Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics
-
Hymn 153: ALERUUYA! MUMWEBAZE Lyrics
OLUYIMBA 236: OMUZIBE W’AMAASO EDDA 1 -OMUZIBE w’amaaso edda Eyali ng’asabiriza N’awulira-abantu bangi N’ababuuza nti Ekyo ki? Bonna ne bamubuulira, Yesu Omunazaaleesi. 2 Kiki ekimuyinzisa Okubavumula bonna? Si ye mugenyi bugenyi? Ekibamwagaza kiki? Laba bwe bayogerera Waggulu: Yesu ayita. 3 Yesu ye wuuyo eyava Mu ggulu,okulokola Abalina-ebibi,n’abo Abazitoowereddwa-ennyo. Bali kyebava boogera Yesu Omunazaaleesi. 4…
-
Hymn 169: NEEGOMBA NNYO-OKUWULIRA Lyrics
OLUYIMBA 250: TEWALI MU NSI MUNO MULONGOOFU 1 TEWALI mu nsi muno mulongoofu So nga tewaliba mu ggulu, Wabula abantu be yalongoosa N’omusaayi-ogwa Yesu yekka. Munaabe mu musaa(yi),ogunaaza mmwe buli kibi; Mmwe temulitukul(a) awatali ye; Munaabe mu musaa(yi) gwa Yesu. 2 Omusaayi-gwe Yesu gubanaaze nnyo Abagwagwa ab’omu mwoyo: Kale temulwa,naye muyanguwe Okunaaza emyoyo gyammwe.…
-
Hymn 154: ESSANYU-ERINGI-ERITAKOMEZEKA Lyrics
OLUYIMBA 237: LABA NNYIMIRIDDE W’OLI 1 LABA nnyimiridde w’oli, Neeyanjula ku luggi lwo, -Ebibi tebikukooyesa? Onnyingize,onnyingize. Laba nnyimiridde w’oli Neeyanjula ku luggi lwo, Ebibi tebikukooyesa? Onnyingize,onnyingize. 2 Ku lulwo nnakomererwa, Tojjukira kufa kwange? Essanyu lyo liddirira; Oyingire,oyingire. Laba nnyimiridde w’oli Neeyanjula ku luggi lwo, Ebibi tebikukooyesa? Onnyingize,onnyingize. 3 Tomggaana,laba nkwolesa, Mu maaso go enkovu…
-
Hymn 155: YESU,TOTEGEEREKEKA Lyrics
OLUYIMBA 238: JJANGU MUNNANGE OWULIRE-ENJIRI 1 JJANGU munnange owulire-enjiri Y’okwagala kwa Yesu, Bwe yaleka ennyumba y’ekitiibwa N’ebintu byonna eby’essanyu, Yesu yafa,Yesu yatufiirira. 2 Ffe fenna tulina ebibi, Katonda atunuulira, Ebyonoono byaffe abimanyi byonna, Ye wa kisa yatutumira Yesu. 3 Ababi abaamukyawa Yesu, Baamuwanika ku muti, Naye okufa kwe kutuwa eddembe, Okuva mu musango-omubi. 4…
-
Hymn 156: EWALA MU GGULU Lyrics
OLUYIMBA 239: MWOYO GWANGE, WULIRA 1 MWOYO gwange,wulira, Yesu Mulokozi wo; Akubuuza ggwe bw’ati: Mwana wange-onjagala? 2 Nze nakuggya mu nvuba; Ne nnyiga-ebiwundu byo; Ne nkuzuula ng’obuze; Ne nzibula-amaaso go. 3 Nnyina ki-atajjukira Bulijjo omwana we? Ye yeerabira-omwana: Naye siirekenga ggwe. 4 Bulijjo nze nkwagala; Naabeeranga naawe nze; Mu bulamu, mu kufa, Mu magombe,mu…
-
Hymn 157: MUJJE MWEBAZE MUKAMA Lyrics
OLUYIMBA 24: OMUKISA GWA KITAFFE 1 OMUKISA gwa Kitaffe, N’ogw’Omwana we Yesu N’ogw’Omwoyo-Omutukuvu. Gukke ku myoyo gyaffe. 2 Ffe tubeere fenna wamu, Nga tujjudde-okwagala, Bwe tusseekimu n’essanyu N’emirembe bulijjo.
-
Hymn 158: MUKAMA WAFFE-OW’OBULAMU! Lyrics
OLUYIMBA 240: WULIRA MU LUYOOGAANO 1 WULIRA mu luyoogaano Eddoboozi lya Yesu, Bw’akuyita omunaku Okumugoberera. 2 Nga basuula obutimba Mu nnyanja-abatume be, Yabayita ng’abagamba Bw’ati:Muyite nange. 3 Bo ne balekawo mangu Obutimba,ne bajja, Bwe baawulira-eddoboozi Erya Yesu ntiMujje. 4 Bw’atyo Yesu bw’atuyita Okuleka-ebyonoono, Era n’okutambulanga Mu makubo g’obulamu-. 5 Mu ssanyu era mu nnaku,…
-
Hymn 159: MU MAASO GA YESU ABALOKOLE Lyrics
OLUYIMBA 241: YESU ABAKKIRIZA 1 YESU abakkiriza, Bonna-abalina-ebibi: Bwe bamusemberera, Abakkiriza-ababi. Yesu abakkiriza, Bonn(a) abalin(a) ebibi: Bwe bamusemberera, Abakkiriz(a) ababi. 2 Jjangu,nnaakuwummuza: Kkiriza-ekigambo kye: Eyasinga-okwonoona. Mukama toomugobe Yesu abakkiriza, Bonn(a) abalin(a) ebibi: Bwe bamusemberera, Abakkiriz(a) ababi. 3 Neeraba mu maaso go, Bwe ndi-omwonoonyi ddala; Naye bwe njija gy’oli Sitya,ku lw’erinnya lyo. Yesu abakkiriza, Bonn(a)…
-
Hymn 160: YESU YE YAVA MU GGULU Lyrics
OLUYIMBA 242: MUJJE-ERI YESU, TEMULWAWO 1 MUJJE-eri Yesu,temulwawo, Atudde mu ffe wano leero, Fenna-atuyita-okusembera; AyogeraMujje. Ye atwagala,atwagala; Ye atwagala aboonoonyi; Era yajj(a) okutufiirira, Ffe tutuuke gy’oli. 2 Mujje abazitoowereddwa, Mwenna abakooye n’ebibi: Mujje mwenna naabawummuza Mujje mwenna gye ndi. Ye atwagala,atwagala; Ye atwagala aboonoonyi; Era yajj(a) okutufiirira, Ffe tutuuke gy’oli. 3 Abantu bonna kiyinzika…
-
Hymn 161: LABA OMWANA-OMUTO Lyrics
OLUYIMBA 243: MUJJE MWENNA-ABAKOOYE 1 MUJJE mwenna-abakooye Nze naabawummuza: -Eddoboozi nga lya kisa Ery’Omulokozi: Litutegeeza bw’ali Ow’ekisa kyonna, Bw’ayagala-okuwonya Emyoyo gy’abantu 2 Mujje mwenna-abakyamye Nze naabamulisa: -Eddoboozi nga lya ssanyu Mu nzikiza-ekutte. Mu nsiko ey’omu nsi Twali tuwabye nnyo, Mu kkubo lye yatuzza, Ffe ne tusanyuka 3 Mujje mwenna-abafudde Naabawa obulamu-: -Eddoboozi lye lya…