Oluyimba 357: TULEETA EBIRABO Lyrics
OLUYIMBA 47: KINO KYA KTALO NNYO
1
KINO kya kitalo nnyo
Ekitalabwanga;
Emirembe gizze nno
Mu nsi yaffe muno.
Ka tuyimbe nate,
Ekitiibwa eri Katonda
N’emirembe mu nsi.
2
Bayimbira Kabaka
Mukama w’eggulu;
Ensozi n’ebiwonvu
Mwenna musanyuke:
Fenna ka tuyimbe,
Ekitiibwa eri Katonda
N’emirembe mu nsi.
3
Entiisa y’omulabe
Leero tekyaliwo;
Yesu Mukama waffe
Azaaliddwa leero:
Tuyimbe n’essanyu,
Ekitiibwa eri Katonda
N’emirembe mu nsi.
Leave a Reply