Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

Luganda Anglican Hymns COU lyrics

  • Hymn 232: OBULAMU BWAFFE BUNO Lyrics

    Oluyimba 232: OBULAMU BWAFFE BUNO Lyrics

     

    OLUYIMBA 307: YESU,SIKYALI KU BWANGE
    1
    YESU,sikyali ku bwange,
    Nze ndi muddu wo buddu;
    Nali mu nsi ya Ssetaani
    N’ojja n’oginziyamu.

    Muddu wo,muddu wo:
    Yesu,nze ndi muddu wo.

    2
    Obulamu bwange bwonna
    Mpaayo mu mikono gyo;
    Ggwe-olinkuuma n’okutuusa
    Olintuusa ewuwo.

    Muddu wo,muddu wo:
    Yesu,nze ndi muddu wo.

    3
    Era mpaayo-ensimbi zange
    N’ebintu byange byonna;
    N’ekitiibwa n’emikwano,
    Leero byonna mbiwa ggwe.

    Muddu wo,muddu wo:
    Yesu,nze ndi muddu wo.

    4
    Omubiri gwange gwonna,
    Ebigere n’engalo;
    N’amagezi gange gonna,
    Byonna byonna bye bibyo.

    Muddu wo,muddu wo:
    Yesu,nze ndi muddu wo.

    5
    Nsanyuse,Yesu andeeta
    Mu ggye ly’abatukuvu;
    Be baweereza Katonda,
    Be batuuka mu ggulu.

    Muddu wo,muddu wo:
    Yesu,nze ndi muddu wo.

  • Hymn 248: ENZIKIZA YALI EBUNYE KU NSI Lyrics

    Oluyimba 248: ENZIKIZA YALI EBUNYE KU NSI Lyrics

     

    OLUYIMBA 321: BWE NTAMBULIRA MU KKUBO
    1
    BWE ntambulira mu kkubo,
    Yesu ankulembera;
    Nnyinza-ntya-okubuusabuusa
    Ye bw’antwala bulijjo?

    2
    Byonna ebibaawo ku nze
    Tebiyinza kunnuma;
    Yesu ye Mukuumi wange,
    Ye angabira-obulamu-

    3
    Abalabe-abalinnumba
    Ye alibawangula;
    Era-alintuusa n’essanyu
    Lingi mu mirembe gye.

    4
    Enjala bw’eba nga-ennuma,
    Andiisa ku mmere ye;
    Era-ampozaawoza mangu
    Ng’ampa-amazzi-ag’obulamu-

    5
    Yesu Mulokozi wange,
    Eyanfuula-omuddu wo;
    Ka nkutendereze bwe ntyo,
    Emiremb-egitaggwaawo-.

  • Hymn 233: MU KIBUGA KYA KATONDA Lyrics

    Oluyimba 233: MU KIBUGA KYA KATONDA Lyrics

     

    OLUYIMBA 308: GGWE KWAGALA KWA KATONDA
    1
    GGWE kwagala kwa Katonda
    Tomanyika bukulu bwo,
    Nze nnyimiridde-ewala-ennyo
    Nga mkufumiitirizaako;
    -Obuyinike bunjijudde
    -Okutuusa lw’olimpummuza.

    2
    Wampita-edda lwa kisa kyo
    N’olyoka-empa-emirembe gyo
    Naye bwe mba nkyatambula
    Mu mpisa-enkyamu ez’ensi,
    Emirembe-egyo gimbula
    Ndituuka ddi-okuwummula?

    3
    Kyonna,kyonna-,ekigezaako
    -Okunfuga leero mu mwoyo
    Nsaba nti Okimmalemu
    Okisse ku musaalaba;
    Nneme-okwegomba-eby’abantu
    -Omwoyo gunywerere ku ggwe.

    4
    Buli kaseera nkusaba
    Weeyongere-okumpalula;
    Byonna mbireke,wabula
    Ebiva mu bulungi bwo;
    Njijule-ebyo by’ontonera
    N’okusinga okwagala.

  • Hymn 249: BWE NNALI NGA NEEBAKIDDE DDALA Lyrics

    Oluyimba 249: BWE NNALI NGA NEEBAKIDDE DDALA Lyrics

     

    OLUYIMBA 322: YESU-OMULOKOZI,OTUWULIRE
    1
    YESU-Omulokozi,otuulire
    -Amaloboozi gaffe nga tuyimusa.
    Tukuwadde-ebyaffe,tukusenze ggwe.
    Kkiriza-emibiri n’emyoyo gyaffe.

