Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

Luganda Anglican Hymns COU lyrics

  • Hymn 64: MMUNYEENYE- EYAKIRA BONNA Lyrics

    Oluyimba 64: MMUNYEENYE- EYAKIRA BONNA Lyrics

     

    OLUYIMBA 156: EWALA MU GGULU
    1
    EWALA mu ggulu
    Bamalayika be
    Bayimba n’essanyu
    Nga batendereza-
    Aleruuya!
    Basanyuka okuyimba
    Aleruuya!

    2
    Era mu nsi muno
    Katonda-akkiriza
    Ennyimba z’abato
    Bonna-abamwagala.
    Aleruuya!
    Naffe ka tumuyimbire,
    Aleruuya!

    3
    Yesu Mulokozi,
    Tukwegayiridde
    Otuyingirize
    Amazima gonna.
    Aleruuya!
    Tulyoke tukuyimbire,
    Aleruuya!

    4
    Ayi Yesu Mukama,
    Bunya-ekigambo kyo;
    Buli ggwanga-ery’ensi
    Likyukire gy’oli.
    Aleruuya!
    -Ebika byonna biriyimba,
    Aleruuya!

  • Hymn 65: OTUBEERE MMUNYEENYE ENNUNGI Lyrics

    Oluyimba 65: OTUBEERE MMUNYEENYE ENNUNGI Lyrics

     

    OLUYIMBA 157: MUJJE MWEBAZE MUKAMA
    1
    MUJJE mwebaze Mukama,
    Mwenna be yalokola;
    Mwolese-ekitiibwa ky’oyo
    Eyatonda ffe fenna.
    Okuva-edda n’edda lyonna
    Ye yabeerera yekka.

    2
    Ennyanja nga tennabaawo
    Newankubadde ensi,
    Yesu Mwana wa Katonda
    Ye yakkiriza-okufa,
    Alyoke-atununule ffe
    Mu bibi byaffe byonna.

    3
    Kaakano eyo mu ggulu
    Atulongoosereza
    Ebifo-eby’okubeeramu
    Buliio mu maaso ge.
    Mu nsi tulina ennaku,
    Eri ssanyu jjereere.

    4
    Bonna bamutendereza
    Mu ggulu-era-ne mu nsi,
    Bamalayika n’abantu
    Bamugulumiza nnyo.
    Katonda wa bakatonda
    Kkiriza-ettendo lyaffe.

  • Hymn 50: LABA OMWANA MU KIRAALO-OMU Lyrics

    Oluyimba 50: LABA OMWANA MU KIRAALO-OMU Lyrics

     

    OLUYIMBA 143: ENSI ZOONA,WE ZIFA ZENKANA
    1
    ENSI zonna,we zifa zenkana
    -Eggulu lyonna,
    Bitende Mukama
    Bimugulumize.
    Atenderezebwe,
    -Abantu n’ebitonde,
    Ensi zonna,we zifa zenkana,
    Zimusuuta.

    2
    Ensi zonna,we zifa zenkana,
    Zimusinze,
    Yimbanga Zabbuli,
    Yimbisa-amagezi;
    Okusinga byonna
    Yimbisa-omutima,
    Ensi zonna, we zifa zenkana.
    Zisinze-oyo.

  • Hymn 66: LABA-EMMUNYEENYE-ENNUNGI-ENNYO Lyrics

    Oluyimba 66: LABA-EMMUNYEENYE-ENNUNGI-ENNYO Lyrics

     

    OLUYIMBA 158: MUKAMA WAFFE-OW’OBULAMU!
    1
    MUKAMA waffe-ow’obulamu!
    Kigambo kya Katonda ggwe!
    Kabaka Yesu Mukama!
    Ensi n’eggulu bisuuta,
    Biyimbira waggulu nti Ozaana!

    2
    Eggye lyonna-ery’omu ggulu
    -Abatukuvu ab’omu nsi,
    Abaatusooka-okwebaka,
    Naffe-abakyaliwo leero,
    Ffe tukutendereza nti Ozaana!

    3
    Mulokozi ggwe-atukuuma
    Beera naffe nga tusinza,
    Nga bwe wasuubiza-ababo
    Nga tonnalinya mu ggulu:
    -Otubeere nga tusinza nti Ozaana!

