Oluyimba 380: BEWAAYO-ABAANA BEEBAZIBWA Lyrics
OLUYIMBA 68: YESU MUKAMA WAFFE
1
YESU Mukama waffe,
Otugumiikirize,
Twetoowazizza leero.
2
Yesu ggwe-Omutukuvu
Otugonze ffe-emyoyo
Nga tukyalina-ebbanga.
3
Otujjuze ffe-Omwoyo
Omubeezi ow’ekisa,
Tukwatenga-amazima.
4
Ku lw’entuuyo ez’omusaayi,
N’amaziga go gonna;
Ge watonnyesa mu nsi.
5
Ku lw’okwagala-okungi
Okwakutufiiriza,
Yesu otuwulire
Leave a Reply