Oluyimba 284: SIYINZA N’AKATONO Lyrics
OLUYIMBA 354: OMUTAMBUZE NZE
1
OMUTAMBUZE nze
Era-omugenyi;
Eby’omu nsi bingi
Bijja-okunnimba.
Yesu atwal(a) abato
Alibakulembera;
N’abatuusa ewuwe,
Mu maka ge ye.
2
Ensi eyo nnungi,
Temuli kabi,
N’ennaku temuli,
Tebituukayo.
Yesu atwal(a) abato
Alibakulembera;
N’abatuusa ewuwe,
Mu maka ge ye.
3
Olugendo olwo
Alutambula
Asaba-eri Yesu
Obutalemwa.
Yesu atwal(a) abato
Alibakulembera;
N’abatuusa ewuwe,
Mu maka ge ye.
4
Yesu onnongoose,
Onjigirize;
Onnumggamye,nkwate,
Erijja gy’oli.
Yesu atwal(a) abato
Alibakulembera;
N’abatuusa ewuwe,
Mu maka ge ye.