Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

Luganda Anglican Hymns COU lyrics

  • Hymn 302: EKISA KYO TEKITEGEEREKEKA Lyrics

    Oluyimba 302: EKISA KYO TEKITEGEEREKEKA Lyrics

     

    OLUYIMBA 370: MU BUYINIKE-OBUNGI
    1
    MU buyinike-obungi
    Bwe tuba tufiiriddwa,
    Bannaffe be twagala,
    Otusanyuse Yesu.

    2
    Naye-oluusi tukaaba;
    Olw’obunafu-obungi
    Essuubi litubuze;
    Otuyimuse Yesu.

    3
    Bwe tweraliikirira
    Ne tuggwaamu amaanyi,
    Byonna nga kizikiza,
    Otusaasire Yesu

    4
    Oluusi bwe tukuvuma
    Era nga twerabidde,
    Okwagala kwo-okungi,
    Otusonyiwe Yesu.

    5
    Ka tuyimuse-emyoyo
    Era nga twolesebwa
    Ekitiibwa mu ggulu,
    Naffe tulituukayo.

  • Hymn 303: SIRIIKO KYE MPOZA,YESU Lyrics

    Oluyimba 303: SIRIIKO KYE MPOZA,YESU Lyrics

     

    OLUYIMBA 371: KABAKA W’EGGULU N’ENSI
    1
    KABAKA w’eggulu n’ensi
    Tukuwe-ekitiibwa kingi,
    Tusuuta n’essanyu lingi
    Ggwe-Omugabi.

    2
    Olw’obulamu n’essanyu
    N’emirembe gyaffe gyonna,
    Leero twebaza nnyo nnyini
    Ggwe-Omugabi.

    3
    Omwaka ggwe ogwengeza
    Ne byonna-ebitusanyusa
    Emmere n’eby’okwambala
    Ggwe-obigaba.

    4
    Omwana wo omu yekka
    Tewamugaana na kufa
    Ku lwaffe abatasaana,
    Abajeemu

    5
    Olw’emyoyo-emirokole,
    Olw’ebibi-ebisonyiwe;
    Tulikusasula tutya?
    Ggwe-Omugabi.

    6
    Ebbanja lyaffe teriggwa;
    Naye bye tukuleetedde
    Biva kw’ebyo by’otwazika,
    Tobinyooma.

    7
    Otufukeko-Omwoyo wo
    Okutuyinzisa leero
    Mu ntalo zaffe,tugobe
    Omulabe.

  • Hymn 304: YESU,NEESIGA GGWE OKUNDOKOLA Lyrics

    Oluyimba 304: YESU,NEESIGA GGWE OKUNDOKOLA Lyrics

     

    OLUYIMBA 372: KATONDA TUMWEBAZE
    1
    KATONDA tumwebaze
    N’ennyimba-ez’amatendo
    Ku lw’ekisa ky(e) ekingi,
    Ekitajjulukuka.

    2
    Tutende-era-amaanyi ge
    Agaatonda-enjuba-eyo;
    Twebaz(e) ekis(a) ekingi,
    Ekitajjulukuka.

    3
    Naye yatonda-omwezi
    Ogwaka nga buzibye.
    Twebaz(e) ekis(a) ekingi,
    Ekitajjulukuka.

    4
    Naye yatuwa-enkuba
    Okumerusa ensigo;
    Twebaz(e) ekis(a) ekingi,
    Ekitajjulukuka.

    5
    Era-olw’okukungula
    Ne byonna bye tulina;
    Twebaz(e) ekis(a) ekingi,
    Ekitajjulukuka.

    6
    Era okusinga byonna
    Olw’okufa kwa Yesu;
    Twebaz(e) ekis(a) ekingi,
    Ekitajjulukuka.

    7
    Ebitonde bye byonna
    Bimuleetera-ettendo;
    Twebaz(e) ekis(a) ekingi,
    Ekitajjulukuka.

  • Hymn 305: NEEWAAYO MU MIKONO Lyrics

    Oluyimba 305: NEEWAAYO MU MIKONO Lyrics

     

    OLUYIMBA 373: OMWANA WO NKUKOOWOOLA
    1
    OMWANA wo nkukoowoola;
    Era wansuubiza
    Okutuusa ekyengera
    Byonna ggwe-obigaba.

