Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics
-
Hymn 214: MUWULIRE MMWE-ABANTU BE Lyrics
OLUYIMBA 291: MWENNA MUSANYUKE LEERO 1 MWENNA musanyuke leero, Muyimbe n’okujaguza; Mmwe mumutende Mukama; Wa maanyi,Omulokozi: By’akola biraga Erinnya lye-eddungi; Ye yekka Katonda; Laba ekisa kye: Mmw(e) abatukuvu musuute! 2 Bwe twali tuli mu kabi, Yawulira bwe tusinda; Tumwesigenga bulijjo, Okwagala kwe kuyamba. Tuyimuse gy’ali Emitima gyaffe, Nga bonna bayimba, Mutenderezenga: Mmw(e) abatukuvu musuute!…
-
Hymn 215: OLWAZI KWE YAZIMBA KATONDA-EKKANISA Lyrics
OLUYIMBA 292: KATONDA TUKUTENDA GGWE 1 KATONDA tukutenda ggwe; Tukkiriza-obukama bwo; Aleruuya! Aleruuya! Ayi Kitaffe ataggwaawo, Ensi zonna zikusinza: Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! 2 Abakukoowoola ennyo, Be bamalayika bonna: Aleruuya! Aleruuya! Basseraafi,Bakkerubi, N’obuyinza-obw’omu ggulu: Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! Aleruuya! 3 Mutukuvu,Mutukuvu, Mutukuvu,Omugabe; Aleruuya! Aleruuya! Mukama ow’egye lyonna, Kitiibwa kyo kyala wonna. Aleruuya! Aleruuya!…
-
Hymn 216: LWANANGA MU LUTALO LWO Lyrics
OLUYIMBA 293: KAAKANO TWEBAZA 1 KAAKANO twebaza, Katonda-ow’emirembe Eyatukolera Ebitusanyusa ffe; Okuva mu buto Yatuwa omukisa; Era-ebirabo bye Tebitegeezeka. 2 Katonda ow’ekisa Weemale-emyoyo gyaffe; Tuwe-emirembe gyo Beeranga kumpi naffe, Otulung’amyenga Mu kkubo ly’obulamu; Ffe naawe mu ggulu. tusanyuke fenna. 3 Tweyongere fenna Okwebaza Katonda, Kitaffe,n’Omwana, N’-Omwoyo Omutukuvu, Abeererawo-wekka, Tukuvuunamira, Ggwe asinzibwa bonna Mu nsi…
-
Hymn 217: MMWE BANNANGE-ABALWANYI Lyrics
OLUYIMBA 294: EKISA KYA YESU 1 EKISA kya Yesu, Kisinga-obulungi: Kiki-ekyamutufiiriza? Ekisa kye kingi. Yesu ku muti,kwe yanfiirira; Yesu ye yandokola;neeyanz(a) ekisa kye. 2 Mu kisa neeraba Nze nga nnina-ebibi; Era kyennaavanga nteeka Byonna Yesu gy’ali. Yesu ku muti,kwe yanfiirira; Yesu ye yandokola;neeyanz(a) ekisa kye. 3 Mu kisa nafuna, -Omutima omuggya; Kyenvudde nsaba bulijjo…
-
Hymn 218: YESU,BWE NNAKUSENGA Lyrics
OLUYIMBA 295: MUKAMA BWE YAMGGAMBA NTI 1 MUKAMA bwe yamggamba nti Jja,osembere gye ndi; Owummule ggwe-akooye-ennyo Ennaku z’omu nsi; Ne nsembera nga bwe nnali Nga nnakuwadde nze; N’angabira-okuwummula, Kaakano nsanyuse. 2 Mukama bwe yamgamba nti Kye nkuwa kya buwa; Amazzi g’obulamu,nywa, Ggwe-alumiddwa-ennyonta; Ne nnywa amazzi-ago, Ne nzikuta;-omwoyo gyange Ne gufuna-amaanyi. 3 Mukama bwe yamgamba…
