Oluyimba 381: AYI KATONDA OGIKUUME Lyrics
OLUYIMBA 69: KATONDA, BWE BAALUMWA-ENNYO
1
KATONDA, bwe baalumwa-ennyo
Ennyonta-Abayisirsyiri
Walagira Musa bw’oti:
-Okukuba-olwazi n’omuggo.
2
Mu lwazi olwakubibwa
Ne muvaamu-amazzi mangi;
Abaali balina-ennyonta,
Baaganywa ne basanyuka.
3
Bwe tuluba-olwazi olwo,
Tulaba Yesu mu ngero;
Gwe baakuba-edda ku lwaffe,
Ne muva omusaayi gwe.
4
Bwe tubeera mu nsi muno,
Tulumwa-ennyonta mu mwoyo;
Kale tegatugwanidde
Ffe amazzi g’obulamu?
Leave a Reply