Hymn 360: YESU,MUKAMA WANGE Lyrics

Oluyimba 360: YESU,MUKAMA WANGE Lyrics

 

OLUYIMBA 5: JJANGU GYE NDI BWE NZUUKUKA
1
JJANGU gye ndi bwe nzuukuka,
Obudde nga busaasaanye,
Osige mu mwoyo gwange,
Ebirowoozo-ebisaana.

2
Jjangu gye ndi mu ggandaalo,
Eby’ensi ebitaliimu,
Bireme-okusiikiriza,
-Omusana ogw’amaaso go.

3
Akawungeezi-ojje gye ndi
Era bwe mba nkuvuddeko,
Onkomywewo,onzibire;
Mu nkwe zonna-eza Ssetaani.

4
Era mu ttumbi-ojje gye ndi,
Bwe neebaka-amavumira,
Nneme-okutya-akabi konna;
Nga nkuumibwa-Omulokozi.

5
Beeranga nange mu bulamu-
Beeranga nange mu kufa,
Ompitanga-okujja gy’oli,
Nsanyukire mu maaso go.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *