Oluyimba 199: TUKWEBAZA KITAFFE Lyrics
OLUYIMBA 278: MUKAMA GGWE-OMUFUZI WA BYONNA
1
MUKAMA ggwe-Omufuzi wa byonna,
Bye wakola bikusuuta byonna.
Ggwe-Omukuumi w’amawanga gonna,
Ogamulisizza-omusana gwo.
Fuga-emyoyo gyaffe,Ayi Mukama,
Tukuume-era-otuwe amaanyi go.
2
Ffe-abaana bo b’oyagala ennyo,
B’ogaase awamu n’Omwana wo,
Naawe-Omwoyo-Omutukuvu jjangu
Tugatte fenna mu mwoyo gyaffe
Tubeerenga mu ggwe omu wekka;
Fenna twagalanenga bulijjo.
3
Tuwe tukyawe obubi bwonna,
Twagalenga-ebyo ebisaanira.
Essanyu lyaffe lituukirire,
-Obuyinike bwaffe-obumalewo.
Gabira-abaana bo amaanyi go
Tukugoberere n’amazima.
4
Ayi Mukama,-otwambaze amaanyi go
Tube-abasserikale bo leero.
Tujjuze-amaanyi g’ekigambo kyo
Tuwangule mu lutalo lwaffe
Wanirira obuzibu bwaffe.
Tuleme oktya entiisa yonna.