Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

Luganda Anglican Hymns COU lyrics

  • Hymn 128: GGWE-EMMERE Y’OBUGENYI Lyrics

    Oluyimba 128: GGWE-EMMERE Y’OBUGENYI Lyrics

     

    OLUYIMBA 213: MMWE-ENSOZI-EMPANVU-ENNYO
    1
    MMWE-ensozi-empanvu-ennyo,
    Mujaguze mwenna!
    -Ensenyi n’ebiwonvu,
    Mumutendereze.
    Muwulire-eddoboozi lye
    Libuulira-eby’okujja kwe.

    2
    Kale mmwe-ebizinga
    Ebiri mu nnyanja;
    Empewo-ennyingi-ennyo
    Zikuntira ku mmwe;
    Zirongoosa ekkubo lye
    Kabaka ow’ekitiibwa.

    3
    Mmwe-amawanga mwenna,
    Muzuukuke mangu;
    -Abantu bammwe bonna
    Beefunire-eddembe
    Ery’Omwana wa Katonda
    Ly’abaleetera kaakano.

    4
    Amawanga gonna
    Agali-ewala ennyo,
    Agatamanyanga
    Mulokozi w’ensi;
    Kale,mwenna mujje gy’ali,
    Oyo eyakomererwa.

    5
    Mwenna muyimbe nnyo,
    Nga mugenda gy’ali;
    Mwenna mukumgaane
    -Okuva mu nsi zonna;
    Tuyingire mu kibuga,
    Ekyaffe,-eky’olubeerera.

  • Hymn 113: MU MIKONOGYO YESU Lyrics

    Oluyimba 113: MU MIKONOGYO YESU Lyrics

     

    OLUYIMBA 20: OLUNAKU LWAFE LUNO
    1
    OLUNAKU lwaffe luno,
    Kaakano luweddeko,
    Enkya twebazizza Yesu,
    Tumusuute-era-ekiro.

    2
    Naye wano nga buzibye,
    Awalala bukedde,
    Buli ssawa wanaabeera
    Abasuuta-erinnya lye.

    3
    Omusaana nga bwe gujja
    Mu nsi-ezitali zimu
    Nga gwetooloola-olukalu,
    Nga gugoba-enzikiza.

    4
    Bwe kutyo-okutendereza
    Okw’abaana bo leero,
    Tekusirika mu bantu,
    Tekukoma n’akamu.

    5
    Ffe tugenda okwebaka,
    Naye baganda baffe
    Baakazuukuka-awalala,
    Balyoke bakwebaze.

    6
    -Obwakabaka bwo, Mukama,
    Tebugenda kuggwaawo;
    Bulibuna mu mawanga,
    Ne bufuga-ensi zonna.

  • Hymn 129: KRISTO,BW’ATYO,BWE YEEWAYO Lyrics

    Oluyimba 129: KRISTO,BW’ATYO,BWE YEEWAYO Lyrics

     

    OLUYIMBA 214: MUWULIRE MMWE-ABANTU BE
    1
    MUWULIRE mmwe-abantu be
    Abamukiriza;
    Mubunye ebigambo bye
    Kristo wa Katonda.

    2
    Mubuulire wonna wonna,
    Mu mawanga gonna;
    Banabbi ye gwe baalanga
    Ye musana gw’ensi.

    3
    Katonda-ow’olubeerera,
    Eyeefuula omuntu,
    Eyatwala omubiri,
    Ye Katonda ddala.

    4
    Katonda-ava mu Kitaffe
    Asinzibwa bonna,
    Eyatuwonya mu kufa
    N’atufuula abaana.

    5
    Fenna abamukkiriza
    Atuwe-omwoyo gwe;
    Bwe tuba tataataagana,
    Ye atulumgamya

  • Hymn 114: OMULOKOZI YESU Lyrics

    Oluyimba 114: OMULOKOZI YESU Lyrics

     

    OLUYIMBA 200: NZE NZIKIRIZA DDALA
    1
    NZE nzikiriza ddala
    Katonda Obusatu,
    Ne Yesu-okufuuka-omuntu,
    Nkyatulira ddala.

