Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

Luganda Anglican Hymns COU lyrics

  • Hymn 176: OLWAZI LW’EDDA N’EDDA GWE Lyrics

    Oluyimba 176: OLWAZI LW’EDDA N’EDDA GWE Lyrics

     

    OLUYIMBA 257: NZE NKUTUNUULIDDE
    1
    NZE nkutunuulidde
    N’amaaso g’omwoyo,
    Mulokozi.
    Ompulire leero,
    Onnaazeko-ebibi,
    Ontuule-omwana wo
    Omwesigwa.

    2
    Ekisa kyo kimpe,
    Kindeetere-amaanyi
    Ag’omwoyo.
    Ggwe eyafiirira,
    Onjijukizenga
    -Ekisa kyo bwe kiri
    Ekinkuuma.

    3
    Bwe mba nkyatambula,
    Mu nsi,neetooloddwa
    -Ebibi bingi:
    Naye ggwe-onsaasire
    Mu nzikiza muno:
    -Onjakize lwa kisa
    Omusana.

    4
    Era ne bwe ndiba
    Nga ntuusiza-okufa,
    Tondekanga:
    -Onkwatenga mu ngalo,
    Nneme-okukankana:
    Ontwale ewuwo
    Nga ndokose.

  • Hymn 177: YESU MULOKOZI WANGE Lyrics

    Oluyimba 177: YESU MULOKOZI WANGE Lyrics

     

    OLUYIMBA 258: KA NKWAGALE KATONDA;SIYINZA
    1
    KA nkwagale Katond;siyinza
    Kwerokola lwa kwagala kwange;
    Kuba-ebibi byange nnakusobya
    So ne sisaanira mukisa gwo.

    2
    Naye ggwe-oli wange,nange wuwo;
    Nze mwonoonyi,ggwe Katonda ddala;
    Onnyweze kumpi mu kifuba kyo,
    N’emikono gyo gye baafumita.

    3
    -Obulumi bwo tebulowoozeka,
    So tewali mu baana b’abantu
    Ayinza-okwelesa-obuyinike
    Newankubadde-ennaku zo zonna.

    4
    Bye walumwa tebikomezeka,
    Byonna ku lwange nze-alina-ebibi,
    Wava ku ntebe y’ekitiibwa kyo,
    Okumponya-atali mulongoofu.

    5
    Yesu,siiremenga kukwagala
    -omulokozi,nga bwe wanjagala;
    Ggwe kennyini so si birabo byo,
    Ggwe njagala obutayosaawo.

  • Hymn 178: NNAATEEKANGA KU YESU OMWANA GW’ENDIGA Lyrics

    Oluyimba 178: NNAATEEKANGA KU YESU OMWANA GW’ENDIGA Lyrics

     

    OLUYIMBA 259: MU BIRO-EBY’ENNAKU
    1
    MU biro-eby’ennaku
    Yesu-onnyambenga
    Nneme-okugwa wansi,
    Nga nkwerabidde.
    Bwe mba mbuusabuusa,
    Ontunuulire,
    Ompanirirenga
    Olw’amaanyi go.

    2
    Enkwe za Ssetaani
    Ze zinnumba-ennyo,
    Obugagga-obw’ensi
    Businza-omwoyo
    Ka njijukireggwe
    Eyafiirira:
    Ggwe-oli kigo kyange
    Mwe neekweka nze.

    3
    Yesu bw’onoobanga
    Onkangavvula,
    Byonna-ebijja ku nze
    Ka mbikkirize;
    Neewaayo nze gy’oli
    Ndi wuwo wekka,
    -Ontukuze,ombeere,
    Ennaku zonna.

    4
    Mu ntalo-ez’entiisa
    Nkwesiga wekka
    Bwe ndinafuwala,
    Ojjanga gye ndi;
    Omubiri gwange
    Ne bwe gulifa,
    -Onzuukize mu bafu
    Nze-akweyabiza.

  • Hymn 179: ENNAKU BWE ZIFUMITA Lyrics

    Oluyimba 179: ENNAKU BWE ZIFUMITA Lyrics

     

    OLUYIMBA 26: JJANGU GGWE OMUNUNUZI WAFFE
    1
    JJANGU ggwe Omununuzi waffe,
    Ggwe Emmanueri,Kabaka waffe;
    Onunule Abaisirayiri,
    Abaakyamira-edda ewala-ennyo.

    Tusanyuke! Yesu(O)mulokozi
    Alikomawo mu nsi gye tuli.

    2
    Jjangu,jjangu,Omwana wa Dawudi,
    Olokole ffe-abali mu kibi;
    Tuwonye mu mikono gy’omubi,
    Eyatujooga mu bukuusa bwe.

    Tusanyuke! Yesu (O)mulokozi
    Alikomawo mu nsi gye tuli

    3
    Jjangu ggwe Musana-ogusanyusa;
    Oyingire mu mitima gyaffe,
    Otumalemu ekizikiza
    N’ekisiikirize eky’okufa.

    Tusanyuke! Yesu (O)mulokozi
    Alikomawo mu nsi gye tuli.

    4
    Jjangu, Omukulembeze waffe,
    Tulage-ekkubo-erituuka-ewuwo,
    Tuggulirewo tutuuke gy’oli
    Otuzibire-ekkubo-ery’okufa.

    Tusanyuke! Yesu (O)mulokozi
    Alikomawo mu nsi gye tuli.

