Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

Luganda Anglican Hymns COU lyrics

  • Hymn 93: KABAKA MUKAMA WAFFE Lyrics

    Oluyimba 93: KABAKA MUKAMA WAFFE Lyrics

     

    OLUYIMBA 182: YESU,MWANA W’OMUNTU!
    1
    YESU,Mwana w’omuntu!
    Ggwe-,eyajja mu nsi muno
    N’ofuuka-omwana-omuto,
    Ku lw’okwagala-okungi.
    Kka,-Omulokozi wange!
    Tuula mu mwoyo gwange.

    2
    Yesu,Omwana gw’endiga!
    Ggwe-eyagumiikiriza,
    -Ennaku ezitalabwa
    N’obulumi n’okufa.
    Kka,-Omulokozi wange!
    Tuula mu mwoyo gwange.

    3
    Ggwe Mukama w’obulamu!
    Ggwe-eyawangula-okufa,
    Ggwe-eyalinnya muggulu
    -Olw’obuyinza bwo bwokka,
    Kka,-Omulokozi wange!
    Tuula mu mwoyo gwange.

    4
    Katonda-era Omuntu!
    Ggwe Mukama-ow’eggulu
    Tukuza-omwoyo gwange,
    -Olw’ekisa-onjigirize.
    Ndyoke mpeebwe-omukisa
    Ntuule naawe mu ggulu.

  • Hymn 109: KATONDA YAGABA EGGYE Lyrics

    Oluyimba 109: KATONDA YAGABA EGGYE Lyrics

     

    OLUYIMBA 197: GGWE-OLI MUTUKUVU,MUKAMA KATONDA
    1
    GGWE-oli Mutukuvu,Mukama Katonda;
    Enkya tukusuuta,tuyimbaa-ettendo lyo.
    Ggwe-oli Mutukuvu,wa kisa,wa maanyi;
    Katonda omu,mu Busatu.

    2
    Ggwe-oli Mutukuvu,bakusinza bonna,
    Abali mu ggulu bakuvuunamira;
    Kkerubi ne Sseraafi bakutendereza,
    Eyali,aliwo-,alibeerawo.

    3
    Mutukuvu wekka,tewali mulala;
    Ffe-ab’omu kizikiza,tetukulaba;
    Ggwe-oli Mutukuvu,obasinga bonna,
    -Amaanyi,-amagezi,era n’ekisa.

    4
    Ggwe-oli Mutukuvu,Mukama Katonda;
    Byonna bye watonda biraga-ettendo lyo.
    Ggwe-oli Mutukuvu,wa kisa,wa maanyi,
    Katonda omu,mu Busatu.

  • Hymn 94: ALERUUYA MYIMBE Lyrics

    Oluyimba 94: ALERUUYA MYIMBE Lyrics

     

    OLUYIMBA 183: YESU,-OBUYINIKE BWAFFE
    1
    YESU,-obuyinike bwaffe
    Wabwetikka wekka,
    N’ositula-ennaku zaffe,
    Ezitukooyesa.
    Ffe-abatasaanidde n’akamu-
    Bye watukolera.

    2
    Okufa n’ekikolimo
    Ebyanditusse ffe,
    Wawangula-amaayi gaabyo,
    N’obibetenta-era,
    Kaakano tuli ba ddembe,
    Abandisibiddwa.

    3
    -Embuyaga n’empewo-ennyingi
    Byakuntira ku ggwe,
    Katonda ye yakuba ggwe,
    Alyoke-ansaasire.
    Kaakano tweggama mu ggwe,
    Ng’otusiikiriza.

    4
    Fenna twawaba ng’endiga
    Ezisaasaanye-ennyo,
    Katonda n’akuteekako
    Omusango gwaffe.
    Wawaayo obulamu bwo
    Olw’ebibi byaffe.

  • Hymn 95: LEERO AZUUKIDDE Lyrics

    Oluyimba 95: LEERO AZUUKIDDE Lyrics

     

    OLUYIMBA 184: YESU OMULOKOZI
    1
    YESU Omulokozi
    Yanfiirira ku muti,
    N’anzigyako ebibi:
    Yesu Mulokozi wange!

