Oluyimba 409: AMAKA AMATUKUVU Lyrics
OLUYIMBA 94: ALERUUYA MYIMBE
1
ALERUUYA myimbe,
Leero Yesu-azuukidde,
Tuyimbe nga twebaza
Olw’okuwangula kwe.
Aleruuya
2
Obulumi bw’okufa,
N’amaanyi gaakwo gonna,
Byonna abiwangudde:
Naffe ka tujaguze.
Aleruuya
3
Naffe-abaali-abasibe
Mu buddu obwekibi
Leero naffe tusinza:
Ssetaani awanguddwa.
Aleruuya
4
Ka tujaguze fenna
Kubanga yawangula;
Ka tuyimbe-amatendo
Kuba tuli ba ddembe.
Aleruuya.
Leave a Reply