Oluyimba 257: NZE NKUTUNUULIDDE Lyrics
OLUYIMBA 33: LABA,ANAAWASA-OMUGOLE EKIRO AJJA
1
LABA,anaawasa-omugole ekiro ajja;
-Abatukuvu, mufulume-okumusisinkana;
Mmwe mwesibenga nnyo-ebiwato byammwe n’ebimyu,
Era-ettabaaza zammwe zaakirenga ddala nnyo.
2
Mmwe-abagayaavu n’babi,ziribasanga mmwe;
Mwebase,temweteeseteese,mmwe mwerabidde;
Abo bokka-abeeteeseteese,ne bayingira
Mu mbaga ye; mmwe -temuliyinza kuyingira
3
-Olunaku luno-olw’omusango weeruli; naye
Omwoyo gwange, tunula, toleka mulimu;
Okuume nnyo-ettabaaza, bw’atyo Omulokozi
N’ebyambalo-ebitukuvu, ye alikwambaza.