Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

Luganda Anglican Hymns COU lyrics

  • Hymn 202: MUKAMA TWAGALA Lyrics

    Oluyimba 202: MUKAMA TWAGALA Lyrics

     

    OLUYIMBA 280: AYI KATONDA WAFFE
    1
    AYI Katonda waffe
    Ggwe watonda ffe,
    Naye twakuvaako
    Dda,ne twonoona.

    2
    Ayi Katonda waffe,
    Twakujeemera;
    Naye tukusinza
    Tuli baana bo.

    3
    Ayi Katonda waffe,
    Watusaasira;
    Twebaze ggwe leero,
    -Olw’okutwagala.

    4
    Ayi Mukama waffe.
    watununula;
    Twagala-okukusenga
    Tukuweereze.

    5
    Ayi Mukama waffe,
    Twali bajeemu;
    Naye otusenze,
    Tube-abaddu bo.

    6
    Ayi Katonda-,Omwoyo
    Omutukuvu,
    Fenna otukuume,
    Leero mu bibi.

  • Hymn 203: ENDAGAANO-ENTUKUVU Lyrics

    Oluyimba 203: ENDAGAANO-ENTUKUVU Lyrics

     

    OLUYIMBA 281: YESU,LEERO NKUKOOWOOLA
    1
    YESU,leero nkukoowoola
    Ombeere nkwegayirira,
    Obulokozi bwo ndaga;

    Mala gasenza nze:
    Mala gasenza nze:
    Omusaa(yi) gwokka gwe neesiga:
    Mala gasenza.nze

    2
    -Obujeemu bwange n’obubi,
    Ggwe-omanyi ddala bwe biri:
    Ka nkwesige ggwe bwesizi;

    Mala gasenza nze:
    Mala gasenza nze:
    Omusaa(yi) gwokka gwe neesiga:
    Mala gasenza.nze

    3
    Siyinza kweteekateeka,
    Siyinza kwegendereza;
    Olw’erinnya lyo ndokola:

    Mala gasenza nze:
    Mala gasenza nze:
    Omusaa(yi) gwokka gwe neesiga:
    Mala gasenza.nze

    4
    Nze nkuvuunamidde leero
    Neewaayo mu mikono gyo:
    Mukama,nze ndi muddu wo:

    Yesu nkusenze ggwe:
    Yesu nkusenze ggwe:
    (O)musaa(yi) gwo gwe gundokodde:
    Yesu nkusenze ggwe.

  • Hymn 204: JJANGU! KOLA Lyrics

    Oluyimba 204: JJANGU! KOLA Lyrics

     

    OLUYIMBA 282: YESU NJIJA GY’OLI
    1
    YESU njija gy’oli,
    Nga nsuubira,
    Nkufukaamirira,
    Nga nkwesiga;
    Njijudde nnyo-ebibi,
    Naye kye mpoza nti:
    Wanfiirira.

    2
    Mukama njatula
    Ebyonoono;
    Ne nkubikkulira
    -Ebibi byange.
    Jjangu onnongoose
    Onnalize ddala,
    Ontukuze.

    3
    Yesu-otusonyiwe
    Ggwe-omwesigwa
    Laba,nfukamidde
    Mu maaso go.
    Onnaze mu musaayi-,
    Ggwe-Omwana gw’endiga
    Wa Katonda.

    4
    Ne nyoka nsanyuka
    Nga ndokose,
    Nze ne ntambulira
    Wamu naawe.
    Ne bwe ndizirika,
    Ggwe-olimpanirira
    Nneme-okugwa.

  • Hymn 205: AYI YESU NKWEGAYIRIDDE Lyrics

    Oluyimba 205: AYI YESU NKWEGAYIRIDDE Lyrics

     

    OLUYIMBA 283: ONNUMIRIZE OLW’EBIBI
    1
    -ONNUMIRIZE olw’ebibi
    Mwoyo Mutukuvu;
    Eby’omu bulamu bwange
    Byerulibwe mangu.

