Hymn 362: YESU YE ANJAGALA Lyrics

Oluyimba 362: YESU YE ANJAGALA Lyrics

 

OLUYIMBA 51: GGWE KIBUGA BEESIREKEMU
1
GGWE kibuga Beesirekemu-
Tukutunuulire;
Nga osiriikiridde nnyo
Mu maaso g’eggulu.
Mu nzikiza mu nguudo zo
-Omusana gwo guzze;
Byonna bye watyanga edda
Biweddewo leero.

2
Malyamu-azadde Kristo
Omutabaganya;
Abantu mu butamanya
Katonda-abaagala,
Ggwe Kristo-,era ggwe Kabaka
Tukusuute leero:
Oweebwenga ekitiibwa
Eyaleeta-essanyu.

3
Ayi Katonda nga watuwa
Yesu Omwana wo,
Kye kirabokyo-ekirungi
Ekyava mu ggulu.

Otuwe ffe aboonooyi
Okumukkiriza,
N’emyoyo emiwombeefu,
Ayingire mu ffe.

4
Ggwe-Omwana Omutukuvu
Jjangu-obeere mu ffe;
Otuggyeko-ebibi byonna
Ozaalibwe mu ffe.
Tuwulira bamalayika
Bayimba-eby’essanyu
Eby’Omulokozi w’ensi
Emanuweri waffe.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *