Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

Luganda Anglican Hymns COU lyrics

  • Hymn 133: NYWEZA-,AYI KATONDA,-EMIKONO Lyrics

    Oluyimba 133: NYWEZA-,AYI KATONDA,-EMIKONO Lyrics

     

    OLUYIMBA 218: YESU,BWE NNAKUSENGA
    1
    YESU,bwe nnakusenga,
    Ne nsuubiza kino,
    -Okukugoberenga
    Obutaddirira.
    Naye Mukama wange,
    Beeranga nange ggwe,
    Nnemenga okwesittala-,
    Oba kukyamanga.

    2
    -Abalabe bange bangi,
    Ba kyejo,ba ttima;
    Naye ggwe-osinga bonna
    -Okubeera n’amaanyi,
    Sijja kuggwaamu mwoyo,
    Ggwe ononnyinzisanga
    -Olutalo-olw’entiisa.

    3
    Bwe mba nga neesittala,
    Nkwata ku mikono,
    -Awatali ggwe siireme
    Kukyamira ddala;
    Bwe mba nga nafuwadde,
    Onzizeemu-omwoyo,
    -Obusungu nga bunkutte,
    Onkomeko mpola.

    4
    Naawe,Mukama wange,
    Wasuubiza kino,
    Ankwesiga-amazima,
    -Okumutuusa-ewuwo
    Kale, nze nnakusenga,
    Ombeere lwa kisa,
    Nnemenga-okudda-ennyumba,
    Mbeerenga mwesigwa.

  • Hymn 149: OKWOLESEBWA KULUNGI Lyrics

    Oluyimba 149: OKWOLESEBWA KULUNGI Lyrics

     

    OLUYIMBA 232: OBULAMU BWAFFE BUNO
    1
    -OBULAMU bwaffe buno
    Bujjudde nnyo-ennaku;
    Naye obw’ensi eyo
    Bwa ssanyu jjereere.

    2
    N’entalo-eza kaakano
    Za ntiisa bulijjo,
    -Omulabe waffe-ow’edda
    Wa maanyi mangi nnyo.

    3
    Naye Omubeezi waffe
    Asingira ddala;
    Era-abamwesiga ye
    Be baliwangula.

    4
    Fenna kyetunaavanga
    Tunyiikira nnyini;
    Kubanga tumanyi nti:
    Ye-alituwummuza.

    5
    -Ekiseera si kinene
    Ekirimu-akabi,
    Ne tulyoka tutuuka
    Awali Katonda.

    6
    Obudde bwe bulikya
    Enzikiza n’eggwa,
    Yesu Musana gwaffe
    Aliba-atwakidde

  • Hymn 134: MUJJE, NGA MWETEREEREKA Lyrics

    Oluyimba 134: MUJJE, NGA MWETEREEREKA Lyrics

     

    OLUYIMBA 219: YESU AJJA! ABALABE
    1
    YESU ajja! Abalabe
    Tulibagoba;
    Yesu Mulokozi waffe,
    Alitujuna.

    Yesu agambaMmwe mugume

    Nze njija mangu:
    Tumuddemu Tunaalwana,

    Olw’ekisa kyo.

    2
    Laba,eggye-erya Ssetaani,
    Liba lingi nnyo;
    Naye Yesu ali wamu,
    Naffe bulijjo.

    Yesu agambaMmwe mugume

    Nze njija mangu:
    Tumuddemu Tunaalwana,

    Olw’ekisa kyo.

    3
    Amafamu ga Ssetaani,
    Kwe kusoomoza:
    Gonna ganaamenyebwanga,
    Naye-aligobwa.

    Yesu agambaMmwe mugume

    Nze njija mangu:
    Tumuddemu Tunaalwana,

    Olw’ekisa kyo.

    4
    Ebigambo bya Katonda
    Bitugumya nnyo;
    Bye biyinza okugoba
    Abalabe be.

    Yesu agambaMmwe mugume

    Nze njija mangu:
    Tumuddemu Tunaalwana,

    Olw’ekisa kyo.

  • Hymn 135: TUZZE GY’OLI,AYI KATONDA Lyrics

    Oluyimba 135: TUZZE GY’OLI,AYI KATONDA Lyrics

     

    OLUYIMBA 22: AYI KITAFFE OMUTONZI
    1
    AYI Kitaffe Omutonzi,
    -Ebitonde byo bikusinza;
    Ku lwa Yesu Omwana wo
    Tukuume mu kiro kino.