    2
    Tutunuulira ggwe wekka
    Ekyeya bwe kijja;
    Era ne ttoggo bw’atuuka,
    Tukulindirira.

    3
    Enkuba-ebaza-ebibala
    Era n’omusana;
    Bwe bireeta ekyengera
    Naffe tumalibwa.

    4
    Naye byetulina bibyo
    Otuwe-olw’ekisa;
    Tuwe tukwesige wekka
    Kubanga-otwagala.

    5
    Kaakano ffe tukusaba
    Byonna obituwe.
    Tukugulumize wekka,
    Katonda-atwagala.

  • Hymn 290: YESU-AMANYI BWE MBEERA Lyrics

    Oluyimba 290: YESU-AMANYI BWE MBEERA Lyrics

     

    OLUYIMBA 36: OBUDDE BWALI BWA TTUMBI
    1
    OBUDDE bwali bwa ttumbi,
    Bwe baaluwulira;
    -Oluyimba lw’ab’omu ggulu
    Abaatendereza:
    Emirembe gibe ku nsi
    N’ettendo mu ggulu:
    Ensi yali nga-esirise
    Okuluwulira

    2
    Ne leero bajja bwe batyo
    Eggye-ery’omu ggulu
    -Eddoboozi lyabwe libuna
    Mu bbanga ery’ensi;
    Newankubadde nga bangi
    Tebaluwulira;
    Eggye eryo likyaliwo
    Nga litendereza.

    3
    Emitawaana egy’ensi
    N’enkaayana zaayo,
    Ebyo byonna bitugaana
    Okuluwulira.
    Oba nga tulina-ennyombo
    Tunaayinza tutya,
    Okuwulira-ebigambo
    Bya bamalayika?

    4
    Kabaka ow’emirembe,
    Ggwe-omanyire ddala
    Abantu bwe bategana
    Mu bigambo by’ensi:
    Osirise-olukaayano,
    Olw’ensi, tulyoke,
    Tuwulire-oluyimba-olwo
    -olwa bamalayika.

  • Hymn 306: OTULUMGGAMYE,MUKAMA WAFFE Lyrics

    Oluyimba 306: OTULUMGGAMYE,MUKAMA WAFFE Lyrics

     

    OLUYIMBA 374: TUTENDE NNYO MUKAMA
    1
    TUTENDE nnyo Mukama
    -Olw’okutulabirira;
    Ye nsibuko y’essanyu,
    Tumwebaze Mukama.

    2
    Laba-eby’okukungula
    Byengedde mu nnimiro;
    Naffe ka tusanyuke
    -Okutuusa bulijjo.

    3
    Emmere gye tusiga,
    Tutunuulira oyo
    Afukirira-ettaka
    Okukuza-ebibala.

    4
    Ka tukutendereze
    Ggwe nannyini kwagala;
    Kubanga mu ggwe wekka
    Mwe tufuna-obulamu.

  • Hymn 291: MWENNA MUSANYUKE LEERO Lyrics

    Oluyimba 291: MWENNA MUSANYUKE LEERO Lyrics

     

    OLUYIMBA 360: YESU,MUKAMA WANGE
    1
    YESU,Mukama wange,
    Laba nze ndi muddu wo;
    Saasira-obuto bwange
    Njagala-okujja gy’oli.

    2
    Mwana gw’endiga,Yesu,
    Naawe wafuuka-omwana,
    Bwe ndowooza-ekisa kyo,
    Njagala-okukulaba.

    3
    Ontegeeze bulijjo
    Ebinsaanidde byonna,
    Nnyiikirenga okukula-
    Nga nkufaanana Yesu.

    4
    Era n’obuwombeefu,
    Bonna ka mbaweereze;
    Era okwagalana-ennyo
    Ka ndagenga bulijjo.

    5
    Ekyo ndikiyinza ntya?
    Nga nkusaba bulijjo
    Ggwe-ateesanyusa mu nsi
    Ggwe nnannyini bulungi.

    6
    Bwe ntyo bwe naayinzanga
    -Okukuweereza Yesu;
    Bonna-abantunuulira
    Bandabe nga-omuddu wo.

    7
    Bwe ntyo bwe naasanyusa
    Katonda ow’okwagala
    Nga mugulumiriza
    Mu mirimu gye nkola.

  • Hymn 307: YESU,SIKYALI KU BWANGE Lyrics

    Oluyimba 307: YESU,SIKYALI KU BWANGE Lyrics

     

