Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

Luganda Anglican Hymns COU lyrics

  • Hymn 394: ABALAGUZI EDA BAVA WALA NNYO Lyrics

    Oluyimba 394: ABALAGUZI EDA BAVA WALA NNYO Lyrics

     

    OLUYIMBA 80: OKWAGALA OKWO
    1
    OKWAGALA okwo
    Okw’Omulokozi
    Kwe yanjagala nze
    Nange-atasaanira;
    Kale nze-ani
    Omwonoonyi?
    Naye yafa ku lwange nze.

    2
    Baatendereza nnyo
    Nga bayimba-ennyimba,
    Nga bayimba-ennyimba,
    Nga bagamba bonna:
    Ozaana waggulu!
    Ate-amangu
    Ne bagamba:
    Komerera-Omulokozi.

    3
    Tewalina nnyumba,
    Ggwe eyatonda-ensi.
    Mu kufa, bonna bonna
    Baakwabulira
    Njogere ntya
    -Omulokozi
    Olw’okunjagala bw’otyo?

    4
    Yaleka-ekitiibwa
    N’aleetera-abantu
    Obulokozi bwe
    Ffe-abatasaanira:
    Yanjagala
    Nze-omwonoonyi
    N’awaayo byonna ku lwange.

    5
    Naye yakola ki?
    Yawonya-abalwadde;
    Abalema bonna
    -Era Ne bamuzibe
    Yabawonya.
    Kya kitalo,
    Kaakano bamuduulira!

    6
    Ka mbeere nga nnyimba
    Ku mukwano gwange;
    Ye Kabaka, naye
    N’anjagala bw’atyo
    Mu bulamu
    Bwange bwonna,
    Ka nkwagale-Omulokozi

  • Hymn 395: BERA,AI YESU,MUKUTEGERA KWANGE Lyrics

    Oluyimba 395: BERA,AI YESU,MUKUTEGERA KWANGE Lyrics

     

    OLUYIMBA 81: EWALA MU BUYUDAAYA
    1
    EWALA mu Buyudaaya,
    Eriyo-olusozi,
    Kwe yatufiirira Yesu,
    Ye Mukama waffe.

    2
    Ffe-abantu be tetumanyi
    Ennaku bwe zaali,
    Ze yalaba ku lw’abantu,
    -Omulokozi Yesu.

    3
    Yafa ffe tufune-eddembe
    Atuwe n’obulamu:
    Yafa atutuuse-ewuwe
    Gy’atudde mu ggulu.

    4
    Tewali-eyandiyinzizza
    Kulokola munne,
    Newankubadde ye yekka
    Kusinga-omusango.

    5
    Mukama y’ayinza yekka
    Okutuggulira
    Oluggi olw’omu ggulu,
    N’okutuyingiza.

    6
    Tusaanidde ffe twagale
    Mukama waffe-oyo;
    Tweweeyo-okumuweereza
    Eyatufiirira

  • Hymn 396: BERA,MUKAMA,MUNDA YANGE Lyrics

    Oluyimba 396: BERA,MUKAMA,MUNDA YANGE Lyrics

     

    OLUYIMBA 82: EKIBI KIRUWA KYE WALI-OKOZE?
    1
    EKIBI kiruwa kye wali-okoze?
    Baakuvunaana ki Mukama waffe?
    Era-omusango gwakusinga gutya?
    -Omwagalwa waffe!

    2
    Wakubibwa n’oduulirwa kitalo;
    Ennaku ze walaba tezirabwa;
    Awo-ne bakukomererawaggulu
    Ku musaalaba.

    3
    Ensonga y’ebibonyoobonyo byo ki?
    Lwaki walaba-ennaku-ez’ekitalo?
    Zaakusanga lwa bibi byange byonna,
    Mukama wange!