    2
    Neesiga era nsuubira
    Yesu-eyanfiirira
    Ebikolwa-ebibi byonna
    Bife nga bwe yafa.

    3
    Amaanyi era n’obulamu-
    Biri gy’ali yekka,
    Gwe nsinga-okwagala yekka
    Mutukuvu ddala.

    4
    Nze ntenda ne Kkanisa yo
    Ggwe wagitonda-edda;
    Ne by’eyigiriza byonna,
    Bye biibyo by’osiima.

    5
    Ensi zonna zikutende
    N’eggye-ery’omu ggulu;
    Bikusuute ggwe Kitaffe,
    N’Omwana n’Omwoyo.

  • Hymn 115: OMUSUMBA-OMULUNGI Lyrics

    Oluyimba 115: OMUSUMBA-OMULUNGI Lyrics

     

    OLUYIMBA 201: GGWE MUKULU WEKKA
    1
    GGWE Mukulu wekka,
    Byonna ggwe-obifuga,
    Tukusinza;
    Tega okutu kwo
    Eri byr tusaba,
    Bunya-ekigambo kyo
    Mu nsi zonna.

    2
    Ggwe-eyatuweereza,
    Obulukozo bwo,
    Tukusinza;
    Ggwe bulamu bwabwe,
    Bonna-abakwesiga,
    Yasa-omusana gwo
    Ku nsi zonna.

    3
    Omwoyo-ow’ekisa,
    Nannyini kwagala,
    Tukusuuta;
    Tuula mu nda zaffe
    Omalemu-ebibi,
    N’enzikiza y’ensi
    Gimaleewo.

    4
    Omu mu Busatu,
    Oli Mutukuvu,
    Tukusuuta;
    Toliiko kusooka
    Era tolikoma,
    Obwakabaka bwo
    Bwa mirembe.

  • Hymn 116: YESU NAAWE WALI Lyrics

    Oluyimba 116: YESU NAAWE WALI Lyrics

     

    OLUYIMBA 202: MUKAMA TWAGALA
    1
    MUKAMA twagala,
    Ekifo mw’obeera,
    Kye kitusanyusa
    Okukijjukira.

    2
    Ye nnyumba yo ddala
    Mwe tukumgaanira,
    -Otusembeze gy’oli
    Abazze-okusaba

    3
    Gye babatiriza
    Abava mu kibi;
    Wonna watukuvu,
    Kye kifo-ekirungi.

    4
    We wali-emmeeza yo,
    Gye tulira naawe
    N’owa-abakwagala
    -Emmere y’obulamu.

    5
    Bwe batubuulira
    Ebyawandiikibwa;
    Ennaku ziggwaawo,
    Tubeera n’essanyu.

    6
    Ennyimba-entukuvu
    ziwoomesa-ennaku;
    Ziyimusa-emyoyo,
    Tubeera n’amaanyi.

    7
    Otuwe-ekisa kyo
    -Okukwagala mu nsi,
    Era ne mu ggulu
    Okukusuutanga

  • Hymn 117: TUSANYUSE-OKUJJA MU MAASO GO Lyrics

    Oluyimba 117: TUSANYUSE-OKUJJA MU MAASO GO Lyrics

     

    OLUYIMBA 203: ENDAGAANO-ENTUKUVU
    1
    ENDAGAANO-entukuvu,
    Gye njagalira ddala,
    Byonna bye neetaaga nze,
    Birabikira mu yo.

    2
    Omwoyo-Omutukuvu,
    Yagiwandiisa edda;
    Teyagunjibwa bantu,
    Kyenaavanga ngyesiga.

    3
    Bwe nkyama enkomyawo,
    Bwemba ngwa ennyimusa,
    Bwe siraba mu kkubo,
    Eba gye ndi-omusana.

    4
    Mu nnaku ensanyusa
    Yesu ng’anjigiriza,
    Era-ewoomesa gye ndi
    Obulamu,n’okufa.

  • Hymn 118: TWALA-OBULAMU BWANGE Lyrics

    Oluyimba 118: TWALA-OBULAMU BWANGE Lyrics

     

    OLUYIMBA 204: JJANGU! KOLA
    1
    JJANGU! Kola.
    Ayinza-ani leero okugayaala,
    Ebikungulwa bingi byengedde;
    Wulira Yesu ng’akuyita nti:
    Jjangu1 Kola

    2
    Jjangu! Kola.
    Kino kitiibwa kyaffe ky’atuwa:
    Bamalayika tabakkiriza
    -Okubuulira nti-Obwakabaka bwe
    Busembedde.

