Author: aznimi

  • Basic Statement -Luganda To English Translation Phrases

    Basic Statement -Luganda To English Translation Phrases

    English to Luganda DictonaryTranslation phrases

     

    English Translation    –    Luganda  Translation

     

    1. Are there any tourist attractions around here? – Wano waliwo ebisikiriza abalambuzi?

    2. Is it safe to swim here? – Wano walungi okuwugira?

    3. There are two caves here – Wano waliwo empuku bbiri

    4. Where is the nearest town? – Ekibuga ekiri okumpi kiri ludda wa?

    5. Is it safe to climb this mountain? – Luno olusozi lulungi okulinnya?

    6. Is there a hut up there? – Engulu eyo eriyo akasiisira?

    7. Help! – Munnyambe!

    8. It’s an emergency! – Kizibu kya mbagirawo

    9. There’s been an accident! Waguddewo akabenje –

    10. Call a doctor! – Yita omusawo

    11. Call an ambulance! – Yita ambyulensi

    12. I’ve been robbed! – Banzibye

    13. Stop! – Yimirira!

    14. Go away! – Genda eri!

    15. I’ll get the police! – Kampite poliisi/abasirikale!

    16. Watch out! – Wegendereze

    17. Thief! – Omubbi!

    18. Fire! – Omuliro!

    19. I’ve lost “__” – “__” embuzeeko

    20. my bag – Ensawo yange

    21. my suitcase – Keesi/sutikesi/sanduuko yange

    22. my money – Sente zange

    23. my travellers’ cheque – Kyeke zange

    24. my passport – Paasipoti/Kitambulizo kyange

    25. I am ill – Ndi mulwadde

    26. I am lost – Mbuze

    27. Look! – Laba!

    28. Listen! – Wulira!

    29. I am ready – Nneetegese

    30. Slow down! – Genda mpola!

    31. Hurry up! – Yanguwa!

    32. Come here – Jangu wano

    33. Go away! – Genda eri!

    34. Watch out! – Wegendereze!

    35. Help me – Nnyamba

    36. It is possible – Kisoboka

    37. It is not possible – Tekisoboka

    38. I forgot – Neerabidde

    39. It is important – Kikulu

    40. It is not important – Si kikulu

    41. What is the time? – Saawa mmeka?

    42. Where are you going? – Ogenda wa?

    43. What is this called? – Kino kiyitibwa kitya?

    44. What is that? – Ekyo kiki?

    45. Can I take a photo (of you)? – Nsobola okukuba ekifananyi?

    46. Can I take a photo (of that)? – Ekyo nsobola okukikuba ekifananyi?

    47. Do you live here? – Obeera wano?

    48. It doesn’t matter – Ssi kigambo / Tofaayo

    49. Where is the police station? – Poliisi siteseni eri ludda wa?

    50. Where are the toilets? – Obuyu/ buyonjo buli ludda wa?

    51. Could you help me please? – Mwattu osobola okunnyamba?

    52. Could I please use the telephone? – Mwattu nsobola okukozesa ku ssimu?

    53. I speak english – Njogera olungereza

    54. I have medical insurance – Nina yinsuwa y’obulwadde

    55. I understand – Nkitegeera

    56. I dont understand – Sikitegeera

    57. I didn’t realize that I was doing anything wrong – Saategedde nti kyembadde nkola kikyamu

    58. I didn’t do it – Saakikoze

    59. I’m sorry I apologise – Nsonyiwa Nnetonze

    60. I am staying at “__” – Nsula ku “__”

    61. My contact number – (next of kin)

    62. We’re in a hurry please – Mwattu tuli mu bwangu

    63. I’m sorry but this table is reserved – Nsonyiwa naye emmeeza eno nekwate

    64. Please bring our food quickly – Emmere yaffe gyanguyeeko

    65. May we have our bill please? – Osobola okutuwa lisiiti yaffe mwattu?

    66. I’m just looking – Ndabako bulabi

    67. What is the normal price of this?Omuwendo ogwa bulijjo sente meka? –

    68. Can you write down the price? – Osobola okuwandiika wansi omuwendo?

    69. Do you accept credit cards? – Mukkiriza kaadi?

