Oluyimba 410: BWETULISIMBIBWA AWALI YESU Lyrics
OLUYIMBA 95: LEERO AZUUKIDDE
1
LEERO azuukidde
-Omulimu guwedde,
Abasibe bateereddwa,
-Okufa kuwanguddwa.
2
Yesu azuukidde
Entaana njereere
Abaagulibwa bawonye
Balifuga naye.
3
Yesu azuukidde
Mulamu takyafa,
Anaatuwolerezanga
Emirembe gyonna.
4
Yesu azuukide
Mwenna musanyuke
Mweyonger-okujaguza
Kubanga azuukidde.
5
-Abakubi b’ennanga
N’abayimbi bonna
Muyimbe mwenna n’essanyu
Yesu azuukidde
Leave a Reply