    3
    Jjangu! Kola.
    Mu nnimiro eno-eya Katonda
    Mulimu-ebbanga ddene mwebali
    Abantu bangi abatamanyi
    Mulokozi.

    4
    Jjangu! Kola.
    Omulabe waffe anyiikira
    Okuggyamu-esingo-ennungi bulijjo
    N’okusigamu ez’omu nsiko,
    Nga twebase.

    5
    Jjangu! Kola
    Situla-ekikoligo kye-ekyangu;
    Bw’ogumiikiriza alikuwa
    Empeera-ennungi n’essanyu lingi,
    Mukama wo

  • Hymn 119: TWATEEKEBWAKO OMUSAALABA Lyrics

    Oluyimba 119: TWATEEKEBWAKO OMUSAALABA Lyrics

     

    OLUYIMBA 205: AYI YESU NKWEGAYIRIDDE
    1
    AYI Yesu nkwegayyiridde,
    Okunjigiriza wekka;
    Kaakano mbuulire-abantu
    Abali mu kizikiza.

    2
    Bwe nnali nkyali mu bibi,
    Wampita okujja gy’oli
    N’osasula-ebbanja lyange
    N’ompa-obulamu bwa buwa.

    3
    Ku lw’ekisa kyo ekingi
    Ombeere leero-omuddu wo;
    Nkole by’oyagala byonna,
    Mgende gy’ondagira yonna.

    4
    Ayi Yesu,nkwegayiridde,
    Okunnongoosa-eby’omunda,
    Mbeere-ekibya-ekisaanira
    Mukama-okumuweereza.

    5
    Onjijuze Omwoyo wo,
    N’essanyu eriva gy’oli
    Abantu bakuwulire,
    Ne balyoka bakwesiga.

    6
    Onnyweze ,nneme-okwekuba
    Ku nkonge-ennyingi-eziriwo;
    Bannange ndyoke mboolese
    -Obuyinza bwo nga bwe buli.

    7
    Ompummuzenga bulijjo,
    Nneme-okweraliikirira;
    Bannange mbategeezenga
    Bw’owummuza abakooye.

    8
    Bwe ntyo ka nkugulumize
    Mu maaso g’abantu bonna;
    Bo balyoke bajje gy’oli,
    Nga bafuuse abaana bo

  • Hymn 120: KATONDA WANGE NKUWADDE Lyrics

    Oluyimba 120: KATONDA WANGE NKUWADDE Lyrics

     

    OLUYIMBA 206: KU LWANGE NE KU LW’ENJIRI
    1
    KU lwange ne ku lw’enjiri,

    Mugende baana bange:
    Ne baddamu Ka tugende;

    -Ekitiibwa kibe gy’oli,
    Yajja-okufiirira abantu,
    Kitaawe ng’amutuma:
    N’amalawo-ebibi byaffe,
    Ggwe-okufa tokyaluma.

    2
    -Amakondere ga Jjubiri,
    Gavuga mu nsi zonna:
    Gategeeza-obulokozi
    Eri-amawanga gonna.
    Ssetaani n’obuyinza bwe,
    Binaatera-okuggwaawo:
    Obwakabaka bwa Yesu,
    Bujja,obutavaawo.

    3
    Kale bannange,twesibe,
    Tulwane nnyo masajja:
    Tuleme okugayaala,
    Mukama waffe ajja.
    Laba emmambya esaze,
    -Ekizikiza kidduka;
    Kusembedde-okuwummula,
    Tunaatera-okunnyuka.

    4
    Naye wakyasigaddeyo
    Okulwana-ekiseera,
    Tulyoke tugende gy’ali
    Tugabirwe empeera.
    Weewaawo,nze njija mangu,

    Okufuga-ensi zonna.
    Amiina tuddamu Jjangu,

    Mukama waffe Yesu.