Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics
-
Hymn 270: YESU KINO KYE NJAGALA Lyrics
OLUYIMBA 341: JJO NE LEERO N’OKUTUUSA 1 JJO ne leero n’okutuusa Emirembe gyonna,Yesu Aba bumu. 2 Kye kiddukiro-eky’amaanyi Mwe tuwummulira fenna Nga tukooye. 3 Edda twabula,twatuula Mu kizikiza-ekikutte, Yatunoonya. 4 Yatunoonya mu lukoola Mwe twabulubuutiranag, Nga tubula. 5 N’atuleetera-obulamu, N’atutikkula-omugugu, Gw’ebyonoono. 6 Ebibi bye twakolanga. Yesu abinaaza byonna, Mu musaayi gwe. 7 Anaatutuukirizanga Era-alitutuusa-ewuwe,…
-
Hymn 286: GGWE-ASUUTIBWA BULI MUNTU Lyrics
OLUYIMBA 356: TEMUYONOONANGA 1 TEMUYONOONANGA, Temuyombanga; Muli ba Mukama, Muli ba Yesu. 2 Kristo muwombeefu, Alina-ekisa; Era n’abaana be Bamufaanane. 3 Waliwo Ssetaani Abateganya; Abasendasenda Mulokle-ebibi. 4 Mumujeemerenga, Ne bw’abakema; Musabe Mukama Mube balungi. 5 Edda mwasuubiza Nga muli bato; -Okugaana Ssetaani, N’amakubo ge. 6 Muli Bakristaayo Mulwanyise nnyo Buli kibi kyonna, Mube balungi.…
-
Hymn 271: KATONDA EYANTONDA NZE Lyrics
OLUYIMBA 342: KIKAKAFU NNYO,YESU WANGE 1 KIKAKAFU nnyo,Yesu wange; Ekitiibwa kye akimpadde: Omwoyo we Omutukuvu Yannaazaako ebibi byange. Ndi musika omununule Ndi wa mu kika ky’abaana be; Kino kinnyimbisa n’essanyu Nga ntenderez(a) Omulokozi. 2 Lituukiridde-essanyu lyange; Anjolesezza-eby’omu ggulu: Bamalayika abatumye Okutegeeza-okwgala kwe. Ndi musika omununule Ndi wa mu kika ky’abaana be; Kino kinnyimbisa n’essanyu…
-
Hymn 287: EKITIIBWA KYO KINENE Lyrics
OLUYIMBA 357: TULEETA EBIRABO 1 TULEETA ebirabo N’essanyu lingi; Tukutendereza, Omulokozi. 2 Birabo bitono Obikkirize; Buli kye tuleeta Ggwe tokigaana. 3 Yesu tukuwadde N’essanyu lingi Otuyigirize Okugabanga.
-
Hymn 272: KITAFFE-ATWAGALA FENNA Lyrics
OLUYIMBA 343: NSANYUKIRA EKIGAMBO KINO 1 NSANYUKIRA ekigambo kino Yesu Mukama atwagala nnyo: Alina bingi ebisanyusa; Naye-ekisinga nti Nze kwagala. Anjagala,anjagala; Nga kitalo (o)kunjagala! Anjagal(a) olw’ekisa kye,nange era mmwagala. 2 Bwe mba nnyonoona ne mmwerabira, Yesu tandeka kubula ddala: Ampita mangu-okumweyuna ye; Era-anjijukiza-okwagala kwe; Anjagala,anjagala; Nga kitalo (o)kunjagala! Anjagal(a) olw’ekisa kye,nange era mmwagala. 3…
-
Hymn 288: ABAALUMWA-EMISOTA-ABAYISIRAYIRI Lyrics
OLUYIMBA 358: TULINA KABAKA WAFFE 1 TULINA Kbaka waffe Eyava mu ggulu: Kale fenna abaana be Tumugoberere. 2 Okwagala kwe kungi nnyo Eri-abantu bonna; Naffe twagale bannaffe Nga bwe kiyinzika. 3 Yesu tayagala kibi Na kwerowoozaako; Ye omulabe we y’ani, Amulyamu-olukwe? 4 Ayagala tulongoose Emibiri gyaffe; Abatali batukuvu Tebaliba naye. 5 Tuli kibiina kitono,…
-
Hymn 273: MUKAMA WAFFE-OW’EKISA Lyrics
OLUYIMBA 344: ABAANA-ABATO EDDA 1 ABAANA-abato edda Bwe bajja-eri Yesu, Yabalaga-okwagala, N’abawa-omukisa. 2 Naffe Mukama Yesu, Tuzze mu maaso go; Ng’abaaba-abato edda, Tuwe-omukisa gwo. 3 Ggwe nnannyini kwagala, Tuwe-okwagala kwo; Naffe tukwagalenga Wamu ne bannaffe. 4 Tukweyanza ggwe Yesu, Olw’obulungi bwo; N’olw’okwagala-abaana Era n’abakulu.
-
Hymn 289: YESU YAJJA ALOKOLE Lyrics
OLUYIMBA 359: WULIRA-OKUSABA KWANGE 1 WULIRA-okusaba kwange Okw’omwana wo-omuto nze, Ekisa kyo okimpenga, Bulijjo,bulijjo. 2 Saasira-obunafu bwange Obw’omwana wo-omuto nze; Ekisa kyo okimpenga, Bulijjo,bulijjo. 3 Sonyiwa-ebyonoono byange, Ng’obinaaza n’omusaayi, Ogw’Omulokozi Yesu, Bulijjo,bulijjo. 4 Ne mu maanyi ga Ssetaani, Lokolanga-omwoyo gwange; Wulira-okusaba kwange, Bulijjo,bulijjo. 5 Kkiriza omwoyo gwange Ggwe nkuwadde-okugukuuma; Nsanyusanga n’ekisa kyo, Bulijjo,bulijjo. 6…
-
Hymn 274: SIYINZA,AYI-OMULOKOZI Lyrics
OLUYIMBA 345: AYI MUKAMA WAFFE 1 AYI Mukama waffe, tuzze mu maaso go; Tusembeze n’ekisa kyo Ffe-abaana bo-abato. 2 Tuwaayo ssaddaaka -Ey’okwebaza kwaffe; Okkirize-ettendo lyaffe Lye tuleeta gy’oli. 3 Tujjuze-okwagala Mu buzibu byaffe; Era-otuyigirizenga Twagale-erinnya lyo.
-
Hymn 275: WULIRA-OKUSABA KWANGE Lyrics
OLUYIMBA 346: AWO-YESU BWE YATAMBULA 1 AWO-Yesu bwe yatambula Edda mu nsi entukuvu, Abakyala-Abayudaaya Baamusemberera. 2 Bajja nga bamuleetera Abaana baabwe abato -Abateeke mu mikono gye Baweebwe-omukisa. 3 Naye abayigirizwa Ne babagobera ddala, Nti Temumutegannya nnyo, Tubeegayiridde. 4 Bwe yabalaba-abaana be, Yesu yalagira badde, Yayogera n’eggonjebwa: -Abato bajje gye ndi