    2
    Mu kkubo-ery’okufa,twali tubula;
    Nga tubulubuuta mu kizikiza;
    Naye watuwonya gye twakyamira
    Mu lukoola-ewala,n’otulokola.

    3
    Kaakano twamgganga okujja gy’oli,
    Kye kisa kyo kyokka ekitusembeza;
    Watununula ffe-abalina ebibi,
    N’otufuula-abaana,ne tukwebaza.

    4
    Bulijjo ekisa nga kyeyongera
    Ebigenda-okujja tebisingika;
    Eyo gye wagenda-okuteekateeka
    Eby’omu ggulu ebitamanyika.

    5
    Kale nno bannange tugende fenna,
    N’obugumu bungi mu kkubo lyaffe;
    Yesu ye Musaale,akulembera;
    Mu bukoowu bwaffe atusanyusa.

  • Hymn 234: BWE TUSIIBULA-ABANTU Lyrics

    Oluyimba 234: BWE TUSIIBULA-ABANTU Lyrics

     

    OLUYIMBA 309: TWETAAGA YESU: YESU,SO SI MULALA
    1
    TWETAAGA Yesu:Yesu,so si mulala
    Ekisa kye kinaatumala ffe.
    Twetaaga Yesu: tugobe Ssetaani
    Ng’atusemberera mu ttima lye.

    2
    Twetaaga Yesu:Yesu Musaale waffe
    Mu nzikiza mwe tutambulira;
    Nga tumweyabiza,tulaba-essanyu;
    Ye ngabo yaffe,gye twambalira.

    3
    Twetaaga Yesu:Olwazi lw’emirembe;
    Katonda kwe yatuyimiriza;
    Nga tumulaba,tetuwunjawunja,
    So tetubaako kyonna kye tutya.

    4
    Twetaaga Yesu:mu biro by’okulumwa;
    Tewali-amwenkana-okusaasira;
    N’okutuwa n’atuwa obutamma
    Amaanyi ge agatuwanguza.

    5
    Twetaaga Yesu:nga tufiiriddwa-abantu
    Be twagala-,abeebakira mu ye:
    Atukubagiza ne tutakaaba,
    Nga tulowooza ku bigambo bye.

    6
    Twetaaga Yesu:anaatuukirizanga
    Buli kye twetaaga-olw’ekisa kye;
    Tuweebwa-obutuukirivu ku lulwe,
    Nga tuyima mu ye tulokola.

  • Hymn 235: WULIRA-EDDOBOOZI Lyrics

    Oluyimba 235: WULIRA-EDDOBOOZI Lyrics

     

    OLUYIMBA 31: YESU OMULINDWA, JJANGU!
    1
    YESU omulindwa, jjangu!
    Ffe tukulindirira;
    Ebibi byonna-otuggyeko
    Otuwummuze mangu.

    2
    Ggwe ssuubi ly’abantu bonna,
    Ggwe ssanyu ly’aboonoonyi.
    Amawanga gonna gonna,
    Gakwetaaga Katonda.

    3
    Baakutuuma-erinnya Yesu
    Eyanunula-abantu,
    Wazaalibwa nga Kabaka
    Era ng’omwana omuto.

    4
    Olw’omwoyo wa Katonda
    Otufugire ddala;
    Beera mu ffe-otuwe-amaanyi
    Otutuuse mu ggulu.

  • Hymn 236: OMUZIBE W’AMAASO EDDA Lyrics

    Oluyimba 236: OMUZIBE W’AMAASO EDDA Lyrics

     

    OLUYIMBA 310: AYI KATONDA,ONNUMGGAMYE
    1
    AYI Katonda,onnumggamye
    Okumpisa mu ddungu;
    Ndi munafu:ggwe w’amaanyi,
    Nnyweza mu mikono gyo.
    Ggwe-oli mmere y’omu ggulu,
    Ondisenga,nzikute.

    2
    Omusaayi gwo-ogunaaza
    Gunnaaze,guntukuze;
    Empagi ey’omuliro
    Ggwe Mubeezi ow’amaanyi
    Onkuume n’engabo yo.

    3
    Bwe ndituuka ku Yoludaani
    Ombeere nneme-okutya.
    Ggwe-eyawangula okufa
    Ontuuse mu kanani.
    Nnyimbe-ennyimba-ez’amatendo
    Bulijjo nga ndi naawe.

  • Hymn 237: LABA NNYIMIRIDDE W’OLI Lyrics

    Oluyimba 237: LABA NNYIMIRIDDE W’OLI Lyrics

     

    OLUYIMBA 311: OMWOYO GWANGE,WULIRA-AMALOBOOZI
    1
    -OMWOYO gwange,wulira-amaloboozi,
    Ba-malayika be nga basuuta;
    Nga batenda-obulungi bwe obungi,
    N’obulamu obw’olubeerera.