    70. May I try this on? – Nsobola okukyegezaamu

    71. Do you have others? – Olina ebirala?

    72. We don’t have any – Tetulina

    73. Can I see it? – Nsobola okukiraba?

    74. I don’t like it – Sikyaagala

    75. I will take it – Nja kukitwaala

    76. I’d like to look at blouses – Njagala kulaba ku bbulawuzi

    77. How much is this? – Kino sente mekka?

    78. Where are these goods made? – Bino bikolebwa wa?

    79. Do I need insurance? – Neetaaga yinsuwa?

    80. Free of charge – Kya bwereere

    81. Do you speak English? – Omanyi olungereza?

    82. Yes, I do – Weewawo

    83. No, I do not – Nedda

    84. I can only speak a little Luganda – Oluganda mmanyi lutonotono

    85. Does any one here speak english? – Wano waliwo amanyi olungereza?

    86. Do you understand? – Otegeera?

    87. I understand – Ntegeera

    88. I don’t understand – Sitegeera

    89. How do you say “” in Luganda? – Mu Luganda ogamba otya nti “”?

    90. What does this mean? – Kino kitegeeza ki?

    91. Please speak slowly! – Mwattu yogera mpolampola

    92. Write that word down for me – Ekigambo ekyo kimpandiikire

    93. Please repeat it – Mwattu kiddemu

    94. Please translate for me – Mwattu nzivuunulira

  • Assorted Items -Luganda To English Translation Phrases

    Assorted Items -Luganda To English Translation Phrases

    English to Luganda DictonaryTranslation phrases

     

    English Translation    –    Luganda  Translation

     

    1. Bank clerk – Kkalaane wa banka

    2. Bill, bank note – Lupapula lwa ssente

    3. Branch – Ettabi

    4. Commission – Kamiisoni

    5. Endorsement – Kussaako mukono

    6. ID card – Kitambulizo

    7. Signature – Omukono

    8. Cathedral – Lutikko

    9. Church – Kkanisa / Kkeleziya

    10. Empty – Kikalu

    11. Interesting – Kinyuma

    12. Mosque – Muzigiti

    13. Nice – Kirungi

    14. Quiet – Kisiriikirivu

    15. Statue – Kibumbe

    16. Ticket – Tikiti

    17. University – Yunivasite

    18. Nightclub – Kirabo

    19. Knife – Kambe

    20. Lamp – Ttaala

    21. Light – Kitangaala

    22. Mat – Kiwempe/omukeeka

    23. Rope – Muguwa

    24. Stove – Sitoovu

    25. Tent – Weema

    26. Torch/flashlight – Tooci

    27. Big – Kinene

    28. Buy – Kugula

    29. Export – Okuwereza ebyamaguzi ebweru w’eggwanga

    30. Import – Okuyingiza ebintu okuva munsi ez’ebweru

    31. Like – Kwagala

    32. Made in (country)Kyakolebwa mu (nsi) –

    33. Old – Kikadde

    34. Order – Kulagiriza

    35. Parcel – Kitereke

    36. Prefer – Okwagala ekimu okusinga ekirala

    37. Quality – Obulungi

    38. Quantity – Obungi

    39. Round – Kyetoloovu

    40. Sell – Kutunda

    41. Small – Kitono

    42. Style – Musono

    43. Want – Kwagala

  • Agriculture -Luganda To English Translation Phrases

    Agriculture -Luganda To English Translation Phrases

    English to Luganda DictonaryTranslation phrases

     

    English Translation    –    Luganda  Translation

     

    1. Agriculture – Byabulimi

    2. Coffee – Mwanyi

    3. Corn – Kasooli

    4. Firewood – Nku

    5. Flower – Kimuli

    6. Fruit tree – Muti gw’ebibala

    7. Harvest – Kukungula

    8. Irrigation – Kufukirira

    9. Leaf – Kikoola

    10. Planting – Kusimba

    11. Rice – Muceere/mupunga

    12. Sugar cane – Kikajjo

    13. Tea – Caayi

    14. Tobacco – Taaba

    15. Vanilla – Vanila

  • Actions -Luganda To English Translation Phrases

    Actions -Luganda To English Translation Phrases

    English to Luganda DictonaryTranslation phrases

     

    English Translation    –    Luganda  Translation

     