    4
    Okwagala kwo tekutegeerekeka:
    Ku lw’endiga omusumba alumwa?
    -Omwami afa mu kifo ky’omuddu we?
    Wafa ku lwange,

    5
    Ekisa kyo kimonyezza-okwegomba,
    Kwe nali nakwo eri-eby’ensi eno:
    Neeteeseteese okunyiikiranga,
    Nkusanyusenga

  • Hymn 397: LEERO KA NNEESIBIRIRE Lyrics

    Oluyimba 397: LEERO KA NNEESIBIRIRE Lyrics

     

    OLUYIMBA 83: YESU AZUUKIDDE OLWA LEERO, ALERUUYA
    1
    YESU-azuukidde olwa leero,Aleruuya
    Leero naffe ka tuyimbe, Aleruuya
    Yatufiirira edda, Aleruuya
    Yatulokola mu kufa, Aleruuya

    2
    Yesu tumutendereza,Aleruuya
    Ye kabaka-ow’omu ggulu,Aleruuya
    Yattibwa,N’aziikibwa, Aleruuya
    Okununula ffe abantu,Aleruuya

    3
    Obulumi bwa Mukama,Aleruuya
    Bwatuleetera-obulamu,Aleruuya
    Leero gy’ali mu ggulu, Aleruuya
    Gye bayimbira n’essanyu,Aleruuya

  • Hymn 398: MU NZIKIZA EKUTTE NKUKAABIDDE Lyrics

    Oluyimba 398: MU NZIKIZA EKUTTE NKUKAABIDDE Lyrics

     

    OLUYIMBA 84: YESU WAALI! OKUFA
    1
    YESU waali! Okufa,
    Tokyayinza kututiisa:
    Yesu yakuwangula;
    Obulumi bwo bufudde!
    Aleruuya!

    2
    Yesu waali! bw’alijja,
    Baliva-ababe mu bafu:
    Yesu waali! Okufa,
    Gwe mulyango gw’obulamu.
    Aleruuya!

    3
    Yesu waali! eyafa,
    Okununula ffe-abantu;
    Leero tumusuute nnyo
    N’emyoyo emirongoofu;
    Aleruuya!

    4
    Yesu waali! tewali,
    Ddala kya kutwawukanya.
    Atukuuma bulijjo
    Buli wantu tatuleka.
    Aleruuya!

    5
    Yesu waali! yaweebwa
    -Obwakabaka bw’ensi zonna
    Tulibeera wamu naye.
    Aleruuya!

  • Hymn 399: MMWE-ABANTU MU MUMUWULIRE Lyrics

    Oluyimba 399: MMWE-ABANTU MU MUMUWULIRE Lyrics

     

    OLUYIMBA 85: YESU EYALI MU NVUBA
    1
    YESU eyali mu nvuba,
    Ez’okufa ku lwa ffe,
    Yawngula n’azuukira,
    N’atuwa obulamu;
    Ka tumwebaze ennyo,
    Leka tuyimbe n’essanyu,
    Nga tuyimba Aleruuya!
    Aleruuya!

    2
    Obulamu-bwe bwalwanyisa
    Okufa n’amagombe,
    Newabaawo ssematalo,
    Okufa ne kudduka;
    Yesu yakuwangula,
    Ekitabo kya Katonda,
    Nga Ye Mujulirwa webyo .
    Aleruuya!

    3
    Tukuume nnyo embaga-eno
    Nga tujjudde essanyu;
    Yesu ye Njuba y’emyoy,
    Ayakire mu gyaffe,
    Twolese empisa ze;
    Alabikire mu gyaffe,
    Ne tutaswaza linnya lye.
    Aleruuya

  • Hymn 400: AMINA AMINA Lyrics

    Oluyimba 400: AMINA AMINA Lyrics

     

    OLUYIMBA 86: ALERUUYA! ALERUUYA! ALEERUYA!
    1
    ALERUUYA! Aleruuya! Aleruuya!
    -Abaana ba Kabaka mwenna
    Musanyuke mujaguze,
    -Amaanyi g’okufa gafudde:
    Aleruuya!

    2
    Awo-olwatuuka Malyamu,
    Era ne Magudaleene,
    N’omukyala wa Kuloopa:
    Aleruuya!

    3
    Ku lunaku-olwa Ssabbiiti
    Enkya mu matulutulu
    Ne bagenda-awaali entaana:
    Aleruuya!

    4
    Ne basanga Malayika,
    Mu byeru n’abagamba nti:
    Yesu-agenze-e Ggaliraaya:
    Aleruuya

    5
    -Ekiro-ekyo_abatume baatya,
    Yesu n’ajja n’agamba nti:
    Emirembe gibe mu mmwe:
    Aleruuya