    Mmwe bamalayika abaddu be,
    Mutwanirize ffe abatambuze.

    2
    Kale tugende nga tuwuliriza,
    -Ennyimba zaabwe,Yesu ng’atuyita;
    Tuyite mu nzikiza y’ensi eno,
    Enjiri ye ng’etukulembera.

    Mmwe bamalayika abaddu be,
    Mutwanirize ffe abatambuze.

    3
    -Eddoboozi lya Yesu likoowoola nnyo
    Nga liva-eri waggulu gy’atudde;
    Nga lituuka eri abantu bangi,
    -Abanafu n’abazitooweredwa.

    Mmwe bamalayika abaddu be,
    Mutwanirize ffe abatambuze.

    4
    Bwe tulituuka mu ggulu gy’abeera,
    Ennaku z’omu nsi zirikoma:
    Tulibeera mu ssanyu ejjereere.
    Nga tutendereza-Omulookozi

    Mmwe bamalayika abaddu be,
    Mutwanirize ffe abatambuze.

    5
    Mmwe-ab’omu ggulu,bamalayika be,
    Mutuyimbire-ennyimba ez’essanyu;
    -Okutuusa olunaku olwo-olukulu
    -Obuyinike bwonna lwe buliggwaawo.

    Mmwe bamalayika abaddu be,
    Mutwanirize ffe abatambuze.

  • Hymn 238: JJANGU MUNNANGE OWULIRE-ENJIRI Lyrics

    Oluyimba 238: JJANGU MUNNANGE OWULIRE-ENJIRI Lyrics

     

    OLUYIMBA 312: BWE TUTAMBULIRA AWAMU NE YESU
    1
    BWE tutambulira awmau ne Yesu
    Mu musana ogw’enjiri ye,
    Tubeera mu kkubo ery’ekitiibwa kye
    Wamu n’abeesigwa be boona.

    Mugondere era omwesige,
    Tewali kkubo ddala
    Erireet(a) essanyu.

    2
    Ebisiikirize n’ebire biggwaawo
    Okutya n’okubuusabuusa;
    Era n’amaziga nago tegabaawo
    Eri abeesigwa be boona.

    Mugondere era omwesige,
    Tewali kkubo ddala
    Erireet(a) essanyu.

    3
    Obubi n’ennaku abitwetikkira,
    Atuggyako n’obuyinike;
    Ebituganya obikomerere
    Singa tukwesiga ggwe Yesu.

    Mugondere era omwesige,
    Tewali kkubo ddala
    Erireet(a) essanyu.

    4
    Tetunnakakasa kwagala na ssanyu
    Fenna bye tulibeera nabyo,
    Okutuusa Yesu lwe tulimulaba
    Wamu n’abeesigwa be bonna.

    Mugondere era omwesige,
    Tewali kkubo ddala
    Erireet(a) essanyu.

    5
    Tu libeera naye,tulituula naye
    Tulitambula wamu naye
    By’anaatugambanga tunaabikolanga,
    Kino kyokka tumwesiga ye.

    Mugondere era omwesige,
    Tewali kkubo ddala
    Erireet(a) essanyu.

  • Hymn 239: MWOYO GWANGE, WULIRA Lyrics

    Oluyimba 239: MWOYO GWANGE, WULIRA Lyrics

     

    OLUYIMBA 313: NG’EMPEEWO BW’EWEJJAWEJJA
    1
    NG’EMPEEWO bw’ewejjawejja.
    Olw’amazzi-ewummule
    Abayizzi gye bagoba
    -Ewala nnyo mu kibira,
    Bw’atyo omutambuze
    Ye bw’awejjawejjera
    Ggwe,amazzi g’obulamu,
    Ggwe,omugga-ogutaggwaawo.

    2
    -Emmeeme yange-erumwa-enjala
    Ku lw’Oyo-Omutukuvu,
    -Emmere yange ge maziga
    Emisana n’ekiro;
    Abayigganya bonna
    Nga banvuma-edda n’edda
    Nti -Omulokozi yeekweka.
    Ali ludda wa Katonda?

    3
    Kiki-ekikukutamizza,
    Ky’ozitoowereddwa ggwe?
    Kiki,ggwe emmeeme yange,
    -Ekikweraliikiriza?
    Weesige-Omulokozi
    Bulijjo-weeyanze nnyo;
    Sanyusanga-omuzira wo,
    Suubiranga-eri Katonda