    1. Address – Endagirilo

    2. Bathe – Kunaaba

    3. Blanket – Bulangiti

    4. Candle – Musubbaawa

    5. Chair – Ntebe

    6. Clean (verb) Kuyonja –

    7. Crowded –

    8. Cupboard – Kabada

    9. Dark – Enzikiza

    10. Dirty – Kuddugala

    11. Door – Luggi

    12. Dust – Nfuufu

    13. Eat – Kulya

    14. Electricity – Masannyalaze

    15. Garden – Nnimiro

    16. Fence – Lukomera

    17. Key – Kisumuluzo

    18. Lock – Kkufulu

    19. Mattress – Mufaliso

    20. Mirror – Ndabirwamu

    21. Noisy – Luyogaano

    22. Pillow – Katto ka kwezizika

    23. Quiet – Kasiriikiriro

    24. Rent – Kupangisa

    25. Roof – Kasolya

    26. Servant – Mukozi

    27. Sit – Tuula

    28. Sheet – Suuka

    29. Sleep – Kwebaka

    30. Soap (bathing) Sabbuuni anaaba –

    31. Soap (detergent Sabbuuni ayoza –

    32. Swimming pool Ekidiba omuwugirwa –

    33. Table – Mmeeza

    34. Towel – Tawulo

    35. Wake – Zuukusa

    36. Wash – Kwoza

    37. Water – Mazzi

  • Accomodation -Luganda To English Translation Phrases

    Accomodation -Luganda To English Translation Phrases

    English to Luganda DictonaryTranslation phrases

     

    English Translation    –    Luganda  Translation

     