    2
    Yesu amaanyi ebyama,
    N’esulo-ez’omu nda
    Ez’ebirowoozo bynge,
    Ozimbikkulire.

    3
    Onjakize-omusana gwo,
    Ommulise mu nda,
    Ommanyise-ebibi byange
    Byonna-ebikisibwa.

    4
    Naweerezanga Ssetaani,
    Mu nnaku ez’edda;
    Ekisa kyo kye kyansenza;
    Yesu anjagla.

    5
    Bwe ntyo bwe ndifukamira
    Mu maaso ga Yesu,
    Naakwebalizanga ddala,
    Nga neewombeese nnyo

  • Hymn 190: KATONDA-EYANNONDA NZE Lyrics

    Oluyimba 190: KATONDA-EYANNONDA NZE Lyrics

     

    OLUYIMBA 27: MUZUUKUKE! MMWE-ABEEBASE
    1
    MUZUUKUKE! mmwe-abeebase
    Omukuumi atukoowoola
    Suukuka Yerusaalemi
    Kaakano obudde ttumbi,
    Abawala ab’amgezi
    Mujje, batukoowoola nnyo:
    Awasa-omugole
    Ajja,muyimuke!
    Aleruuya!
    Mujje nga mweteeseteese,
    Mujje mumusisinkane.

    2
    Saayuuni yenna-awulidde,
    Okukoowoola kw’omukuumi;
    Bonna ne bajjula-essanyu;
    Mukwano gwabwe-akka ku nsi,
    Wa kitiibwa-era wa mazima,
    Wa maanyi era wa kisa.
    Kale Yesu jjangu
    -Omwana wa Katonda,
    Aleruuya!
    Fenna tusseekimu naawe,
    Fenna tugende n’essanyu.

    3
    Ekitiibwa kibe gy’oli;
    Abantu bakutendereze
    Wamu ne bamalayika.
    Fenna tukuyimbirenga
    Nga twetooloola entebe yo
    Tujaguze! tujaguze!
    Tewalabikanga
    Ssanyu eryenkanaawo
    Aleruuya!
    Tukuyimbire n’essanyu
    Emirembe n’emirembe.

  • Hymn 206: KU LWANGE NE KU LW’ENJIRI Lyrics

    Oluyimba 206: KU LWANGE NE KU LW’ENJIRI Lyrics

     

    OLUYIMBA 284: SIYINZA N’AKATONO
    1
    SIYINZA n’akatono
    Yesu nga toliiwo;
    Okulwana-akaseera
    Mu maaso g’ekibi;
    -Abalabe bange bonna
    Bantaayiza bubi;
    Omulokozi wange,
    Ombeere n’amaanyi.

    2
    Nze ndi munafu ddala.
    -Amaanyi gampweddemu;
    So sirina magezi,
    Ekkubo limbuze.
    Beera-Omusaale wange,
    Mu masamganzira,
    Bw’onkwata n’omukono
    Ndituuka-emirembe.

    3
    Siyinza n’akatono,
    Kutambula nzekka;
    Ggwe-oli Mubeezi wange
    Mu biro-eby’ennaku:
    Ggwe tonjabuliranga,
    Nneme-okubungeeta,
    Siritya kabi konna,
    Mu ntuuko-ez’okufa

  • Hymn 191: MWENNA MUSANYUKE Lyrics

    Oluyimba 191: MWENNA MUSANYUKE Lyrics

     

    OLUYIMBA 270: YESU KINO KYE NJAGALA
    1
    YESU kino kye njagala,
    Omwoyo nga gugwo;
    -Omugonvu n’omuwombeefu,
    Ogukukkiriza.

