Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

  • Hymn 154: ESSANYU-ERINGI-ERITAKOMEZEKA Lyrics

      OLUYIMBA 237: LABA NNYIMIRIDDE W’OLI 1 LABA nnyimiridde w’oli, Neeyanjula ku luggi lwo, -Ebibi tebikukooyesa? Onnyingize,onnyingize. Laba nnyimiridde w’oli Neeyanjula ku luggi lwo, Ebibi tebikukooyesa? Onnyingize,onnyingize. 2 Ku lulwo nnakomererwa, Tojjukira kufa kwange? Essanyu lyo liddirira; Oyingire,oyingire. Laba nnyimiridde w’oli Neeyanjula ku luggi lwo, Ebibi tebikukooyesa? Onnyingize,onnyingize. 3 Tomggaana,laba nkwolesa, Mu maaso go enkovu…

  • Hymn 155: YESU,TOTEGEEREKEKA Lyrics

      OLUYIMBA 238: JJANGU MUNNANGE OWULIRE-ENJIRI 1 JJANGU munnange owulire-enjiri Y’okwagala kwa Yesu, Bwe yaleka ennyumba y’ekitiibwa N’ebintu byonna eby’essanyu, Yesu yafa,Yesu yatufiirira. 2 Ffe fenna tulina ebibi, Katonda atunuulira, Ebyonoono byaffe abimanyi byonna, Ye wa kisa yatutumira Yesu. 3 Ababi abaamukyawa Yesu, Baamuwanika ku muti, Naye okufa kwe kutuwa eddembe, Okuva mu musango-omubi. 4…

  • Hymn 156: EWALA MU GGULU Lyrics

      OLUYIMBA 239: MWOYO GWANGE, WULIRA 1 MWOYO gwange,wulira, Yesu Mulokozi wo; Akubuuza ggwe bw’ati: Mwana wange-onjagala? 2 Nze nakuggya mu nvuba; Ne nnyiga-ebiwundu byo; Ne nkuzuula ng’obuze; Ne nzibula-amaaso go. 3 Nnyina ki-atajjukira Bulijjo omwana we? Ye yeerabira-omwana: Naye siirekenga ggwe. 4 Bulijjo nze nkwagala; Naabeeranga naawe nze; Mu bulamu, mu kufa, Mu magombe,mu…

  • Hymn 157: MUJJE MWEBAZE MUKAMA Lyrics

      OLUYIMBA 24: OMUKISA GWA KITAFFE 1 OMUKISA gwa Kitaffe, N’ogw’Omwana we Yesu N’ogw’Omwoyo-Omutukuvu. Gukke ku myoyo gyaffe. 2 Ffe tubeere fenna wamu, Nga tujjudde-okwagala, Bwe tusseekimu n’essanyu N’emirembe bulijjo.

  • Hymn 158: MUKAMA WAFFE-OW’OBULAMU! Lyrics

      OLUYIMBA 240: WULIRA MU LUYOOGAANO 1 WULIRA mu luyoogaano Eddoboozi lya Yesu, Bw’akuyita omunaku Okumugoberera. 2 Nga basuula obutimba Mu nnyanja-abatume be, Yabayita ng’abagamba Bw’ati:Muyite nange. 3 Bo ne balekawo mangu Obutimba,ne bajja, Bwe baawulira-eddoboozi Erya Yesu ntiMujje. 4 Bw’atyo Yesu bw’atuyita Okuleka-ebyonoono, Era n’okutambulanga Mu makubo g’obulamu-. 5 Mu ssanyu era mu nnaku,…