    5
    Jjangu,Mukama ow’obuyinza,
    Eyawa-abantu bo amateeka,
    Mu kitiibwa, mu biseera-eby’edda.
    Ng’oyima mu lusozi Sinaayi

    Tusanyuke! Yesu (O)mulokozi
    Alikomawo mu nsi gye tuli

  • Hymn 180: YESU EYAKUBIBWA-EDDA Lyrics

    Oluyimba 180: YESU EYAKUBIBWA-EDDA Lyrics

     

    OLUYIMBA 260: KITAAWE WA BONNA-ERI GGWE
    1
    KITAAWE wa bonna-eri ggwe,
    Tuyimusa-emitima gyaffe:
    Ku bwa Yesu,lye-ekkubo lyaffe
    Eritutuusa mu maaso go;
    Ofuke emikisa gyo
    Ku ffe abafukamidde.

    2
    Kitaawe wa bonna-eri ggwe,
    Tuyimusa emyoyo gyaffe,
    Abeenenyezza-ebibi byaffe,
    Abatamanya kukutenda;
    Otujjuze Omwoyo wo,
    Tukuyimbire-amatendo.

    3
    Kitaawe wa bonna-eri ggwe,
    Tukuleetera-okutya kwaffe,
    Okutalabibwa bannaffe
    Naye okumanyibwa gy’oli;
    Otukwate ku mukono
    Tulemenga okubungeeta.

    4
    Kitaawe wa bonna-,otuwe,
    Okukutenderezanga-ennyo;
    Tusanyukirenga Mukama
    Ffe abantu be-abalokole.
    Mu biro byonna-otulage
    -Ekkubo-eddungi-eridda gy’oli.

  • Hymn 181: GGWE EYATONDA-OLW’A-OKWAGALA KWO Lyrics

    Oluyimba 181: GGWE EYATONDA-OLW’A-OKWAGALA KWO Lyrics

     

    OLUYIMBA 261: ZUUKUKA MWOYO GWANGE
    1
    ZUUKUKA mwoyo gwange,
    Katonda-akusembeza,
    Taakugobere bweru,
    Akwagalira ddala.

    2
    Gw’osaba ye Kabaka
    Omuyinza wa byonna,
    -Okumukooyesa teri
    Olw’ekisa kye-ekingi.

    3
    Yesu,sooka-ontikkule
    Omugugu ogw’ebibi,
    Ogunzitoowerera,
    Gwe sijja kusobola.

    4
    Mu musaayi-ogwayiika
    Edda ku musaalaba;
    Ku lw’abalina-ebibi,
    Yesu,-onnaalize ddala.

    5
    Nkooye nnyo,ompummuze
    Weemale-omwoyo gwange,
    Njagala-Omulokozi
    Anammalamu-ebibi.

    6
    Bwe ntyo bwe nkuyimbira
    Bulijjo ettendo lyo;
    Abakwesiga wekka,
    Baliraba-ekisa kyo

  • Hymn 182: YESU,MWANA W’OMUNTU! Lyrics

    Oluyimba 182: YESU,MWANA W’OMUNTU! Lyrics

     

    OLUYIMBA 262: ENSUNU NGA BW’EWEEVUUMA
    1
    ENSUNU nga bw’eweevuuma,
    Ne yeegomba amazzi,
    Bwe bagiyigga ewala-ennyo,
    Bwe ntyo bwe nsinda nze.

    2
    Neegomba-amzzi g’obulamu
    Agava waggulu;
    Omwoyo ne gunnuma nnyo
    Okunywa,nzikute.

    3
    Ka ngume omwoyo;Yesu
    Ye wa kisa kyonna;
    Taalemenga kunsanyusa,
    Bwe ngumiikiriza.

    4
    Eri Katonda Kitaffe,
    N’Omwana we Yesu,
    N’Omwoyo Omutukuvu,
    Esaanidde ettendo

  • Hymn 183: YESU,-OBUYINIKE BWAFFE Lyrics

    Oluyimba 183: YESU,-OBUYINIKE BWAFFE Lyrics

     

    OLUYIMBA 263: MUKAMA-OTUYIGIRIZE
    1
    MUKAMA-otuyigirize
    -Okusaba-n’okutya,
    Twang’anga-abaana b’enfuufu,
    -Okukusemberera.

    2
    Tufudde bwe tutasaba;
    Yesu,otusabire;
    Bwe tuba tugenda gy’oli,
    Ggwe otwanirize.

  • Hymn 184: YESU OMULOKOZI Lyrics

    Oluyimba 184: YESU OMULOKOZI Lyrics

     

    OLUYIMBA 264: AYI YESU MUKAMA
    1
    AYI Yesu Mukama,
    Onsonyiwe-ebibi,
    Omponye-okwegomba kw’ensi:
    Mbeere mulongonfu.

    2
    Ayi Yesu Mukama,
    Ommalemu okutya,
    Mbeere omuddu wo-akwagala,
    Ndyoke ntuuke gy’oli.

    3
    Ayi Yesu Mukama,
    Tomganya kuwaba;
    Mu nzikiza nga ssiraba;
    Mulisa-ekkubo lyo.

    4
    Ayi Yesu Mukama,
    Ntuusa mu ssanyu lyo;
    Mbeerenga eyo mu ggulu,
    Emirembe gyonna.

  • Hymn 185: ETTENDO LINGI MU GGULU Lyrics

    Oluyimba 185: ETTENDO LINGI MU GGULU Lyrics

     

    OLUYIMBA 265: YIMIRIRA MU FFE
    1
    YIMIRIRA mu ffe;
    Mukama-ow’amaanyi;
    Ffe abakusaba
    Otuwe-omukisa.

    2
    Fuka Omwoyo wo,
    Mu mitima gyaffe;
    Tugobeemu-okutya
    N’okunakuwala.

    3
    Tulyoke tugende
    Nga tujjudde-essanyu
    Nga tulindirira
    Okukomawo kwo.