    6
    Tomasi bwe yawulira,
    Bwe baamulabidde ddala,
    N’abuusabuusa mu nda ye:
    Aleruuya!

    7
    Yesu n’agamba Tomasi
    Nti,Leeta omukono gwo,
    -Ogusse mu mbiriizi zange:
    Aleruuya!

    8
    Leka-okuba-atakkiriza,
    Tomasi n’amuddamu nti:
    Ggwe Katonda wange ddala
    Aleruuya!

    9
    Naye-alina-omulisa-oyo
    Akkiriza nga talina
    Ky’alabako n’akatono:
    Aleruuya!

    10
    Mu tendereze Kitaffe,
    N’ettendo libe-eri-Omwana,
    N’Omwoyo Omutukukuvu.
    Aleruuya!

  • Hymn 401: TUTENDEREZA LERO Lyrics

    Oluyimba 401: TUTENDEREZA LERO Lyrics

     

    OLUYIMBA 87: KU LUNAKU OLUKULU
    1
    KU Lunaku olukulu,
    Yesu lw’alirabika;
    Alitukung’anya fenna,
    Abaana be

    2
    Ebitundu byaffe byonna,
    Omubiri n’omwoyo,
    Biritwalibwa-eyo gy’ali,
    Mu ggulu.

    3
    Bijja kwawulibwa mu nsi,
    Ekiseera-ekitono,
    Omubiri ne gwebaka,
    Bwebasi.

    4
    Era omwoyo ogutafa,
    Ne gubeerawo gwokka,
    Nga gukyamulindiridde,
    -Okujja kwe.

    5
    Naye ku lunaku olwo,
    Birigattirwa ddala,
    Omubiri nga gwambadde,
    -Obutafa.

    6
    -Essanyu lyaffe nga liriba,
    Lingi ku lunaku lwe,
    Bwe tulimulaba Yesu,
    Mu ggulu.

    7
    Ayi Mukma waffe Yesu,
    -Otulung’amyenga fenna,
    Mu kkubo eriritutuusa,
    Ewuwo

  • Hymn 402: MUNNAFFE OYO AWUMUDDE Lyrics

    Oluyimba 402: MUNNAFFE OYO AWUMUDDE Lyrics

     

    OLUYIMBA 88: LEERO LWA SSANYU, NNYO
    1
    LEERO lwa ssanyu,nnyo,
    -Okunakuwala n’ekibi biggwaawo;
    Omwagalwa wange
    Azuukidde,kaakano ye mulamu:
    Naye sing(a) entaana yamusibiri ddala,essuubi liruwa?
    Naye Kristo mulamu:yavaamu,yavaamu,yava mu ntaana.

    2
    -Omubiri mu kufa
    Gubeera nga guwumudde mu ntaana,
    -Okutuusa -olunaku
    Abafu bonna lwe balizuukira.
    Naye sing(a) entaana yamusibiri ddala,essuubi liruwa?
    Naye Kristo mulamu:yavaamu,yavaamu,yava mu ntaana.

    3
    Okutya n’okufa
    Yesu ye abiwangudde-olwa leero;
    Yesu atwagala;
    Mu kufa n’obulamu-abeera naffe,
    Naye sing(a) entaana yamusibiri ddala,essuubi liruwa?
    Naye Kristo mulamu:yavaamu,yavaamu,yava mu ntaana.

  • Hymn 403: EKIRO-EKYO,EKY’ETTENDO Lyrics

    Oluyimba 403: EKIRO-EKYO,EKY’ETTENDO Lyrics

     

    OLUYIMBA 89: ALERUUYA! ALERUUYA! ALERUUYA
    1
    ALERUUYA! Aleruuya! Aleruuya!
    Yesu agobye,okufa
    Kufudde,ye awangudde;
    Kale muyimbe mwebaze.
    Aleruuya!

    2
    Amaanyi g’okufa, laba,
    Gaatalira ddala gonna:
    Galemeddwa,gagobeddwa.
    Aleruuya!

    3
    Ku lw’okusatu yagyasa
    Entaana ye n’azuukira
    Tweyongere-okuyimba-
    ennyo
    Aleruuya!

    4
    Yesu,tuwonye mu kufa
    N’emiggo-egyakubambula
    Tube balamu eri ggwe.
    Aleruuya!