    1. Finding Accomodation –

    2. Where is a “__” ? – “__” eri ludda wa?

    3. hotel – Wooteri

    4. cheap hotel – Wooteri eya layisi

    5. nice hotel – Wooteri ennungi

    6. inexpensive hotel – Wooteri ey’omuwendo omusaamusamu

    7. I’ve already found a hotel – Nafunye dda wooteri

    8. Please take me to the “__” hotel – Mwattu ntwaala ku wooteri “__”

    9. What is the address? – Ndagirilo ki?

    10. Write down the address please – Endagiliro giwandiike mwattu

    11. I’d like a room “__” – Njagala ekisenge “__”

    12. for one person – kya muntu omu

    13. for two people – kya bantu babiri

    14. with a bathroom – omuli ekinaabiro

    15. with a fan – ekirina faani/ekiwujjo

    16. with a TV – ekirina tivvi

    17. with a window – ekirina eddirisa

    18. I am going to stay for “__” – Nja kumala “__”

    19. one day – olunaku lumu

    20. two weeks – sabbiiti bbiri

    21. I am going to live here for a year – Ng’enda kubeera wano okumala omwaka gumu

    22. Is there a room available? – Olinawo ekisenge?

    23. How much does it cost per day? Kya ssente mmeka buli lunaku? –

    24. What is the daily rate? – Ssente mmeka buli lunaku

    25. Does the price include breakfast? Ssente ziriko n’ekyenkya? –

    26. Are children allowed? – Abaana bakkirizibwa?

    27. Is there extra cost for children? – Abaana basasula ssente endala?

    28. Can I see the room? – Ekisenge nsobola okukiraba?

    29. I don’t like this room – Kino ekisenge sikyagala

    30. Do you have a better room? – Olina ekisenge ekikisingako obulungi?

    31. I’ll take this room – Nja kutwala kino ekisenge

    32. I’m not sure how long I’m staying – Simanyi bbanga ki lyennaamalawo

    33. Should I leave my key at the reception? – Nsobola okuleka ekisumuluza kyange awatuukirwa?

    34. Where can I wash my clothes? – Wa wensobola okwoleza engoye zange?

    35. Please wash these clothes for me – Mwattu njoleza engoye zino

    36. When will they be ready? – Onoozimala ddi?

    37. Can I use the telephone? – Nsobola okukozesa essimu?

    38. Please spray my room – Mwattu fuyira ekisenge kyange

    39. There are mosquitoes in it – Kirimu ensiri

    40. Please change my sheets – Mwattu kyusa essuuka zange

    41. My room needs to be cleaned – Ekisenge kyange kyetaaga okuyonja

    42. Excuse me, I’ve got a problem here Nsonyiwa, nina ekizibu –

    43. The window is broken – Eddirisa limenyefu

    44. I can’t open the door/window – Sisobola kuggulawo luggi/ddirisa

    45. I’ve locked myself out – Neesibidde ebweru

    46. The toilet is broken – Akayu tekakola

    47. Can you get it fixed? – Bayinza okukikola?

    48. The room smells – Ekisenge kiwunya

    49. It’s too dark – Enzikiza eyitiridde

    50. It’s too noisy – Oluyogaano luyitiridde

    51. I am leaving this hotel – Wooteri ngenda kugivaamu

    52. Please prepare my/our bill – Mwattu tegeka lisiiti yange

    53. Call me a taxi please – Mpitira takisi mwattu

    54. Can I pay by “__” ? – Nsobola okusasuza “__” ?

    55. credit card – kaadi

    56. traveller’s check/cheque – kyeke

    57. Can I leave my things here until “__”? – Nsobola okuleka ebintu byange wano okutuusa “__” ?

    58. this afternoon – olweggulo lwa leero

    59. this evening – akawungeezi ka leero

    60. tonight – ekiro kya leero

  • weights ans measures -Luganda To English Translation Phrases

    weights ans measures -Luganda To English Translation Phrases

    English to Luganda DictonaryTranslation phrases

     

    English Translation    –    Luganda  Translation

     

    1. Gramme – Gulaamu

    2. Kilogramme – Kilo

    3. meter – Mmita

    4. Kilometer – Kilomita

    5. litre – Lita

    6. poundLatiri –

    7. mile – mayiro

    8. foot – fuuti

  • weather -Luganda To English Translation Phrases

    weather -Luganda To English Translation Phrases

    English to Luganda DictonaryTranslation phrases

     

    English Translation    –    Luganda  Translation

     

    1. What’s the weather like? – Embeera y’obudde eri etya?

    2. It is “__” today – Leero obudde “__”

    3. Cloudy – bwa kikome

    4. Cold – bunnyogovu

    5. Flooding – bwa mataba

    6. Hot – bwa bbugumu

    7. Raining heavily – bwa nkuba y’amaanyi

    8. Raining lightly – bwa nkuba ya lutonnyeze

    9. Warm – bwa kibuguumirize

    10. Windy – bwa mbuyaga

    11. Clouds – Bire

    12. Dry season – Ebiseera by’omusana

    13. Earth – Nsi

    14. Fog – Lufu

    15. Moon – Mwezi

    16. Mud – Bisooto

    17. Rain – Nkuba

    18. Rainy season – Biseera by’enkuba

    19. Sky – Ggulu

    20. Smoke – Mukka

    21. Star – Mmunyeenye

    22. Storm – Mbuyaga

    23. Sun – Njuba

    24. Sunshine – Musana

  • Useful Time Phrases -Luganda To English Translation Phrases

    Useful Time Phrases -Luganda To English Translation Phrases

    English to Luganda DictonaryTranslation phrases

     

    English Translation    –    Luganda  Translation

     

    1. What time is it? – .Ssaawa mmeka

    2. It is two o’clock – Ssaawa munaana

    3. It is a quarter to four – Ebula kumi na ttaano okuwera ekumi

    4. It is a qaurter past one – .Edakiika kumi na ttaano eziyise ku musanvu

    5. It is ten past four – Kumi ne ddakiika kumi

    6. It is four-thirty – Kumi kitundu

    7. One/an hour – Ssaawa emu

    8. Two hours – Ssaawa bbiri

    9. Three hours – Ssaawa satu

    10. What the date today? – .Ennaku z’omwezi mmeka olwa leero?

    11. It is 31st July – Ziri asatu mu lumu ogwomusanvu

    12. When did you arrive in Uganda? – Watuuka ddi mu Yuganda?

    13. Two weeks ago – .Sabbiiti bbiri eziyise

    14. How long will you stay? – Onobeerawo kumala banga ki?

    15. I’ll be staying about two weeks – Nja kumala wiiki nga bbiri

  • Useful Shops Items -Luganda To English Translation Phrases

    Useful Shops Items -Luganda To English Translation Phrases

    English to Luganda DictonaryTranslation phrases

     

    English Translation    –    Luganda  Translation

     