    2
    Ayi Omwana-0mununuzi
    Eyatuggya mu busibe,
    Emyoyo gyaffe gikuume,
    Tubeere mirembe mu ggwe.

    3
    Ayi Omwoyo-ow’obuyinza
    Atukuza Ekkanisa,
    Mu kiro kya leero, jjangu
    Tukuza-emitima gyaffe.

    4
    Otenderezebwenga nnyo
    Ggwe Kitaffe-era n’Omwana
    Naawe-Omwoyo-Omutukuvu,
    Ggwe-afuga-emirembe gyonna.

  • Hymn 136: AYI GGWE KWAGALA,GGWE ASINGA BYONNA Lyrics

    Oluyimba 136: AYI GGWE KWAGALA,GGWE ASINGA BYONNA Lyrics

     

    OLUYIMBA 220: KALE GGYE LYA YESU, MUGOLOKOKE
    1
    KALE ggye lya Yesu, mugolokoke,
    Mulabe Mukama akulembedde:
    Mu balabe bangi Yesu Mugambe;
    Mukama-atuyita;tugende naye.

    Kale ggye lya Yesu,mugolokoke,
    Mulabe Mukama akulembedde.

    2
    Tugende mu maaso,ng’abalwanyi be,
    Tusinge Ssetaani n’amagezi ge.
    Tukkirize Yesu ye ngabo yaffe
    N’ekitala kyaffe kye kitabo kye.

    Kale ggye lya Yesu,mugolokoke,
    Mulabe Mukama akulembedde.

    3
    Erinnya lya Yesu bwe liwulirwa,
    -Abantu ba Ssetaani badduka bonna.
    Mmwe mugume-emyoyo,abooluganda;
    Mu Mukama waffe tuliwangula.

    Kale ggye lya Yesu,mugolokoke,
    Mulabe Mukama akulembedde.

    4
    Mubayite bangi bagende naffe,
    Balyoke babeere abalwanyi be.
    Kale abooluganda,tugume-emyoyo;
    Omugabe waffe ye wa maanyi nnyo.

    Kale ggye lya Yesu,mugolokoke,
    Mulabe Mukama akulembedde.

  • Hymn 137: ABANTU BONNA AB’ENSI Lyrics

    Oluyimba 137: ABANTU BONNA AB’ENSI Lyrics

     

    OLUYIMBA 221: BALWANYI BA YESU MWESIBE-ENKOLA
    1
    BALWANYI ba Yesu mwesibe-enkola,
    Mulwane masajja,tuliwangula;
    Tulina-Omugabe,asinga bonna,
    Ye Kabaka Yesu-Omukulembeze.

    Balwanyi ba Yesu,mwesib(e) enkoba;
    Muwulir(e) enmgoma,Kabak(a) alaya.

    2
    Bajjajjaffe-ab’edda baalwananga nnyo,
    Tulwane bannaffe,naye si nga bo;
    Abalabe baffe,bwe bubi bwonna,
    N’obulimba bw’ensi; bye tuligoba.

    Balwanyi ba Yesu,mwesib(e) enkoba;
    Muwulir(e) enmgoma,Kabak(a) alaya.

    3
    Tetwetaaga mmandwa oba mayembe,
    So n’eby’obufumu,tebitugumya;
    Yesu ye kennyini,atuwa-amaanyi,
    Kale nno tugume nnyo tuwangule.

    Balwanyi ba Yesu,mwesib(e) enkoba;
    Muwulir(e) enmgoma,Kabak(a) alaya.

    4
    Ayi Kabaka waffe,tuzze-okuwera,
    Twesibye enkoba ng’abalwanyi bo:
    Mu lutalo lwonna,lw’otugabyemu,
    Genda wamu naffe ggwe,tuwangule.

    Balwanyi ba Yesu,mwesib(e) enkoba;
    Muwulir(e) enmgoma,Kabak(a) alaya.

  • Hymn 138: AYI KATONDA BWE NDOWOOZA Lyrics

    Oluyimba 138: AYI KATONDA BWE NDOWOOZA Lyrics

     

    OLUYIMBA 222: MULWANYI WA YESU OLINA-ENNAKU
    1
    MULWANYI wa Yesu olina-ennaku,
    Abalabe bangi bakutaayiza,
    Zuukuka-obakube,oliwangula.
    Yesu ali naawe,omweyabize.