-
Hymn 219: YESU AJJA! ABALABE Lyrics
OLUYIMBA 296: OMPISE,MUKAMA 1 OMPISE,Mukama, Okujjanga gy’oli, Onnanze n’omusaayi gwo Ogusinga byonna. Ka njije,Yesu;ka njije gy’oli: Nnaaza,nnaaza n’omusaayi 2 Nange ndi munafu; Omubi-omwereere: Ajja gye ndi simugoba Bwe bwesige bwange. Ka njije,Yesu;ka njije gy’oli: Nnaaza,nnaaza n’omusaayi 3 Yesu,wanfiirira Nze alina-ebibi Okwagala kumpaludde, Laba,nzize gy’oli. Ka njije,Yesu;ka njije gy’oli: Nnaaza,nnaaza n’omusaayi 4 Katonda Kitaffe, Katonda…
-
Hymn 220: KALE GGYE LYA YESU, MUGOLOKOKE Lyrics
OLUYIMBA 297: BYE TUKUWA BIVA GY’OLI 1 BYE tukuwa biva gy’oli, Newankubadde nga bingi; Bibyo byonna bye tulina, Birabo by’otuteresa. 2 -Otuwe-ekisa tubeerenga -Abawanika bo-abeesigwa; Nga twesolooza n’omwoyo Ku bintu bye tuli nabyo. 3 -Amawanga gonna-ag’omu nsi Geetaaga nnyo-Omulokozi Abantu be yafiirira Bawaba-era basaasaana. 4 Gy’emirimu gyaffe fenna, -Okukomyawo abakyama; -Okunoonya-ababula,era -Okujjanjaba-abafiiriddwa. 5 Bw’atyo…
-
Hymn 221: BALWANYI BA YESU MWESIBE-ENKOLA Lyrics
OLUYIMBA 298: MUKAMA,NZE NNINA-EBIBI 1 MUKAMA,nze nnina-ebibi; Naye ekisa kyo kingi; Ompise okujja gy’oli; Yesu,njija. 2 Yesu,Omwana gw’endiga, Olw’ebibi byange wafa; -Omusaayi gwo ngukkiriza; Yesu,njija. 3 Ajja gyendi simugoba, -Ekigambo kyo nkikkiriza, Kuba okulimba toyinza; Yesu,njija. 4 Okwagala kwo okunene N’ekisa kyo bimpaludde; Kye njagula,kusenga ggwe; Yesu,njija.
-
Hymn 222: MULWANYI WA YESU OLINA-ENNAKU Lyrics
OLUYIMBA 299: YESU WANFIIRIRA MU KWAGALA KWO 1 YESU wanfiirira mu kwagala kwo, Nnyinza ntya okukumma by’onooyagala? Byonna mbikuwa ggwe,ka nfuuke-omuddu wo, Obuddu ggwe gy’oli lye ddembe ddala. 2 Ku ntebe-ey’ekisa ompolereza, Ompe-emirembe gyo Yesu nkwesiga; Ka mbuulire wonna ettendo lyo lyonna, Mu bulamu-,mu kufa,bw’onondokola. 3 Kye njagala kyokka kukufaanananga, Nzire mu kkubo lyo…
-
Hymn 223: MMWE MWENNA-ABOOLUGANDA Lyrics
OLUYIMBA 3: BWE BUKEDDE-OLWA LEERO 1 NGA bwe bukedde-olwa leero, Bwe tuyimusa bwe tutyo; -Emitima gyaffe,tusaba, Otukuume olwa leero. 2 Tuyambe-obutayogera, Bya kuyombagana byonna; Kuuma,wunjula-amaaso go; Okulaba-ebitasaana. 3 Kka,emyoyo gyaffe gibe, Mirongoofu nnyo mu byonna; -Emibiri gyaffe-eminafu, Biweebwe-emmere y’obulamu. 4 Bye tukoze byonna leero, Bitendereze Katonda, -Ekiro ne bwe kinaatuuka Tetuutye entiisa yonna. 5…