    2
    Gunsinze,so sirina:
    Butuukirivu bwonna:
    Naye ggwe wanfiirira:
    Yesu Mulokozi wange!

    3
    Obutukuvu bwange,
    Bwonna nziina njereere;
    Kyennaavanga nkweisga,
    Yesu Mulokozi wange!

    4
    Ebibi byansonyiyibwa,
    N’ebbanja lyange lyaggwa;
    Lwe nakukkiriza ggwe:
    Yesu Mulokozi wange!

    5
    Ombeerenga bulijjo,
    Ntabule mu kkubo lyo;
    Nkwatenga-amateeka go.
    Yesu Mulokozi wange!

  • Hymn 96:- OLUNAKU NGA LUKULU, ALERUUYA Lyrics

    Oluyimba 96:- OLUNAKU NGA LUKULU, ALERUUYA Lyrics

     

    OLUYIMBA 185: ETTENDO LINGI MU GGULU
    1
    -ETTENDO lingi mu ggulu,
    Basuuta nnyo Katonda;
    Olw’ekiragiro kyo
    Byonna lwe byatondebwa.

    2
    -Oluyimba-olukulu-ennyo
    Lwayimbibwa mu ttumbi
    -Olwa Kabaka-omuwere
    Lwe yazaalibwa mu nsi

    3
    Eggulu era n’ensi
    Lwe birisangulibwa,
    Walirabika-ebiggya,
    Balimutendereza.

    4
    Ffe fekka tusirike
    Okutuusa lw’alijja?
    Nedda,Ekkanisa ye
    Ejja kutendereza.

    5
    Abatukuvu bonna,
    Balijaguza ddala;
    Batandikira mu nsi
    Ne mu ggulu basuuta.

    6
    Ennyimba ez’ettendo,
    Zikusuute,Kitaffe;
    Naawe Yesu Omwana,
    N’Omwoyo-Omutukuvu.

  • Hymn 97: TUSINZA NNYO ERINNYA LYO Lyrics

    Oluyimba 97: TUSINZA NNYO ERINNYA LYO Lyrics

     

    OLUYIMBA 186: OMUSAAYI-OGW’ENSOLO
    1
    -OMUSAAYI-ogw’ensolo
    Gwe baayiwa-ab’edda;
    Gwonna tegwayinza bibi
    Kubibanaazaako.

    2
    Yesu Mulpkozi
    Omwana gw’endiga;
    Ggwe-oyinza okutugyako
    ebyonoono byonna.

    3
    Ssaddaaka yo ntuufu,
    Emalamu-ebibi;
    -Omusayi gunaaza byonna,
    Bye twonoona ku nsi.

    4
    Ntunuulidde gy’oli,
    Ggwe Mukama wange,
    Nga njatula-ebibi byange,
    Nga mboneredde nnyo.

    5
    Yesu yeebazibwe;
    Ebyonoono byange;
    Byakomererwa ku muti,
    Kwe yafiirira nze

  • Hymn 98: AYI YESU GGWE ATUDDE Lyrics

    Oluyimba 98: AYI YESU GGWE ATUDDE Lyrics

     

    OLUYIMBA 187: MUMUTENDE YESU-OMUNUNUZI WAFFE
    1
    MUMUTENDE Yesu-Omununuzi waffe
    Ab’omu nsi mwatule-ekisa kye;
    Mumwebaze bamalayika-abakulu
    Erinnya lye-eddungi lyebazibwe.
    Ng’omusumba,anaakuumanga-ababe
    Alibatwala mu mikono gye.

    Mumutende,olw’ekitiibwa ky(e) ekingi,
    Mumwebaze n’ennyimb(a) ez’essanyu.

    2
    Mumutende Yesu-Omununuzi waffe
    Yatufiirira-olw’ebibi byaffe,
    Ye lwe lwazi lwaffe-omuva-obulokozi,
    Mumwebzae eyakomererwa;
    Ye yatwala ennaku zaffe zonna,
    Ye wa maanyi era wa kwagala.

    Mumutende,olw’ekitiibwa ky(e) ekingi,
    Mumwebaze n’ennyimb(a) ez’essanyu.

