisa ye,
    Naffe tumutendereze,
    Naffe tumuyimbire.

    6
    Ekitiibwa kyo kinene,
    Mu nsi-era ne mu ggulu;
    Oweebwe-ekitiibwa kyonna,
    Mukama Mutukuvu.

  • Hymn 57: OMWANA-E BEESIREKEMU Lyrics

    Oluyimba 57: OMWANA-E BEESIREKEMU Lyrics

     

    OLUYIMBA 15: OBUDDE BUZIBYE
    1
    OBUDDE buzibye
    Enjuba-egenze
    Enzikiza-ekwata
    Mu bbanga ly’ensi.

    2
    Buli nsolo yonna,
    Era n’ennyonyi,
    Byonna biwummula
    Byebaka-otulo.

    3
    Ayi Mukama waffe,
    Ontunuulire,
    Kaakano nkusaba,
    Ompe-ekisa kyo.

    4
    Ebyonoono byange,
    Binkwasa-ensonyi;
    Naye-olw’ekisa kyo,
    Tongoba w’oli.

    5
    Bwe neebaka-otulo,
    Mu kiro kino;
    Bamalayika bo
    Bajje bankuume.

    6
    Ate bwe bunaakya,
    Nga ngolokose,
    Mbeere mu maaso go
    Omulongoofu.

    7
    Nsabira-abalwadde,
    Ne bannamwandu;
    Obawe-omutima
    Ogukwesiga.

    8
    Oweebwe-ekitiibwa
    Gwe-eyatonda-ensi;
    Ogulumizibwe,
    Gwe-eyazuukira.

  • Hymn 58: ESSANYU LINGI MU GGULU Lyrics

    Oluyimba 58: ESSANYU LINGI MU GGULU Lyrics

     

    OLUYIMBA 150: TUKWEYANZA KITAFFE
    1
    TUKWEYANZA Kitaffe
    Ggwe-atukumye-olw’ekisa
    Mu budde-obw’emisana,
    Ne mu mirimu gyaffe;
    Tukuume,Ayi Mutonzi,
    Mu nzikiza ya leero.

    2
    Tukusinza ggwe wekka,
    Nga tusuuta-erinnya lyo;
    Emikisa gyo-emingi,
    Gy’otuwa mu kisa kyo.
    Ffe abatasaanira;
    Kyetuva tweyanza-ennyo.

    3
    Naye-okusinga byonna
    Tweyanza-okwagala kwo,
    Olw’Omwana wo Yesu,
    Eyafiira ku muti,
    Ku lwaffe aboonoonyi;
    Tweyanza nnyo Kitaffe!

  • Hymn 59: EGGYE LYONNA ERY’OMU GGULU Lyrics

    Oluyimba 59: EGGYE LYONNA ERY’OMU GGULU Lyrics

     

    OLUYIMBA 151: TUMUYIMBIRE MUKAMA
    1
    TUMUYIMBIRE Mukama,
    Tuyimbe n’essanyu;
    Mujje,mujje nno tuyimbe,
    Tumuyimbire n’essanyu
    Nnyimba ne Zabbuli.

    2
    Kabaka waffe Mukama
    Ye Katonda yekka;
    Entikko z’ensonzi zize,
    N’ennyanja ye yagikola,
    Mulokozi waffe.

    3
    Ffe fenna tuli zzadde lye,
    Omutonzi waffe;
    Mujje, mujje nno tuyimbe,
    Tumuyimbire Katonda
    -Omulokozi waffe

  • Hymn 60: YESU NGA BWE YAZAALIBWA Lyrics

    Oluyimba 60: YESU NGA BWE YAZAALIBWA Lyrics

     

    OLUYIMBA 152: WEEBAZE GGWE EMMEEME YANGE
    1
    WEEBAZE ggwe-emmeeme yange,
    Weebaze mwoyo gwange;
    -Olw’ekitiibwa kye ekingi-ennyo,
    Leeta-ettndo lyo lyonna;
    Aleruuya,Aleruuya!
    Weebaze Katonda wo.

    2
    Weebaze-ekisa kye kingi
    Eri bajjajja-ab’edda.
    -Olw’ekisa kye-ekitakoma,
    Eyaliwo edda n’edda.
    Aleruuya,Aleruuya!
    Weebaze Katonda wo.

    3
    Ye Kitaffe,atukuuma,
    Atuliisa bulijjo
    Amanyi-obunafu bwaffe,
    Amanyi-obunafu bwaffe,
    Atuwonya mu kabi.
    Aleruuya,Aleruuya!
    Weebaze Katonda wo.

    4
    Bamalayika be bonna
    Bayimba ettendo lye,
    Oyanguwe-ojje n’ebire

    Olye-obwakabaka bwo.
    Aleruuya,Aleruuya!
    Weebaze Katonda wo.