Category: Luganda Anglican Hymns Lyrics

Luganda Anglican Hymns COU lyrics

  • Hymn 322: YESU-OMULOKOZI,OTUWULIRE Lyrics

    Oluyimba 322: YESU-OMULOKOZI,OTUWULIRE Lyrics

     

    OLUYIMBA 389: KATONDA BYASIMA YE BIRIKOLERWA DALA
    1
    Katonda byasima birikolerwa dala,
    Nebyo byateseza byoka,biritukirizibwa,
    Ate bulijo lusembera olunaku-olukulu-enyo,
    Etendolye bwerinabunanga munsi,ngamayengo-agomu nyanja.

    2
    Okuva-obukikanobukika abantu webabunye Mu-
    mimwa gyaba tume be basindise,ekigambokye kyogedwa,
    Nti mumpulirenga mwena-abatula kubizinga ne munsi zona,
    Etendolye bwerinabunanga munsi,ngamayengo-agomu nyanja.

    3
    Fe-abanabe tunakola ki okukomekereza
    Emirimu egyobutukirivu,gyeyatandika-Omwami?
    Fe tunayanguirizatutya olunaku-olukulu-enyo?
    Etendolye bwerinabunanga munsi,ngamayengo-agomu nyanja.

    4
    Tuimuse-ebenderaye mumasogamawanga,
    Fe-abomu gyerye tutambulenga mu buinzabwa mazima.
    Twe yongerenga-okuwangula obwononefu obwensi,
    Etendolye bwerinabunanga munsi,ngamayengo-agomu nyanja.

  • Hymn 323: OMUTAMBUZE NG’AKOOYE Lyrics

    Oluyimba 323: OMUTAMBUZE NG’AKOOYE Lyrics

     

    OLUYIMBA 39: MU KUJAGUZA OKUNGI
    1
    MU kujaguza okungi
    Muyimbe n’essanyu lingi;
    Yesu ssanyu lyaffe
    Ali mu kisibo,
    Yenna amasamasa
    Ku mubiri gwa nnyina,
    Yesu okusooka,
    N’enkomerero.

    2
    Ayi Yesu, Omwana omuto
    Ggwe gwe neegomba bulijjo
    Nsaasira siraba,
    -Omwana asinga bonna;
    Ku lw’obulungi bwonna,
    Ggwe ow’ekitiibwa;
    Nsembeza gy’oli,
    Nsembeza gyoli.

    3

    Obulungi bwa Kitaffe!

    Ekisa ky’Omwana Yesu;

    Ffe endiga twakyama;

    -Olw’ebibi byaffe byonna;

    Naye fenna watuwa

    -Essanyu ery’omu ggulu.

    Singa gye tuli,

    Singa gye tuli.

    4

    Essunyu liri ludda wa

    Oba nga teriri eyo?

    Bamalayika be

    Bayimba ennyimba empya

    N’eng’oma nga zivuga;

    Mu maaso ga Kabaka.

    Singa gye tuli,

    Singa gye tuli.

  • Hymn 324: OMUZIRA YENNA Lyrics

    Oluyimba 324: OMUZIRA YENNA Lyrics

     

    OLUYIMBA 390: AI MUKAMA MUSUMBA,OTUWE OLWEKISAKYO
    1
    Ai Mukama Musumba,Otuwe olwekisakyo
    Ekinatulisanga Mumyoyo gyafe kakano:
    Fe-abatambuze tukoye,Kyetuvude tuja gyoli.

    2
    Twagala osirise Akakwano akabera
    Munda mu myoyo gyafe,Olyoke oyogerenga
    Nafe,tudemu amanyi Nga tuwulide byogambye

    3
    Bwetutyo bwetuliba Nemirembe gya Katonda
    Eginatoloza Kakano nenaku zona:
    Ai Mukama tukwebaza Olwokwagalakwo kuno.

  • Hymn 325: BULIJJO,BULIJJO Lyrics

    Oluyimba 325: BULIJJO,BULIJJO Lyrics

     

    OLUYIMBA 391: OBUDDE NGA BUYITA
    1
    OBUDDE nga buyita,
    Emmambya ng’esaze!
    -Omusana gwa Katonda
    Gunjakira leero
    Enzikiza-ekutte-eno,
    Naye bukedde eri,
    -Ekitiibwa gye kibeera:
    Eyo mu ggulu.

    2
    Katonda yatuyiza
    -Okwagala bwe kuli
    Okw’ensi nga kutono,
    Okw’eri kungi nnyo!
    Ekisa kye ky’atuwa,
    Mu kifo kye ky’atuwa,
    -Ekitiibwa gye kibeera
    Eyo mu ggulu.