    3
    Mumutende YEsu-Omununuzi waffe
    Ab’omu ggulu mumuyimbire;
    Yesu afuga-emirembe n’emirembe;
    Nga Kabaka; mumusseeko-engule.
    Ye alidda okugoba-abalabe,
    Obuyinza n’ekitiibwa bibye.

    Mumutende,olw’ekitiibwa ky(e) ekingi,
    Mumwebaze n’ennyimb(a) ez’essanyu.

  • Hymn 99: MUMUSSEEKO-ENGULE Lyrics

    Oluyimba 99: MUMUSSEEKO-ENGULE Lyrics

     

    OLUYIMBA 188: BW’ALIJJA MUKAMA WAFFE
    1
    BW’ALIJJA Mukama waffe
    Okuyita gy’ali
    Abeesigwa be bonna
    Abamwagala

    Ng’emmunyeenye mu bbanga
    Bwe zaaka waggulu
    Nabo bwe balibeera
    Abaagalwa be.

    2
    Alikungaanyiza w’ali
    Abaana be bonna;
    abanyiikira ennyo
    -Okumufaanana.

    Mumutende,olw’ekitiibwa ky(e) ekingi,
    Mumwebaze n’ennyimb(a) ez’essanyu.

    3
    Abakulu-era- n’abato;
    Abaagala Yesu
    Talibaawulamu ye
    Bw’alikomawo.

    Mumutende,olw’ekitiibwa ky(e) ekingi,
    Mumwebaze n’ennyimb(a) ez’essanyu.

  • Hymn 100: MUMUYIMBIRE MUKAMA Lyrics

    Oluyimba 100: MUMUYIMBIRE MUKAMA Lyrics

     

    OLUYIMBA 189: OMUKULU W’EKKANISA
    1
    -OMUKULU w’Ekkanisa
    Ffe tukutendereza;
    Nga tonnaba kulabika,
    Tukulindirire ggwe.
    Tuyimuse-eddoboozi
    Ery’okwebaza kwaffe,
    Tujaguza nga twewaayo
    Gyoli Katonda waffe.

    2
    Nga tukyalumwa-ennaku,
    Omuliro bwe gwaka;
    Tusanyukira-okwagala
    Yesu kwe watulaga.
    Edda twali basibe
    Mu kkomera-ery’amaanyi
    Watujjira,n’enjegere
    Zaakutuka mangwago.

    3
    Abantu bo bayita
    Mu migga si mitnde,
    Egy’okukemebwa, naye
    Tebatya ng’obatwala;
    Amaanyi ga Ssetaani,
    N’ag’ekibi,n’ag’ensi,
    Galemeddwa,tuwangula,
    Ku bwa Mukama waffe.

    4
    tunyooma-eby’ensi byonna,
    Tunoonya-eby’onu ggulu,
    Engule etawotoka,
    Etutegekeddwa-eri.
    Mu nsi tulaba-ennaku,
    Naye gyoli mu ggulu,
    Essanyu lituukirira
    Mirembe n’emirembe.

  • Hymn 101: YESU NG’ADDAYO GYE YAVA Lyrics

    Oluyimba 101: YESU NG’ADDAYO GYE YAVA Lyrics

     

    OLUYIMBA 19: MULOKOZI WAFFE GWE TWAGALA
    1
    MULOKOZI waffe gwe twagala,
    Tuyimiridde okusuuta ggwe:
    Tukwegayiridde tusiibule,
    N’emirembe,nga tufukamidde.

    2
    Tuwerekere n’emirembe gyo,
    Tubeere naawe,nga bwe twakedde;
    Tukuumenga,tuleme-okwonoona,
    Ffe abasabidde mu nnyumba yo.

    3
    Tuwe-emirembe,Mukama waffe
    Mu budde bw’ekiro-otumulise:
    Tukuume lwa kisa ffe-abaana bo:
    Enzikiza gwe musana gy’oli.

    4
    Tuwe-emirembe buli lunaku
    Lwe tuteganyizibwa eby’ensi;
    Gitujjuze,era bwe tulifa
    Tuwe-emirembe egitakoma.