Hymn 349: GGWE MUSUMBA-OMULUNGI Lyrics

Oluyimba 349: GGWE MUSUMBA-OMULUNGI Lyrics

 

OLUYIMBA 412: YIMBA GGWE MWOYO GWANGE
1
MUJJE mwenna-abalonde,muyimbe nnyo leero
Mujje tusinze Yesu eyatulokola;
Mumwebaze yekka,Omulokozi w’ensi;
Eyajja gye tuli mu kisa kye ekingi:

Yimba ggwe mwoyo gwange,
Yimba nnyo n’eddoboozi;(ggwe)
Tendereza Yesu,Omulokozi wange;
Yimba ggwe mwoyo gwange,
Yimba nnyo n’eddoboozi;(ggwe)
Osanyukenga bulijjo olw’obulokozi.

2
Abantu be,mujje n’emyoyo-emiwombeefu,
Nga mwebaza byonna n’ennyimba ez’ettendo;
Fenna ka tweweeyo,tumusinze ye yekka,
Kubanga ye Yesu,Omulokozi waffe.

Eyajja gye tuli mu kisa kye ekingi:

Yimba ggwe mwoyo gwange,
Yimba nnyo n’eddoboozi;(ggwe)
Tendereza Yesu,Omulokozi wange;
Yimba ggwe mwoyo gwange,
Yimba nnyo n’eddoboozi;(ggwe)
Osanyukenga bulijjo olw’obulokozi.

3
Ka twebaze-oluyimba lwa bamalayika:
Nga bamulanga Yesu nti Azze gye tuli;
Twegatte mu kuyimba ku nsi wamu nabo,
Nga tuli ne Yesu,Omulokozi.

Eyajja gye tuli mu kisa kye ekingi:

Yimba ggwe mwoyo gwange,
Yimba nnyo n’eddoboozi;(ggwe)
Tendereza Yesu,Omulokozi wange;
Yimba ggwe mwoyo gwange,
Yimba nnyo n’eddoboozi;(ggwe)
Osanyukenga bulijjo olw’obulokozi.

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *