Oluyimba 132: EKITIIBWA KIBE WAGGULU Lyrics
OLUYIMBA 217: MMWE BANNANGE-ABALWANYI
1
MMWE bannange-abalwanyi,
Mujje mangu gye tuli,
Abalabe weebali,
So nga tetutya.
2
Ku by’ensi tetussaako
Myoyo gyaffe kaakano,
Yesu atuwanguza.
Atuwa-amaanyi.
3
Abalumba ba maanyi,
Batutaayiza bubi,
Tulina-Omulokozi,
Alijja mangu.
4
Kye twegomba kye kino
Okuleka-ebyonoono,
Yesu anaatuggyako,
Ebibi byaffe.
5
Kaakano kizikiza,
Mugume temwekanga;
Mu ggulu omusana
Gulirabika.
6
Mwekalirize-amaaso,
Nga muddamu nnyo-amaanyi,
Okufa gwe mulyango,
Ogw’obulamu.
7
Abalwanyi be mwenna,
Temujja kugobebwa:
Yesu abawanguza,
-Olw’omusaayi gwe.
8
Ka tuyimuse-emyoyo,
Nga tuguma bulijjo,
Okutuusa ku biro
Yesu lw’alijja.