Oluyimba 313: NG’EMPEEWO BW’EWEJJAWEJJA Lyrics
OLUYIMBA 380: BEWAAYO-ABAANA BEEBAZIBWA
1
Bewaayo-abaana beebazibwa
Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna;
Tumanyi Makayi ne banne
Abaaleeta Yesu-Omulokozi yekka
Aleruuya ku lwa Yesu
Battibwa nga bayimba;
Bewaayo-abaana beebazibwa,
Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna.
2
Baabatemako-emikono ne babasiba
Mu nkabazi ne babookya nga balaba bonna;
Baali bato-abasoma-akatono,
Yesu yebazibwe-abajulira leero.
Aleruuya ku lwa Yesu
Battibwa nga bayimba;
Bewaayo-abaana beebazibwa,
Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna.
3
Ekyewuunyisa Balikuddembe,
Gonza ne Kaggwa nabo-abo baali bagumu;
Baabatemako-emikono,baabasalako
Ebigere,baatemwatemwa-ofufiifi bonna.
Aleruuya ku lwa Yesu
Battibwa nga bayimba;
Bewaayo-abaana beebazibwa,
Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna.
4
Walukagga ne Lugalama wamu
Ne kakumba,Kadoko ne Munyagabyanjo
Okukkiriza kwe mwagala n’obuvumu
Bwe mutyo ne mubeera-abasaale baffe.
Aleruuya ku lwa Yesu
Battibwa nga bayimba;
Bewaayo-abaana beebazibwa,
Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna.
5
Mu kajanga yatuuyana n’atawuka
Nga bookebwa n’abamu nga batemebwatemebwa,
Mwalimu n’omwana gw’azaala:
Ku olwo kyamubuukako naye bwe yakkiriza.
Aleruuya ku lwa Yesu
Battibwa nga bayimba;
Bewaayo-abaana beebazibwa,
Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna.
6
Baali bumu nga bookebwa-omuliro,
Ne wataba n’omu awanjaga-ateebwe;
Baali ku kimu-eky’okusaba-obusabi
Yesu gwe bakkiriza-atwale myoyo gyabwe.
Aleruuya ku lwa Yesu
Battibwa nga bayimba;
Bewaayo-abaana beebazibwa,
Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna.
7
Waliwo nnyo-amaanyi gaakoseza
Yesu eri byonna-abamwesiga bulijjo;
-Omuliro-ogw’entisa,musaayi-ogwayiika
Yesu yalinga wakati waabwe.
Aleruuya ku lwa Yesu
Battibwa nga bayimba;
Bewaayo-abaana beebazibwa,
Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna.
8
Twewaddeyo naffe-olwa leero-
Okubonyabonyezebwa,oba kuttibwa kujje;
Tuli bagumu nga-abalenzi bali nga
Twesiga-amaanyi ge-okutuusa lw’alidda.
Aleruuya ku lwa Yesu
Battibwa nga bayimba;
Bewaayo-abaana beebazibwa,
Ku lwaffe bawaayo-obulamu ne byonna.