    2
    Era-omwoyo-oguwulira
    -Ebiragiro byonna;
    Mukama mw’anaatuulanga
    Okugusanyusa.

    3
    Omwoyo ogunaazibwa
    -Omusaayi gwa Yesu;
    Ogutabeeramu kibi,
    Ogujjudde-ekisa.

    4
    Omwoyo-ogwenkaniddaawo
    Ogumpe Katonda;
    Oneemale nze kaakati,
    Onfugire ddala.

  • Hymn 207: MUGENDE MU NSI ZONNA Lyrics

    Oluyimba 207: MUGENDE MU NSI ZONNA Lyrics

     

    OLUYIMBA 285: GGWE-OMANYI YESU OBUKOOWU BWAFFE
    1
    GGWE-omanyi Yesu obukoowu bwaffe,
    Otegedde byonna-ebikwekeddwa;
    Tukemggentereddwa-abalabe bangi,
    Ggwe wekka-,oli kiddukiro kyaffe
    Tuzze gy’oli,oyise ffe-abanaku
    Kubanga-ebyama byonna-obimanyi.

    2
    Ggwe-omanyi ebibi byaffe-ebyabaawo
    Bwe twakujeemera,bwe twabula;
    Twawaba nnyo ng’endiga-ezisaasaana,
    Twali tuzaaye n’otuzaawula.
    Ggwe-eyanyiga-ebiwundu byaffe byonna
    N’otuwa-amaanyi,otusaasire.

    3
    Ggwe-omanyi byonna-,ebiriwo kaakano
    -Omulabe waffe bw’atukema-ennyo
    Entalo ze tulwana zituyinze,
    Twetaaga ggwe,-ekiddukiro kyaffe.
    Be twagala nabo banakuwala,
    N’ensi-eno-oluusi tetusanyusa.

    4
    Ggwe-omanyi byonna-,ebigenda-okubaawo,
    Oluusi ssanyu,oluusi nnaku;
    tunoonya bye tutayinza kufuna,
    Naye gy’oli tujjula essanyu,
    Obudde bw’obulamu buwungeera
    Era-okufa kutusemberera
    Era-okufa kutusemberera.

    5
    Kyovudde-omanya byonna-ebituluma,
    Kubanga watwala-obuntu bwaffe,
    Mu nsi baakuyitanga ow’ennaku,
    Era-eyamanyiira-obuyinike.
    Kyetuvudde twanmgganga-okujja gy’oli,
    Tufune amaanyi ge twetaaga.

  • Hymn 192: GGWE-EKKUBO LYAFFE,-ERA MU GGWE Lyrics

    Oluyimba 192: GGWE-EKKUBO LYAFFE,-ERA MU GGWE Lyrics

     

    OLUYIMBA 271: KATONDA EYANTONDA NZE
    1
    KATONDA eyantonda nze
    Mu mubiri-omwangu;
    Ndyoke nnyinze-okusobola
    -Okutambula wonna;
    Singa mbuliddwa-amagezi,
    Naye mujjukira
    Mu mutima ogw’essanyu
    Ng’omwana omuto.

    2
    Yesu Kabaka, Mukama;
    Ompe-ekitala kyo
    Ekyangu era ekyogi
    Nnwanyise-abalabe;
    Ndyoke mbawangule abo,
    Era nkuweereze
    -Emisana era n’ekiro,
    Mbeerenga-omusajja.

    3
    Omwoyo ogw’amazima
    Oguwa-omubiri
    -Essanyu mu kifo ky’ennyombo,
    -Omusana-omulungi;
    Amagezi nga gambuze
    Ojje embeerenga;
    Ompe ekirabo kino
    -Otwale-omwoyo gwange.

  • Hymn 208: OBWAKABAKA BWO Lyrics

    Oluyimba 208: OBWAKABAKA BWO Lyrics

     

    OLUYIMBA 286: GGWE-ASUUTIBWA BULI MUNTU
    1
    GGWE-asuutibwa buli muntu,
    Kkiriza-eteendo lyaffe;
    -Okusobya kwe tukoze ffe,
    Twenenyerezza ddala;
    -Ebirabo bye tukuwa ffe,
    -Obitwale n’omukisa gwo;
    -Ogutuwe,ggwe Kabaka.