    4
    Omwoyo wo-Omutukuvu
    Abeere mu myoyo gyaffe,
    Gifaanane ga yeekaalu
    Esaanidde-ekitiibwa kyo,
    Mwe tunaasinzizanga nti Ozaana!

    5
    Bwe tutyo bwe tulituuka
    N’essanyu lingi mu ggulu,
    Ffe-endiga ze watukuza
    Ng’omaze okutugula,
    Ne tulyoka twebaza nti Ozaana!

  • Hymn 51: GGWE KIBUGA BEESIREKEMU Lyrics

    Oluyimba 51: GGWE KIBUGA BEESIREKEMU Lyrics

     

    OLUYIMBA 144: GGWE KATONDA-ATAGGWAAWO
    1
    GGWE Katonda-ataggwaawo
    Afuga-amawanga
    Naffe fenna abantu
    Tukugulumize;
    Tuyimuse-eddoboozi
    Nga twewaayo gy’oli;
    Ka tujje gy’oli leero
    -Emibiri n’emyoyo.

    2
    Tukoowoola mmwe mwenna
    Ku lunaku luno
    Abakristaayo mwenna
    Mumutendereze.
    Tuyimbe nnyo n’essanyu
    Olw’emikisa gyo
    Kale ka tusanyuke,
    Ne bwe waba-ennaku.

    3
    Twegatte fenna bumu
    Okukuweereza;
    Yesu yatusabira
    Tubeerenga bumu
    Fenna ng’Ekkanisa ye
    Ng’abaana-abaagalwa;
    Kale twagalanenga
    Nga ye bw’atwagala.

    4
    Tuyimuke tuyimbe
    Tusuute Kitaffe:
    Era nga tusanyuka
    N’essanyu lingi nnyo;
    Tumuyimbire Yesu
    Eyatulokola.
    Ka tubeere n’essuubi
    -Okutuuka mu ggulu.

  • Hymn 67: ABANTU ABAABEERANGA Lyrics

    Oluyimba 67: ABANTU ABAABEERANGA Lyrics

     

    OLUYIMBA 159: MU MAASO GA YESU ABALOKOLE
    1
    MU maaso ga Yesu abalokole,
    -Ekibiina-ekinene,bayimiridde;
    Bayimba nti Eyatunaaza yekka
    -Aweebwe ekitiibwa ennaku zonna.

    2
    Kiki-ekyabanaaza-abalina-ebibi?
    Yesu yatunaaza n’omusaayi bw’ati;
    Tuyimba nti Eyatunaaza yekka,
    Aweebwe-ekitiibwa ennaku nzonna.

    3
    Kyebava bafaanana-abatukuvu;
    Kyebava bayimba abangi wamu;
    Ggwe Yesu wekka eyatutukuza,
    Oweebwe-ekitiibwa ennaku zonna.

    4
    Bo baali bajeemu,naye kaakano
    Be baddu ba Yesu-abamuweeereza
    Bayimba nti Eyatunaaza yekka
    Aweebwe-ekitiibwa ennaku zonna

    5
    Yesu,ffe fenna twandifudde bufi;
    Watwagala ne bwe twali ababi;
    N’otusaasira ggwe n’otutukuza;
    Oweebwe-ekitiibwa ennaku zonna.

    6
    Bannange, n’essanyu tumuyimbire,
    -Abalala balyoke bayimbe nabo,
    Ggwe Yesu wekka eyatutukuza,
    Oweebwe-ekitiibwa ennaku zonna.

  • Hymn 52: MU KISIBO KY’ENTE-E BEESIREKEMU Lyrics

    Oluyimba 52: MU KISIBO KY’ENTE-E BEESIREKEMU Lyrics

     

    OLUYIMBA 145: GGWE WEKKA-ATAGGWAAWO,OW’AMAGEZI
    1
    GGWE wekka-ataggwaawo,ow’amagezi
    Ggwe-amasamasa-ennyo tetukulaba;
    Oweebwe-ekitiibwa,ggwe Ayi Katonda;
    Ggwe Ayinza-byonna tukusinza nnyo.

    2
    Bulijjo tokoowa,so towummula,
    -Obuyinza bwo bwokka bufuga byonna:
    Oli wa mazima,tokyukakyuka,
    Olw’okwagala kwo tuli ba ddembe.

