Oluyimba Lyrics
OLUYIMBA 99: MUMUSSEEKO-ENGULE
1
MUMUSSEEKO-engule
Omwana gw’endiga;
Muwulire-amatendo ge
Agatenkanika.
Yimba mwoyo gwange,
N’amaanyi go gonna,
Oyatule Kabaka wo
Eyakufiirira.
2
Mumusseeko-engule
Omwana w’omuntu,
Yawangula-abalabe be
Abaamujeemera.
Banabbi ab’edda
Bye baamulangako,
Byonna yabituukiriza
Bwe yabeera mu nsi.
3
Mumusseeko-engule
Nnannyini kwagala,
Enkovu z’ebiwundu bye
Zonna zirabika.
Kino kya kitalo
Ekitenkanika,
-Emikono gye-emifumite
Gye gituwa-obulamu-
4
Mumusseeko-engule
Mukama w’eggulu,
Eyatuwanguza fenna
Abamweyabiza
Mununuzi waffe,
Kkiriza-ettendo lyo
-Emirembe-agitalabika
Lye giri kussaako
Leave a Reply