Oluyimba 404: TULINDIRIRE OKUJJA KWA YESU Lyrics
OLUYIMBA 9: GY’OLI YESU TUWAAYO
1
GY’OLI Yesu tuwaayo
Olunaku lwo luno;
Ggwe wekka obimanyi nnyo;
Tuleme-okulwonoona,
Otuwe-emikisa gyo.
2
Bwe lunaaleeta-essanyu,
Mubeezi waffe jjangu,
Tuleme-okutegebwa
Mu nkwe z’omulyolyomi;
Tuli mu lukoola ffe,
Omulabe-omugobe.
3
Twagala kino kyokka
Okusiimibwa Yesu,
Bw’anaaba akomyewo
Okutuyita leero,
Atusange ffe fenna
Nga tumulindirira.
Leave a Reply