    OLUYIMBA 375: TUSIGA-ENSIGO-ENNUNGI
    1
    TUSIGA-ensigo-ennungi
    Mu nnimiro zaffe,
    Naye Katonda-azikuzaza
    N’azifukirira.
    Ayasa omusana
    N’atonnyesa-enkuba
    Empewo ne zikunta,
    Ebimeza-ensigo.

    Byonna bye tulina,
    (E)bitwetoolodde
    Katonda olw’ekisa kye,
    Ye atugabira.

    2
    KAtonda ye yatonda.
    Byonna bye tulaba;
    -Ebimuli n’ebimera
    Byonna byonna ku nsi;
    Empewo-era n’ennyanja,
    N’ebirimu byonna,
    Ennyonyi-ez’omu bbanga
    N’ensolo-ez’omu nsi.

    Byonna bye tulina,
    (E)bitwetoolodde
    Katonda olw’ekisa kye,
    Ye atugabira.

    3
    Kale ka tumwebaze,
    KAtonda waffe-oyo
    Olw’emere n’obulamu-
    N’olw’okukungula;
    Naffe tuwaayo-ebyaffe
    Olw’okukwebaza;
    Toola-obulamu bwaffe
    Bwe tukuwa leero.

    Byonna bye tulina,
    (E)bitwetoolodde
    Katonda olw’ekisa kye,
    Ye atugabira.

  • Hymn 292: KATONDA TUKUTENDA GGWE Lyrics

    Oluyimba 292: KATONDA TUKUTENDA GGWE Lyrics

     

    OLUYIMBA 361: YESU MUSUMBA WANGE
    1
    YESU Musumba wange,
    Bulijjo ansanyusa;
    Yesu anjagala,ammanyi,
    Byonna-ebirungi abimpa;
    Ampita-erinnya lyange,
    Ambeera n’ekisa kye.

    2
    Ntambula nga sikyatya,
    Yesu Mukuumi wange;
    Mu biro-eby’enjala-andiisa,
    Era bwe nnumwa ennyonta,
    Antwala ku mabbali
    Ag’amazzi-amateefu.

    3
    Si kirungi nsanyuke?
    Si kirungi njaguze?
    Ne bwe ndifa talindeka
    Alintuusa ne mu ggulu,
    Eyo gye naabeeranga,
    Mu maaso ga Katonda.

  • Hymn 308: GGWE KWAGALA KWA KATONDA Lyrics

    Oluyimba 308: GGWE KWAGALA KWA KATONDA Lyrics

     

    OLUYIMBA 376: KATONDA LWE LWAZI LWAFFE
    1
    KATONDA lwe Lwazi lwaffe:
    Ge maanyi-agataggwaawo-:
    Tutya ki ffe bannannyini
    Mukwano-ogwenkanaawo-?

    2
    Obwedda abatukuvu
    Baakwesiganga ggwe;
    -Omukono gwo gwamala-abo;
    Gunaatumala ffe.

    3
    Ensi nga tennatondebwa,
    Ebintu nga mpaawo;
    Edda n’edda ggwe-oba bumu,
    Katonda-atavaawo.

    4
    Emyaka-olukumi gy’oli
    Lwe lunaku lumu;
    Gikulukuta ng’amazzi
    Agayita-amangu.

    5
    N’ebintu byonna-eby’omu nsi
    Biyita bwe bityo:
    Leero tuba nabyo,naye
    Jjo nga biweddewo.

    6
    Katonda lwe lwazi lwaffe,
    Ge maanyi-agataggwaawo-;
    Tugume ffe bannannyini
    Mukwano-ogwenkanaawo-.