Oluyimba 266: YESU BULIJJO NKWETAAGA Lyrics
OLUYIMBA 338: NALYOKA NE NKUSENGA GGWE
1
NALYOKA ne nkusenga ggwe,
Omulokozi Katonda:
Kyenvudde nsanyuka nnyini,
Ne njatula bwe nsanyuse
Nsanyuse,nsanyuse,
Yesu yannaazaak(o) ebibi;
Y(e) anjagaza by’ayagala;
Ansanyus(a) ennaku zonna;
Nsanyuse,nsanyuse;
Yesu yannaazaak(o) ebibi.
2
Namusenga n’atangoba,
Nze ndi wuwe,naye wange
Yampita ne nditegeera,
-Eddoboozi lye nga lya Yesu
Nsanyuse,nsanyuse,
Yesu yannaazaak(o) ebibi;
Y(e) anjagaza by’ayagala;
Ansanyus(a) ennaku zonna;
Nsanyuse,nsanyuse;
Yesu yannaazaak(o) ebibi.
3
Edda nasagaasagana,
Kaakano nteredde ku ye;
Sikyamusenguka-,alina
Mukama,ye-alina byonna.
Nsanyuse,nsanyuse,
Yesu yannaazaak(o) ebibi;
Y(e) anjagaza by’ayagala;
Ansanyus(a) ennaku zonna;
Nsanyuse,nsanyuse;
Yesu yannaazaak(o) ebibi.
4
Nalayira nti ndi wuwo;
Naakyogeranga bulijjo;
Era mu ntuuko-ez’okufa
Ndisanyuka-okba-owuwo.
Nsanyuse,nsanyuse,
Yesu yannaazaak(o) ebibi;
Y(e) anjagaza by’ayagala;
Ansanyus(a) ennaku zonna;
Nsanyuse,nsanyuse;
Yesu yannaazaak(o) ebibi.