  • Hymn 159: MU MAASO GA YESU ABALOKOLE Lyrics

      OLUYIMBA 241: YESU ABAKKIRIZA 1 YESU abakkiriza, Bonna-abalina-ebibi: Bwe bamusemberera, Abakkiriza-ababi. Yesu abakkiriza, Bonn(a) abalin(a) ebibi: Bwe bamusemberera, Abakkiriz(a) ababi. 2 Jjangu,nnaakuwummuza: Kkiriza-ekigambo kye: Eyasinga-okwonoona. Mukama toomugobe Yesu abakkiriza, Bonn(a) abalin(a) ebibi: Bwe bamusemberera, Abakkiriz(a) ababi. 3 Neeraba mu maaso go, Bwe ndi-omwonoonyi ddala; Naye bwe njija gy’oli Sitya,ku lw’erinnya lyo. Yesu abakkiriza, Bonn(a)…

  • Hymn 160: YESU YE YAVA MU GGULU Lyrics

      OLUYIMBA 242: MUJJE-ERI YESU, TEMULWAWO 1 MUJJE-eri Yesu,temulwawo, Atudde mu ffe wano leero, Fenna-atuyita-okusembera; AyogeraMujje. Ye atwagala,atwagala; Ye atwagala aboonoonyi; Era yajj(a) okutufiirira, Ffe tutuuke gy’oli. 2 Mujje abazitoowereddwa, Mwenna abakooye n’ebibi: Mujje mwenna naabawummuza Mujje mwenna gye ndi. Ye atwagala,atwagala; Ye atwagala aboonoonyi; Era yajj(a) okutufiirira, Ffe tutuuke gy’oli. 3 Abantu bonna kiyinzika…

  • Hymn 161: LABA OMWANA-OMUTO Lyrics

      OLUYIMBA 243: MUJJE MWENNA-ABAKOOYE 1 MUJJE mwenna-abakooye Nze naabawummuza: -Eddoboozi nga lya kisa Ery’Omulokozi: Litutegeeza bw’ali Ow’ekisa kyonna, Bw’ayagala-okuwonya Emyoyo gy’abantu 2 Mujje mwenna-abakyamye Nze naabamulisa: -Eddoboozi nga lya ssanyu Mu nzikiza-ekutte. Mu nsiko ey’omu nsi Twali tuwabye nnyo, Mu kkubo lye yatuzza, Ffe ne tusanyuka 3 Mujje mwenna-abafudde Naabawa obulamu-: -Eddoboozi lye lya…

  • Hymn 162: GGWE-EYALEKA EKITIIBWA KYO Lyrics

      OLUYIMBA 244: GGWE OKOOYE-,ONAFUWADDE- 1 GGWE okooye-,onafuwadde-, Ozitoowereddwa? Jjangu,Yesu agambye nti: Wummula 2 Naamutegeera ntya-?Enkovu Z’emisumaali, Ku bibatu,ku kigere, Kwe ziri. 3 -Omutwe gulina-enkuufiira Y’Obwakabaka? Gulina-enkuufiira,naye Ya maggwa. 4 Bwe naamugobereranga, Naaweebwanga ki? Onoolabanga-obulumi N’akabi. 5 Bwe naatambulanga naye, Alimpeera ki? Oliwangula-amagombe N’Okufa. 6 Bwe naamwegayirira nti Onnyanirize; Anangoba? Nedda,nedda, T’ayinze. 7 Ayi Mukama,njija…

  • Hymn 163: TETWAKULABA BWE WAJJA Lyrics

      OLUYIMBA 245: MUJJE MWENNA,MUJJE GYE NDI 1 MUJJE mwenna,mujje gye ndi Abakooye-ennyo. Yesu bwe yagamba bw’atyo Ab’omu nsi. 2 Yesu mumunoonya? Nedda Ye-abanoonya mmwe; Temweteekateeka,mujje Nga bwe muli. 3 Mumuganye,munaalaba Bw’anaabakola; Anaabawonyanga-endwadde Ez’omwoyo. 4 Omusango gwabasinga? Abasonyiwa; Abaggyako-abantu bonna Ebyonoono 5 Ekisa kye mukigaanyi? Temukkiriza? Temumuganya kugenda Nga-asaaliddwa. 6 Oba-ennaku zammwe nnyingi? Era mukooye?…