Oluyimba 392: SIMANYI BINABAAWO Lyrics
OLUYIMBA 79: OMUTWE GWA MUKAMA
1
OMUTWE gwa Mukama,
Ogwafumitibwa
Amaggwa ge baaluka
Okukuduulira.
Ye ffe abandirabye
Ennaku zo zonna,
Mu kifo kyo bandisse
Ffe-abalina-ebibi.
2
Tuli boonoonyi ddala,
Ggwe-oli Mutukuvu;
Mu maaso ga Kitaawo
Toyonoonangako.
Twewombeese kaakano,
Tukuvuunamidde,
Tusaanidde okufa
Naye otulokole.
3
Naafuna ntya-ebigambo
Eby’okukwebaza?
Wayiwa-omusaayi gwo
Ku lwaffe ku muti.
Essanyu lye watuwa
Tunaalyenkanya wa?
Lisinga lyonna lyonna
Ery’omu nsi zonna.
4
Lulimi ki-oluyinza
Okwolesa-ekisa,
N’okwagala kwo-okungi
Yesu bye walaga?
Otenderezebwenga,
Mulokozi waffe
Kaakano n’okutuusa
Emirembe gyonna
Leave a Reply