Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics
-
Hymn 182: YESU,MWANA W’OMUNTU! Lyrics
OLUYIMBA 262: ENSUNU NGA BW’EWEEVUUMA 1 ENSUNU nga bw’eweevuuma, Ne yeegomba amazzi, Bwe bagiyigga ewala-ennyo, Bwe ntyo bwe nsinda nze. 2 Neegomba-amzzi g’obulamu Agava waggulu; Omwoyo ne gunnuma nnyo Okunywa,nzikute. 3 Ka ngume omwoyo;Yesu Ye wa kisa kyonna; Taalemenga kunsanyusa, Bwe ngumiikiriza. 4 Eri Katonda Kitaffe, N’Omwana we Yesu, N’Omwoyo Omutukuvu, Esaanidde ettendo
-
Hymn 183: YESU,-OBUYINIKE BWAFFE Lyrics
OLUYIMBA 263: MUKAMA-OTUYIGIRIZE 1 MUKAMA-otuyigirize -Okusaba-n’okutya, Twang’anga-abaana b’enfuufu, -Okukusemberera. 2 Tufudde bwe tutasaba; Yesu,otusabire; Bwe tuba tugenda gy’oli, Ggwe otwanirize.
-
Hymn 184: YESU OMULOKOZI Lyrics
OLUYIMBA 264: AYI YESU MUKAMA 1 AYI Yesu Mukama, Onsonyiwe-ebibi, Omponye-okwegomba kw’ensi: Mbeere mulongonfu. 2 Ayi Yesu Mukama, Ommalemu okutya, Mbeere omuddu wo-akwagala, Ndyoke ntuuke gy’oli. 3 Ayi Yesu Mukama, Tomganya kuwaba; Mu nzikiza nga ssiraba; Mulisa-ekkubo lyo. 4 Ayi Yesu Mukama, Ntuusa mu ssanyu lyo; Mbeerenga eyo mu ggulu, Emirembe gyonna.
-
Hymn 185: ETTENDO LINGI MU GGULU Lyrics
OLUYIMBA 265: YIMIRIRA MU FFE 1 YIMIRIRA mu ffe; Mukama-ow’amaanyi; Ffe abakusaba Otuwe-omukisa. 2 Fuka Omwoyo wo, Mu mitima gyaffe; Tugobeemu-okutya N’okunakuwala. 3 Tulyoke tugende Nga tujjudde-essanyu Nga tulindirira Okukomawo kwo.
-
Hymn 170: MUKAMA WAFFE MULOKOZI! Lyrics
OLUYIMBA 251: YIMUKA! OJJE-ERI YESU 1 YIMUKA-! ojje-eri Yesu Akuli kumpi nnyo; Oyatule-ebibi byo Osenge Mukama Yimuka ojje! Yimuka ojje! akulindiridde: Oyatul(e) ebibi byo,oweebwe n’omukisa Gw’agabira obuwa; aweebw(e) ekitiibwa. 2 Yimuka-!ojje-eri Yesu Va mu kizikiza: Leka-okubuusabuusa, Obudde buyita. Yimuka ojje! Yimuka ojje! akulindiridde: Oyatul(e) ebibi byo,oweebwe n’omukisa Gw’agabira obuwa; aweebw(e) ekitiibwa. 3 Yimuka-! ojje-eri…
-
Hymn 186: OMUSAAYI-OGW’ENSOLO Lyrics
OLUYIMBA 266: YESU BULIJJO NKWETAAGA 1 YESU bulijjo nkwetaaga, Tondeka bw’omu; Beera nange ggwe okumoi, So tonvaamu. 2 Bwe mba nsanyuka nkugamba ebinsanyusa; Era-ombeere okukola, Ky’oyagala. 3 Bwe mba ndaba-ennaku nnyingi Ezintengezza; Ggwe-ozimanyi ggwe Mukama N’onsaasira 4 Bwe mba nsobya ku ggwe Yesu Olw’obunafu; Nsaasira-obunafu bwange Ompe-amaanyi.
-
Hymn 171: OMUSUMBA WANGE MUKAMA Lyrics
OLUYIMBA 252: MMWE MWENNA ABANOONYA-OKUTUUKA MU GGULU 1 MMWE mwenna abanoonya-okutuuka mu ggulu, Mulabe ku Mukama,mubeere n’essanyu; Tewali kkubo ddala,bwe mutayingira Mu luggi lw’omu ggulu olwalagirirwa. 2 Oluggi olwo ye Yesu-eyatugamba nti: Buli akkiriza nze asonyiyibwa-ebibi; Mmwe mwenna abakooye,kale mujje gye ndi Nammwe aboonoonyi be najja-okulokola. 3 Leero terunnaggalwa oluggi lw’eggulu; Lukyali-awo luggule okuyingiramu.…
-
Hymn 187: MUMUTENDE YESU-OMUNUNUZI WAFFE Lyrics
OLUYIMBA 267: KATONDA-ONSEMBEZE 1 KATONDA-onsembezw Kumpi naawe, Ne bwe ndikwatibwa -Obuyinike. Neeyongerenga-era Okusemberera -Okumpi naawe. 2 Obudde-obw’obulamu Buwungeera: So siraba n’omu Anambeera, Nga nkwegayirira Olw’ekyo,sembera -Okumpi nange. 3 Kale-okwolesebwa Kuve-eri ggwe; Era-awalinnyibwa Walabike. Nga bamalayika Bampenyezza-okujja -Okumpi naawe 4 Kyenva nsanyukira Ekisa kyo, Kubanga-owulira Omuddu wo Katonda tondeka, Nga mbulubuutira -Ewala naawe. 5 Edda…
-
Hymn 172: OKWAGALA-OKUTAGGWAAWO Lyrics
OLUYIMBA 253: TWAGALANE;-OKWAGALA 1 TWAGALANE-; okwagala Kwe kuva-eri Katonda: Kale,ffe-abooluganda, Tube nnyo n’okwagala. Twagalanenga;twagalanenga; Twagalanenga;Katonda kwagala. 2 Twali tulina-ebibi Yesu n’afa ku muti: Oyo gwe yafiirira, Ffe tunaaakyawa tutya? Twagalanenga;twagalanenga; Twagalanenga;Katonda kwagala. 3 Bonna ffe tubaagale, Twagale-abatukyaye N’abo abalina-ebibi Twagalenga bwagazi. Twagalanenga;twagalanenga; Twagalanenga;Katonda kwagala. 4 Kale-ekisa mu myoyo Kyakenga ng’omuliro; Kyokere ddala byonna Ebitali…
-
Hymn 188: BW’ALIJJA MUKAMA WAFFE Lyrics
OLUYIMBA 268: YESU EYASOOKA 1 YESU eyasooka Okutwagala; Saasira-obunafu Bwaffe-abaddu bo. 2 Yesu ggwe muteefu Ggwe muwombeefu; N’obuvumu bungi, Ffe tujja gy’oli. 3 Naye tuli bayi, Ffe tuyidde nnyo: Era-ebibi byaffe Bituyinze nnyo. 4 Ggwe Ayinza-byonna, Otuwe-amaanyi Okuwangulanga Mu kukemebwa. 5 Tuli bagayaavu; Ggwe munyiikivu Tuwe-fenna-amaanyi, Okunyiikira. 6 Tuli banafu nnyo, Ggwe-oli wa maanyi;…