Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics
-
Hymn 224: MWENNA MUYIMUKE Lyrics
OLUYIMBA 30: EKIRO KIYISE 1 EKIRO kiyise, Obudde bukedde; Kale twambule-ebikolwa Eby’ekizikiza. 2 Twambale-amazima, Ng’eby’okulwanyisa; Tutambule nga tuwoomye, Nga tujjudde-essanyu. 3 Ebyonoono byonna N’ebinyumu by’ensi N’embaga-ez’okutamiira, Byonna tubyambule.
-
Hymn 225: GGWE KIBUGA KYA KATONDA Lyrics
OLUYIMBA 300: OMWOYO N’OMUBIRI 1 OMWOYO n’omubiri, Yesu ka mbikuwe; Neewaayo nga ssaddaaka; Omuliro gujje. Omwoyo n’oomubiri, Yesu ka mbikuwe; Neewaayo nga ssaddaaka; Omuliro gujje. 2 Yesu Omulokozi, Neesiga-erinnya lyo; Era nga bwe wagamba, Kibeere bwe kityo. Omwoyo n’oomubiri, Yesu ka mbikuwe; Neewaayo nga ssaddaaka; Omuliro gujje. 3 Toola-ebitundu byange Bye waggya mu nvuba;…
-
Hymn 210: BULI MUNTU YENNA AWULIRE Lyrics
OLUYIMBA 288: ABAALUMWA-EMISOTA-ABAYISIRAYIRI 1 ABAALUMWA-emisota-Abayisirayiri. Mu lukoola bwe baatambula; Buli muntu yawona eyatunnuulira Omusota ogwo ku muti. Mutunule:munaawona mwenna,bwe mukkiriza Yesu: Munaawona kaakano mwenna. 2 Temulwa,mumutunuulire Mulokozi, Mmwe mwenna abalumwa-ebibi: Munaawona mwenna bwe mukkiriza Yesu, Eyatufiirira ku muti. Mutunule:munaawona mwenna,bwe mukkiriza Yesu: Munaawona kaakano mwenna. 3 Naye ku lw’ebikolwa ebituukirivu, Temuyinza kulokolebwa: Abisiima Katonda,naye…
-
Hymn 226: BATUULA MU GGULU Lyrics
OLUYIMBA 301: KATONDA WANGE BYE NKYAMA 1 KATONDA wange bye nkyama, Ewala mu kkubo lyange, -onjigirize-okkukiriza Byonna, byonna, by’oyagala. 2 Mu nzikiza bwe ntambula, Onjakize-omusana gwo; Nneme-okubulira ddala; Beera nange, Mulokozi. 3 -Obuyinike bwe bunsanga, Nga nfiiriddwa be njagala, Oyimuse-omwoyo gwange Onnyimuse, onnyimuse, 4 Bw’obanga-ompita-okuleka Bye nsinga-okwagala, byonna Bitwale, si byange, bibyo; Nzikiriza, nzikiriza.…
-
Hymn 211: KATONDA WAFFE,WA KISA, WA MAANYI Lyrics
OLUYIMBA 289: YESU YAJJA ALOKOLE 1 YESU yajja alokole Abalina-ebibi: Naffe fenna aboonoonyi Anaatusonyiwa. Neeyanz(e)nno Yesu ku lw’okwagal(a) okunene, Ne ndaba-essanyu lingi nnyo, Kubanga ndokose. 2 Tegwatuyiikira-omusaayi- Ogusinga byonna? Tewali gw’atayinza ye Okulongoosa-ennyo. Neeyanz(e)nno Yesu ku lw’okwagal(a) okunene, Ne ndaba-essanyu lingi nnyo, Kubanga ndokose. 3 Tetuyinza ffe-okwetuusa Mu ggulu n’akamu: Mu kifo-ekyo mulituuka Abatuukirivu.…
-
Hymn 227: BULIJJO TUTENDEREZA Lyrics
OLUYIMBA 302: EKISA KYO TEKITEGEEREKEKA 1 EKISA kyo tekitegeerekeka; Mukama wannge, naye njagala -Okuyiga bulijjo n’okwongera Okutegeera mu mwoyo gwange Bwe kyenkana. 2 Okwagala kwo kukira byonna Bye tulowooza ffe-abantu, naye Neegomba nnyo-okubuulira wonna Ekisa kyo-ekinene bwe kiri Eri bonna. 3 Ekisa kyo kinnemedde ddala Okukitendereza-obulungi: Naye emimwa gyannge gyagala, Mukama okuyimba ettendo lyo…
-
Hymn 212: BULIJJO TUMUSUUTENGA Lyrics
OLUYIMBA 29: MUSANYUKE ABALOKOLE 1 MUSANYUKE abalonde Abeesiga Yesu, -Ettabaaza zammwe zaake, Obudde buzibye. Mukama waffe alijja, Kaakano ali kumpi, Muyimuke mwekuume Meleme-okwebaka 2 Mukoleeze-ettabaaza zaake mu nzikiza, Mulabe-obulokozi Bwammwe busembedde. Mukama bamulengera Kaakano ali kumpi, Mugende nga muyimba, -Okumusisinkana. 3 -Abawala ab’amagezi Muyimbe nnyo nnyini Ennyimba-ez’amatendo -Ez’abamalayika. Yesu atulindirira Mulokozi w’abantu: Balokole ba…
-
Hymn 228: MU NSI Y’OMU GGULU Lyrics
OLUYIMBA 303: SIRIIKO KYE MPOZA,YESU 1 SIRIIKO kye mpoza,Yesu; Mu maaso go,gunsinze nnyo; Ekisa kyo kiwangudde Obunafu bwange bwonna. 2 -Obunafu bwange buliggwa: Mu maaso go teri kibi, Ekisa kyo kibeerera Emirembe gyonna.
-
Hymn 213: MMWE-ENSOZI-EMPANVU-ENNYO Lyrics
OLUYIMBA 290: YESU-AMANYI BWE MBEERA 1 YESU-amanyi bwe mbeera N’ebirowoozo byonna N’obunafu bwange-era, Byonna ye abimanyi. 2 Ng’omuzadde w’omwana Bw’asaasira-omwana we, Yesu bw’asaasira nze Mu-ebyo byonna bye nkola. 3 Yesu fenna-atwagala Abakulu n’abato; Anaatusonyiwanga Bwe tuba twenenyezza. 4 Weenenye ggwe-omwonoonyi Ye anaakusonyiwa; Omusembeze gy’oli Mwenenyereze ddala. 5 Ojja kulokolebwa Mu bibi byo-ebyo byonna; Teweeraliikirira,…
-
Hymn 229: WALIWO-ENSI ESINGA-ENO Lyrics
OLUYIMBA 304: YESU,NEESIGA GGWE OKUNDOKOLA 1 YESU,neesiga ggwe okundokola Mu musango gwonna ne mu kwonoona: Ali mgganga ggwe mu ggulu taliwo; Ne mu nsi ggwe wekka ggwe Mulokozi. Neesig(a) ekisa kyo,kyenvudde njinja Nkwebaza,nkusinz(a) olw’okusaasira. Yesu,neesiga ggwe okundokola, Mu musango gwonna ne mu kwonoona. 2 Yesu,nkwesiga n’olw’ekigambo kyo, Naakawulira-omwo eddoboozi lyo: Omwoyo-omulungi bw’anjigiriza, Ka ntuule…