    3
    -Ekigambo byange byonna,
    Ye-abinoongoseza,
    Era ne nnaku zange,
    Ziva mu kwagala,
    Kyenva mutendereza
    Eyankulembera
    Ekitiibwa gye kibeera
    Eyo mu ggulu.

    4
    Ndyebakira mu Yesu,
    Era ndizuukira,
    Ne mbeera-awamu naye
    Emirembe gyonna,
    Nnayimbanga-amatendo
    G’oyo eyampita,
    -Ekitiibwa gye kibeera
    Eyo mu ggulu.

  • Hymn 310: AYI KATONDA,ONNUMGGAMYE Lyrics

    Oluyimba 310: AYI KATONDA,ONNUMGGAMYE Lyrics

     

    OLUYIMBA 378: MUKAMA TUFUKAMIDDE
    1
    MUKAMA tufukamidde,
    Tukwegayirira leero,
    Olwa baganda baffe-abo,
    Kaakano-abali mu ntalo
    Sembera kumpi gye bali,
    Mukama obakuumenga.

    2
    Era-n’eri abakyala,
    N’abo bannyina b’abaana,
    -Abalindiridda nga batya
    -Okuwuliza-abantu baabwe;
    Katonda Omusanyusa,
    Nabo obasanyusenga.

    3
    Tunuulira-ab’ebiwundu;
    Wonya obulumi bwabwe;
    N’emyoyo-egitaataagana
    Egya baganda baabwe-eka;
    Katonda nnannyini kisa
    Sembera kumpi gye bali.

    4
    Sonyiwa Mukama waffe
    Okwonoona kwaffe kwonna;
    Okutuleetedde-ennaku,
    Ffe abazibe b’amaaso;
    KAtonda-ow’okusaasira,
    Saasira emyoyo gyaffe.

  • Hymn 326: ABANTU BA YESU ABALOKOLE Lyrics

    Oluyimba 326: ABANTU BA YESU ABALOKOLE Lyrics

     

    OLUYIMBA 392: SIMANYI BINABAAWO
    1
    Simanyi binabaawo,
    Katonda abinkweka
    Ennaku ze ndiraba-edda
    Ankweka lwa kisa;
    N’essanyu ly’atusuubiza
    Lye lituwoomera

    Ng’enda gy’antwala yonna
    Mwesiga bwesizi!
    Sibuusabuusa so sitya;
    Kubanga ye amanyi.

    2
    Obutamanya obwo
    Bwe nsinga okwagala;
    Ankute n’omukono gwe
    Yesu-annywezeza
    Ampummuza buwummuza,
    Kubanga mwesiga.

    Ng’enda gy’antwala yonna
    Mwesiga bwesizi!
    Sibuusabuusa so sitya;
    Kubanga ye amanyi.

    3
    Ka ntambule ne Yesu
    Yonna gy’aba-antwala
    Awali ye mu nzikiza
    Nyinza okulaba
    Era muzibe-amwesiga
    Tayinza kubula.

    Ng’enda gy’antwala yonna
    Mwesiga bwesizi!
    Sibuusabuusa so sitya;
    Kubanga ye amanyi.

  • Hymn 311: OMWOYO GWANGE,WULIRA-AMALOBOOZI Lyrics

    Oluyimba 311: OMWOYO GWANGE,WULIRA-AMALOBOOZI Lyrics

     

    OLUYIMBA 379: KATONDA ABEERENGA NAAWE
    1
    KATONDA abeerenga naawe
    Akuwenga omukisa,
    Akubalire mu babe,
    Akukuume-okutuusa-okufa.

    Weeraba,weeraba,
    Otambule mirembe;
    Weeraba,weeraba,
    Omutonzi abeere naawe.

    2
    Katonda abeerenga naawe,
    Akukwate mu ngalo ze,
    Akuwe-emmere y’omwoyo,
    Akukuume-okutuusa-okufa

    Weeraba,weeraba,
    Otambule mirembe;
    Weeraba,weeraba,
    Omutonzi abeere naawe.

    3
    Katonda abeerenga naawe,
    Entiisa bw’erikujjira,
    Akwetoolooze ekisa,
    Abeerenga naawe bulijjo.

    Weeraba,weeraba,
    Otambule mirembe;
    Weeraba,weeraba,
    Omutonzi abeere naawe.

    4
    Katonda abeeranga naawe,
    Akuwe okwagala kwe,
    Akuyise mu mayengo,
    Akutuuse mu kisulo kyo.

    Weeraba,weeraba,
    Otambule mirembe;
    Weeraba,weeraba,
    Omutonzi abeere naawe.