    3
    Ggwe-agaba-obulamu mu bintu byonna,
    Byonna bibeerawo ku lulwo wekka;
    Tugejja ne twanya ng’omuddo gw’ensi;
    Mangwago gukala; ggwe tokyukako.

    4
    Kitaffe-ow’ettendo,Omutukuvu
    Tuyambe-okulaba ekitiibwa kyo;
    Bamalayika bo awamu naffe,
    Tusuute, tusinze, tutndereze.

  • Hymn 68: YESU MUKAMA WAFFE Lyrics

    Oluyimba 68: YESU MUKAMA WAFFE Lyrics

     

    OLUYIMBA 16: GUWEDDEWO OMUSANA
    1
    GUWEDDEWO-omusana;
    Yesu tweyanza ggwe;
    Ekiro tukusaba
    Tuleke ebibi;

    Mu budde obw’enzikiza,
    Ayi Yesu,otukuumenga.

    2
    Biweddewo kaakano
    Bigambo bya leero;
    -Omulokozi,tuwonye
    Mu maayi g’ekibi.

    Mu budde obw’enzikiza,
    Ayi Yesu,otukuumenga.

    3
    Emirimu giwedde;
    Tukwegayirira,
    -Otuggyeko-akabi konna;
    Otuzibirenga.

    Mu budde obw’enzikiza,
    Ayi Yesu,otukuumenga.

    4
    Tukuume-emyoyo gyaffe;
    Katonda ggwe-omanyi,
    Obubi bw’omu kkubo
    Ffe lye tuyitamu.

    Mu budde obw’enzikiza,
    Ayi Yesu otukuumenga.

  • Hymn 53: YESU OMWANA OW’EKISA Lyrics

    Oluyimba 53: YESU OMWANA OW’EKISA Lyrics

     

    OLUYIMBA 146: KA TUMUSINZE,KATONDA WAFFE
    1
    KA tumusinze,Katonda waffe
    Tumuyimmbire-eby’okwagala kwe,
    Akuuma,ayamba,Mukulu wa dda,
    Ekitiibwa kyonna kimwetooloola.

    2
    Obuyinza bwe neby’ekisa kye
    Tubibuulire mu nsangi zonna,
    Eggulu n’eraddu-era n’omuyaga
    Byonna be baddu be abaweereza.

    3
    Wansi w’eggulu,Kabaka waffe,
    Waateekebwa dda enkuluze yo
    Y’ensi gye wasimba,n’ogyetoolooza
    Ennyanja zonna nga ensalo zaayo.

    4
    Ani ayinza okunnyonnyola
    Eby’Omugabi waffe by’agaba;
    Ensozi n’ensenyi,-enkuba n’olume,
    Empewo, n’omusana bimusuuta.

    5
    Ffe-abaana-abato banafu ddala
    Tukwesiga ggwe atatulimba,
    Eby’ekisa kyo bye by’okwewuunyisa,
    Ggwe-atonda,ggwe akuuma,ggwe-akwana,Yesu.

    6
    Ayi ow’amaayi, ow,okwagala;
    Bamalayika bakutenda nnyo
    Emigigi egy’abanunule bo
    Basinza, basuuta,baleeta-eteendo.

  • Hymn 69: KATONDA, BWE BAALUMWA-ENNYO Lyrics

    Oluyimba 69: KATONDA, BWE BAALUMWA-ENNYO Lyrics

     

    OLUYIMBA 160: YESU YE YAVA MU GGULU
    1
    YESU ye yava mu ggulu,
    N’akka-okufiirira-abantu;
    Era-ekitabp kyogera
    Bw’asaasira ffe-aboonoonyi.

    2
    Yatambulanga bulijjo,
    N’avumulanga-abalwala;
    Yalongoosanga bangi nnyo,
    N’azuukizanga abafu.

    3
    Yabuuliranga bulinjo
    Enjiri-ey’obulokozi;
    Era kubanga wa kisa,
    N’asembezanga abaana.

    4
    Naye oyo-eyakolanga
    -Obulungi bwonna-obw’ekisa
    Yabonyaabonyezebwa nnyo,
    N’awanikibwa ku muti.

    5
    Bw’atyo bwe yafa, yafuuka
    Omuntu n’atufiirira:
    Ffe tulyoke tusonyiyibwe
    Ebyonoono byaffe byonna.