    1. Where can I find a “__” ? – Wa wenyinza okusanga “__”?

    2. barber – kinyoozi

    3. bookshop – edduuka ly’ebitabo

    4. grocery – edduuka

    5. hair dresser – omusibi w’enviiri

    6. market – akatale

    7. tailor – omutunzi

    8. I want to buy – Njagala kugula

    9. that basket – ekisero ekyo

    10. this bottle – eccupa eno

    11. Buttons – Mapeesa

    12. Combs – Bisanirizo

    13. Jar – Kicupa

    14. Mosquito net – Katimba ka nsiri

    15. Needle – Mpiso

    16. Rope – Muguwa

    17. Scissors – Makansi

    18. Shoelaces – Buguwa bw’engatto

    19. Suitcase – Ssanduuko

    20. Swimsuit – Engoye omuwugirwa

    21. Thread – Wuzi

    22. Torch(flashlight) – Ttooci

    23. Towel – Tawulo

    24. Can I bargain? – Nsobola okulamuza?

    25. That’s very expensiveOgwo omuwendo munene –

    26. I don’t have much money – Sirina sente nnyingi

    27. Can you lower the price? – Osoloba okussa omuwendo?

    28. I’ll give you – Nja kuwa

    29. No more than – Sisukka

  • Ebisoko -Luganda Idioms – EBISOOKO N’ENJOGERA EBYENONO

    Ebisoko -Luganda Idioms – EBISOOKO N’ENJOGERA EBYENONO

    luganda idioms ebisoko

    Ekisoko (Luganda Idiom)   –   Amakkulu (Meaning)

    1. Okutema ku lw’e Nnamuganga(lwazi) – kutema wwakaluba

    2. Eyayalula omuntu okusiriira(nkejje) – kulaba nnaku/ kugwa mu buzibu

    3. Okukuba ey’Abageye – kutuula nga totereera

    4. Okussa ku w’e Mbuule(ssezinnyo) – kulya oba kugaaya

    5. Okukwata Kalambi ne Bira – kuliraanigana nnyo

    6. Okuva e Bule n’e Bweya – kintu kuba kigazi

    7. Okukwatana Bbuzu ne Mpumu – kuliraanigana nnyo

    8. Okukwatana Kawempe ne Ttula – kuliraanigana nnyo

    9. Okwegoba ku muntu nga Ssemukkuto bwe yeegoba ku baki b’amayenje – kubaviirako ddala

    10. Okukwatira Ssebatta ensawo – kwereetera bizibu

    11. Okuzza ogwa Nnamunkukulu – kuzza musango munene

    12. Okwesuulirayo ogwa Nnaggamba(mwoyo)butafaayo ku kintu kya mugaso –

    13. Okuba omutaka w’e Misindye(Nnamutwe) – kuba mutwe mukulu mu kintu ekikolebwa

    14. Okubeera omutaka w’e Nnamataba(Mulindwa) – kubeera nga ggwe alindibwa

    15. Okukongojja Ndawula – kuba mulwadde wa lukusense

    16. Okuba omulere gwa Ssuuna – kwogera kintu kimu lutata

    17. Okusasula omuntu nga Ssuuna bwe yasasula abaziba – kunyaga muntu

    18. Okuba omutaka w’essambwe (Nnabugwamu) – kweyingiza mu mboozi etakukwatako

    19. Okuba akafukunya akaagula Mukono(Kyaggwe) – kintu kuba kingi nnyo

    20. Okuba n’ogwa Nnanteza(omukisa) – kuba na mukisa ogutasangika

    21. Okukuyisaako ow’e Mbuya(Kaggo) – kukuba muntu na mbooko

    22. Okusanga omutaka w’e Kalungu(Ssemusota) – kussanga musota

    23. Okuwona Mayanja ow’olusenke – kuwona kabi akaamaanyi

    24. Okukwata mu ka Waliggo(Kasawo) – kukwata mu nsawo ofunemu ssente

    25. Okuwerekera Mpinga mu Kibira – kwereetera bizibu nga olaba

    26. Okulya ng’eyasimattuka Kkunsa – kulya nnyo

    27. Okutuuka omuntu nga Nnalunga bweyatuuka Jjuuko – kwagala nnyo muntu

    28. Okutuula mu za Mugula – kutuula mu ntebe

    29. Okutuula obukonge Ndawula bweyatuula e Buwaali – butava mu kifo

    30. Okutuula ntitibbwa Mirimu gye yatuula mu Ndejje – butava mu kifo

    31. Okutwala omuntu nga Mwanga – kutwala muntu bubi

    32. Ennyumba okuba nga eya Mugogo e Ssanyi – kuba na miryango mingi ate nga nnene

    33. Kimyanku okuba nga ye Mugabe – mbeera ya lusaago(ekisa) okuggwaawo

    34. Okuba omutaka w’e Ddambwe(Kiggala) – kuba nga towulira

    35. Okubuuza Ssaalongo endeku – kubuuza kintu kirabika

    36. Okuyita Ttembo – kugwa ddalu

    37. Okuyita ssikaala e Buddo – kwesiima olwokufuna ekirungi

    38. Okwogera olwa ssenkoole – kwogera bigambo nga tobimalaayo