  • Hymn 327: YESU MUKAMA WANGE Lyrics

    Oluyimba 327: YESU MUKAMA WANGE Lyrics

     

    OLUYIMBA 393: MU MYAKA SI MINGI
    1
    MU myaka si mingi,
    Ebbanga si ddene,
    Tulyebaka-awamu n’abo
    Abali mu ntaana.
    Kye nvudde nsaba ggwe
    Eyatufiirira,
    Teekateeka-omwoyo gwange,
    So tondekanga-eno

    2
    Obulamu bwaffe,
    Bunnatera okuggwaawo,
    Olunaku lusembera,
    Olw’omusango gwo.
    Mulokozi wange,
    Onziggyeko-ebibi,
    Onnaaze mu musaayi gwo,
    Onsembeze gy’oli.

    3
    Wakyasigaddeyo
    Ennaku si nnyingi,
    Naffe tulituuka eyo
    Gye katajja kabi.
    Mukama w’obulamu
    Ompolerezenga
    Nkwesiga okundokola
    Mu byonoono byonna.

    4
    Ewaffe si wano
    Naye-eri mu ggulu,
    Yesu-tumulindirira,
    Alituuka mangu.
    Mununuzi wange,
    Tunuulira bwe ndi,
    Siyinza-awatali ggwe
    Kugumiikiriza.

    5
    Kale tujjukire
    Ebyawandiikibwa,
    Kaakano ekiro kiyise,
    Emmambya esaze
    Ka twambule-ebibi
    Ebyatusanyusa,
    Ffe twambale-ebibi
    Ebyatusanyusa,
    Ffe twambale-obutukuvu,
    Mukama waffe ajja.

  • Hymn 312: BWE TUTAMBULIRA AWAMU NE YESU Lyrics

    Oluyimba 312: BWE TUTAMBULIRA AWAMU NE YESU Lyrics

     

    OLUYIMBA 38: ABASUMBA BAALI BAKUUMA
    1
    -ABASUMBA baali bakuuma,
    -Endiga zaabwe-ekiro,
    Malayika n’akka ku nsi
    N’eyakaayakana.

    2
    Mmwe-abasumba temwekanga
    Ndeese-amawulire
    -Ag’essanyu lingi nnyo nnyini
    Eri-abantu bonna.

    3
    Leero mu kyalo kya Dawudi
    Era mu kika kye,
    Muzaaliddwa-Omulokozi,
    Yesu lye linnya lye.

    4
    Omwana munaamulaba
    Ng’azazikiddwa-eri
    Ng’abikkiddwa mu bugoye
    Mu kiraalo ky’ente.

    5
    Amangu ne walabika,
    Mu ggulu ne ku nsi,
    Eggye-erya bamalayika
    Ne bayimba bati:

    6
    Katonda -aweebwe-ekitiibwa

    Mu ggulu ne mu nsi:

    -Emirembe gibe mu bantu

    Bonna-abasiimibwa.

  • Hymn 328: EDDA NALI MBUUSABUUSA Lyrics

    Oluyimba 328: EDDA NALI MBUUSABUUSA Lyrics

     

    OLUYIMBA 394: ABALAGUZI EDA BAVA WALA NNYO
    1
    -Abalaguzi eda bava wala nnyo,bava wala nyo,Nebaita ku nsozi era ku miga,era ku miga,Ngabagenda-okunonya Kabaka wabwe,Kabaka wabwe, Erinya lye Yesu,Mukama wafe,Mukama wafe.

    2
    Emuyenye kaingo yabakulembera,yabakulembera,yabakulembera Kunyumba enjavu e Beserekemu,eBeserekemu,Nebalaba omwana-eyazalibwayo,eyazalibwayo,Erinyalye Yesu,Musana gwensi,Musana gwensi

    3
    Era bwebaVUnama bamusinza dala,bamusinza dala,Nebawayo-ebirabo by’omwendo mungi,by’omwendo mungi,Kubanga omwana oyo omuto,oyo omuto,Erinya lye Yesu,Mukama wafe,Mukama wafe.

    4
    Era nafeng’abo tumutonerenga,tumutonerenga,Tainza kunyoma obwavu bwafe, obwavu bwafe,Atwagala fena,yaja kulwafe,yaja kulwafe, Erinnyalye Yesu,Katonda wafe,Katonda wafe

    5
    Mukale-abakulu n’abana-abato,n’abana-abato,Muje,mumusinze omwana ono,omwana ono,Eyava mu gulu nabera kunsi ,nabera kunsi,Alioke-atuwonye fena mu bibi,fena mu bibi.