    2
    Mulwanyi wa Yesu,laba-emitego,
    Ssetaani wa maanyi okukusuula;
    Totya,guma-omwoyo,tolwana wekka,
    Olina-Omubeezi,-erinnya lye Yesu.

    3
    Mulwanyi wa Yesu,obawulira,
    Ebigambo byabwe bikuwoomera?
    Byonna bya bulimba,tobikkiriza;
    Obukuusa bwabwe bulirabika.

    4
    Yesu agamba nti Mbimanyi byonna,
    Okooye-,olemeddwa,tokyasuubira,
    Teweekanga n’akamu-,ddamu amaanyi,
    Mu ggulu entalo zonna ziriggwa.

  • Hymn 139: BAMALAYIKA BAYIMBA Lyrics

    Oluyimba 139: BAMALAYIKA BAYIMBA Lyrics

     

    OLUYIMBA 223: MMWE MWENNA-ABOOLUGANDA
    1
    MMWE mwenna-abooluganda
    Mubeere n’essanyu;
    Ensi zijjule-ettendo
    Ery’omulokozi
    -Abantu-abatabalika
    Bamugulumiza;
    Leero bafunye-eddembe
    Lwa linnya lye-lyokka.

    2
    Mmwe mwenna-abooluganda
    Mulwane n’amaanyi;
    Eyeeraga-amasajja;
    Empeera ye nnyingi.
    Yesu Mugabe waffe,
    Wa maanyi mangi nnyo:
    Tufube nnyo bannaffe,
    Tuwangule leero.

    3
    Mulokozi,ffe fenna
    Tweyanze nnyo nnyini;
    -Okuwangula si kwaffe,
    Tumaanyi nga kukwo;
    Wawangula Ssetaani,
    -Omulabe waffe-oyo;
    Naffe tetumutyenga,
    Tujaguze leero

  • Hymn 140: EBINTU-EBIRUNGI N’EBINTU-EBIKULU Lyrics

    Oluyimba 140: EBINTU-EBIRUNGI N’EBINTU-EBIKULU Lyrics

     

    OLUYIMBA 224: MWENNA MUYIMUKE
    1
    MWENNA muyimuke,
    Ng’abasserikale;
    Mwambale-eby’okulwanyisa
    Byonna-ebya Katonda.

    2
    Mubeere ba maanyi,
    Mumutunuulire;
    Ye ge maanyi gaffe gonna,
    Agatuwanguza.

    3
    Temutya mulabe,
    Yesu yawangula;
    Amaanyi gonna-ag’okufa
    Tegakyasobola.

    4
    Mugende mu maaso;
    Laba ebbendera;
    Nga yo ebakulembera
    -Omugabe ye Yesu

    5
    Mwesibe-amazima,
    N’obutuukirivu;
    Nga mutunuulira Yesu,
    Omukulembeze.

  • Hymn 141: EGGULU LIKUSINZA Lyrics

    Oluyimba 141: EGGULU LIKUSINZA Lyrics

     

    OLUYIMBA 225: GGWE KIBUGA KYA KATONDA
    1
    GGWE kibuga kya Katonda
    Ekitiibwa kyo kingi,
    Yakukuba,so toyinza
    Okusimbulwa nate.
    Emisingi gyo gibeera
    Ku lwazi lw’emirembe
    Kuliko bbugwe wa maanyi,
    Atalumbika babi.

    2
    Munda laba-emigga mingi
    Egikulukuta-ennyo,
    Mwe basena-obutayosa
    Okunywesa-abaana bo;
    Ago-amazzi g’obulamu
    -Agatumalamu-ennyonta,
    Agagaba ye Katonda;
    Nga baweereddwa-ekisa!

    3
    Ababeera mu kibuga
    Bambala entukuvu;
    Bayoza engoye zaabwe
    Mu musaayi gwa Yesu;
    Bava mu mawanga gonna,
    Ne bafuuka-abaana be;
    Edda baali bamwonoona,
    Kaakano balokole.

    4
    Ayi Yesu olw’ekisa kyo,
    Eyo gye ndibeerera;
    Abantu ab’ensi eno
    Bannyoome,banduulire;
    Naye-essanyu lyabwe lyonna
    Teriyinza kulwawo;
    Ery’abaana ba Katonda,
    Lya mirembe-egitaggwaawo-.